Dduka Embiro z’Empaka n’Obugumiikiriza
“Ka tudduke n’obugumiikiriza embiro ez’empaka ezituteereddwawo.”—BEB. 12:1.
1, 2. Obulamu bw’Ekikristaayo Bayibuli ebugeraageranya ku ki?
BULI mwaka, wabaawo embiro z’empaka ezitegekebwa mu bifo ebitali bimu okwetooloola ensi. Abaddusi abalungi bagenda mu mpaka ezo n’ekiruubirirwa kimu kyokka—kuwangula. Naye abaddusi abasinga obungi bo baba tebasuubira kuwangula. Kye baba baagala kwe kumalako obumazi empaka.
2 Bayibuli egeraageranya obulamu bw’Ekikristaayo ku mbiro z’empaka. Pawulo yayogera ku nsonga eno mu bbaluwa ye eyasooka gye yawandiikira Bakristaayo banne abaali mu kibiina ky’e Kkolinso eky’edda. Yawandiika nti: “Temumanyi nti abaddusi mu mbiro ez’empaka bonna badduka naye omu yekka y’afuna ekirabo? Mudduke mu ngeri eneebasobozesa okukifuna.”—1 Kol. 9:24.
3. Lwaki Pawulo yagamba nti omuddusi omu yekka y’afuna ekirabo?
3 Pawulo bwe yagamba nti omuddusi omu yekka y’afuna ekirabo, yali ategeeza nti Omukristaayo omu yekka ye yandifunye ekirabo ky’obulamu? Nedda! Abaddusi mu biseera by’edda beetendekanga nnyo era baakolanga kyonna ekisoboka okulaba nti bawangula empaka. Pawulo yali ayagala Bakristaayo banne bakole kyonna ekisoboka okusigala nga beesigwa eri Yakuwa basobole okumalako empaka ez’obulamu. Abakristaayo bonna abamalako empaka ezo bafuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.
4. Kiki kye twetaaga okumanya ku mbiro eziteereddwa mu maaso gaffe?
4 Ebigambo ebyo bituzzaamu nnyo amaanyi, naye era bituleetera okulowooza ennyo ku ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe. Lwaki? Kubanga ekirabo Katonda ky’atusuubizza—ka bube bulamu bwa mu ggulu oba bwa mu Lusuku lwa Katonda ku nsi—kya muwendo nnyo. Kituufu nti embiro ze tudduka mpanvu era si nnyangu; mulimu ebizibu bingi, n’ebintu bingi ebisobola okutuwugula. (Mat. 7:13, 14) Eky’ennaku kiri nti waliwo abamu abaddiridde oba abalekedde awo okuweereza Yakuwa. Bizibu ki Omukristaayo by’asobola okufuna mu mbiro ez’obulamu? Oyinza otya okubyewala? Kiki ky’oyinza okukola okusobola okumalako embiro ezo bw’otyo n’owangula ekirabo ky’obulamu?
Obugumiikiriza Bwetaagisa Okusobola Okuwangula
5. Kiki Pawulo kye yayogerako mu Abebbulaniya 12:1?
5 Mu bbaluwa ye eri Abakristaayo Abebbulaniya abaali babeera mu Yerusaalemi ne mu Yuda, Pawulo era yayogera ku baddusi abali mu mbiro ez’empaka. (Soma Abebbulaniya 12:1.) Yalaga ensonga lwaki Abakristaayo balina okweyongera okudduka embiro ez’empaka era n’alaga n’ekyo kye basaanidde okukola okusobola okuwangula. Ka tusooke twetegereze ensonga lwaki Pawulo yawandiikira Abakristaayo abo ebbaluwa eyo n’ekyo kye yali ayagala bakole. Oluvannyuma tujja kulaba ekyo kye tuyigira ku ebyo bye yabawandiikira.
