ESSOMO 60
Weeyongere Okukulaakulana
Ebbanga lyonna ly’omaze ng’oyiga Bayibuli, olina bingi by’oyize ku Yakuwa. Ebyo by’oyize bikuleetedde okumwagala ennyo ne kiba nti oyinza okuba nga wamala na dda okwewaayo gy’ali era n’okubatizibwa. Bw’oba nga tonnabatizibwa, oyinza okuba ng’okirowoozaako. Naye okukulaakulana kwo tekukoma ku kubatizibwa. Osobola okweyongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa emirembe gyonna. Ekyo oyinza kukikola otya?
1. Lwaki osaanidde okweyongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa?
Tulina okufuba ennyo okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Lwaki? “Tuleme kuwaba” ne tumuvaako. (Abebbulaniya 2:1) Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa? Ekimu ku biyinza okutuyamba kwe kuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, n’okunoonya engeri endala gye tuyinza okugaziya ku buweereza bwaffe eri Yakuwa. (Soma Abafiripi 3:16.) Okuweereza Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi kye tusobola okukola!—Zabbuli 84:10.
2. Biki ebirala by’osaanidde okweyongera okukola?
Wadde nga kati omazeeko ekitabo kino, okyalina okweyongera okukola ebintu Abakristaayo bonna bye balina okukola. Bayibuli egamba nti tulina “okwambala omuntu omuggya.” (Abeefeso 4:23, 24) Bw’oneeyongera okusoma Ekigambo kya Katonda n’okubangawo mu nkuŋŋaana, ojja kuyiga ebintu ebirala bingi ebikwata ku Yakuwa era n’engeri ze endala. Fuba okulaba nga weeyongera okukoppa engeri za Yakuwa. Weeyongere okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okusanyusa Yakuwa.
3. Yakuwa anaakuyamba atya okweyongera okukulaakulana?
Bayibuli egamba nti: ‘Katonda ajja kumaliriza okutendekebwa kwo. Ajja kukunyweza, ajja kukufuula wa maanyi, era ajja kukuteeka ku musingi omugumu.’ (1 Peetero 5:10) Ffenna tufuna ebikemo. Naye Yakuwa atuwa bye twetaaga okusobola okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. (Zabbuli 139:23, 24) Asuubiza okukuyamba n’okukuwa amaanyi ge weetaaga osobole okweyongera okumuweereza n’obwesigwa.—Soma Abafiripi 2:13.
YIGA EBISINGAWO
Manya engeri gy’oyinza okweyongera okukulaakulana era n’emikisa Yakuwa gy’ajja okukuwa.
4. Weeyongere okuwuliziganya ne Mukwano gwo asingayo
Okusaba n’okusoma Bayibuli bikuyambye okufuuka mukwano gwa Yakuwa. Ebintu ebyo binaakuyamba bitya okweyongera okunyweza enkolagana yo naye?
Soma Zabbuli 62:8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Oyinza otya okulongoosa mu ssaala zo, kikuyambe okweyongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa?
Soma Zabbuli 1:2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Oyinza otya okulongoosa mu ngeri gy’osomamu Bayibuli, kikuyambe okweyongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa?
Kiki ky’oyinza okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kwesomesa? Okusobola okumanya ebirala ebiyinza okukuyamba, laba VIDIYO oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Ku magezi agaweereddwa mu vidiyo, galuwa g’osobola okukolerako?
Biki bye wandyagadde okusomako?
5. Weeteerewo ebiruubirirwa eby’omwoyo
Bw’oneeteerawo ebiruubirirwa mu buweereza bwo eri Yakuwa, kijja kukuyamba okweyongera okukulaakulana. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Mu vidiyo eyo, Cameron yaganyulwa atya mu kweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo?
Si buli omu nti asobola okugenda okubuulira mu nsi endala. Naye ffenna tusobola okubaako ebiruubirirwa bye tweteerawo. Soma Engero 21:5, era mwogere ku biruubirirwa by’oyinza okweteerawo . . .
mu kibiina.
mu mulimu gw’okubuulira.
Omusingi oguli mu kyawandiikibwa ekyo guyinza gutya okukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo?
Ebiruubirirwa by’oyinza okweteerawo
Okwongera okulongoosa mu ssaala zo.
Okusoma Bayibuli yonna.
Okumanya buli omu mu kibiina.
Okubaako omuntu gw’otandika okuyigiriza Bayibuli.
Okuweereza nga payoniya omuwagizi oba payoniya owa bulijjo.
Bw’oba wa luganda, oyinza okuluubirira okufuuka omuweereza mu kibiina.
6. Nyumirwa obulamu emirembe gyonna!
Soma Zabbuli 22:26, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Kiki ky’oyinza okukola okusobola okunyumirwa obulamu kati era n’emirembe gyonna?
MU BUFUNZE
Weeyongere okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa, n’okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Ekyo kijja kukuyamba okunyumirwa obulamu emirembe gyonna!
Okwejjukanya
Lwaki osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba okumuweereza n’obwesigwa?
Oyinza otya okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa?
Okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, kiyinza kitya okukuyamba okweyongera okukulaakulana?
LABA EBISINGAWO
Kiki Yakuwa ky’asinga okwagala, okubaako enkyukakyuka emu ey’amaanyi gy’okola, oba okuba omwesigwa gy’ali obulamu bwo bwonna?
N’omuweereza wa Yakuwa omwesigwa asobola okuggwebwako essanyu. Laba engeri gy’ayinza okuddamu okufuna essanyu.
Okwesomesa n’Okufumiitiriza Bijja Kukuyamba Okuddamu Okufuna Essanyu (5:25)
Biki ebinaakuyamba okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era n’okubituukako?
“Weeteerewo Ebiruubirirwa eby’Omwoyo Okugulumiza Omutonzi Wo” (Watchtower, Jjulaayi 15, 2004)
Lwaki okukula mu by’omwoyo kikulu, era biki ebinaakuyamba okukula mu by’omwoyo?