Mwegendereze ‘Eddoboozi ly’Abantu Abatamanyiddwa’
“[Gwe zitamanyi] tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi [lye].”—YOKAANA 10:5.
1, 2. (a) Malyamu akola ki nga Yesu amuyise erinnya, era Yesu kye yayogera emabegako kikwatagana kitya na kino? (b) Kiki ekitusobozesa okubeera okumpi ne Yesu?
YESU azuukiziddwa alaba omukyala ng’ayimiridde okumpi n’entana ye. Amumanyi bulungi. Ye Malyamu Magudaleene. Kumpi emyaka ng’ebiri egiyiseewo bukya Yesu amugobako dayimooni. Okuva ku olwo, abadde atambulira wamu ne Yesu n’abatume be, ng’abayambako ku byetaago byabwe ebya buli lunaku. (Lukka 8:1-3) Kyokka, kati, Malyamu akaaba, munakuwavu nnyo olw’okuba yalaba Yesu ng’afa ate kati n’omubiri gwe teguli mu ntana! Yesu amubuuza: “Omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Olw’okuba alowooza nti ye mukuumi w’ennimiro, addamu bw’ati: “Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy’omutadde, nange nnaamuggyayo.” Awo Yesu amuyita nti: “Malyamu” amangu ago, Malyamu ategeera nti ye Yesu, olw’okuba yamuyita mu ngeri gye yamuyitangamu bulijjo. Nga Malyamu abuugaanye essanyu, agamba, “Muyigiriza,” era n’amutuukirira.—Yokaana 20:11-18.
2 Ebyaliwo ebyo bitulaga ekyo Yesu kye yali ayogeddeko emabegako. Nga yeegeraageranya ku musumba ate abagoberezi be ku ndiga, agamba nti omusumba ayita endiga ze amannya era zimanyi eddoboozi lye. (Yokaana 10:3, 4, 14, 27, 28) Mazima ddala, ng’endiga bwe zitegeera omusumba waazo, ne Malyamu yategeera Omusumba we, Kristo. Abagoberezi ba Yesu leero nabo bamanyi omusumba waabwe. (Yokaana 10:16) Ng’okutu kw’endiga bwe kugiyamba okutegeera eddoboozi ly’omusumba waayo, naffe okutegeera okw’eby’omwoyo kutusobozesa okutambulira mu bigere by’Omusumba waffe Omulungi, Yesu Kristo.—Yokaana 13:15; 1 Yokaana 2:6; 5:20.
3. Bibuuzo ki ebikwata ku lugero lwa Yesu olw’ekisibo ky’endiga ebiyinza okubuuzibwa?
3 Kyokka, okusinziira ku lugero olwo lwennyini, obusobozi bw’endiga obw’okumanya amaloboozi g’abantu bugiyamba okumanya mikwano gyayo era n’abalabe baayo. Ekyo kikulu nnyo kubanga naffe tulina abalabe bangi abatuziyiza. Be baani abo? Beeyisa batya? Tusobola tutya okubeekuuma? Okusobola okumanya ebyo, ka twekenneenya ebirala Yesu by’agamba mu lugero lwe olukwata ku kisibo ky’endiga.
‘Oyo Atayita mu Mulyango’
4. Okusinziira ku lugero lw’omusumba, endiga zigoberera ani, ate ani gwe zitagoberera?
4 Yesu agamba: “Ayita mu mulyango, ye musumba w’endiga. Oyo omuggazi amuggulirawo; n’endiga zimuwulira eddoboozi: aziyita endiga ze amannya; azifulumya ebweru. Bw’amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n’endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi. [Omuntu gwe zitamanyi] tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi [lye].” (Yokaana 10:2-5) Weetegereze nti Yesu akozesa ekigambo “ddoboozi” emirundi esatu. Emirundi ebiri ayogera ku ddoboozi ly’omusumba, naye omulundi ogw’okusatu, ayogera ku ‘ddoboozi ly’omuntu atamanyiddwa.’ Omuntu atamanyiddwa Yesu gw’ayogerako y’ani?
