‘Sanyukanga n’Omukazi ow’Omu Buvubuka Bwo’
‘Sanyukanga n’omukazi ow’omu buvubuka bwo. Lwaki gwe okusanyukanga n’omukazi omugenyi, mwana wange?’—ENGERO 5:18, 20.
1, 2. Lwaki kiyinza okugambibwa nti okwetaba okubaawo wakati w’omwami n’omukyala kuweebwa omukisa?
BAIBULI eyogera kaati ku by’okwetaba. Mu Engero 5:18, 19, tusoma nti: ‘Ensulo yo ebeerenga n’omukisa: Era sanyukanga n’omukazi ow’omu buvubuka bwo. Ng’ennangaazi ekwagala n’empeewo ekusanyusa, amabeere ge gakumalenga mu biro byonna: Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe.’
2 Wano ekigambo “ensulo” kikwata ku ekyo ekikusobozesa okufuna obumativu mu kwetaba. Ensulo eyo eweebwa omukisa mu ngeri nti okwagala n’essanyu ebibaawo mu bufumbo kirabo okuva eri Katonda. Kyokka, essanyu ng’eryo erifunibwa mu kwetaba lirina kubaawo wakati w’abafumbo bokka. N’olw’ensonga eyo, Kabaka Sulemaani owa Isiraeri ey’edda yabuuza nti: “Lwaki gwe okusanyukanga n’omukazi omugenyi, mwana wange, n’ogwa mu kifuba ky’atali wuwo?”—Engero 5:20.
3. (a) Kintu ki ekibi ekituuse ku bufumbo bungi? (b) Katonda atunuulira atya obwenzi?
3 Ku lunaku lwe bafumbiriganwa, omwami n’omukyala beeyama buli omu okwagala munne era n’okuba omwesigwa gy’ali. Wadde kiri kityo, obufumbo bungi busasika olw’obwenzi. Mu butuufu, oluvannyuma lw’okwekkaanya okunoonyereza kwa mirundi abiri mu etaano, omunoonyereza omu yagamba nti, “abakazi 25 ku buli kikumi n’abasajja 44 ku buli kikumi bakola obwenzi.” Omutume Pawulo yagamba: “Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga . . . tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (1 Abakkolinso 6:9, 10) Awatali kubuusabuusa, obwenzi kibi kya maanyi mu maaso ga Katonda era abasinza ab’amazima balina okubwewala. Kiki ekijja okutuyamba ‘okussa ekitiibwa mu bufumbo’?—Abaebbulaniya 13:4.
Weegendereze Omutima Omulimba
4. Mu ngeri ki ezimu Omukristaayo omufumbo gy’ayinza okwesanga ng’akoze omukwano ogw’oku lusegere n’atali munne mu bufumbo?
4 Mu nsi ey’akakyo kano ejjudde eby’obugwenyufu, abantu bangi “balina amaaso agajjudde obwenzi, agataleka kwonoona.” (2 Peetero 2:14) Baluubirira okwetaba n’omuntu atali munnaabwe mu bufumbo. Mu nsi ezimu abakazi bangi bakola era olw’okuba bakolera wamu n’abasajja, ekyo kitaddewo embeera eyinza okuviirako omuntu okutandikawo omukwano ogw’oku lusegere n’oyo atali munne mu bufumbo. Ate era okuyitira ku mikutu gya Internet, n’abo abalina ensonyi basobodde okutandikawo omukwano ogw’oku lusegere n’omuntu omulala. Abafumbo bangi bakoze emikwano egy’engeri ng’eyo nga tebamanyi nti bagwa mu katego.
5, 6. Omukyala omu Omukristaayo yeeteeka atya mu mbeera ey’akabi, era ekyo tukiyigirako ki?
