Kiki ‘ky’Osinziirako Okwenyumiriza’?
1. Ku nkomerero ya buli mwezi kiki kye tusinziirako okwenyumiriza?
1 Bwe tusabibwa okuwaayo lipoota zaffe ez’obuweereza ku nkomerero ya buli mwezi, kiki gwe ‘ky’osinziirako okwenyumiriza’? (Bag. 6:4) Ka tube nga tuli bapayoniya ab’enjawulo nga tuwaayo essaawa 130 oba nga tuli babuulizi abakkirizibwa okuwaayo eddakiika 15, ffenna tusaanidde okusanyukira ekyo kye tuba tukoledde Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.—Zab. 100:2.
2. Lwaki tusaanidde okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna?
2 Olw’okuba Yakuwa ye Mukama Afuga Byonna, agwanidde okuweebwa ekisingayo obulungi. (Mal. 1:6) Twewaayo okukola by’ayagala olw’okuba tumwagala. N’olwekyo, bwe tuba tukozesezza bulungi ebiseera byaffe, ebitone byaffe, n’amaanyi gaffe nga tuweereza Yakuwa, ku nkomerero y’olunaku oba ku nkomerero y’omwezi buli omu aba ne ky’asinziirako okwenyumiriza. (Nge. 3:9) Naye omuntu waffe ow’omunda bw’atugamba nti tusobola okukola ekisingawo, tusaanidde okwongeramu amaanyi.—Bar. 2:15.
3. Lwaki si kya magezi kwegeraageranya na balala?
3 ‘Teweegeraageranya na Balala’: Si kya magezi kwegeraageranya na balala oba okugeraageranya ekyo kye tukola kati n’ekyo kye twakolanga nga tukyalina amaanyi mangi. Embeera zikyuka era tuba n’obusobozi bwa njawulo. Okwegeraageranya n’abalala kireetawo okuvuganya oba okuwulira nti tetuli ba mugaso. (Bag. 5:26; 6:4) Yesu teyageraageranyanga bantu. Wabula, yasiimanga buli muntu okusinziira ku ekyo kye yabanga asobodde okukola.—Mak. 14:6-9.
4. Biki bye tuyigira ku lugero lwa Yesu olukwata ku ttalanta?
4 Mu lugero lwa Yesu olukwata ku ttalanta, buli mukozi yaweebwa ttalanta “okusinziira ku busobozi bwe.” (Mat. 25:15) Mukama waabwe bwe yakomawo n’ababuuza ebikwata ku ttalanta ze yabawa, abo abaakola n’obunyiikivu okusinziira ku mbeera zaabwe n’obusobozi bwabwe baasiimibwa era ne basanyukira wamu ne mukama waabwe. (Mat. 25:21, 23) Mu ngeri y’emu naffe bwe tweyongera okubuulira n’obunyiikivu, tuba bakakafu nti Yakuwa atusiima era tuba ne kye tusinziirako okwenyumiriza!