6. Kiki abakulembeze b’eddiini kye baali baagala Abakristaayo bakole?
6 Abakristaayo mu kyasa ekyasooka, naddala abo abaali babeera mu Yerusaalemi ne mu Yuda, baali boolekagana n’ebizibu bingi. Baali bayigganyizibwa abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya, abaali bawaliriza abantu okubagondera. Emabegako, abakulembeze b’eddiini abo baali baleetedde abantu okulowooza nti Yesu Kristo yali mumenyi w’amateeka eyali agwana okuttibwa. Abakulembeze b’eddiini abo baali basse Yesu era nga kati baali baagala okukomya omulimu gw’abo abaali bamwogerako. Ekitabo ky’Ebikolwa kiraga nti okuviira ddala ku Pentekooti 33 E.E., enfunda n’enfunda abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abo baagezaako okutiisatiisa n’okukwata Abakristaayo nga baagala okubalemesa okubuulira. Bwe kityo, obulamu tebwali bwangu eri Abakristaayo abo abeesigwa.—Bik. 4:1-3; 5:17, 18; 6:8-12; 7:59; 8:1, 3.
7. Mbeera ki enzibu Abakristaayo Pawulo be yawandiikira ebbaluwa gye baalimu?
7 Ensonga endala lwaki Abakristaayo abo baali mu mbeera nzibu eri nti baaliwo mu kiseera nga Yerusaalemi kinaatera okuzikirizibwa. Yesu yali yababuulira ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Era yali yababuulira ku bintu ebyandibaddewo ng’okuzikirizibwa okwo tekunnabaawo n’ekyo kyennyini kye baalina okukola okusobola okuwonawo. (Soma Lukka 21:20-22.) Yesu yabagamba nti: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kulya, ku kunywa, n’okweraliikirira eby’obulamu, olunaku olwo luleme kubagwako bugwi.”—Luk. 21:34.
8. Biki ebiyinza okuba nga byaleetera Abakristaayo abamu okuddirira mu by’omwoyo oba okulekera awo okuweereza Yakuwa?
8 Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ye eri Abebbulaniya, waali wayise emyaka nga 30 bukya Yesu ayogera ebigambo ebyo. Kiki ekyatuuka ku Bakristaayo abo mu myaka egyo 30? Abamu bakkiriza ebizibu awamu n’okweraliikirira ebintu eby’obulamu okubalemesa okukulaakulana mu by’omwoyo. (Beb. 5:11-14) Abalala bayinza okuba nga baali balowooza nti obulamu bwandibanguyidde bwe bandyeyisizza ng’Abayudaaya abasinga obungi abaali babeetoolodde bwe baali beeyisa. Bayinza okuba nga baali balowooza nti ekyo tekyali kikyamu okuva bwe kiri nti Abayudaaya abo baali tebannaviira ddala ku Katonda; baali bakyakwata agamu ku Mateeka ga Musa. Ate era waaliwo abantu abamu mu kibiina abaali bagezaako okukaka abalala okukwata Amateeka ga Musa n’obulombolombo bw’Ekiyudaaya. Abakristaayo abamu bekkiriranya olw’okutya abantu abo. Kiki Pawulo kye yayogera ekyandiyambye Bakristaayo banne okusigala nga batunula mu by’omwoyo basobole okudduka embiro z’obulamu n’obugumiikiriza?
9, 10. (a) Bwe yali akomekereza essuula 10 ey’ebbaluwa ye eri Abebbulaniya, kiki Pawulo kye yagamba Abakristaayo Abebbulaniya? (b) Lwaki Pawulo yawandiika ku bikolwa eby’okukkiriza eby’abajulirwa abeesigwa ab’edda?
9 Yakuwa yaluŋŋamya Pawulo okuwandiika ebbaluwa eyazzaamu ennyo amaanyi Abakristaayo Abebbulaniya. Mu ssuula 10 ey’ebbaluwa eyo, Pawulo yagamba nti Amateeka kyali ‘kisiikirize busiikirize eky’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja’ era n’alaga n’omugaso gwa ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo. Bwe yali akomekereza essuula eyo, Pawulo yabagamba nti: “Mwetaaga okugumiikiriza musobole okufuna ekyo kye yasuubiza, nga mumaze okukola Katonda by’ayagala. Kubanga wasigaddeyo ‘akaseera katono nnyo,’ era ‘oyo ow’okujja, ajja era tajja kulwa.’”—Beb. 10:1, 36, 37.
