Bayibuli Ekyeyongera Okukyusa Obulamu Bwo?
“Mukyusibwe nga mufuna endowooza empya.”—BAR. 12:2.
1-3. (a) Nkyukakyuka ki eziyinza okutuzibuwalira okukola oluvannyuma lw’okubatizibwa? (b) Bwe kiba nti waliwo enkyukakyuka ezituzibuwalidde okukola, bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza? (Laba ekifaananyi waggulu.)
KEVIN[1] bwe yayiga amazima yali ayagala nnyo okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Naye Kevin yali amaze emyaka mingi nga yeenyigira mu mize emibi, gamba ng’okukuba zzaala, okunywa ssigala, okwekatankira omwenge, n’okukozesa ebiragalalagala. Okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda, Kevin kyali kimwetaagisa okulekayo emize egyo emibi. Ekyo yakikola olw’okuba yeesiga Katonda era n’akkiriza Ekigambo kye okumukyusa.—Beb. 4:12.
2 Oluvannyuma lw’okubatizibwa, Kevin yalekera awo okukola enkyukakyuka mu bulamu bwe? Nedda. Yali akyetaaga okwongera okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo. (Bef. 4:31, 32) Ng’ekyokulabirako, Kevin yakiraba nti yali akyalina okufuba ennyo okufuga obusungu. Agamba nti: “Okuyiga okufuga obusungu kyanzibuwalira nnyo okusinga okulekayo emize emibi gye nnalina!” Naye okusaba n’okunyiikira okusoma Bayibuli kyayamba Kevin okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa.
3 Okufaananako Kevin, bangi ku ffe bwe twali tetunnabatizibwa, twakola enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okutuukanya obulamu bwaffe n’emitindo egiri mu Bayibuli. Oluvannyuma lw’okubatizibwa, twakiraba nti twali tukyetaaga okubaako enkyukakyuka endala ze tukola mu bintu ebirabika ng’ebitono, kituyambe okwongera okukoppa obulungi Katonda ne Kristo. (Bef. 5:1, 2; 1 Peet. 2:21) Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga twakiraba nti tunoonya nnyo ensobi mu balala, tutya abantu, tulina olugambo, oba obunafu obulala bwonna. Tukisanze nga kizibu okukola enkyukakyuka mu bintu ebyo? Bwe kiba kityo, tuyinza okuba nga twebuuza, ‘Okuva bwe kiri nti nnasobola okukola enkyukakyuka ez’amaanyi, lwaki kinzibuwalidde okukola enkyukakyuka zino ezirabika ng’entono? Nnyinza ntya okwongera okukkiriza Ekigambo kya Katonda okukyusa obulamu bwange?’
TOSUUBIRA BITASOBOKA
4. Lwaki tetusobola kusanyusa Yakuwa mu buli kimu kye tukola?
4 Ffe abategedde Yakuwa era abamwagala twagala nnyo okukola ebimusanyusa. Wadde kiri kityo, olw’okuba tetutuukiridde, tetusobola kusanyusa Katonda mu buli kimu kye tukola. Tuwulira ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Njagala okukola ekirungi naye nnemwa okukikola.”—Bar. 7:18; Yak. 3:2.
5. Nkyukakyuka ki ze twakola nga tetunnabatizibwa, naye bunafu ki bwe tuyinza okuba nga tukyalwanyisa?
5 Twalekayo ebikolwa ebibi ne tutuukiriza ebisaanyizo eby’okubeera mu kibiina Ekikristaayo. (1 Kol. 6:9, 10) Wadde kiri kityo, tukyali bantu abatatuukiridde. (Bak. 3:9, 10) N’olwekyo, tekiba kituufu kusuubira nti oluvannyuma lw’okubatizibwa, oboolyawo nga tumaze n’emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa, tetukyasobola kukola nsobi oba okufuna ebirowoozo ebibi n’okwegomba okubi. Ebintu ebimu kiyinza okutwetaagisa okubirwanyisa okumala emyaka egiwerako.
