Okusiimibwa Katonda Kisobozesa Omuntu Okufuna Obulamu Obutaggwaawo
“Oliwa omutuukirivu omukisa; Ai Mukama, olimwetoolooza ekisa ng’engabo.”—ZAB. 5:12.
1, 2. Kiki Eriya kye yasaba nnamwandu w’e Zalefaasi okukola, era yamukakasa ki?
NNAMWANDU w’e Zalefaasi awamu ne mutabani we enjala yali ebaluma, kyokka nga ne nnabbi wa Katonda naye emuluma. Nnamwandu ono bwe yali ateekateeka okufumba akamere ke, nnabbi Eriya yamusaba amuwe ku mazzi n’emmere. Yali mwetegefu okumuwa amazzi, naye emmere gye yalinawo yali ntono nnyo, “olubatu lw’obutta mu ppipa n’otufuta mu kasumbi.” Nnamwandu oyo yali awulira nga talina busobozi kuliisa nnabbi oyo, era ekyo yakimutegeeza.—1 Bassek. 17:8-12.
2 Wadde kyali kityo, Eriya yamugamba nti: “Sooka obunfumbiremu akagaati, okaleete gye ndi, oluvannyuma weefumbire wekka n’omwana wo. Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey’obutta terikendeera so n’akasumbi k’amafuta tekaliggwaawo.”—1 Bassek. 17:13, 14.
3. Kintu ki ekikulu buli omu ku ffe ky’alina okusalawo?
3 Waliwo ekintu ekikulu ennyo nnamwandu ono kye yalina okusalawo ekyali kisingawo ku kugabana obugabanyi akamere ke ne nnabbi. Yandyesize Yakuwa okumulabirira awamu ne mutabani we, oba yandikulembezza byetaago bye eby’omubiri mu kifo ky’okusiimibwa Yakuwa n’okufuna enkolagana ennungi naye? Naffe twolekaganye n’okusalawo ng’okwo. Tunaakiraga nti twagala nnyo okusiimibwa Yakuwa okusinga okwenoonyeza ebintu? Tulina ensonga nnyingi ezanditukubirizza okwesiga Katonda n’okumuweereza. Era waliwo ebintu bye tulina okukola okusobola okusiimibwa Katonda.
‘Osaanidde Okusinzibwa’
4. Lwaki Yakuwa agwanidde okusinzibwa?
4 Abantu bonna bagwanidde okuweereza Yakuwa nga bw’ayagala. Kino kyeyoleka bulungi mu bigambo by’abaweereza be ab’omu ggulu abaagamba nti: “Osaanidde ggwe Yakuwa, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’obuyinza kubanga, watonda ebintu byonna, era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.” (Kub. 4:11) Olw’okuba ye yatonda ebintu byonna, Yakuwa agwanidde okusinzibwa.
5. Lwaki okwagala Katonda kw’atulaze kwanditukubirizza okumuweereza?
5 Ensonga endala lwaki tusaanidde okuweereza Yakuwa eri nti atulaze okwagala okw’amaanyi ennyo. Bayibuli egamba nti: “Katonda n’atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n’omukazi bwe yabatonda.” (Lub. 1:27) Omuntu yatondebwa ng’alina eddembe okwesalirawo okuweereza Katonda oba obutamuweereza. Olw’okuba y’ensibuko y’obulamu, Yakuwa ye Kitaawe w’abantu bonna. (Luk. 3:38) Okufaananako taata omulungi, Katonda akoze buli kimu ekyetaagisa okulaba nti abaana be banyumirwa obulamu. ‘Ayakisa omusana gwe era atonnyesa enkuba ye,’ ensi esobole okubaako emmere nnyingi era esobole okubeera ekifo ekirabika obulungi ennyo.—Mat. 5:45.
6, 7. (a) Kiki Adamu kye yafiiriza abaana be? (b) Ssaddaaka ya Kristo eneeganyula etya abo abasiimibwa Katonda?
