Okufuna Essanyu mu Bufumbo
“Buli omu ku mmwe agwanidde okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala; . . . n’omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.”—BEF. 5:33.
1. Wadde ng’omusajja n’omukazi bwe baba baakagattibwa baba basanyufu nnyo, kiki abo bonna abayingira obufumbo kye balina okusuubira? (Laba ekifaananyi waggulu.)
KU LUNAKU omusajja n’omukazi lwe bagattibwa baba basanyufu nnyo. Ekiseera kye baba bamaze nga boogerezeganya, okwagala buli omu kw’aba alina eri munne kuba kweyongedde ne kiba nti kati baba beetegefu okweyama buli omu okunywerera ku munne. Naye okuba nti abantu ababiri batandika okubeera awamu mu bufumbo, waliwo enkyukakyuka eziba zeetaaga okukolebwa. Ekigambo kya Katonda kirimu amagezi agayamba abafumbo bonna, kubanga Katonda ye yatandikawo obufumbo era ayagala abo bonna abayingira obufumbo bafune essanyu mu bufumbo bwabwe. (Nge. 18:22) Wadde kiri kityo, Ebyawandiikibwa bikiraga nti abantu ababiri abatatuukiridde bwe bafumbiriganwa baba ‘n’okubonaabona mu mibiri gyabwe.’ (1 Kol. 7:28) Kiki ekiyinza okuyamba omwami n’omukyala okukendeeza ku kubonaabona okwo? Era kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo abafumbo okufuna essanyu mu bufumbo bwabwe?
2. Bika ki eby’okwagala abafumbo bye basaanidde okwoleka?
2 Bayibuli eraga nti okwagala kintu kikulu nnyo mu bufumbo. Okwagala okubaawo wakati w’abantu ab’omukwano (Oluyonaani, phi·liʹa) kwetaagisa mu bufumbo. Okwagala okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi (eʹros) kuyamba omwami ne mukyala we okunyumirwa obulamu mu bufumbo bwabwe. Ate okwagala okubaawo wakati w’ab’eŋŋanda (stor·geʹ) kukulu nnyo, naddala ng’abafumbo bafunye abaana. Naye okwagala okwesigamiziddwa ku misingi (a·gaʹpe) kwe kuleetera abafumbo okufuna essanyu erya nnamaddala mu bufumbo bwabwe. Ng’ayogera ku kwagala okwo, omutume Pawulo yagamba nti: “Buli omu ku mmwe agwanidde okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala kennyini; n’omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.”—Bef. 5:33.
OBUVUNAANYIZIBWA OMWAMI N’OMUKYALA BWE BALINA
3. Okwagala abafumbo kwe balina okuba nakwo kulina kuba kwa maanyi kwenkana wa?
3 Pawulo yagamba nti: “Abaami mweyongere okwagala bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo.” (Bef. 5:25) Abagoberezi ba Yesu bamukoppa nga baagalana nga Yesu bwe yabaagala. (Soma Yokaana 13:34, 35; 15:12, 13.) N’olwekyo, omwami n’omukyala Abakristaayo balina okwagalana ennyo ne kiba nti bwe kiba kyetaagisa, buli omu aba mwetegefu okufiirira munne. Naye ekyo si kyangu kukola, naddala ng’abafumbo bafunye obutakkaanya obw’amaanyi. Wadde kiri kityo, okwagala okuyitibwa a·gaʹpe “kugumira ebintu byonna, kukkiriza ebintu byonna, kusuubira ebintu byonna, kugumiikiriza ebintu byonna.” ‘Okwagala okwo tekulemererwa.’ (1 Kol. 13:7, 8) Omwami ne mukyala we bwe bakijjukira nti beeyama buli omu okwagala munne n’okuba omwesigwa gy’ali kijja kubakubiriza okukolera ku misingi gya Katonda egy’obutuukirivu okugonjoola ekizibu kyonna ekiba kizzeewo.
4, 5. (a) Buvunaanyizibwa ki omwami bw’alina ng’omutwe gw’amaka? (b) Omukyala asaanidde kutwala atya obukulembeze bw’omwami we? (c) Nkyukakyuka ki omwami omu ne mukyala we ze baalina okukola?