6, 7. (a) Kiki ekitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa wadde nga tetutuukiridde? (b) Lwaki tetusaanidde kutya kusaba Yakuwa kutusonyiwa?
6 Kyokka, obutali butuukirivu bwaffe tebusaanidde kutulemesa kuba na nkolagana nnungi ne Yakuwa oba okweyongera okumuweereza. Lowooza ku kino: Yakuwa bwe yatuleeta gy’ali, yali akimanyi nti ebiseera ebimu twandikoze ensobi. (Yok. 6:44) Olw’okuba Katonda atumanyi bulungi era ng’amanyi n’ebyo ebiri mu mitima gyaffe, ateekwa okuba nga yali amanyi obunafu obwanditukaluubiridde okuvvuunuka. Wadde kyali kityo, ekyo tekyalemesa Yakuwa kutuleeta gy’ali.
7 Okwagala kwe kwakubiriza Yakuwa okuwaayo Omwana we okuba ekinunulo ku lwaffe. (Yok. 3:16) Bwe tukola ensobi era ne tusaba Yakuwa atusonyiwe ng’asinziira ku kinunulo kya Yesu, tuba bakakafu nti tukyalina enkolagana ennungi naye. (Bar. 7:24, 25; 1 Yok. 2:1, 2) Kati olwo twandigaanye okukozesa enteekateeka eyo ey’ekinunulo olw’okuba tuwulira nti tuli boonoonyi nnyo? Nedda! Bwe tukola tutyo, tuba ng’omuntu agaana okukozesa amazzi okunaaba engalo ze enkyafu. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa yawaayo Omwana we okuba ekinunulo ku lw’aboonoonyi abeenenya. Okuyitira mu kinunulo tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa wadde nga tetutuukiridde.—Soma 1 Timoseewo 1:15.
8. Lwaki tetusaanidde kubuusa maaso bunafu bwaffe?
8 Naye ekyo tekitegeeza nti tulina okubuusa amaaso obunafu bwaffe. Tukimanyi nti okusobola okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, tulina okufuba ennyo okumukoppa n’okukoppa Kristo era n’okufuba okweyisa mu ngeri ebasanyusa. (Zab. 15:1-5) Ate era tulina okufuba okulwanyisa obunafu bwaffe, si na kindi n’okubuvvuunuka. Ka tube nga twakabatizibwa oba nga twabatizibwa emyaka mingi emabega, tulina ‘okweyongera okutereezebwa.’—2 Kol. 13:11.
9. Kiki ekiraga nti okwambala omuntu omuggya kye kintu kye tulina okukola awatali kulekera awo?
9 Kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okweyongera “okutereezebwa” n’okwambala “omuntu omuggya.” Omutume Pawulo yagamba bakkiriza banne nti: “Mwayigirizibwa okweyambulako omuntu omukadde akwatagana n’empisa zammwe ez’edda era ayonoonebwa olw’okwegomba kwe okw’obulimba. Mulina okweyongera okufuulibwa abaggya mu ndowooza yammwe, era mulina okwambala omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa.” (Bef. 4:22-24) Ebigambo “okweyongera okufuulibwa abaggya” biraga nti okwambala omuntu omuggya kye kintu kye tulina okukola awatali kulekera awo. Ekyo kituzzaamu amaanyi, kubanga kiraga nti, ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza yakuwa, tusobola okweyongera okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo. Mu butuufu, Bayibuli esobola okweyongera okukyusa obulamu bwaffe.
LWAKI SI KYANGU?
10. Bayibuli okusobola okweyongera okukyusa obulamu bwaffe kiki kye tulina okukola, era bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza?
10 Kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okukkiriza Ekigambo kya Katonda okweyongera okukyusa obulamu bwaffe. Naye lwaki kitwetaagisa okufuba ennyo? Bwe kiba nti Yakuwa awa omukisa okufuba kwaffe, lwaki tekitwanguyira kukola nkyukakyuka ezimu? Lwaki Yakuwa tatukolera buli kimu ekyetaagisa ne kiba nti tekitwetaagisa kufuba nnyo kulwanyisa bunafu bwaffe okusobola okukola ekituufu?
