Waliwo Amawulire Amalungi Abantu Bonna Ge Beetaaga Okuwulira
“Amawulire amalungi . . . ge maanyi ga Katonda mw’ayitira okulokola.”—BAR. 1:16.
1, 2. Lwaki obuulira “amawulire amalungi ag’obwakabaka,” era bw’oba ogabuulira bintu ki by’otera okwogerako?
‘NDI musanyufu okuba nti nnina enkizo okubuulirako abalala amawulire amalungi.’ Oyinza okuba nga wali oyogeddeko oba nga wali owuliddeko bw’otyo. Ng’Omujulirwa wa Yakuwa, oteekwa okuba ng’omanyi bulungi obukulu bw’okubuulira “amawulire gano amalungi ag’obwakabaka.” Oyinza okuba ng’omanyi bulungi n’obunnabbi bwa Yesu obulaga nti tulina okukola omulimu ogwo.—Mat. 24:14.
2 Bwe weenyigira mu mulimu gw’okubuulira “amawulire amalungi ag’obwakabaka,” kiba kiraga nti owagira omulimu Yesu gwe yatandikawo. (Soma Lukka 4:43.) Tewali kubuusabuusa nti ekimu ku bintu by’osinga okwogerako kye ky’okuba nti mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuyingira mu nsonga z’abantu. Mu ‘kibonyoobonyo ekinene,’ ajja kuzikiriza amadiini gonna ag’obulimba n’abantu ababi bonna. (Mat. 24:21) Era oyinza okuba ng’otera okugamba abantu nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzzaawo Olusuku lwe ku nsi, ensi esobole okubeeramu emirembe n’essanyu. Mu butuufu, “amawulire amalungi ag’obwakabaka” kitundu ‘ky’amawulire amalungi agaalangirirwa eri Ibulayimu nti: “Okuyitira mu ggwe amawanga gonna galiweebwa omukisa.”’—Bag. 3:8.
3. Lwaki tusobola okugamba nti Pawulo yayogera nnyo ku mawulire amalungi mu bbaluwa ye eri Abaruumi?
3 Naye kyandiba nti tetutera kwogera ku kintu ekirala ekikulu ekiri mu mawulire amalungi abantu ge beetaaga okuwulira? Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, omutume Pawulo yakozesa ekigambo “obwakabaka” omulundi gumu gwokka, naye yakozesa ebigambo “amawulire amalungi” emirundi 12 miramba. (Soma Abaruumi 14:17.) Kintu ki ekiri mu mawulire amalungi Pawulo ky’ayogerako enfunda n’enfunda mu bbaluwa ye eyo? Lwaki ekintu ekyo kikulu nnyo? Era lwaki twandifubye nnyo okukyogerako nga tubuulira abantu “amawulire ga Katonda amalungi”?—Mak. 1:14; Bar. 15:16; 1 Bas. 2:2.
Ekyo Abaali mu Rooma Kye Baali Beetaaga Okumanya
4. Ku mulundi gwe yasooka okusibibwa mu Rooma, bintu ki Pawulo bye yayogerako?
4 Kikulu okulowooza ku ebyo Pawulo bye yayogerako ku mulundi gwe yasooka okusibibwa mu Rooma. Tusoma nti Abayudaaya bangi bwe baagenda okumulaba, yabawa ‘obujulirwa obukwata ku (1) bwakabaka bwa Katonda era n’abasendasenda okukkiriza (2) Yesu.’ Biki ebyavaamu? ‘Abamu baatandika okukkiriza ebyayogerwa; abalala ne batabikkiriza.’ Oluvannyuma Pawulo yeeyongera ‘okwaniriza n’essanyu abo abajjanga gy’ali, n’ababuulira ebikwata ku (1) bwakabaka bwa Katonda era n’abayigiriza ebintu ebikwata ku (2) Mukama waffe Yesu Kristo.’ (Bik. 28:17, 23-31) Kya lwatu nti Pawulo yayogera ku Bakabaka bwa Katonda. Naye kintu ki ekirala kye yayogerako? Yayogera ku kintu ekikulu ennyo ekikwata ku Bwakabaka—ekifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda.
