Okulwanirira Amawulire Amalungi mu Mateeka
“OMUSAJJA oyo kibya kye nnonze okutwala erinnya lyange eri ab’amawanga, [n’eri] bakabaka.” (Bik. 9:15) Mukama waffe Yesu yayogera ebigambo ebyo ng’ayogera ku musajja Omuyudaaya eyali yaakafuuka Omukristaayo, oluvannyuma eyayitibwa omutume Pawulo.
Omu ku “bakabaka” Pawulo gye yalina okutuusa obubaka yali empula wa Rooma ayitibwa Nero. Wandiwulidde otya singa obadde olina okugenda mu maaso g’omufuzi ng’oyo okulwanirira okukkiriza kwo? Abakristaayo bakubirizibwa okukoppa Pawulo. (1 Kol. 11:1) Kati ka tulabe ebyo bye tuyinza okuyigira ku ngeri Pawulo gye yalwaniriramu amawulire amalungi mu kiseera kye.
Amateeka ga Musa ge gaali gafuga mu ggwanga lya Isirayiri, era abantu mu ddiini y’Ekiyudaaya ge baali bagoberera. Oluvannyuma lw’olunaku lwa Pentekooti 33 E.E., abaweereza ba Katonda ab’amazima kyali tekikyabeetaagisa kukwata Mateeka ga Musa. (Bik. 15:28, 29; Bag. 4:9-11) Wadde kyali kityo, Pawulo n’Abakristaayo abalala tebaavumiriranga Mateeka ago, era ekyo kyabayamba okubuulira mu bitundu bingi ebyalimu Abayudaaya awatali kutaataaganyizibwa. (1 Kol. 9:20) Mu butuufu, emirundi mingi Pawulo yagendanga mu makuŋŋaaniro n’awa obujulirwa mu maaso g’abantu abaali bamanyi ebikwata ku Katonda wa Ibulayimu, era n’akubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.—Bik. 9:19, 20; 13:5, 14-16; 14:1; 17:1, 2.
Abatume baasalawo omulimu gw’okubuulira gutandikire mu Yerusaalemi. Buli lunaku baayigirizanga mu yeekaalu. (Bik. 1:4; 2:46; 5:20) Emirundi egimu, Pawulo yagendanga mu Yerusaalemi, era ekiseera kyatuuka ne bamukwata ne bamusiba. Awo we yatandikira okulwanirira amawulire amalungi mu mateeka era okukkakkana ng’atuuse e Rooma.
PAWULO N’AMATEEKA GA ROOMA
Ndowooza ki ab’obuyinza mu Rooma gye bayinza okuba nga baalina ku ebyo Pawulo bye yabuuliranga? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, twetaaga okumanya engeri Abaruumi gye baatwalangamu amadiini. Abaruumi tebaakakanga bantu mu bwakabaka bwa Rooma kuva mu madiini gaabwe okuleka ng’eddiini gye balimu bagyekengedde.
Ab’obuyinza mu Rooma baawa Abayudaaya eddembe lingi okusinga amawanga amalala agaali mu bwakabaka bwa Rooma. Ekitabo ekiyitibwa Backgrounds of Early Christianity kigamba nti: “Eddiini y’Ekiyudaaya yaweebwa eddembe lingi mu bwakabaka bwa Rooma. . . . Abayudaaya baaweebwa eddembe okusinza nga bwe baagala era tebaakakibwanga kusinza bakatonda ba Rooma. Baalina eddembe okugobereranga amateeka gaabwe.” Ate era tebaakakibwanga kuyingira magye.a Pawulo yali asobola okulwanirira Obukristaayo mu mateeka ng’akozesa eddembe amateeka ga Rooma lye gaawa eddiini y’Ekiyudaaya.
