ESSOMO 44
Emikolo Gyonna Gisanyusa Katonda?
Yakuwa ayagala tunyumirwe obulamu era tubeerengako n’ebiseera eby’okusanyukirako awamu ne bannaffe. Ekyo tuyinza n’okukikola nga tugendako ku mikolo. Naye emikolo gyonna gisanyusa Katonda? Tuyinza tutya okulaga nti twagala Yakuwa mu nsonga eno?
1. Lwaki emikolo mingi tegisanyusa Yakuwa?
Kiyinza okukwewuunyisa okukimanya nti emikolo mingi oba ennaku nnyingi ezikuzibwa leero, byesigamiziddwa ku njigiriza ezitali za mu Bayibuli oba byasibuka mu madiini ag’obulimba. Emikolo egimu giyinza okuba nga gyesigamiziddwa ku njigiriza egamba nti omuntu bw’afa waliwo ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu. Ate emikolo emirala giyinza okuba nga gyesigamiziddwa ku bulombolombo obukontana n’Ebyawandiikibwa, oba ku ndowooza egamba nti buli ekitutuukako mu bulamu kiba kyagerekebwa dda. (Isaaya 65:11) Yakuwa agamba abaweereza be nti: ‘Mweyawule, era mulekere awo okukwata ku kitali kirongoofu.’—2 Abakkolinso 6:17.a
2. Yakuwa atwala atya emikolo egikolebwa okugulumiza abantu?
Yakuwa atulabula obutagwa mu katego ‘ak’okussa obwesige mu bantu obuntu.’ (Soma Yeremiya 17:5.) Ennaku ezimu zikuzibwa olw’okussa ekitiibwa mu bafuzi oba mu basirikale. Ate ennaku endala zikuzibwa okussa ekitiibwa mu bubonero bw’eggwanga oba okujaguza ameefuga. (1 Yokaana 5:21) Ate waliwo n’ennaku endala ezikuzibwa okugulumiza ebibiina by’obufuzi oba ebibiina ebirala. Olowooza Yakuwa awulira atya bwe tugulumiza omuntu oba ekibiina ekitumbula endowooza ezikontana n’ekigendererwa kye?
3. Biki ebiyinza okuviirako omukolo obutasiimibwa mu maaso ga Katonda?
Bayibuli evumirira ‘okwekamirira omwenge, ebinyumu, n’okunywa omwenge mu ngeri ey’okuvuganya.’ (1 Peetero 4:3) Emikolo egimu abantu abagibaako tebeefuga era beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Okusobola okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa, tulina okwewalira ddala ebikolwa ng’ebyo ebitali biyonjo mu maaso ge.
YIGA EBISINGAWO
Manya engeri gy’oyinza okusanyusaamu Yakuwa ng’osalawo mu ngeri ey’amagezi ku bikwata ku nnaku enkulu oba emikolo.
4. Weewale emikolo egitaweesa Yakuwa kitiibwa
Soma Abeefeso 5:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Tusaanidde kuba bakakafu ku ki nga tetunnaba kwenyigira mu mukolo gwonna?
Nnaku ki enkulu ezikuzibwa mu kitundu ky’olimu?
Olowooza okukuza ennaku ezo kisanyusa Yakuwa?
Ng’ekyokulabirako, wali olowoozezzaako ku ngeri Katonda gy’atwalamu okukuza amazaalibwa? Bayibuli teraga nti waliwo omuweereza wa Yakuwa n’omu eyakuza amazaalibwa, naye eyogera ku mazaalibwa ga mirundi ebiri agaakuzibwa abantu abaali bataweereza Yakuwa. Soma Olubereberye 40:20-22 ne Matayo 14:6-10. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Kiki ekyakolebwa ku mazaalibwa ago gombi?
Okusinziira ku byawandiikibwa ebyo, olowooza Yakuwa atwala atya okukuza amazaalibwa?
Naye era oyinza okwebuuza nti, ‘Ddala Yakuwa kimunyiiza bwe nkuza amazaalibwa oba omukolo omulala gwonna ogutoogerwako Byawandiikibwa?’ Soma Okuva 32:1-8. Oluvannyuma laba VIDIYO, era mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino.
Lwaki kikulu okumanya ekyo ekisiimibwa mu maaso ga Yakuwa?
Tuyinza tutya okumanya ekyo ekikkirizibwa Yakuwa?