5. Kintu ki Pawulo kye yayogerako mu Abaruumi abantu bonna kye beetaaga okumanya?
5 Abantu bonna beetaaga okumanya ebikwata ku Yesu n’okumukkiririzaamu. Kino kyeyolekera mu bigambo bya Pawulo ebisangibwa mu bbaluwa ye eri Abaruumi. Mu ssuula esooka ey’ebbaluwa eyo, yawandiika nti: “Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange gwonna nga mbuulira amawulire amalungi agakwata ku Mwana we.” Era yaggatako nti: “Amawulire amalungi tegankwansa nsonyi; ge maanyi ga Katonda mw’ayitira okulokola buli muntu alina okukkiriza.” Oluvannyuma yayogera ku kiseera “Katonda, ng’ayitira mu Kristo Yesu bw’alisalira omusango ebintu abantu bye bakolera mu kyama, okusinziira ku mawulire amalungi ge [yali alangirira].” Era yagamba nti: “Nnabuulira mu bujjuvu amawulire amalungi agakwata ku Kristo okuviira ddala mu Yerusaalemi n’okwetooloola okutuukira ddala mu Iruliko.”a (Bar. 1:9, 16; 2:16; 15:19) Lwaki Pawulo yayogera nnyo ku Yesu Kristo mu bbaluwa ye eri Abaruumi?
6, 7. Ekibiina ky’e Rooma kyatandikawo kitya era bantu ba ngeri ki abaakirimu?
6 Tetumanyi ngeri kibiina kya Rooma gye kyatandikamu. Kyandiba nti Abayudaaya oba abakyufu abaaliwo ku Pentekooti 33 E.E. baddayo e Rooma nga bafuuse Abakristaayo? (Bik. 2:10) Oba kyandiba nti Abakristaayo abasuubuzi n’abatambuze be baatuusa amazima e Rooma? Ka kibe nga kyatandika kitya, Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ye eyo, awo nga mu mwaka gwa 56 E.E., ekibiina ekyo kyali kimaze ebbanga nga weekiri. (Bar. 1:8) Bantu ba ngeri ki abaali mu kibiina ekyo?
7 Abamu ku bo baali Bayudaaya. Pawulo yalamusa Anduloniiko ne Yuniya ng’agamba nti ‘yabalinako oluganda,’ oboolyawo ng’abo baali ba ŋŋanda ze Abayudaaya. Akula, eyali omukozi wa weema era ng’abeera mu Rooma ne mukyala we Pulisika, naye yali Muyudaaya. (Bar. 4:1; 9:3, 4; 16:3, 7; Bik. 18:2) Naye ab’oluganda bangi Pawulo be yalamusa baali B’amawanga. Abamu bayinza okuba nga baali ba mu “nnyumba ya Kayisaali,” oboolyawo nga baali baddu be oba abamu ku bakungu be aba wansi.—Baf. 4:22; Bar. 1:6; 11:13.
8. Abo abaali mu Rooma baalina kizibu ki?
8 Buli Mukristaayo mu Rooma yalina ekizibu eky’amaanyi era ng’ekizibu ekyo buli omu ku ffe akirina. Ng’ayogera ku kizibu ekyo, Pawulo yagamba nti: “Abantu bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Bar. 3:23) Kya lwatu nti abo bonna Pawulo be yawandiikira ebbaluwa eyo baali beetaaga okumanya nti baali boonoonyi era nti baali beetaaga okukkiririza mu nteekateeka Katonda gye yateekawo okubanunula okuva mu kizibu ekyo.