5. Lwaki tetulina kusembeza muntu atamanyiddwa ayogerwako mu Yokaana essuula 10?
5 Ebigambo omuntu atamanyiddwa bivvuunulwa okuva mu kigambo ekitegeeza ‘okwagala omuntu gwe tutamanyi.’ N’olw’ekyo mu Kyawandiikibwa ekyo, Yesu aba tayogera ku muntu ng’oyo gwe tusaanidde okusembeza. (Abaebbulaniya 13:2) Mu lugero lwa Yesu, omuntu ono gwe tutamanyi si mugenyi muyite. ‘Tayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye alinnyira walala.’ Oyo ye “mubbi era omunyazi.” (Yokaana 10:1) Omuntu asooka okwogerwako mu Kigambo kya Katonda eyafuuka omubbi era omunyazi y’ani? Ye Setaani Omulyolyomi. Obukakafu obulaga ekyo tubusanga mu kitabo ky’Olubereberye.
Eddoboozi ly’Omuntu Atamanyiddwa lwe Lyasooka Okuwulirwa
6, 7. Lwaki kituukirawo okuyita Setaani omuntu atamanyiddwa era omubbi?
6 Olubereberye 3:1-5 woogera ku ngeri eddoboozi ly’omuntu atamanyiddwa lwe lyasooka okuwulirwa ku nsi. Ebyawandiikibwa bigamba nti Setaani yatuukirira omukazi eyasooka, Kaawa ng’ayitira mu musota era n’ayogera naye mu ngeri ebuzaabuza. Kyo kituufu nti, mu kyawandiikibwa ekyo Setaani tayogerwako butereevu ‘ng’omuntu atamanyiddwa.’ Wadde kiri kityo, engeri gye yeeyisaamu eraga nti mu ngeri nnyingi yali afaanana omuntu atamanyiddwa ayogerwako mu lugero lwa Yesu oluli mu Yokaana essuula 10. Weetegereze engeri ezimu ezifaanagana.
7 Yesu agamba nti omuntu atamanyiddwa tayingira butereevu mu kisibo ky’endiga, naye ayingira mu ngeri enneekusifu. Mu ngeri y’emu, Setaani teyatuukirira Kaawa butereevu, wabula yakozesa musota. Engeri eyo ey’obukujukuju gye yamutuukiriramu yayolekera ddala Setaani ky’ali, kwe kugamba, omubbi era omulimba. Okugatta ku ekyo, omuntu atamanyiddwa ali mu kisibo ky’endiga alina ekigendererwa eky’okubba endiga. Mu butuufu, mubi nnyo n’okusinga omubbi, kubanga alina n’ekigendererwa ‘eky’okutta n’okuzikiriza.’ (Yokaana 10:10) Mu ngeri y’emu, Setaani yali mubbi. Bwe yalimba Kaawa, yamubbako obwesigwa bwe eri Katonda. Ate era, Setaani yaleetera abantu okufa. N’olwekyo, mussi.
8. Setaani yanyoolanyoola atya ebigambo bya Yakuwa?
8 Obutali bwesigwa bwa Setaani bwalabikira mu ngeri gye yanyoolanyoolamu ebigambo bya Yakuwa. ‘Ddala Katonda yagamba nti temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?’ bw’atyo bwe yabuuza Kaawa. Setaani yeefuula ng’omuntu eyali yeewuunyizza ennyo, ng’alinga agamba nti: ‘Katonda asobola atya okukola ekintu ng’ekyo ekitali kya bwenkanya?’ Era yagattako: “Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako amaaso gammwe lwe galizibuka.” Weetegereze ebigambo bye: “Katonda amanyi.” Setaani alinga eyali agamba nti: ‘Mmanyi Katonda ky’amanyi. Mmanyi ebiruubirirwa bye, era bibi.’ (Olubereberye 2:16, 17; 3:1, 5) Eky’ennaku kiri nti, Kaawa ne Adamu tebeesamba ddoboozi ly’omuntu gwe baali tebamanyi. Mu kifo ky’ekyo, baaliwuliriza era ne beereetako emitawaana awamu n’ezzadde lyabwe.—Abaruumi 5:12, 14.