11-13. Lwaki Yakuwa atusuubira okufuba okulwanyisa obunafu bwaffe?
11 Bwe tulowooza ku bwengula, tukiraba nti Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo. Ng’ekyokulabirako, buli katikitiki, enjuba evaamu amaanyi mangi nnyo agakola ebbugumu n’ekitangaala. Wadde nga ku maanyi ago, matono nnyo agatuuka wano ku nsi, ago agatuuka gatuwa ebbugumu n’ekitangaala ebimala. (Zab. 74:16; Is. 40:26) Yakuwa mwetegefu okuwa abaweereza be amaanyi ge beetaaga mu mbeera ezitali zimu. (Is. 40:29) Katonda asobola okutuwa amaanyi ageetaagisa okuvvuunuka obunafu bwaffe bwonna nga tetutaddeemu kufuba kwonna kubuvvuunuka oba nga tetusoose kuyigira ku nsobi zaffe. Naye lwaki ekyo takikola?
12 Buli omu ku ffe Yakuwa yamuwa eddembe ery’okwesalirawo. Bwe tusalawo okukola Katonda by’ayagala era ne tufuba okubikola, tuba tulaga nti twagala nnyo Yakuwa era nti twagala okumusanyusa. Era tuba tukiraga nti tuwagira obufuzi bwe. Sitaani yaleetawo okubuusabuusa nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. N’olwekyo, Yakuwa bw’alaba nga tuwagira obufuzi bwe, wadde ng’ekyo kitwetaagisa okufuba ennyo, kimusanyusa nnyo. (Yob. 2:3-5; Nge. 27:11) Kyokka singa Yakuwa atukolera buli kimu ne kiba nti tekitwetaagisa kuteekamu kufuba kwonna kulwanyisa bunafu bwaffe tusobole okumusanyusa, talina we yandisinzidde kugamba nti ddala tuli beesigwa gy’ali era nti tuwagira obufuzi bwe.
13 Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa atukubiriza ‘okufuba ennyo’ okukulaakulanya engeri ennungi. (Soma 2 Peetero 1:5-7; Bak. 3:12) Atusuubira okufuba ennyo okufuga ebirowoozo byaffe n’enneewulira zaffe. (Bar. 8:5; 12:9) Bwe tufuba okukulaakulanya engeri ennungi, kitusanyusa okulaba engeri Bayibuli gye yeeyongera okukyusa obulamu bwaffe.
KKIRIZA EKIGAMBO KYA KATONDA OKWEYONGERA OKUKYUSA OBULAMU BWO
14, 15. Biki bye tuyinza okukola okusobola okwongera okukulaakulanya engeri ennungi? (Laba akasanduuko “Bayibuli n’Okusaba Byakyusa Obulamu Bwabwe.”)
14 Biki bye tuyinza okukola okusobola okukulaakulanya engeri ennungi tusobole okusanyusa Yakuwa? Tetulina kukoma bukomi ku kusalawo kukyusa bulamu bwaffe. Tulina okunoonya obulagirizi bwa Katonda. Abaruumi 12:2 wagamba nti: “Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno, naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya, mulyoke mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” Okuyitira mu Kigambo kye n’omwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa atuyamba okumanya by’ayagala n’okubikola, era n’okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwaffe okusobola okutuukana n’ebyo by’ayagala. Ebimu ku bintu bye twetaaga okukola mwe muli okusoma Bayibuli, okufumiitiriza ku bye tusoma, n’okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13; Bag. 5:22, 23) Bwe tukkiriza okukulemberwa omwoyo gwa Katonda era ne tufuba okutuukanya endowooza yaffe n’ebyo ebiri mu Kigambo kye, ebirowoozo byaffe, ebigambo byaffe, n’ebikolwa byaffe bijja kweyongera okutuukana n’ebyo Yakuwa by’ayagala. Kyokka ne bwe kiba kityo, tusaanidde okweyongera okuba obulindaala tuleme kuddamu kuwangulwa bunafu bwaffe.—Nge. 4:23.