Abantu Beetaaga Okukimanya nti Boonoonyi
9. Kiki Pawulo kye yalaga ekyandivudde mu mawulire amalungi?
9 Mu ssuula esooka ey’ebbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yalaga ekintu ekirungi ekyandivudde mu mawulire amalungi ge yali abuulira bwe yagamba nti: “Amawulire amalungi tegankwansa nsonyi; ge maanyi ga Katonda mw’ayitira okulokola buli muntu alina okukkiriza, ng’asookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma Omuyonaani.” Yee, abantu baali basobola okulokolebwa. Naye era yakiraga nti okukkiriza nakwo kwali kwetaagisa, bwe yajuliza ebigambo ebiri mu Kaabakuuku 2:4 ng’agamba nti: “Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.” (Bar. 1:16, 17; Bag. 3:11; Beb. 10:38) Naye kakwate ki akali wakati w’amawulire amalungi agasobozesa abantu okufuna obulokozi n’eky’okuba nti abantu “bonna baayonoona”?
10, 11. Lwaki abantu abamu kibanguyira okutegeera amakulu g’ebigambo ebiri mu Abaruumi 3:23 ate ng’abalala kibazibuwalira okubitegeera?
10 Omuntu bw’aba ow’okufuna okukkiriza okwetaagisa okusobola okufuna obulokozi, aba yeetaaga okusooka okukikkiriza nti mwonoonyi. Eri abo abakuze nga bakkiririza mu Katonda era nga basoma ne Bayibuli kiyinza obutabazibuwalira kukkiriza nti boonoonyi. (Soma Omubuulizi 7:20.) Ka babe nga bakikkiriza oba nedda, bateekwa okuba nga balaba obutuufu bw’ebigambo bya Pawulo bino: “Bonna baayonoona.” (Bar. 3:23) Kyokka bwe tuba tubuulira, tuyinza okusanga abantu bangi abatategeera makulu ga bigambo ebyo.
11 Mu nsi ezimu, abantu abasinga obungi tebakimanyi nti boonoonyi, era nti baasikira ekibi. Kyo kituufu nti bakiraba nti bakola ensobi, balina engeri embi, era nti balina ebintu ebibi bye bakola. Era bakiraba nti n’abalala bwe batyo bwe bali. Naye tebategeera nsonga lwaki kiri kityo. Mu butuufu, mu nnimi ezimu bw’ogamba nti omuntu mwonoonyi, abalala bayinza okulowooza nti mumenyi wa mateeka oba nti alina omusango gwe yazza. Kya lwatu nti abantu abaakulira mu mbeera ng’ezo kiyinza okubazibuwalira okutegeera ekyo Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba nti abantu bonna baayonoona.
12. Lwaki abantu bangi tebakkiriza nti abantu bonna boonoonyi?
12 Ne mu nsi omuli abantu abangi abeeyita Abakristaayo, abasinga obungi ku bo tebakkiriza nti boonoonyi. Lwaki? Wadde nga batera okugenda mu masinzizo, tebakkiriza nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku Adamu ne Kaawa bituufu. Ate abalala bakulira mu mbeera ng’abantu abasinga obungi tebettanira bya ddiini. Ekyo kibaleetera okutandika okubuusabuusa obanga ddala Katonda gy’ali, ne kiba nti tebakkiriza nti waliwo Oyo asaanidde okuteerawo abantu emitindo gy’empisa gye balina okutambulirako era nti singa balemererwa okugitambulirako, baba boonoonye. Abantu abo bafaananako abantu abaaliwo mu kyasa ekyasooka Pawulo be yayogerako ‘ng’abataalina ssuubi era abataalina Katonda mu nsi.’—Bef. 2:12.
13, 14. (a) Lwaki abantu abatakkiririza mu Katonda era abatakkiriza nti boonoonyi tebalina kya kwekwasa? (b) Okuba nti bangi tebakkiririza mu Katonda era nga tebakkiriza nti boonoonyi kivuddemu ki?
13 Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yalaga ensonga bbiri lwaki abantu abaakulira mu mbeera ng’eyo tebalina kya kwekwasa. Ensonga esooka eri nti obutonde buwa obukakafu obw’enkukunala obulaga nti Omutonzi gy’ali. (Soma Abaruumi 1:19, 20.) Kino kituukana bulungi n’ebyo Pawulo bye yawandiikira Abebbulaniya ng’ali e Rooma: “Buli nnyumba wabaawo agizimba naye eyazimba ebintu byonna ye Katonda.” (Beb. 3:4) Ebigambo ebyo bituyamba okukiraba nti waliwo Omutonzi eyazimba oba eyatonda ebintu byonna.