9. Lwaki twandisuubidde eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa okuwulirwa leero?
9 Setaani akozesa engeri ze zimu okubuzaabuza abantu ba Katonda leero. (Okubikkulirwa 12:9) Ye “kitaawe w’obulimba,” era n’abo abamufaanana, abagezaako okubuzaabuza abaweereza ba Katonda, baana be. (Yokaana 8:44) Ka twekenneenye ezimu ku ngeri eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa gye liyinza okuwulirwamu leero.
Engeri Eddoboozi ly’Abantu Abatamanyiddwa gye Liwulirwamu Leero
10. Ngeri ki emu eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa gye liwulirwamu?
10 Endowooza ez’obulimba. Omutume Pawulo agamba: ‘Temutwalirizibwa kuyigiriza okw’engeri ennyingi okuggya.’ (Abaebbulaniya 13:9) Kuyigiriza kwa ngeri ki? Okuva okuyigiriza okwo gye kusobola ‘okututwaliriza,’ kiba kitegeerekeka bulungi nti Pawulo ayogera ku njigiriza ezisobola okutunafuya mu by’omwoyo. Baani abaleeta okuyigiriza okwo? Pawulo yagamba ekibiina ky’abakadde Abakristaayo: “Era mu mmwe mwekka muliva abantu nga boogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ennyuma waabwe.” (Ebikolwa 20:30) Mazima ddala, nga bwe kyali mu kiseera kya Pawulo, leero, abantu abamu abaaliko mu kibiina Ekikristaayo, bagezaako okubuzaabuza endiga nga boogera “ebigambo ebikyamye,” kwe kugamba, ebirabika ng’eby’amazima ate ebirala nga bulimba ddala obw’enkukunala. Nga omutume Peetero bw’agamba, bakozesa ‘ebigambo ebikyamye’—ebigambo ebyefaananyirizaako amazima naye nga tebiriimu kalungi.—2 Peetero 2:3.
11. Ebigambo ebiri mu 2 Peetero 2:1, 3 byanika bitya enkola n’ebiruubirirwa bya bakyewaggula?
11 Peetero yeeyongera okwanika enkola ya bakyewaggula ng’agamba nti ‘baliyigiriza mu nkiso obukyamu obuzikiriza.’ (2 Peetero 2:1, 3) Ng’omubbi ayogerwako mu lugero lwa Yesu olw’ekisibo ky’endiga bw’atayingirira ‘mu mulyango naye n’ayingirira awalala,’ bwe batyo ne bakyewaggula batutuukirira mu ngeri ya bukujukuju. (Abaggalatiya 2:4; Yuda 4) Balina kiruubirirwa ki? Peetero ayongera n’agamba: ‘Balibalimbalimba.’ Mazima ddala, ka kibe ki bakyewaggula kye bayinza okugamba, balina kigendererwa kya ‘kubba, kutta na kuzikiriza.’ (Yokaana 10:10) Weegendereze abantu ng’abo abatamanyiddwa!
12. (a) Mikwano gyaffe gisobola gitya okutuleetera okuwulira eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa? (b) Kufaanagana ki okuliwo leero wakati w’obukoddyo bwa Setaani n’obw’abantu abatamanyiddwa?