6 Yakuwa era yatununula okuva mu kibi. Adamu bwe yayonoona, yafaananako ssemaka akwata ssente ze yandikozesezza okulabirira ab’omu maka ge n’azikubamu zzaala. Bwe yajeemera Yakuwa, Adamu yafiiriza abaana be essanyu ery’olubeerera. Mu kukola bw’atyo, yaleetera abantu bonna okufuuka abatatuukiridde. Abantu bonna kati balwala, babonaabona, era oluvannyuma bafa. Okusobola okununula omuddu, wateekwa okubaawo ekisasulwa. Bw’atyo Yakuwa yasasula omuwendo ogwali gwetaagisa okusobola okutuggya mu mitawaana egyo. (Soma Abaruumi 5:21.) Ng’akolera ku ekyo Kitaawe kye yali ayagala, Yesu Kristo yawaayo “obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Mat. 20:28) Mu kiseera ekitali kya wala abo bonna abasiimibwa Katonda bajja kufuna emiganyulo gy’ekinunulo mu bujjuvu.
7 Ekyo Omutonzi waffe, Yakuwa, ky’atukoledde okutuyamba okufuna obulamu obw’essanyu era obw’ekigendererwa kisingira wala ekyo omuntu omulala yenna kye yali atukoledde. Bwe tusigala nga tusiimibwa mu maaso ge, tujja kusobola okulaba engeri gy’ajja okumalawo ebizibu byonna abantu bye balina. Yakuwa ajja kweyongera okulaga buli omu ku ffe nti ddala “y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.”—Beb. 11:6.
“Abantu Bo Beewaayo n’Omwoyo Ogutawalirizibwa”
8. Bwe kituuka ku kuweereza Yakuwa, ebyo bye tusoma ku Isaaya bituyigiriza ki?
8 Okusobola okusiimibwa Katonda twetaaga okukozesa obulungi eddembe lyaffe ery’okwesalirawo. Kino kiri bwe kityo kubanga Yakuwa takaka muntu yenna kumuweereza. Mu kiseera kya Isaaya, Katonda yabuuza nti: ‘Nnaatuma ani, era anaatugendera ani?’ Yakuwa yawa nnabbi oyo ekitiibwa ng’alaga nti yalina eddembe okwesalirawo. Lowooza ku ngeri Isaaya gye yawuliramu ng’addamu nti: “Nze nzuuno: ntuma nze.”—Is. 6:8.
9, 10. (a) Katonda tusaanidde kumuweereza tutya? (b) Lwaki tusaanidde okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna?
9 Abantu balina eddembe okusalawo okuweereza Katonda oba obutamuweereza. Yakuwa ayagala tumuweereze awatali kuwalirizibwa. (Soma Yoswa 24:15.) Katonda tasiima abo abamuweereza olw’obuwaze wadde abo abamuweereza olw’okwagala okusanyusa obusanyusa abantu. (Bak. 3:22) Singa tukkiriza ebintu by’ensi okutulemesa okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna, Katonda tajja kutusiima. (Kuv. 22:29) Yakuwa akimanyi nti bwe tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna, ffe tuganyulwa. Musa yakubiriza Abaisiraeri okweroboza obulamu ‘nga baagala Yakuwa Katonda waabwe, nga bamugondera, era nga bamunywererako.’—Ma. 30:19, 20.
10 Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yayimbira Yakuwa ng’agamba nti: “Abantu bo beewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo: Mu bulungi obw’obutukuvu, olina omusulo ogw’obuvubuka bwo, oguva mu lubuto lw’enkya.” (Zab. 110:3) Leero, abantu bangi eby’obugagga n’eby’amasanyu bye bakulembeza mu bulamu bwabwe. Kyokka abo abaagala Yakuwa, obuweereza obutukuvu bwe bakulembeza mu bulamu bwabwe. Obunyiikivu bwe booleka mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi bulaga ekyo kye basinga okutwala ng’ekikulu. Obwesige bwabwe bwonna babutadde mu Yakuwa nga bakimanyi nti asobola okukola ku byetaago byabwe.—Mat. 6:33, 34.