14 Bwe kityo, Pawulo yalina ensonga ey’amaanyi kw’asinziira okugamba Abaruumi—nga mw’otwalidde n’Abaisiraeri ab’edda—nti abo bonna abandisazeewo okusinza ebifaananyi bandibadde “tebalina kya kwekwasa.” Era abasajja n’abakazi abaasalawo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu nga bakyusa ekyo emibiri gyabwe kye gyatonderwa ne bagikozesa ekyo kye gitaatonderwa nabo tebaalina kya kwekwasa. (Bar. 1:22-27) Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba nti “Abayudaaya n’Abayonaani bonna bafugibwa ekibi.”—Bar. 3:9.
‘Awa Obujulirwa’
15. Kintu ki abantu bonna kye balina, era kibasobozesa kukola ki?
15 Ekitabo ky’Abaruumi kiraga ensonga endala lwaki abantu basaanidde okukikkiriza nti boonoonyi era nti beetaaga okununulibwa okuva mu kibi. Ng’ayogera ku Mateeka Katonda ge yawa Isiraeri ey’edda, Pawulo yagamba nti: “Abo abaayonoona nga balina amateeka bajja kusalirwa omusango okusinziira ku mateeka ago.” (Bar. 2:12) Era yayongera n’akiraga nti abantu b’amawanga abataalina mateeka ago baali “bakola mu butonde ebintu eby’omu mateeka.” Lwaki abantu ng’abo bavumirira ebikolwa, gamba ng’okwetaba n’omuntu gw’olinako oluganda, ettemu, n’obubbi? Pawulo yalaga nti: Balina omuntu ow’omunda.—Soma Abaruumi 2:14, 15.
16. Lwaki okuba n’omuntu ow’omunda tekitegeeza nti omuntu tajja kwonoona?
16 Kyokka, oyinza okuba nga naawe okyetegerezza nti omuntu okuba n’omuntu ow’omunda awa obujulirwa, tekitegeeza nti agondera obulagirizi bwe. Kino kyeyolekera mu ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri ab’edda. Wadde ng’Abaisiraeri baalina omuntu ow’omunda awamu n’amateeka okuva eri Katonda agaali gabagaana okubba n’okwenda, emirundi mingi baagaana okugondera omuntu waabwe ow’omunda n’Amateeka ga Yakuwa. (Bar. 2:21-23) Baali bavunaanyizibwa olw’enneeyisa yaabwe embi era bwe kityo baali boonoonyi, tebaatuukana na mitindo gya Katonda awamu ne by’ayagala. Ekyo kyayonoona enkolagana yaabwe n’Omutonzi waabwe.—Leev. 19:11; 20:10; Bar. 3:20.
17. Ekitabo ky’Abaruumi kituzzaamu kitya amaanyi?
17 Ebyo bye tulabye mu kitabo ky’Abaruumi bituyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’atunuuliramu abantu bonna, nga naffe mw’otutwalidde. Naye Pawulo teyakoma awo. Ng’ajuliza ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 32:1, 2, Pawulo yagamba nti: “Balina essanyu abasonyiyiddwa ebikolwa byabwe ebibi era abaggiddwako ebibi byabwe; alina essanyu omuntu Yakuwa gw’atalibalira kibi kye.” (Bar. 4:7, 8) Yee, Katonda akoze enteekateeka okutusonyiwa ebibi byaffe nga tasudde muguluka mitindo gye egy’obutuukirivu.
Kikulu Nnyo Okwogera ku Yesu nga Tubuulira
18, 19. (a) Kintu ki ekiri mu mawulire amalungi Pawulo kye yayogerako ennyo mu kitabo ky’Abaruumi? (b) Kiki kye tusaanidde okukkiriza bwe tuba ab’okufuna emikisa gy’Obwakabaka?