12 Emikwano emibi. Eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa lisobola okuwulirwa okuyitira mu abo be tukolagana nabo. Okusingira ddala emikwano emibi gy’akabi eri abavubuka. (1 Abakkolinso 15:33) Kijjukire nti, Setaani yatuukirira Kaawa—eyali omuto mu myaka era nga talina bumanyirivu nga Adamu bwe yalina. Yamumatiza nti Yakuwa yali amukugira, ng’ate si bwe kyali. Yakuwa yali ayagala nnyo abantu be yatonda era ng’abafaako. (Isaaya 48:17) Mu ngeri y’emu, leero, abantu abatamanyiddwa bagezaako okubamatiza mmwe abavubuka nti bazadde Abakristaayo bammwe babakugira nnyo. Abantu ng’abo basobola kubakolako ki? Omuwala omu Omukristaayo agamba: “Bayizi bannange baanafuyamu okukkiriza kwange. Baŋŋambanga nti eddiini yange ekugira nnyo era nti tetegeerekeka.” Kyokka, ekituufu kiri nti, bazadde bo bakwagala. N’olwekyo, bayizi banno bwe bagezaako okukusendasenda olekere awo okwesiga bazadde bo, tokkiriza kubuzaabuzibuzibwa nga Kaawa.
13. Kiki eky’amagezi Dawudi kye yakola, era tusobola kumukoppa tutya?
13 Dawudi omuwandiisi wa Zabbuli ayogera bw’ati ku mikwano emibi: “Saatulanga wamu na bantu abataliimu; so ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa.” (Zabbuli 26:4) Weetegereza engeri endala ey’abantu abatamanyiddwa? Bakuusakuusa—nga Setaani naye bwe yakweka ky’ali ng’akozesa omusota. Leero abantu abamu ababi bakweka kye bali n’ebiruubirirwa byabwe nga bakozesa Internet. Ku mikutu gya Internet, abantu abakulu bayinza n’okweyita abavubuka basobole okusuula abavubuka mu kyambika. Abavubuka, musabibwa okwegendereza ennyo muleme okutuusibwako akabi mu by’omwoyo.—Zabbuli 119:101; Engero 22:3.
14. Ebiseera ebimu, emikutu gy’eby’empuliziganya gisaasaanya gitya eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa?
14 Okwogerwako eby’obulimba. Wadde ng’amawulire agamu agakwata ku Bajulirwa ba Yakuwa tegabaamu kyekubiira, oluusi emikutu egy’empuliziganya gikozesebwa okusaasaanya eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa. Ng’ekyokulabirako, mu nsi emu amawulire gaagamba nti Abajulirwa baawagira obufuzi bwa Hitler mu kiseera kya Ssematalo ow’okubiri. Mu nsi endala, alipoota yagamba nti Abajulirwa bamenya amakanisa. Mu nsi nnyingi, emikutu gy’empuliziganya gigamba nti Abajulirwa bagaana okujjanjaba abaana baabwe era nti mu bugenderevu babuusa amaaso ebibi eby’amaanyi ebiba bikoleddwa bakkiriza bannaabwe. (Matayo 10:22) Wadde kiri kityo, abantu abeesigwa abatumanyi obulungi bakitegeera nti ebigambo ng’ebyo bya bulimba.
15. Lwaki si kya magezi okukkiriza buli kimu ekyogerwa ku mikutu gy’empuliziganya?
15 Kiki kye twandikoze singa abantu abatamanyiddwa batwogerako eby’obulimba? Kiba kirungi okugoberera okubuulira okuli mu Engero 14:15: “Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.” Tekiba kya magezi okukkiriza buli kimu ekyogerwa ku mikutu gy’empuliziganya. Wadde nga tetubuusabuusa byonna bye boogera mu nsi, naye era tukimanyi nti ‘ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.’—1 Yokaana 5:19.
“Mukemenga Emyoyo”
16. (a) Engeri endiga gye zeeyisaamu eraga etya obutuufu bw’ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 10:4? (b) Kiki Baibuli ky’etukubiriza okukola?