5 Lowooza ku ngeri Omukristaayo gwe tujja okuyita Mary gye yeeteeka mu mbeera eyali ebulako katono okumusuula mu bwenzi. Mwami we ataali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, yali tafaayo nnyo ku b’omu maka ge. Mary agamba nti emyaka mingi emabega yasisinkana omusajja akola n’omwami we. Agamba nti omusajja oyo yali wa mpisa nnungi era oluvannyuma lw’ekiseera yalaga nti asiima enzikiriza ze. Ate era ayongerezaako nti, “Yali mulungi nnyo era nga wa njawulo nnyo ku mwami wange.” Mu kaseera katono, Mary n’omusajja oyo baafuna enkolagana ey’oku lusegere. Mary yagambanga nti “kasita sikoze bwenzi ate era n’omusajja ayagala okuyiga Baibuli. Oboolyawo nnyinza okumuyamba.”
6 Ng’omukwano gwabwe tegunnabaleetera kwenyigira mu bwenzi, Mary yakitegeera nti kye yali akola tekyali kituufu. (Abaggalatiya 5:19-21; Abaefeso 4:19) Omuntu we ow’omunda yatandika okumulumiriza era n’asalawo okutereeza ensonga. Ekyatuuka ku Mary kiraga nti “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka.” (Yeremiya 17:9) Baibuli etubuulirira nti: “Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo.” (Engero 4:23) Ekyo tuyinza tutya okukikola?
‘Omuntu Omuteegevu Yeekweka’
7. Bw’oba oyamba omuntu alina ebizibu mu bufumbo bwe, kiba kya bukuumi kugoberera kubuulirira ki okw’omu Byawandiikibwa?
7 Omutume Pawulo yagamba nti: “Alowooza ng’ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa.” (1 Abakkolinso 10:12) Ate Engero 22:3 lugamba: “Omuntu omutegeevu alaba akabi ne yeekweka.” Mu kifo ky’okulowooza nti, ‘Tewali kiyinza kuntuukako,’ kiba kya magezi okutegeera engeri embeera ezimu gye ziyinza okukusuula mu bizibu. Ng’ekyokulabirako, tokkiriza mufumbo bwe mutafaananya kikula kukubuulira buli kimu ekimuluma. (Engero 11:14) Mutegeeze nti ebizibu by’obufumbo kiba kirungi n’abyogera ne munne mu bufumbo, Omukristaayo akuze mu by’omwoyo gwe bafaananya obutonde era abaagaliza okuba n’obufumbo obulungi, oba abakadde b’ekibiina. (Tito 2:3, 4) Abakadde mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa bassaawo ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno. Omukadde bw’aba ayagala okwogerako ne mwannyinaffe, akikola nga waliwo ababalaba—gamba nga ku Kizimbe ky’Obwakabaka.
8. Kiki kye tusaanidde okwegendereza ku mulimu?
8 Ku mulimu gy’okolera ne mu bifo ebirala, weewale embeera eyinza okukuviirako okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu bwe mutafaananya butonde. Ng’ekyokulabirako, okweyongera okukola n’omuntu ng’oyo oluvannyuma lw’essaawa ez’okunnyuka, kiyinza okubaviirako okugwa mu bwenzi. Ng’omwami oba omukyala omufumbo, olina okukyoleka kaati okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa byo nti toyagala kuba na nkolagana ya ku lusegere n’omuntu atali munno mu bufumbo. Ng’omuntu atya Katonda tewandyagadde kukola kintu kisikiriza omulala ng’ozannyirira naye, ng’oyambala oba nga weekolako mu ngeri etasaanira. (1 Timoseewo 4:8; 6:11; 1 Peetero 3:3, 4) Okuba n’ekifaananyi kya munno mu bufumbo oba eky’abaana mu kifo gy’okolera, kijja kukujjukiza era kijjukize n’abalala nti obufumbo bwo obutwala ng’ekintu ekikulu. Beera mumalirivu obuteeyisa mu ngeri esikiriza balala oba okugumiikiriza enneeyisa z’abalala ezitasaanidde.—Yobu 31:1.