18 Oyinza okugamba nti, “Ago ddala mawulire malungi!” Mu butuufu ago mawulire malungi, era ekyo kitujjukiza ekimu ku bintu ebiri mu mawulire amalungi Pawulo kye yayogerako ennyo mu kitabo ky’Abaruumi. Nga bwe tulabye, Pawulo yawandiika nti: “Amawulire amalungi tegankwansa nsonyi; ge maanyi ga Katonda mw’ayitira okulokola.”—Bar. 1:15, 16.
19 Amawulire amalungi ago okusingira ddala gakwata ku kifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Pawulo yali yeesunga olunaku “Katonda, ng’ayitira mu Kristo Yesu bw’alisalira omusango ebintu abantu bye bakolera mu kyama, okusinziira ku mawulire amalungi.” (Bar. 2:16) Mu kwogera ebigambo ebyo, yali tagezaako kulaga nti “obwakabaka bwa Kristo n’obwa Katonda” oba ebyo Katonda by’ajja okukola okuyitira mu Bwakabaka obwo si bikulu nnyo. (Bef. 5:5) Naye yali akiraga nti bwe tuba twagala okubeera mu Bwakabaka bwa Katonda era tufune emikisa gyabwo, tulina okukikkiriza nti (1) tuli boonoonyi mu maaso ga Katonda era nti (2) twetaaga okukkiririza mu Yesu Kristo okusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe. Omuntu bw’amala okutegeera n’okukkiriza ebintu ebyo ebikwata ku kigendererwa kya Katonda era n’afuna essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso, asobola okugamba nti, “Yee, gano ddala mawulire malungi!”
20, 21. Bwe tuba tubuulira, lwaki tusaanidde okwogera ku mawulire amalungi agoogerwako ennyo mu kitabo ky’Abaruumi, era biki ebiyinza okuvaamu?
20 Bwe tuba tubuulira tetusaanidde kwerabira kwogera ku kintu kino ekiri mu mawulire amalungi. Ng’ayogera ku Yesu, Pawulo yajuliza ebigambo bya Isaaya ng’agamba nti: “Tewali n’omu amukkiririzaamu alimalibwamu amaanyi.” (Bar. 10:11; Is. 28:16) Eri abantu abaliko kye bamanyi ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kibi kiyinza okubanguyira okutegeera ebintu ebikwata ku Yesu. Ate abalala, ebintu ebikwata ku Yesu biba bipya nnyo gye bali. Abantu ng’abo bwe batandika okukkiririza mu Katonda ne mu Byawandiikibwa, kiba kyetaagisa okubannyonnyola ekifo kya Yesu mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri Abaruumi essuula 5 gy’ennyonnyolamu ekintu kino ekiri mu mawulire amalungi. Ekitundu ekyo kijja kukuyamba nnyo mu buweereza bwo.
21 Nga kituleetera essanyu lingi okuyamba abantu ab’emitima emirungi okutegeera amawulire amalungi agoogerwako ennyo mu kitabo ky’Abaruumi, ng’amawulire gano amalungi “ge maanyi ga Katonda mw’ayitira okulokola buli muntu alina okukkiriza.” (Bar. 1:16) Okugatta ku ekyo, tujja kulaba engeri abalala gye bakkiriziganya n’ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abaruumi 10:15 awagamba nti: “Nga birungi ebigere by’abo abalangirira amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi!”—Is. 52:7.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebigambo ebifaananako ng’ebyo era tubisanga ne mu bitabo ebirala ebyaluŋŋamizibwa.—Mak. 1:1; Bik. 5:42; 1 Kol. 9:12; Baf. 1:27.
Ojjukira?
• Kintu ki ekiri mu mawulire amalungi ekyogerwako ennyo mu kitabo ky’Abaruumi?
• Kintu ki ekikulu kye tulina okuyamba abalala okutegeera?
• Mu ngeri ki “amawulire amalungi agakwata ku Kristo” gye gatuganyula awamu n’abalala?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 8]
Ekifo kya Yesu mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda kye kimu ku bintu ebiri mu mawulire amalungi agoogerwako mu Abaruumi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Ffenna twazaalibwa n’ekibi!