10 Mu Abebbulaniya essuula 11, Pawulo annyonnyola kye kitegeeza okuba n’okukkiriza okwa nnamaddala mu Katonda. Mu ssuula eyo ayogera ku bintu abasajja n’abakazi abaalina okukkiriza okwa nnamaddala bye baakola. Mu kwogera ku bintu ebyo Pawulo yali avudde ku mulamwa? Nedda. Omutume oyo yali ayagala bakkiriza banne bakimanye nti okusobola okwoleka okukkiriza okwa nnamaddala, kyali kibeetaagisa okuba abavumu era abagumiikiriza. Ebyokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa abo ab’edda abaali abeesigwa byandiyambye Abakristaayo abo Abebbulaniya okwaŋŋanga ebizibu bye baali boolekagana nabyo. Bwe kityo, oluvannyuma lw’okwogera ku bintu abantu abo bye baakola ebyali biraga nti baalina okukkiriza, Pawulo yagamba nti: “Olw’okuba tulina ekibinja ekinene eky’abajulirwa ekitwetoolodde, ka tweyambuleko buli ekizitowa kyonna n’ekibi ekitwezingako amangu, era ka tudduke n’obugumiikiriza embiro ez’empaka ezituteereddwawo.”—Beb. 12:1.
‘Ekibinja ky’Abajulirwa’
11. Okulowooza ku kyokulabirako ‘ky’ekibinja ekinene eky’abajulirwa’ kiyinza kutuyamba kitya?
11 Pawulo yayogera ku baweereza ba Yakuwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnatandika ‘ng’ekibinja ekinene eky’abajulirwa abatwetoolodde.’ Baasigala nga beesigwa eri Yakuwa okutuukira ddala okufa, era ekyokulabirako kyabwe kiraga nti Abakristaayo basobola okusigala nga beesigwa eri Yakuwa ne bwe baba boolekagana n’embeera enzibu ennyo. Baalinga abaddusi abaali bamazeeko empaka. Ekyokulabirako kyabwe kyandiyambye abalala okweyongera okudduka. Bwe tuba mu mpaka z’okudduka nga tukimanyi nti waliwo abaddusi abalungi abatulaba era abatukubiriza okweyongera okudduka, ekyo tekyandituletedde okukola kyonna ekisoboka okulaba nti tudduka ne tumalako empaka ezo? Abakristaayo Abebbulaniya baali beetaaga okulowooza ku byokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa abo abaaliwo mu biseera by’edda. Ekyo kyandibayambye okuba abavumu n’okukiraba nti baali basobola ‘okudduka embiro ez’empaka n’obugumiikiriza’ ne bazimalako. Era naffe ekyokulabirako kyabwe kisobola okutuyamba.
12. Kiki kye tuyigira ku baweereza ba Katonda Pawulo be yayogerako?
12 Bangi ku baweereza ba Katonda Pawulo be yayogerako baali mu mbeera ezifaananako ezaffe. Ng’ekyokulabirako, Nuuwa yaliwo mu kiseera ng’Amataba ganaatera okuzikiriza ensi. Naffe tuli mu kiseera nga Katonda anaatera okuzikiriza enteekateeka eno ey’ebintu. Yakuwa yagamba Ibulayimu ne Saala okuva mu nsi yaabwe. Yabasuubiza nti bandivuddemu eggwanga eryandimuweerezza, era baalindirira okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Yakuwa ekyo. Naffe tukubirizibwa okulekera awo okwetwala ffekka tusobole okusiimibwa Yakuwa era tufune n’emikisa gy’atusuubizza. Musa yayita mu ddungu ery’entiisa bwe yali agenda mu Nsi Ensuubize. Naffe tuli mu nsi eno embi eneetera okuzikirizibwa era tulindirira ensi empya eyasuubizibwa. Kikulu nnyo okufumiitiriza ku ebyo abantu abo abeesigwa bye baayitamu. Tusobola okukoppa ebintu bye baakola ebyasanyusa Yakuwa era ne twewala ebyo bye baakola ebyamunyiiza.—Bar. 15:4; 1 Kol. 10:11.