16 Naye, tusobola tutya okumanya obanga tukolagana n’omuntu omulungi oba omubi? Yesu yagamba nti endiga zigoberera omusumba waazo ‘kubanga zimanyi eddoboozi lye.’ (Yokaana 10:4) Endabika y’omusumba si y’ereetera endiga okumugoberera, wabula eddoboozi lye. Ekitabo ekikwata ku nsi ezoogerwako mu Baibuli kigamba nti lumu omugenyi yagamba nti endiga zimanya omusumba waazo olw’engeri gy’aba ayambaddemu so si olw’eddoboozi lye. Omusumba ye yagamba nti zimanya ddoboozi lye. Okusobola okukakasa ekyo, omusumba yawanyisa engoye ze n’omugenyi oyo. Ng’ayambadde engoye z’omusumba, omugenyi yayita endiga, naye tezaagenda gy’ali. Zaali tezimanyi ddoboozi lye. Kyokka, omusumba bwe yaziyita, wadde nga yali ayambadde engoye endala, amangu ago endiga zaagenda eri omusumba. Bwe kityo, omuntu ayinza okulabika ng’omusumba, naye ekyo tekireetera ndiga kumutwala kuba musumba waazo. Endiga zeekenneenya eddoboozi ly’oyo aba aziyita era ne zirigeraageranya n’ery’omusumba. Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okukola ekintu kye kimu—“mukemenga emyoyo oba nga gyava eri Katonda.” (1 Yokaana 4:1; 2 Timoseewo 1:13) Kiki ekinaatuyamba okukola ekyo?
17. (a) Tusobola tutya okumanya eddoboozi lya Yakuwa? (b) Bwe tumanya eddoboozi lya Yakuwa kitusobozesa kukola ki?
17 Ekituufu kiri nti, gye tukoma okumanya eddoboozi lya Yakuwa, oba obubaka bwe, era gye tuyinza n’okukoma okumanya amangu eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa. Baibuli eraga engeri gye tufunamu okumanya ng’okwo. Egamba nti: “Amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti, lino lye kkubo, mulitambuliremu.” (Isaaya 30:21) “Ekigambo” ekyo ekiri emabega waffe kiva mu Kigambo kya Katonda. Buli lwe tusoma Ekigambo kya Katonda, mu ngeri ey’akabonero, tuwulira eddoboozi ly’Omusumba waffe Asinga Obukulu, Yakuwa. (Zabbuli 23:1) N’olwekyo, gye tukoma okusoma Baibuli, gye tukoma okumanya eddoboozi lya Katonda. Okumanya eddoboozi lye kutusobozesa okutegeera amangu eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa.—Abaggalatiya 1:8.
18. (a) Okumanya eddoboozi lya Yakuwa kizingiramu ki? (b) Okusinziira ku Matayo 17:5, lwaki twandigondedde eddoboozi lya Yesu?
18 Okumanya eddoboozi lya Yakuwa kizingiramu ki ekirala? Ng’oggyeko okuliwulira, olina n’okuligondera. Nate weetegereze Isaaya 30:21. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Lino lye kkubo.” Yee, okuyitira mu kusoma Baibuli, tufuna obulagirizi bwa Yakuwa. Ate era atulagira bw’ati: “Mulitambuliremu.” Yakuwa ayagala tukolere ku ebyo bye tuwulira. N’olwekyo, bwe tuteeka mu nkola bye tuyiga, tuba tulaga nti tetuwulidde buwulizi ddoboozi lya Yakuwa naye era tuligondedde. (Ekyamateeka 28:1) Okugondera eddoboozi lya Yakuwa era kitegeeza okugondera eddoboozi lya Yesu, kubanga Yakuwa kennyini ye yatugamba okukola bwe tutyo. (Matayo 17:5) Kiki Yesu, Omusumba Omulungi ky’atugamba okukola? Atugamba okufuula abantu abayigirizwa era n’okwesiga ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45; 28:18-20) Okugondera eddoboozi lye kitusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.—Ebikolwa 3:23.