Ssaddaaka Ezisiimibwa Katonda
11. Abaisiraeri baaganyulwanga batya mu kuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa?
11 Abantu ba Katonda abaali wansi w’endagaano y’Amateeka, baalinanga okuwaayo ssaddaaka ezisiimibwa Katonda. Eby’Abaleevi 19:5 wagamba nti: “Bwe munaawangayo ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, munaagiwangayo era mukkirizibwe.” Mu kitabo kye kimu ekyo ekya Bayibuli, tusoma nti: “Bwe munaawangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Mukama, munaagiwangayo mulyoke mukkirizibwe.” (Leev. 22:29) Abaisiraeri bwe baawangayo ssaddaaka ezisiimibwa ku kyoto kya Yakuwa, omukka ogwazivangamu gwabanga ‘ng’evvumbe eddungi’ eri Katonda. (Leev. 1:9, 13) Yawuliranga bulungi nnyo olw’okuba ssaddaaka ezo zaalaganga nti abantu be bamwagala. (Lub. 8:21) Mu Mateeka gano, mulimu omusingi ogutukwatako ne leero. Abo abawaayo ssaddaaka ezisiimibwa, Yakuwa abasiima. Ssaddaaka ki z’asiima? Lowooza ku bintu bino ebibiri: enneeyisa yaffe n’ebyo bye twogera.
12. Bintu ki ebiyinza okuleetera ‘emibiri gyaffe okuba ssaddaaka’ etesiimibwa Katonda?
12 Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, omutume Pawulo yagamba nti: “[Muweeyo] emibiri gyammwe okuba ssaddaaka ennamu, entukuvu, esiimibwa Katonda, mu ngeri eyo mutuukirize obuweereza obutukuvu nga mukozesa amagezi gammwe.” (Bar. 12:1) Okusobola okusiimibwa Katonda, omuntu alina okufuba okukuuma omubiri gwe nga muyonjo. Singa omuntu ayonoona omubiri gwe ng’anywa sigala, enjaga, ng’alya amayirungi, oba nga yeekamirira omwenge, Katonda tasobola kusiima ssaddaaka ye. (2 Kol. 7:1) Ate era okuva bwe kiri nti oyo “ayenda, akola ekibi ku mubiri gwe,” omuntu eyeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu eby’engeri yonna, obuweereza bwe Yakuwa tabusiima. (1 Kol. 6:18) Okusobola okusanyusa Katonda, omuntu ateekwa ‘okuba omutukuvu mu nneeyisa ye yonna.’—1 Peet. 1:14-16.
13. Lwaki tulina okutendereza Yakuwa?
13 Ate era tusobola okuwaayo ssaddaaka esiimibwa Yakuwa okuyitira mu ebyo bye twogera. Abo abaagala Yakuwa bamwogerako bulungi mu lujjudde ne mu maka gaabwe. (Soma Zabbuli 34:1-3.) Soma Zabbuli 148-150, olabe engeri zabbuli zino esatu gye zitukubirizaamu okutendereza Yakuwa. Mu butuufu, “okutendereza kusaanira [abo] abalina omwoyo ogw’amazima.” (Zab. 33:1) Yesu Kristo yalaga obukulu bw’okutendereza Katonda ng’abuulira amawulire amalungi.—Luk. 4:18, 43, 44.
14, 15. Ssaddaaka ki Koseya ze yakubiriza Abaisiraeri okuwaayo, era Yakuwa yazitwalanga atya?