‘Sanyukanga n’Omukazi gw’Oyagala’
9. Bintu ki ebiyinza okukuviirako okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu atali munno mu bufumbo?
9 Okukuuma omutima tekikoma ku kwewala bwewazi embeera ez’akabi. Okusikirizibwa omuntu atali munno mu bufumbo kiba kiraga nti gwe ng’omwami oba omukyala tofaayo ku byetaago bya munno. Kiyinza okuba nti omwami tafaayo ku mukyala we era nga n’omukyala avumirira omwami we entakera. Ekyo bwe kibaawo, omuntu omulala mu kibiina oba gw’okola naye, ayinza okukulabikira ng’alina engeri ennungi munno z’atalina. Mangu ddala, oyinza okufuna enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu oyo. Engeri enkolagana eyo gy’etandikamu era n’ekulaakulanyizibwa, etuukagana n’ebigambo bye tusoma mu Baibuli nti: “Buli muntu akemebwa, ng’awalulwa okwegomba kwe ye n’asendebwasendebwa.”—Yakobo 1:14.
10. Omwami n’omukyala bayinza batya okunyweza enkolagana yaabwe?
10 Mu kifo ky’okufunayo omuntu omulala atali munno ng’olowooza nti y’ajja okukulaga okwagala n’okukuyamba mu biseera ebizibu—abaami n’abakyala bandifubye okunyweza enkolagana yaabwe. N’olwekyo, mukole kyonna kye musobola buli omu abeere munne ku lusegere. Lowooza ku ekyo ekyakuviirako okwagala munno mu bufumbo. Gezaako okujjukira omukwano gwe mwalina mu kusooka. Lowooza ku ssanyu lye mwalinanga nga muli wamu. Saba Katonda ku bikwata ku nsonga eyo. Omuwandiisi wa zabbuli Dawudi, yeegayirira bw’ati Yakuwa: “Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; onzizeemu omwoyo omulungi munda yange.” (Zabbuli 51:10) Beera mumalirivu ‘okubeera n’omukazi gw’oyagala n’essanyu ennaku zonna ez’obulamu bwo Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba.’—Omubuulizi 9:9.
11. Okumanya, amagezi n’okutegeera biyinza bitya okunyweza obufumbo?
11 Ebintu ebiyinza okunyweza obufumbo ebitayinza kubuusibwa maaso bizingiramu okumanya, amagezi n’okutegeera. Engero 24:3, 4 zigamba: “Amagezi ge gazimba ennyumba; N’okutegeera kwe kuginyweza: N’okumanya kwe kujjuza ebisenge obugagga bwonna obw’omuwendo omungi era obusanyusa.” Mu bintu eby’omuwendo ebibeera mu maka amasanyufu muzingiramu ebintu ng’okwagala, obwesigwa, okutya Katonda n’okukkiriza. Okusobola okufuna ebintu ebyo kyetaagisa okumanya Katonda. N’olwekyo, abafumbo bateekwa okuba abayizi ba Baibuli abanyiikivu. Amagezi n’okutegeera bikulu kwenkana wa? Okusobola okuvvuunuka ebizibu bye twolekagana nabyo buli lunaku kyetaagisa amagezi, kwe kugamba, obusobozi bw’okussa mu nkola Ebyawandiikibwa bye tumanyi. Omuntu alina okutegeera asobola okumanya ebirowoozo n’enneewulira ya munne mu bufumbo. (Engero 20:5) Ng’ayitira mu Sulemaani, Yakuwa yagamba nti: “Mwana wange, ssangayo omwoyo eri amagezi gange; Teganga okutu eri okutegeera kwange.”—Engero 5:1.