4 Ng’ayogera ku buvunaanyizibwa buli omu ku bafumbo bw’alina, Pawulo yagamba nti: “Abakyala bagonderenga abaami baabwe nga bwe bagondera Mukama waffe, kubanga omwami gwe mutwe gwa mukyala we era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekibiina.” (Bef. 5:22, 23) Ekyo tekitegeeza nti omukyala wa wansi ku mwami we. Naye omukyala bw’akolera ku bigambo ebyo, kimuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yayagala omukazi atuukirize bwe yagamba nti: “Si kirungi omusajja [Adamu] okweyongera okubeeranga yekka. Ŋŋenda kumukolera omuyambi; omuntu amusaanira.” (Lub. 2:18) Nga Yesu, “omutwe gw’ekibiina,” bw’alaga ekibiina okwagala, n’omwami asaanidde okukulembera mukyala we mu ngeri ey’okwagala. Omwami bw’akola bw’atyo, mukyala we ajja kuwulira ng’alina obukuumi, era kijja kumwanguyira okussaamu omwami we ekitiibwa, okumuwagira, n’okumugondera.
5 Mwannyinaffe omufumbo ayitibwa Cathy[1] yakiraba nti omuntu bw’ayingira obufumbo alina okubaako enkyukakyuka z’akola. Yagamba nti: “Bwe nnali sinnafumbirwa, buli kimu nze nnali nkyesalirawo era nga nze nneerabirira. Bwe nnafumbirwa nnalina okukola enkyukyuka ez’amaanyi kubanga kati nnalina okwesigama ku mwami wange mu bintu bingi. Oluusi ekyo tekibadde kyangu, naye olw’okuba nze n’omwami wange tukolera ku magezi Yakuwa g’atuwa kituyambye okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ennyo.” Omwami we, Fred, agamba nti: “Tekyannyanguyiranga kusalawo ku bintu ebitali bimu. Naye ate mu bufumbo oba olina okulowooza ne ku munno ng’olina ky’osalawo era ekyo kyeyongera okukifuula ekizibu gye ndi okusalawo. Naye okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa, okusaba, n’okuwuliriza endowooza ya mukyala wange nga sinnasalawo, kinnyambye okwanguyirwa okusalawo obulungi. Mpulira nga nze ne mukyala wange tuli bumu!”
6. Okwagala kuyamba kutya abafumbo okuba obumu nga bafunye obutategeeragana?
6 Omwami n’omukyala buli omu bw’agumiikiriza munne era n’amusonyiwa, kiyamba obufumbo bwabwe okwongera okunywera. Omwami n’omukyala bombi bakola ensobi. Bwe bakola ensobi kibawa akakisa okuyigira ku nsobi ezo, okusonyiwagana, n’okwoleka okwagala ‘okunywereza ddala obumu.’ (Bak. 3:13, 14) Ate era “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. . . . tekusiba kiruyi.” (1 Kol. 13:4, 5) Abafumbo basaanidde okugonjoola obutategeeragana amangu ddala nga bwe kisoboka. Basaanidde okugonjoola obutakkaanya ng’olunaku terunnaggwaako. (Bef. 4:26, 27) Kyetaagisa obwetoowaze okugamba munno nti “Nsonyiwa.” Naye ekyo bw’okikola kiyamba okumalawo obutakkaanya era kyongera okunyweza obufumbo bwammwe.
KIKULU OKULAGA MUNNO OMUKWANO
7, 8. (a) Magezi ki agakwata ku kwegatta Bayibuli g’ewa abafumbo? (b) Lwaki abafumbo basaanidde okulagaŋŋana omukwano?
7 Bayibuli ewa amagezi amalungi agasobola okuyamba abafumbo bwe kituuka ku nsonga y’okwegatta. (Soma 1 Abakkolinso 7:3-5.) Kikulu buli omu ku bafumbo okufaayo ku nneewulira za munne. Omukyala bw’atalagibwa mukwano, ayinza obutafuna ssanyu mu kwegatta. Bayibuli ekubiriza abasajja okutegeera obulungi bakyala baabwe. (1 Peet. 3:7) Tekiba kirungi kukaka munno kwegatta. Munno alina okuba ng’ekyo naye akyagadde. Emirundi mingi abasajja bafuna mangu obwagazi okusinga abakazi. Wadde kiri kityo, we mwegattira, buli omu alina okuba ng’awulira nti ekyo akyagala.
8 Wadde nga Bayibuli tewa mateeka ku ngeri ez’enjawulo abafumbo gye basaanidde okulagaŋŋanamu omukwano nga beegatta, eyogera ku bintu ebimu ebyoleka omukwano wakati w’abaagalana. (Luy. 1:2; 2:6) Abakristaayo abafumbo basaanidde okulagaŋŋana omukwano.
