Abaggalatiya
6 Ab’oluganda, omuntu ne bw’aba ng’akutte ekkubo ekkyamu naye nga tannakitegeera, mmwe abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo mugezeeko okumutereeza, nga mukikola mu mwoyo omukkakkamu.+ Naye mwekuume,+ sikulwa nga nammwe mukemebwa.+ 2 Buli muntu yeetikkenga omugugu gwa munne,+ mu ngeri eyo mujja kuba mutuukiriza etteeka lya Kristo.+ 3 Omuntu yenna bwe yeetwala okuba nti wa waggulu, naye nga talina bw’ali,+ aba yeerimbalimba. 4 Naye buli omu akebere ebyo by’akola,+ awo ajja kuba ne ky’asinziirako okwenyumiriza ku lulwe, nga teyeegeraageranyizza na muntu mulala.+ 5 Kubanga buli omu ajja kwetikka obuvunaanyizibwa bwe.*+
6 Ate era, oyo yenna ayigirizibwa agabane ebintu byonna ebirungi n’oyo ayigiriza.+
7 Temubuzaabuzibwanga: Katonda tasekererwa. Kubanga ekyo omuntu ky’asiga era ky’alikungula;+ 8 kubanga oyo asigira omubiri gwe alikungula okuvunda okuva mu mubiri gwe, naye oyo asigira omwoyo alikungula obulamu obutaggwaawo okuva mu mwoyo.+ 9 N’olwekyo, ka tuleme kulekera awo kukola birungi, kubanga ekiseera bwe kirituuka tulikungula singa tetukoowa.*+ 10 Kale nno, buli lwe tuba tufunye akakisa,* ka tukolerenga bonna ebirungi, naye okusingira ddala bakkiriza bannaffe.
11 Mulabe bwe mbawandiikidde mu nnukuta ennene n’omukono gwange.
12 Abo bonna abaagala okulabika nti balungi kungulu be bagezaako okubawaliriza okukomolebwa, nga baagala bwagazi kwewala okuyigganyizibwa olw’omuti gwa Kristo Yesu ogw’okubonaabona.* 13 N’abo abakomolebwa tebakwata Mateeka,+ naye baagala mukomolebwe basobole okufuna kye basinziirako okwenyumiriza olw’emibiri gyammwe. 14 Siryenyumiriza n’akatono, okuggyako nga nneenyumiririza mu muti gwa Mukama waffe Yesu Kristo ogw’okubonaabona,*+ era ng’okuyitira mu ye ensi ettiddwa* mu kulaba kwange, era nange nzitiddwa mu kulaba kwayo. 15 Okukomolebwa oba obutakomolebwa si kikulu,+ ekikulu kwe kubeera ekitonde ekiggya.+ 16 Abo bonna abatambula nga bwe kisaanira nga bagoberera etteeka lino ery’empisa, emirembe n’okusaasira bibeere nabo; weewaawo bibeere ku Isirayiri wa Katonda.+
17 Okuva kati n’okweyongerayo, ka waleme kubaawo n’omu antawaanya, kubanga nnina enkovu ku mubiri gwange olw’okubeera omuddu wa Yesu.+
18 Ab’oluganda, ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere n’omwoyo gwe mulaga. Amiina.