15 Ng’oggyeeko okusoma Bayibuli buli lunaku, tulina n’okwesomesa Ekigambo kya Katonda nga tukozesa ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, nga tulina ekigendererwa eky’okwongera okukoppa engeri za Yakuwa. Abamu baganyuddwa nnyo mu kubaako we bawandiika ebyawandiikibwa ebitali bimu oba mu kukuŋŋaanya ebitundu ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! ebyogera ku kukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo oba ku kuvvuunuka obunafu obutali bumu ne babyejjukanya buli luvannyuma lw’ekiseera.
16. Lwaki tetusaanidde kuggwaamu maanyi ng’enkyukakyuka ze twagala okukola tetuzikola ku sipiidi gye twandyagadde?
16 Bw’oba owulira nti enkyukakyuka ze weetaaga okukola tozikola ku sipiidi gye wandyagadde, osaanidde okukijjukira nti oluusi okukola enkyukakyuka kitwala ekiseera. Okukola enkyukakyuka tekukoma. Kitwetaagisa okuba abagumiikiriza nga tufuba okutuukanya obulamu bwaffe n’ebyo ebiri mu Bayibuli. Mu kusooka kiyinza okutwetaagisa okulwana ennyo okusobola okukola ekituufu. Naye ekiseera bwe kigenda kiyitawo, kijja kutwanguyira okulowooza n’okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda, kubanga endowooza yaffe ejja kuba egenze yeeyongera okutuukana n’ebyo Yakuwa Katonda by’ayagala.—Zab. 37:31; Nge. 23:12; Bag. 5:16, 17.
LOWOOZA KU MIKISA GYE TUJJA OKUFUNA
17. Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, ssuubi ki lye tuba nalyo?
17 Ekiseera kijja kutuuka abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bamuweereze nga batuukiridde. Mu kiseera ekyo, tekijja kuba kizibu kwoleka ngeri nnungi, era ekyo kijja kubaleetera essanyu lingi. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, tusiima nnyo Yakuwa olw’okutuwa ekinunulo ekitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi naye. Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okweyongera okuweereza Yakuwa singa tukkiriza Ekigambo kye okwongera okukyusa obulamu bwaffe.
18, 19. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba abakakafu nti Bayibuli esobola okweyongera okukyusa obulamu bwaffe?
18 Kevin, eyayogeddwako ku ntandikwa, yafuba nnyo okuyiga okufuga obusungu. Yafumiitiriza ku misingi gya Bayibuli, era n’akkiriza obuyambi n’amagezi bakkiriza banne bye baamuwa. Mu myaka mitono, Kevin yakola enkyukakyuka ez’amaanyi. N’ekyavaamu, yatuukiriza ebisaanyizo n’alondebwa okuweereza ng’omuweereza mu kibiina, era kati amaze emyaka 20 ng’aweereza ng’omukadde mu kibiina. Wadde kiri kityo, akiraba nti kimwetaagisa okuba obulindaala obunafu bwe yalina buleme kuddamu kumuwangula.
19 Ng’ekyokulabirako kya Kevin bwe kiraga, Bayibuli eyamba abantu ba Katonda okwongera okukola enkyukakyuka ennungi mu bulamu bwabwe. N’olwekyo, ka bulijjo tweyongere okukkiriza Ekigambo kya Katonda okutuyamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe tusobole okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. (Zab. 25:14) Bwe tulaba engeri Yakuwa gy’awaamu okufuba kwaffe omukisa, tujja kweyongera okukakasa nti ddala Bayibuli esobola okweyongera okukyusa obulamu bwaffe.—Zab. 34:8.
^ [1] (akatundu 1) Erinnya likyusiddwa.