Abalabe ba Pawulo baakola kyonna ekisoboka okuleetera abantu n’ab’obuyinza okukyawa Pawulo. (Bik. 13:50; 14:2, 19; 18:12, 13) Lumu, abakadde mu kibiina ky’e Yerusaalemi baawulira oluvuuvuumo nti Pawulo yali ayigiriza Abayudaaya abaali mu b’amawanga “okuleka Amateeka ga Musa.” Ebigambo ebyo byali bisobola okuleetera Abayudaaya abamu abaali baakafuuka Abakristaayo okulowooza nti Pawulo yali tawa kitiibwa nteekateeka za Katonda. Ate era olukiiko olukulu olw’Abayudaaya lwali lusobola okugamba nti Abakristaayo baali beewaggudde ku ddiini y’Ekiyudaaya. Singa ekyo kyaliwo, Abayudaaya bonna abandibadde bafuuse Abakristaayo bandibonerezeddwa. Bandibadde baboolebwa era ne bagaanibwa okuddamu okubuulira mu yeekaalu ne mu makuŋŋaaniro. Bwe kityo, abakadde mu kibiina ky’e Yerusaalemi baagamba Pawulo akakase nti ebyo bye baali bamwogerako tebyali bituufu. Baamugamba agende mu yeekaalu akole ekintu Katonda kye yali tamwetaagisa kukola naye ng’ate tekimenya mateeka ga Katonda.—Bik. 21:18-27.
Ekyo Pawulo yakikola, era ne kimuwa akakisa ‘okulwanirira amawulire amalungi n’okuganyweza okuyitira mu mateeka.’ (Baf. 1:7) Abayudaaya abaali mu yeekaalu beegugunga era baayagala okutta Pawulo. Omukulu w’eggye lya Rooma yakwata Pawulo n’amusiba. Bwe baali bateekateeka okukuba Pawulo, Pawulo yabagamba nti, yali mutuuze wa Rooma. Bwe kityo baasalawo okutwala Pawulo e Kayisaaliya Abaruumi gye baasinziiranga okufuga ebitundu bya Buyudaaya. Ng’ali eyo, Pawulo yafuna akakisa okuwa obujulirwa eri ab’obuyinza. Oboolyawo ku mulundi ogwo abantu bangi abaali batawulirangako ku njigiriza z’Abakristaayo lwe baasooka okuziwulirako.
Ebikolwa by’Abatume essuula 24 eyogera ku Pawulo ng’awozesebwa mu maaso ga Ferikisi, gavana Omuruumi owa Buyudaaya, eyali yawulirako ku bikwata ku ebyo Abakristaayo bye bakkiririzaamu. Abayudaaya baasiba ku Pawulo omusango ogw’okumenya amateeka ga Rooma mu ngeri ssatu ez’enjawulo. Baagamba nti yali aleetera Abayudaaya mu bwakabaka bwa Rooma okujeemera gavumenti; yali akulembera akabiina ak’obulabe; era nti yali agezaako okutyoboola yeekaalu, eyali mu mikono gy’Abaruumi. (Bik. 24:5, 6) Emisango egyo gye baamusibako gyali gisobola okumuviirako okuttibwa.
Kikulu nnyo eri Abakristaayo leero okumanya engeri Pawulo gye yakwatamu embeera nga bamusibyeko emisango egyo. Pawulo yasigala nga mukkakkamu era ng’assa ekitiibwa mu balala. Pawulo yajuliza Amateeka ne bannabbi n’alaga nti yalina eddembe okusinza ‘Katonda wa bajjajjaabe.’ Eddembe eryo Abayudaaya bonna baalirina. (Bik. 24:14) Oluvannyuma Pawulo yasobola okulwanirira okukkiriza kwe mu maaso ga gavana omulala eyali ayitibwa Polukiyo Fesuto, era ne mu maaso ga Kabaka Kerode Agulipa.
Olw’okuba Pawulo yali ayagala awozesebwe mu ngeri ey’obwenkanya, yagamba nti: “Njulira Kayisaali!”—omufuzi eyali asingayo obuyinza mu kiseera ekyo.—Bik. 25:11.