Bwe Wabaawo “Okubonaabona”
12. Lwaki tekyewuunyisa nti abafumbo boolekagana n’ebizibu?
12 Tewali bufumbo butabaamu bizibu. Baibuli egamba nti omwami n’omukyala bajja kuba “n’okubonaabona mu mubiri.” (1 Abakkolinso 7:28) Okweraliikirira, obulwadde, okuyigganyizibwa n’ebintu ebirala bingi biyinza okuleetawo ebizibu mu bufumbo. Kyokka, ebizibu bwe bibalukawo, mwetaaga okubigonjoolera awamu ng’abafumbo abeesigwa era abaagala okusanyusa Yakuwa.
13. Omwami n’omukyala bayinza kwekebera batya?
13 Watya singa obufumbo bulimu ebizibu olw’engeri buli omu gy’ayisaamu munne? Kiba kyetaagisa okufuba okusobola okugonjoola ekizibu ekyo. Ng’ekyokulabirako, kiyinzika okuba nti bakozesa ebigambo ebitali bya kisa mu bufumbo bwabwe. (Engero 12:18) Nga bwe twalabye mu kitundu ekiwedde, ebiva mu ekyo tebiba birungi. Olugero lwa Baibuli lugamba: “Beeranga mu nsi ey’eddungu Olemenga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.” (Engeri 21:19) Bw’oba oli mukazi mu bufumbo obw’ekika ekyo, weebuuze ‘enneeyisa yange ekifuula kizibu eri omwami wange okufunayo ekiseera ne tubeerako ffembi?’ Baibuli egamba bw’eti abasajja: “Mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatirwanga bukambwe.” (Abakkolosaayi 3:19) Bw’oba oli mwami, weebuuze ‘engeri gye nneeyisaamu teyoleka kwagala ne kiviirako omukyala wange okunoonya omukwano awalala?’ Kya lwatu, tewali kyonna kye tuyinza kwekwasa okukola obwenzi. Olw’okuba akabi ng’ako kayinza okubaawo, ye nsonga lwaki ebizibu birina okwogerwako mu bwesimbu.
14, 15. Lwaki okunoonya okubudaabudibwa wabweru w’obufumbo si kye kijja okugonjoola ebizibu mu bufumbo?
14 Okunoonya okubudaabudibwa wabweru w’obufumbo si kye kijja okugonjoola ebizibu mu bufumbo. Ekyo bwe kibaawo kiki ekiyinza okuvaamu? Obufumbo obulala obusingako obulungi? Abamu bayinza okulowooza bwe batyo. Bayinza okugamba nti, ‘omuntu ono alina engeri ennungi ze njagala.’ Naye endowooza ng’eyo nkyamu, kubanga omuntu yenna ayabulira munne mu bufumbo oba akukubiriza naawe oleke munno mu bufumbo aba tassa kitiibwa mu nteekateeka ya bufumbo. Tekiba kya magezi okulowooza nti enkolagana ng’eyo eyinza okuvaamu obufumbo obusingako obulungi.
15 Mary, eyayogeddwako emabega, yalowooza ku byandivudde mu kkubo lye yali akutte nga mw’otwalidde n’okwereetera ye kennyini okufiirwa enkolagana ye ne Katonda oba okuleetera omuntu omulala okugifiirwa. (Abaggalatiya 6:7) Agamba nti: “Bwe nnatandika okwekkaanya enkolagana gye nnalina n’omusajja eyali akola n’omwami wange, nnakitegeera nti, bwe kiba nti ddala omusajja oyo yali ayagala okuyiga amazima, nnali mulemesa. Okwenyigira mu bwenzi kyandiyisizza bubi omuntu yenna akwatibwako era kyandyesitazza n’abalala!”—2 Abakkolinso 6:3.
Ekisingayo Okutukubiriza
16. Biki ebiyinza okuva mu bwenzi?
16 Baibuli erabula nti: “Emimwa gy’omukazi omugenyi gitonnya omubisi gw’enjuki, N’akamwa ke kasinga amafuta obugonvu: Naye enkomerero ey’oluvannyuma ekaawa ng’omususa, Esala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.” (Engero 5:3, 4) Ebiva mu bwenzi biba bya kabi nnyo. Bizingiramu okulumizibwa omuntu ow’omunda, endwadde ez’obukaba, n’okulumya munno mu bufumbo akuumye obwesigwa bwe. Eyo ye nsonga lwaki omuntu yandyewaze ekkubo lyonna eryandimuviiriddeko okwenyigira mu bwenzi.