Kiki Ekyabayamba Okumalako Embiro z’Empaka?
13. Bintu ki ebitali bimu Nuuwa bye yalina okukola, era kiki ekyamuyamba okubikola nga Katonda bwe yamulagira?
13 Kiki ekyayamba abaweereza ba Yakuwa abo okugumiikiriza ne basobola okumalako embiro z’empaka? Weetegereze ekyo Pawulo kye yayogera ku Nuuwa. (Soma Abebbulaniya 11:7.) Nuuwa yali talabangako ku mataba. (Lub. 6:17) Amataba gaali tegabangawo ku nsi. Wadde kyali kityo, Nuuwa teyakitwala nti amataba gaali tegasobola kubaawo. Lwaki? Kubanga yali akkiriza nti Yakuwa asobola okutuukiriza kyonna ky’aba agambye. Nuuwa teyalowooza nti Yakuwa kye yali amugambye okukola kyali kizibu nnyo. Mu kifo ky’ekyo, yakolera ddala ekyo Yakuwa kye yamugamba okukola. Bayibuli egamba nti “bw’atyo bwe yakola.” (Lub. 6:22) Bwe tulowooza ku ebyo byonna Nuuwa bye yalina okukola—okuzimba eryato, okukuŋŋanya ebisolo, okukuŋŋanya emmere gye bandiridde nga bali mu lyato era n’ey’ebisolo, okubuulira, n’okuyamba ab’omu maka ge okusigala nga banywevu mu by’omwoyo—tukiraba nti tekyali kyangu kukola buli kimu nga Yakuwa bwe yali amulagidde. Naye olw’okuba Nuuwa yayoleka okukkiriza n’obugumiikiriza ng’akola omulimu Yakuwa gwe yali amuwadde okukola, Yakuwa yamuwonyaawo awamu n’ab’omu maka ge era n’abawa emikisa mingi.
14. Kiki Ibulayimu ne Saala kye baakola ekyalaga nti baalina okukkiriza, era ekyokulabirako kyabwe kituyigiriza ki?
14 Ibulayimu ne Saala be bantu abalala abali mu ‘kibinja ekinene eky’abajulirwa ekitwetoolodde’ Pawulo be yayogerako. Obulamu bwabwe bwakyuka Katonda bwe yabagamba okuva mu maka gaabwe mu Uli. Baali tebamanyi kyali kiyinza kubatuukako. Naye olw’okuba baalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa, baamugondera ne mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo. Bayibuli eyogera ku Ibulayimu nga “kitaawe w’abo bonna ababa n’okukkiriza,” olw’okuba yeefiriza ebintu bingi okusobola okuweereza Yakuwa. (Bar. 4:11) Olw’okuba abo Pawulo be yali awandiikira baali bamanyi bulungi ebikwata ku Ibulayimu awamu n’ab’omu maka ge, teyayogera ku bintu byonna bye baakola ebyali biraga nti baalina okukkiriza. Pawulo yagamba nti: “Bano bonna [nga mw’otwalidde Ibulayimu n’ab’omu maka ge] baafa nga balina okukkiriza wadde ng’ebisuubizo tebyatuukirizibwa mu kiseera kyabwe, naye baabirengerera wala ne babisanyukira era ne baatula mu lujjudde nti bagenyi era batuuze ab’akaseera obuseera mu nsi gye baalimu.” (Beb. 11:13) Tewali kubuusabuusa nti okukkiriza kwe baalina mu Katonda awamu n’enkolagana ennungi gye baalina naye byabayamba okudduka embiro n’obugumiikiriza.