PAWULO AWOZESEBWA MU KOOTI YA KAYISAALI
Oluvannyuma malayika yagamba Pawulo nti: “Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali.” (Bik. 27:24) Ku ntandikwa y’obufuzi bwe, empula wa Rooma Nero yagamba nti yali tajja kuwozesa misango gyonna yekka. Mu myaka omunaana egyasooka egy’obufuzi bwe, emisango egisinga obungi yagikwasanga abalala okugiwozesa. Ekitabo ekiyitibwa The Life and Epistles of Saint Paul kigamba nti Nero bwe yakkirizanga okuwozesa omusango, ekyo yakikoleranga mu lubiri lwe, era waabangawo abantu ab’ebitiibwa era abaalina obumanyirivu abaamuyambangako.
Bayibuli teraga obanga Nero yawozesa butereevu Pawulo oba nga yakozesa muntu mulala okuwozesa Pawulo oluvannyuma omuntu oyo n’amubuulira engeri ebintu gye byali bitambuddemu. Ka kibe ki ekyaliwo, Pawulo ateekwa okuba nga yakiraga bulungi nti yali asinza Katonda w’Abayudaaya era nti yali akubiriza n’abantu okugondera ab’obuyinza. (Bar. 13:1-7; Tit. 3:1, 2) Kirabika Pawulo yasobola bulungi okulwanirira amawulire amalungi ng’ali mu maaso g’abantu ab’ebitiibwa, kubanga Ebyawandiikibwa biraga nti kooti ya Kayisaali yamuta.—Baf. 2:24; Fir. 22.
TULINA OKULWANIRIRA AMAWULIRE AMALUNGI
Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, bube obujulirwa gye bali n’eri amawanga.” (Mat. 10:18) Nkizo ya maanyi okukiikirira Yesu mu ngeri eyo. Bwe tufuba okulwanirira amawulire amalungi mu mateeka tusobola okutuuka ku buwanguzi. Kya lwatu nti ennamula y’abantu tesobola kunyweza mawulire malungi mu mateeka mu ngeri etuukiridde. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okuleeta obuweerero n’obwenkanya ebya nnamaddala.—Mub. 8:9; Yer. 10:23.
Ne leero, Abakristaayo bwe bafuba okulwanirira okukkiriza kwabwe mu mateeka, kisobola okuviirako erinnya lya Yakuwa okugulumizibwa. Okufaananako Pawulo, bwe tuba tulwanirira okukkiriza kwaffe, tusaanidde okuba abakkakkamu, abeesimbu, era bye twogera birina okuba nga bimatiza abawuliriza. Yesu yagamba abayigirizwa be nti tekyandibeetaagisizza ‘kusookanga kwegezaamu bye banaawoza, kubanga yandibawadde ebigambo n’amagezi abalabe baabwe bonna bye batandisobodde kuziyiza oba kuwakanya.’—Luk. 21:14, 15; 2 Tim. 3:12; 1 Peet. 3:15.
Abakristaayo bwe balwanirira okukkiriza kwabwe mu maaso ga bakabaka, bagavana, oba mu maaso g’abakungu abalala, kisobola okuwa abantu abamu akakisa okuwulira obubaka Abakristaayo bwe babuulira, oboolyawo nga tebandisobodde kubuwulirako singa ekyo tekibaddewo. Ensala ya kooti ezimu esobozesezza abantu mu bitundu ebitali bimu okuweebwa eddembe ery’okusinza n’okubuulira. Naye ka kibe ki ekiba kivuddemu, abantu ba Katonda bwe booleka obuvumu ne balwanirira okusinza okw’amazima, kisanyusa nnyo Katonda.
a Omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa James Parkes yagamba nti: “Abayudaaya . . . baalina eddembe okukuza emikolo gyabwe. Naye ekyo tekyewuunyisa kubanga Abaruumi baawanga abantu mu bitundu ebitali bimu eby’obwakabaka bwa Rooma eddembe okukola ebyo bye baagala.”