9. Lwaki kikyamu omuntu okwegwanyiza omuntu atali munne mu bufumbo?
9 Abafumbo bwe baba baagala nnyo Katonda era nga buli omu ayagala nnyo munne, tebakkiriza muntu yenna oba kintu kyonna kwonoona bufumbo bwabwe. Obufumbo obumu buweddemu essanyu ate obulala busasise olw’omu ku bafumbo okutandika okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Abafumbo balina okwewala ebifaananyi eby’obuseegu oba okwegwanyiza omuntu yenna atali munnaabwe mu bufumbo. Okuzannyirira n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula atali munno mu bufumbo tekiba kikolwa kya kwagala, era abafumbo balina okukyewala. Bwe tukijjukira nti Katonda amanyi bye tulowooza era nti alaba bye tukola, kijja kutukubiriza okuba abamalirivu okumusanyusa n’okusigala nga tuli bayonjo mu maaso ge.—Soma Matayo 5:27, 28; Abebbulaniya 4:13.
EBIZIBU BWE BIJJAWO MU BUFUMBO
10, 11. (a) Abafumbo benkana wa abagattululwa? (b) Kiki Bayibuli ky’eyogera ku kwawukana? (c) Kiki ekiyinza okuyamba abafumbo obutaawukana?
10 Ebizibu eby’amaanyi bwe bijjawo mu bufumbo, kiyinza okuleetera omu ku bafumbo oba bombi okulowooza ku kwawukana oba ku kugattululwa. Mu nsi ezimu kimu kya kubiri eky’abafumbo bagattululwa. Abafumbo abagattululwa si bangi mu kibiina Ekikristaayo, naye ennaku zino ebizibu ebitali bimu byeyongedde ne mu bufumbo bw’Abakristaayo.
11 Bayibuli egamba nti: “Omukyala talekanga mwami we. Naye bw’amulekanga, tafumbirwanga, oba si ekyo addiŋŋane n’omwami we; n’omwami talekanga mukyala we.” (1 Kol. 7:10, 11) Abafumbo okwawukana tekisaanidde kutwalibwa ng’ekintu ekitono. Wadde ng’abafumbo okwawukana kiyinza okulabika ng’ekinaagonjoola ebizibu eby’amaanyi ebiba bizzeewo, emirundi mingi kyongera bizibu ku bizibu. Oluvannyuma lw’okugamba nti Katonda yagamba nti omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we, Yesu yagattako nti: “Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.” (Mat. 19:3-6; Lub. 2:24) Ekyo era kiraga nti omwami n’omukyala nabo bennyini tebalina kwawulamu ekyo ‘Katonda kye yagatta awamu.’ Yakuwa ayagala abafumbo babeere wamu obulamu bwabwe bwonna. (1 Kol. 7:39) Abafumbo bwe bakijjukira nti buli omu ku ffe ajja kulamulwa mu maaso ga Katonda, kijja kubakubiriza okufuba okugonjoola amangu ddala ebizibu ebiba bizzeewo, nga tebinnasajjuka.
12. Kiki ekiyinza okuleetera omu ku bafumbo okulowooza ku ky’okwawukana ne munne?
12 Oluusi ebizibu ebijjawo mu bufumbo biva ku kuba nti abafumbo basuubira ebitasoboka. Omuntu bw’atafuna ssanyu mu bufumbo nga bwe yali asuubira, ayinza okutandika okwejjusa. Ate era eky’okuba nti omusajja n’omukazi baba n’enneewulira za njawulo n’okuba nti baba baakulira mu mbeera za njawulo, nakyo kisobola okuleetawo ebizibu mu maka gaabwe. Ate oluusi ebizibu biyinza okuva ku ssente, ab’eŋŋanda, oba ku ngeri y’okukuzaamu abaana. Naye kisanyusa nnyo okulaba nti Abakristaayo bangi abafumbo bagonjoola ebizibu ng’ebyo, kubanga bagoberera obulagirizi bwa Katonda.
13. Nsonga ki eziyinza okusinziirwako omuntu okwawukana ne munne mu bufumbo?
13 Oluusi wayinza okubaawo ensonga ey’amaanyi eyinza okuleetera omu ku bafumbo okusalawo okwawukana ne munne. Munne ayinza okuba nga mu bugenderevu agaanye okumulabirira, ng’amukola ebintu ebiyinza okumuviiramu okufiirwa obulamu bwe, oba nga tamukkiriza kuweereza Katonda. Abafumbo Abakristaayo abalina ebizibu eby’amaanyi basaanidde okutuukirira abakadde mu kibiina babayambe. Ab’oluganda abo abalina obumanyirivu basobola okubayamba okukolera ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda. Abafumbo bwe baba bagonjoola ebizibu, basaanidde okusaba Yakuwa abawe omwoyo gwe era abayambe okukolera ku misingi egiri mu Bayibuli n’okwoleka ekibala ky’omwoyo omutukuvu.—Bag. 5:22, 23.[2]