15. Kiki ekyakubiriza Musa okwerekereza obulamu obulungi?
15 Musa ye muweereza wa Yakuwa omulala ali mu ‘kibinja ky’abajulirwa,’ Pawulo be yayogerako. Musa yeerekereza obulamu obulungi “n’alondawo okuyisibwa obubi awamu n’abantu ba Katonda.” Kiki ekyamukubiriza okukola bw’atyo? Pawulo agamba nti: “Yeekaliriza empeera eyali ey’okumuweebwa. . . . Yeeyongera okuba omunywevu ng’alinga alaba Oyo atalabika.” (Soma Abebbulaniya 11:24-27.) Musa teyakkiriza kuwugulibwa “ssanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera.” Olw’okuba Katonda yali wa ddala gy’ali era ng’akimanyi nti ebisuubizo bya Katonda byonna bijja kutuukirira, ekyo kyamuyamba okwoleka obuvumu n’obugumiikiriza. Era kyamuyamba okukola n’obunyiikivu omulimu ogwali gumuweereddwa okuggya Abaisiraeri mu Misiri okubatwala mu Nsi Ensuubize.
16. Kiki ekiraga nti Musa teyanyiiga bwe yagaanibwa okuyingira mu Nsi Ensuubize?
16 Okufaananako Ibulayimu, Musa naye yafa ng’ebyo Katonda bye yali amusuubizza tebinnatuukirira. Abaisiraeri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Katonda yagamba Musa nti: “Olirengera ensi mu maaso go; naye toligendayo mu nsi gye mpa abaana ba Isiraeri.” Kino kyali kityo kubanga emabegako abantu abajeemu baaleetera Musa ne Alooni okunyiiga ne balemererwa okuwa Katonda ekitiibwa “wakati mu baana ba Isiraeri ku mazzi ag’e Meriba.” (Ma. 32:51, 52) Okugaanibwa okuyingira mu Nsi Ensuubize kyaleetera Musa okunyiiga? Nedda. Yasaba Yakuwa awe abantu omukisa era n’akomekkereza ng’agamba nti: “Olina omukisa, ggwe Isiraeri: Ani akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama, engabo ey’okubeerwa kwo, era kye kitala eky’obukulu bwo obusinga!”—Ma. 33:29.
Bye Tuyigamu
17, 18. (a) Bwe kituuka ku mbiro ez’obulamu, kiki kye tuyigira ku ‘kibinja eky’abajulirwa’? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
17 Ebyokulabirako by’abamu ku abo abali mu ‘kibinja ky’abajulirwa ekitwetoolodde’ bitulaze bulungi nti okusobola okudduka embiro ne tuzimalako, tulina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda n’okuba abakakafu nti ajja kutuukiriza ebisuubizo bye. (Beb. 11:6) Okukkiriza okwo kulina okukwata ku ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe leero. Okwawukana ku abo abatalina kukkiriza, ffe abaweereza ba Yakuwa tukimanyi nti waliyo obulamu obulungi Yakuwa bw’atusuubizza. Tusobola okulaba “Oyo atalabika,” bwe kityo ne tusobola okudduka embiro ez’empaka n’obugumiikiriza.—2 Kol. 5:7.
18 Embiro z’Ekikristaayo si nnyangu. Wadde kiri kityo, tusobola okumalako embiro ezo obulungi. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ebintu ebirala ebisobola okutuyamba okudduka tusobole okumalako embiro ezo ez’empaka obulungi.
Osobola Okunnyonnyola?
• Lwaki Pawulo yawandiika ku bikolwa eby’okukkiriza eby’abajulirwa abeesigwa ab’edda?
• Ebyokulabirako by’abo abali mu ‘kibinja ekinene eky’abajulirwa’ biyinza bitya okutuyamba okudduka n’obugumiikiriza?
• Kiki ky’oyize okuva ku byokulabirako by’abajulirwa abeesigwa nga Nuuwa, Ibulayimu, Saala, ne Musa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Ibulayimu ne Saala baali beetegefu okuleka obulamu obulungi bwe baalimu mu Uli