Engeri gye tuyinza okumanyaamu obanga omukolo gusiimibwa mu maaso ga Katonda
Gwesigamiziddwa ku njigiriza ezikontana ne Bayibuli? Ekyo okusobola okukimanya, noonyereza ku nsibuko yaagwo.
Gugulumiza nnyo abantu, ebibiina, oba obubonero bw’amawanga? Tugulumiza Yakuwa okusinga ekintu ekirala kyonna, era ye yekka gwe twesiga nti ajja kuggyawo ebizibu ebiri mu nsi.
Obulombolombo obukolebwa ku mukolo ogwo bukontana n’emisingi gya Bayibuli? Tulina okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa.
5. Yamba abalala okussa ekitiibwa mu ebyo by’okkiririzaamu
Abalala bwe baba batupikiriza okwetaba mu mukolo ogutasanyusa Yakuwa, kiyinza okutubeerera ekizibu okugaana. Fuba okubannyonnyola mu bukkakkamu era mu ngeri ey’amagezi. Okumanya engeri gy’oyinza okukikolamu, laba VIDIYO.
Soma Matayo 7:12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Okusinziira ku lunyiriri olwo, ab’eŋŋanda zo abatali bakkiriza wandibagambye kaati nti olunaku lwe bakuza tebasaanidde kulukuza?
Oyinza otya okukakasa ab’eŋŋanda zo nti wadde nga tojja kukuza nabo lunaku lukulu, obaagala nnyo era obassaamu ekitiibwa?
6. Yakuwa ayagala tube basanyufu
Yakuwa ayagala tusanyukireko wamu n’ab’eŋŋanda zaffe era ne mikwano gyaffe. Soma Omubuulizi 8:15, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Ekyawandiikibwa ekyo kiraga kitya nti Yakuwa ayagala tube basanyufu?
Yakuwa ayagala abantu be banyumirwe obulamu era basanyukireko wamu n’abalala. Laba VIDIYO eraga engeri ekyo gye kyeyolekera mu nkuŋŋaana zaffe ennene.
Soma Abaggalatiya 6:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Okusobola okukolera abalala “ebirungi,” tulina kukuza nnaku nkulu?
Kugaba kwa ngeri ki okusinga okuleeta essanyu, kugabira balala ku nnaku enkulu olw’okuba owulira nti olina okubaako ky’obawa, oba okubaako ky’ogabira abalala mu kiseera kyonna w’oba oyagalidde?
Abajulirwa ba Yakuwa batera okukolerayo abaana baabwe ekintu eky’enjawulo, era ne babawa n’ebirabo mu kiseera we batabisuubirira. Bw’oba olina abaana, bintu nga ki by’osobola okubakolera?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Ensibuko y’olunaku olukulu si kikulu. Ekikulu kwe kusanyukirako awamu n’ab’eŋŋanda zo era ne mikwano gyo.”
Ggwe olowooza otya?
MU BUFUNZE
Yakuwa ayagala tusanyukireko wamu n’ab’eŋŋanda zaffe era ne mikwano gyaffe. Naye era ayagala twewale emikolo egitamusanyusa.
Okwejjukanya
Bibuuzo ki bye tusobola okwebuuza okumanya obanga omukolo gusanyusa Yakuwa oba tegumusanyusa?
Tuyinza tutya okuyamba ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe okutegeera ensonga lwaki tetukuza nnaku nkulu?
Tumanya tutya nti Yakuwa ayagala tunyumirwe obulamu?
LABA EBISINGAWO
Manya ennaku enkulu Abakristaayo ze batalina kukuza.
“Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Nnaku Ezimu?” (Kiri ku mukutu)
Laba ensonga nnya lwaki tukkiriza nti okukuza amazaalibwa tekisanyusa Katonda.
“Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Mazaalibwa?” (Kiri ku mukutu)
Laba engeri omuvubuka omu gye yakwatamu ensonga mu ngeri ey’amagezi bayizi banne ku ssomero bwe baali bamujerega olw’obutakuza Ssekukkulu.
Abakristaayo bukadde na bukadde baasalawo obutakuza Ssekukkulu. Bawulira batya olw’ekyo kye baasalawo?
“Baazuula Ekintu Ekisingako Obulungi” (Watchtower, Ddesemba 1, 2012)
a Laba Ebyongerezeddwako 5 omanye eky’okukola singa wabaawo abakupikiriza okwenyigira mu mikolo egimu.