14 Bwe tubuulira n’obunyiikivu tuba tulaga nti twagala Yakuwa era nti twagala okusiimibwa mu maaso ge. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo nnabbi Koseya bye yagamba Abaisiraeri abaali beenyigidde mu kusinza okw’obulimba era abaali tebakyasiimibwa Katonda. (Kos. 13:1-3) Koseya yabagamba beegayirire Yakuwa nti: “Ggyawo obutali butuukirivu bwonna, okkirizeeko ebirungi: bwe tutyo tunaasasula ekiweebwayo eky’omu mimwa gyaffe, ng’ente ennume.”—Kos. 14:1, 2.
15 Ente ennume kye kisolo ekyali kisingayo okuba eky’ebbeeyi Omuisiraeri kye yali asobola okuwaayo eri Yakuwa. Bwe kityo, “ekiweebwayo eky’omu mimwa gyaffe, ng’ente ennume,” bye bigambo ebirungi omuntu bye yayogeranga ng’atendereza Katonda ow’amazima. Yakuwa yatwalanga atya abo abaawangayo ssaddaaka ng’ezo? Yagamba nti: “Ndibaagala ku bwange.” (Kos. 14:4) Abo abaawangayo ssaddaaka ng’ezo ez’okutendereza, Yakuwa yabasonyiwanga, yabasiimanga, era baafuuka mikwano gye.
16, 17. Okukkiriza bwe kukubiriza omuntu okubuulira amawulire amalungi, ssaddaaka ye Yakuwa agitwala atya?
16 Okuva edda n’edda, okutendereza Yakuwa mu lujjudde kibadde kintu kikulu nnyo mu kusinza okw’amazima. Okugulumiza Katonda ow’amazima kyali kintu kikulu nnyo eri omuwandiisi wa Zabbuli, bw’atyo yasaba Katonda nti: “Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, Ai Mukama.” (Zab. 119:108) Ate kiri kitya leero? Ng’ayogera ku bantu abandibaddewo mu kiseera kyaffe, Isaaya yalagula nti: ‘Baliranga amatendo ga Yakuwa. Ebirabo byabwe binaalinyanga ku kyoto kya Katonda ne bikkirizibwa.’ (Is. 60:6, 7) Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo, obukadde n’obukadde bw’abantu leero bawaayo eri Katonda “ssaddaaka ez’okutendereza, kwe kugamba, ekibala eky’emimwa egyatula mu lujjudde erinnya lye.”—Beb. 13:15.
17 Ate kiri kitya eri ggwe? Naawe owaayo eri Katonda ssaddaaka ezisiimibwa? Bwe kitaba kityo, waliwo enkyukakyuka zonna z’oyinza okukukola okusobola okutandika okutendereza Yakuwa mu lujjudde? Okukkiriza bwe kunaakukubiriza okutandika okubuulira amawulire amalungi, ekiweebwayo kyo kijja ‘kusanyusa Yakuwa okusinga ente ennume.’ (Soma Zabbuli 69:30, 31.) Ba mukakafu nti “akaloosa” ka ssaddaaka yo ey’okutendereza kajja kutuuka eri Yakuwa era ajja kukusiima. (Ez. 20:41) Ojja kufuna essanyu eritageraageranyizika.
‘Yakuwa Aliwa Omutuukirivu Omukisa’
18, 19. (a) Abantu bangi leero balina ndowooza ki ku kuweereza Katonda? (b) Kiki ekinaatuuka ku abo abatasiimibwa Katonda?
18 Okufaananako abantu abaaliwo mu kiseera kya Malaki, ne leero abantu bangi bagamba nti: “Okuweereza Katonda tekigasa. Kigasa ki okukola by’alagira?” (Mal. 3:14, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Beemalidde ku kwenoonyeza bintu, ekigendererwa kya Katonda balaba ng’ekitasobola kutuukirira, era n’amateeka ge bagalaba ng’agaava edda ku mulembe. Eri abantu ng’abo, okubuulira amawulire amalungi bakitwala ng’okwonoona ebiseera era ng’ekintu ekibamalako emirembe.
