2 Peetero
2 Kyokka era wajjawo bannabbi ab’obulimba mu bantu, ng’era bwe wajja okujjawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe.+ Era mu nkiso bajja kuleetera abantu okwekutulakutulamu obubiina obw’omutawaana era bajja kwegaana mukama waabwe eyabagula,+ beereeteko okuzikirira okw’amangu. 2 Ate era bangi bajja kugoberera ebikolwa byabwe eby’obugwagwa,*+ n’ekinaavaamu, ekkubo ery’amazima lijja kwogerwako bubi.+ 3 Era olw’omululu gwabwe, bajja kubafunamu bye baagala nga bakozesa ebigambo eby’obulimba. Naye, omusango ogwabasalirwa edda+ tegulirwa era okuzikirizibwa kwabwe tekulirema kujja.+
4 Katonda teyalema kubonereza bamalayika abaayonoona,+ naye yabasuula mu Tatalo,*+ n’abasiba enjegere mu kizikiza* ekikutte ennyo nga balindirira omusango ogwabasalirwa.+ 5 Era teyalema kubonereza nsi ey’edda,+ naye yawonya Nuuwa omubuulizi w’obutuukirivu+ n’abalala musanvu,+ bwe yaleeta amataba ku nsi ey’abantu abatatya Katonda.+ 6 Era yasalira ebibuga Sodomu ne Ggomola omusango n’abifuula vvu,+ n’alaga ekyo ekinaatuuka ku bantu abatatya Katonda.+ 7 Era yawonya Lutti omutuukirivu+ eyali anyolwa ennyo olw’ebikolwa eby’obugwagwa* eby’abantu abajeemu 8 (kubanga omusajja oyo omutuukirivu yalumwanga nnyo buli lunaku olw’ebikolwa eby’obujeemu bye yalabanga ne bye yawuliranga ng’abeera mu bantu abo). 9 Yakuwa* amanyi okununula abo abamwemalirako n’abaggya mu kugezesebwa,+ naye abatali batuukirivu ajja kubazikiriza ku lunaku olw’okusalirako omusango,+ 10 naddala abo abaagala okwonoona omubiri gw’abalala+ era abanyooma abo ababakulembera.+
Tebalina kye batya era bawaganyavu, tebatya kwogera bubi ku ba kitiibwa, 11 so nga bamalayika ababasinga obusobozi n’amaanyi, tebabavuma nga baliko kye babavunaana, olw’okuba bassa ekitiibwa mu Yakuwa.*+ 12 Naye abantu bano, okufaananako ensolo ezitalina magezi era ezikola ebintu nga tezisoose kubirowoozaako, ezaazaalibwa okukwatibwa n’okuttibwa, bavumirira ebintu bye batamanyi.+ Bajja kuzikirizibwa olw’ekkubo lyabwe eryo ebbi lye bakutte; 13 beereetako obulumi, ng’eno ye mpeera ey’okukwata ekkubo ebbi.
Banyumirwa okuba mu bulamu obw’okwejalabya*+ mu budde obw’emisana. Abantu bano mabala era nkovu, bafuna essanyu lingi nnyo mu njigiriza zaabwe ez’obulimba ze bayigiriza nga bali wamu nammwe ku bijjulo.+ 14 Amaaso gaabwe gajjudde obwenzi,+ tebasobola kwewala kwonoona, era basendasenda abatali banywevu. Emitima gyabwe gijjudde omululu.* Baana abaakolimirwa. 15 Balese ekkubo eggolokofu ne bakyamizibwa. Bakutte ekkubo lya Balamu+ mutabani wa Byoli, eyayagala empeera y’okwonoona,+ 16 naye n’anenyezebwa olw’obutakola kituufu.+ Endogoyi etayogera bwe yayogera mu ddoboozi ly’omuntu, n’eziyiza nnabbi oyo okukwata ekkubo eritali lya magezi.+
17 Bano ze nzizi ezitaliimu mazzi, era lwe lufu olutwalibwa embuyaga ey’amaanyi, era ekizikiza ekikutte zigizigi kibaterekeddwa.+ 18 Boogera ebigambo eby’okwewaana ebitaliimu nsa, era okuyitira mu kwegomba kw’omubiri+ ne mu mpisa ez’obugwagwa,* basendasenda abo abaakamala okwekutula ku bantu abeeyisa obubi.+ 19 Wadde nga babasuubiza eddembe, bo bennyini baddu ba mpisa mbi.+ Kubanga buli awangulwa omuntu aba muddu we.*+ 20 Mazima ddala, bwe bava mu bwonoonefu bw’ensi+ oluvannyuma lw’okutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi, Yesu Kristo, ate ne babuddamu era ne bawangulwa, embeera yaabwe ey’oluvannyuma eba mbi nnyo okusinga eyasooka.+ 21 Kyandisinzeeko singa tebaategeera kkubo lya butuukirivu okusinga okulitegeera ate ne bava ku kiragiro ekitukuvu ekyabaweebwa.+ 22 Ebigambo ebiri mu lugero olw’amazima bituukiridde ku bo: “Embwa eddidde ebisesemye byayo, n’embizzi enaaziddwa ezzeemu okwevulunga mu ttosi.”+