17. Kiki ekyandisinze okutukubiriza okusigala nga tuli beesigwa mu bufumbo?
17 Ensonga enkulu lwaki obwenzi bubi eri nti Yakuwa Eyatandikawo obufumbo era eyatuwa obusobozi bw’okwetaba, abuvumirira. Okuyitira mu nnabbi Malaki, agamba nti: “Ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri . . . abenzi.” (Malaki 3:5) Ku bikwata ku ekyo Yakuwa ky’alaba, Engero 5:21 lugamba: “Amakubo g’abantu gali mu maaso ga Mukama, Era atereeza eŋŋendo ze zonna.” Yee, “ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g’oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.” (Abaebbulaniya 4:13) N’olwekyo ekyandisinze okutukubiriza okusigala nga tuli beesigwa mu bufumbo, kwe kukitegeera nti ka kibe nti obwenzi bukoleddwa mu kyama era nga n’ebinaavaamu biyinza okulabika ng’ebitali bya kabi nnyo eri oyo akoze obwenzi, era nga buyinza okulabika ng’obutayisa bubi balala, ekikolwa kyonna eky’obugwenyufu kyonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.
18, 19. Ebyo ebyaliwo wakati wa Yusufu ne mukyala wa Potifali bituyigiriza ki?
18 Ekyokulabirako kya Yusufu mutabani wa Yakobo, kiraga nti okwagala okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kye kyanditukubirizza okusigala nga tuli beesigwa mu bufumbo. Olw’okusiimibwa Potifali omukungu mu lubiri lwa Falaawo, Yusufu yaweebwa obuvunaanyizibwa mu nnyumba ya Falaawo. Ate era Yusufu ‘yali alabika bulungi,’ ne kiviirako mukyala wa Potifali okumwegwanyiza. Buli lunaku yagezangako okusendasenda Yusufu okwetaba naye, kyokka ekyo kyagwa butaka. Kiki ekyaleetera Yusufu okugaana okwetaba naye? Baibuli etugamba nti: “Naye n’agaana, n’agamba mukazi wa mukama we . . . so teyasigaza kintu obutakimpa nze wabula ggwe, kubanga oli mukazi we: kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n’okusobya [mu maaso ga] Katonda?”—Olubereberye 39:1-12.
19 Yusufu ataali mufumbo yakuuma obugolokofu bwe ng’agaana okukola obwenzi n’omukazi w’omusajja omulala. Engero 5:15 lugamba nti: “Onywerenga amazzi mu kidiba kyo ggwe, N’amazzi agakulukuta mu luzzi lwo ggwe.” Weewale okukulaakulanya omukwano ogw’okulusegere n’omuntu atali munno mu bufumbo. Naye fuba nnyo okunyweza okwagala kwe mulina mu bufumbo, era mugezeeko okugonjoola buli kizibu kye mwolekagana nakyo mu bufumbo. Mu buli ngeri yonna, ‘sanyuka n’omukazi ow’omu buvubuka bwo.’—Engero 5:18.
Kiki ky’Oyize?
• Omukristaayo ayinza atya okwesanga ng’akoze omukwano ogw’oku lusegere n’omuntu atali munne mu bufumbo?
• Biki ebiyinza okuyamba omuntu obutakola mukwano gwa ku lusegere n’omuntu atali munne mu bufumbo?
• Abafumbo bwe baba n’ebizibu bandikoze ki?
• Kiki ekyandisinze okutukubiriza okukuuma obwesigwa mu bufumbo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Eky’ennaku, ekifo abantu gye bakolera kiyinza okuviirako omuntu okuba n’omukwano n’oyo atali munne mu bufumbo