“Zirimudduka”
19. Kiki kye tusaanidde okukola singa tuwulira eddoboozi ly’abantu be tutamanyi?
19 Kati olwo, kiki kye twandikoze bwe tuwulira eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa? Twandikoze ekyo endiga kye zikola. Yesu agamba: “Omulala [gwe zitamanyi] tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi.” (Yokaana 10:5) Tulina okukola ebintu bya mirundi ebiri. Okusooka, tetujja ‘kugoberera muntu atamanyiddwa.’ Mazima ddala, twesambira ddala omuntu gwe tutamanyi. Mu butuufu, mu lulimu Oluyonaani olwakozesebwa okuwandiika Baibuli, ebigambo ebyakozesebwa mu lunyiriri olwo biraga nti tulina okwesambira ddala omuntu atamanyiddwa. (Matayo 24:35; Abaebbulaniya 13:5) Ekyokubiri, ‘tujja kumudduka,’ oba okumuvaako. Ekyo kye kintu kyokka ekituufu kye tusaanidde okukola singa wabaawo abayigiriza ebintu ebitakwatagana na ddoboozi ly’Omusumba Omulungi.
20. Kiki kye tunaakola singa twolekagana ne (a) bakyewaggula aboogera eby’obulimba, (b) emikwano emibi, (c) amawulire agalimu kyekubiira?
20 N’olwekyo singa twolekagana n’abo abooleka endowooza za bakyewaggula, tujja kukola ekyo Ekigambo kya Katonda kye kigamba: ‘Mutunuulirenga abo abaleeta eby’okwawukanya n’eby’okwesittaza, ebitali bya kuyigiriza kwe mwayiga; mubakubenga amabega abo.’ (Abaruumi 16:17; Tito 3:10) Mu ngeri y’emu, abavubuka Abakristaayo abayinza okutwalirizibwa emikwano emibi balina okugoberera okubuulira Pawulo kwe yawa omuvubuka Timoseewo: ‘Okwegomba okw’omu buvubuka okuddukanga.’ Ate era bwe twogerwako eby’obulimba okuyitira mu mikutu gy’eby’empuliziganya, tujja kujjukira amagezi Pawulo ge yawa Timoseewo nti: ‘[Abo abawulira eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa] baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo. Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna.’ (2 Timoseewo 2:22; 4:3-5) Abantu abatamanyiddwa ne bwe banaakozesa eddoboozi essenekerevu, tujja kudduka ekintu kyonna kye banaakozesa ekiyinza okunafuya okukkiriza kwaffe.—Zabbuli 26:5; Engero 7:5, 21; Okubikkulirwa 18:2, 4.
21. Mpeera ki abo abeesamba eddoboozi ly’abantu be batamanyi gye bajja okufuna?
21 Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe beesamba eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa, baba bagondera eddoboozi ly’Omusumba Omulungi eriri mu Lukka 12:32. Mu lunyiriri olwo Yesu abagamba: “Totyanga, ggwe ekisibo ekitono; kubanga Kitammwe asiima okubawa mmwe obwakabaka.” Mu ngeri y’emu, ‘ab’endiga endala’ n’abo beesunga nnyo okuwulira ebigambo bya Yesu bino nti: “Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi.” (Yokaana 10:16; Matayo 25:34) Nga tujja kufuna empeera ya kitalo singa twesamba ‘eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa’!
Ojjukira?
• Mu ngeri ki Setaani gy’atuukaganamu obulungi n’omuntu atamanyiddwa ayogerwako mu lugero lwa Yesu olw’ekisibo ky’endiga?
• Eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa liwulirwa litya leero?
• Tusobola tutya okumanya eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa?
• Kiki kye tusaanidde okukola singa tuwulira eddoboozi ly’abantu abatamanyiddwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Kiki kye tukola bwe tuwulira eddoboozi ly’abantu be tutamanyi?