14. Magezi ki Bayibuli g’ewa Abakristaayo abafumbo abalina bannaabwe mu bufumbo abatali baweereza ba Yakuwa?
14 Abakristaayo abamu balina bannaabwe mu bufumbo nga si baweereza ba Yakuwa. Bayibuli eraga ensonga lwaki Abakristaayo abali mu mbeera ng’eyo balina okusigala awamu ne bannaabwe abatali bakkiriza. (Soma 1 Abakkolinso 7:12-14.) Oyo atali mukkiriza, k’abe ng’akimanyi oba nga takimanyi, “atukuzibwa” olw’okuba n’omwami oba omukyala omukkiriza. Era abafumbo abo abaana baabwe batwalibwa okuba ‘abatukuvu’ era Katonda abakuuma. Pawulo yagamba nti: “Ggwe omukyala, omanyi otya obanga ojja kulokola omwami wo? Oba ggwe omwami, omanyi otya obanga ojja kulokola mukyala wo?” (1 Kol. 7:16) Kumpi mu buli kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa mulimu abafumbo, nga mwannyinaffe oba muganda waffe ye yayamba munne okuyiga amazima.
15, 16. (a) Magezi ki Bayibuli g’ewa abakyala Abakristaayo abalina babbaabwe abataweereza Yakuwa? (b) Kiki Omukristaayo ky’asaanidde okukola singa munne ‘atali mukkiriza asalawo okugenda’?
15 Omutume Peetero yagamba abakazi Abakristaayo okugonderanga babbaabwe, kibe nti “bwe wabaawo abatakkiriza kigambo balyoke bawangulwe awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe, olw’okuba baba balabye empisa zammwe ennongoofu n’ekitiibwa eky’amaanyi kye mubassaamu.” Mu kifo ky’okubuulira obubuulizi abaami baabwe ebyo ebiri mu Bayibuli, abakyala basaanidde okwoleka “omwoyo omuteefu era omuwombeefu, ogw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda,” kubanga ekyo kiyinza okukwata ennyo ku baami baabwe ne bayiga amazima.—1 Peet. 3:1-4.
16 Watya singa oyo atali mukkiriza asalawo okwawukana ne munne mu bufumbo omukkiriza? Bayibuli egamba nti: “Atali mukkiriza bw’asalawo okugenda, muleke agende; muganda waffe oba mwannyinaffe tavunaanyizibwa mu mbeera ng’eyo, naye Katonda yabayita okuba mu mirembe.” (1 Kol. 7:15) Naye ekyo tekitegeeza nti kati Omukristaayo aba asobola okuddamu okufumbirwa oba okuwasa omuntu omulala. Ate era tekimwetaagisa kukaka munne atali mukkiriza kusigala naye. Munne atali mukkiriza bw’asalawo okwawukana naye kisobola okuyamba Omukristaayo okufuna emirembe. Era Omukristaayo aba n’essuubi nti ekiseera kiyinza okutuuka munne oyo n’akomawo kyeyagalire mu bufumbo bwabwe era oboolyawo naye n’afuuka omukkiriza.
ABAFUMBO KYE BALINA OKUKULEMBEZA MU BULAMU
17. Kiki Abakristaayo abafumbo kye balina okukulembeza?
17 Olw’okuba tuli “mu nnaku ez’enkomerero,” twolekagana n’embeera enzibu ennyo. (2 Tim. 3:1-5) Naye bwe tusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo, tujja kusobola okwaŋŋanga embeera enzibu ze twolekagana nazo. Pawulo yagamba nti: “Ekiseera ekisigaddeyo kitono. N’olwekyo, abo abalina abakyala babe ng’abatabalina, . . . n’abo abakozesa ensi babe ng’abo abatagikozesa mu bujjuvu.” (1 Kol. 7:29-31) Wano Pawulo yali tagamba bafumbo kulagajjalira buvunaanyizibwa bwabwe. Naye olw’okuba ekiseera ekisigaddeyo kitono, abafumbo balina okukulembeza ebintu eby’omwoyo.—Mat. 6:33.
18. Lwaki Abakristaayo basobola okufuna essanyu mu bufumbo bwabwe?
18 Wadde ng’ekiseera kye tulimu kizibu era ng’obufumbo bungi busasika, tusobola okufuna essanyu mu bufumbo bwaffe. Abakristaayo abafumbo bwe banywerera ku kibiina kya Yakuwa, ne bakolera ku kubuulirira okuli mu Byawandiikibwa, era ne bakkiriza okukulemberwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu, bajja kusobola okukuuma ekyo ‘Katonda kye yagatta awamu.’—Mak. 10:9.
^ [1] (akatundu 5) Amannya gakyusiddwa.
^ [2] (akatundu 13) Laba ekitundu “Bayibuli Eyogera Ki ku Kugattululwa n’Okwawukana” mu ebyongerezeddwaako mu katabo ‘Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda,’ ku lupapula 219-221.