19 Endowooza ng’eyo yatandikira mu lusuku Adeni. Sitaani yaleetera Kaawa okulekera awo okusiima obulamu obulungi Yakuwa bwe yali amuwadde. Era yamuleetera okulekera awo okutwala eky’okusiimibwa Yakuwa ng’ekintu ekikulu. Ne leero, Sitaani agezaako okuleetera abantu okulowooza nti tekigasa kukola Katonda by’ayagala. Kyokka, Kaawa n’omwami we oluvannyuma baakitegeera nti obutasiimibwa Katonda kyali kitegeeza kufiirwa bulamu bwabwe. Mu kiseera ekitali kya wala, abo bonna abagoberera ekyokulabirako kyabwe ekibi nabo ekyo bajja kukitegeera.—Lub. 3:1-7, 17-19.
20, 21. (a) Kiki nnamwandu w’e Zalefaasi kye yakola, era biki ebyavaamu? (b) Lwaki tusaanidde okukoppa nnamwandu w’e Zalefaasi era tuyinza kumukoppa tutya?
20 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Adamu ne Kaawa n’ekyo ekyatuuka ku nnamwandu w’e Zalefaasi Eriya gwe yakyalira. Bwe yawulira ebigambo bya Eriya, nnamwandu oyo yatandikirawo okufumba n’asooka agabula nnabbi, wadde nga yalina akamere katono. Oluvannyuma Yakuwa yatuukiriza ekyo kye yali asuubizza okuyitira mu Eriya. Tusoma nti: “Omukazi naye n’ennyumba ye ne baliira ennaku nnyingi. Eppipa ey’obutta teyakendeera so n’akasumbi k’amafuta tekaggwaawo ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.”—1 Bassek. 17:15, 16.
21 Ekyo nnamwandu w’e Zalefaasi kye yakola, bangi leero si beetegefu kukikola. Yassa obwesige bwe bwonna mu Katonda ow’obulokozi, era ne Katonda teyamwabulira. Ekyokulabirako kye awamu n’ebirala ebiri mu Bayibuli biraga nti tusaanidde okwesiga Yakuwa. (Soma Yoswa 21:43-45; 23:14.) Ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayiseemu mu kiseera kyaffe nabyo bikakasa nti Yakuwa tasobola kwabulira abo abasiimibwa mu maaso ge.—Zab. 34:6, 7, 17-19.a
22. Lwaki twandifubye okusiimibwa Katonda awatali kulwa?
22 Olunaku lwa Yakuwa olw’omusango lunaatera okutuuka “ku abo bonna abali ku nsi.” (Luk. 21:34, 35) Lujja kukwata ku buli muntu. Tewali kintu kyonna kiyinza kugeraageranyizibwa ku ssanyu eriribaawo nga tuwulira Omulamuzi Katonda gw’alonze ng’agamba nti: “Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa.” (Mat. 25:34) Yee, ‘Yakuwa aliwa omutuukirivu omukisa; alimwetoolooza ekisa ng’engabo.’ (Zab. 5:12) Ekyo tekyanditukubiriza okukola kyonna ekisoboka okusobola okusiimibwa Katonda?
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 1, 2005, olupapula 11, akatundu 15; ne Watchtower eya Agusito 1, 1997, olupapula 20-25.
Okyajjukira?
• Lwaki tulina okusinza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna?
• Ssaddaaka ki Yakuwa z’asiima leero?
• “Ekiweebwayo eky’omu mimwa gyaffe, ng’ente ennume” kye ki, era lwaki tusaanidde okukiwaayo eri Yakuwa?
• Lwaki twandifubye okusiimibwa Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Kintu ki ekikulu nnamwandu eyayogera ne nnabbi wa Katonda kye yalina okusalawo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Okuwaayo ssaddaaka ez’okutendereza eri Yakuwa kituganyula kitya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Bwe weesiga Yakuwa n’omutima gwo gwonna tojja kwejjusa