ESSOMO 49
Amaka Go Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?—Ekitundu 1
Omwami n’omukyala abaakafumbiriganwa, baba baagala essanyu lye baba balina mu kiseera ekyo babe nalyo obulamu bwabwe bwonna. Era ekyo kisoboka. Abakristaayo abaakamala emyaka mingi mu bufumbo era abakolera ku magezi agali mu Bayibuli, bakirabye nti ekyo kisoboka.
1. Magezi ki Bayibuli g’ewa abaami?
Yakuwa yawa omwami obuvunaanyizibwa obw’okuba omutwe gw’amaka. (Soma Abeefeso 5:23.) Yakuwa ayagala ebyo omwami by’asalawo bibe nga biganyula ab’omu maka ge. Bayibuli ekubiriza abaami ‘okweyongera okwagala bakyala baabwe.’ (Abeefeso 5:25) Ekyo kitegeeza ki? Omwami ayagala mukyala we amuyisa bulungi, ka kibe nti bali bokka oba nga bali n’abantu abalala. Afuba okulaba nti tatuukibwako kabi konna, amulabirira mu by’omubiri, era afaayo ku nneewulira ye. (1 Timoseewo 5:8) N’ekisinga obukulu, afuba okumuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. (Matayo 4:4) Ng’ekyokulabirako, asomera wamu ne mukyala we Bayibuli era basabira wamu. Omwami ayagala mukyala we era amufaako, aba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.—Soma 1 Peetero 3:7.
2. Magezi ki Bayibuli g’ewa abakyala?
Bayibuli egamba nti omukyala “asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.” (Abeefeso 5:33) Ekyo ayinza kukikola atya? Ayinza okulowooza ku ngeri ennungi omwami we z’alina, n’engeri gy’afubamu okumulabirira n’okulabirira abaana baabwe. Ate era asobola okulaga nti assaamu omwami we ekitiibwa ng’afuba okuyambako omwami we mu kutuukiriza ebyo by’aba asazeewo, ng’ayogera naye bulungi era ng’amwogerako bulungi, ka kibe nti omwami we si mukkiriza.
3. Abafumbo bayinza batya okunyweza obufumbo bwabwe?
Omwami n’omukyala bwe bafumbiriganwa, Bayibuli egamba nti ‘bafuuka omubiri gumu.’ (Matayo 19:5) Ekyo kitegeeza nti balina okwewala ekintu kyonna ekiyinza okubaawula. Ekyo bakikola nga bafuna akadde okubeerako awamu, era nga buli omu yeeyabiza munne. Tewali n’omu ku bo asaanidde kukkiriza kintu kyonna oba muntu yenna kumusingira munne mu bufumbo, okuggyako Yakuwa yekka. Ate era beewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu omulala yenna, eyinza okubaviirako obutaba beesigwa eri bannaabwe mu bufumbo.
YIGA EBISINGAWO
Manya emisingi gya Bayibuli egisobola okunyweza obufumbo bwo.
4. Abaami, mwagale nnyo bakyala bammwe era mubalabirire
Bayibuli egamba nti ‘abaami kibagwanidde okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe.’ (Abeefeso 5:28, 29) Ekyo kitegeeza ki? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Omwami ayinza kulaga atya nti ayagala nnyo mukyala we era nti amufaako?
Soma Abakkolosaayi 3:12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Omwami ayinza atya okwoleka engeri ezo ennungi mu bufumbo bwe?
5. Abakyala, mwagale abaami bammwe era mubasseemu ekitiibwa
Bayibuli ekubiriza omukyala okussaamu omwami we ekitiibwa, ka kibe nti omwami we si mukkiriza. Soma 1 Peetero 3:1, 2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Bw’oba ng’olina omwami atali muweereza wa Yakuwa, awatali kubuusabuusa wandyagadde aweereze Yakuwa. Naye ngeri ki esingayo obulungi gy’osobola okumuyambamu okufuuka omuweereza wa Yakuwa? Olina kuba nga buli kiseera omubuulira ebiri mu Bayibuli, oba wandifubye kweyisa bulungi n’okumussaamu ekitiibwa? Lwaki ogamba bw’otyo?
Omwami n’omukyala bwe bateesa, basobola okusalawo obulungi. Kyokka, oluusi omukyala ayinza obutakkiriziganya na mwami we. Naye asobola okuwa endowooza ye mu ngeri ennungi era eraga nti assaamu omwami we ekitiibwa. Kyokka asaanidde okukijjukira nti Yakuwa yawa omwami we obuvunaanyizibwa obw’okusalirawo ab’omu maka ge ekisinga okubaganyula. N’olwekyo, omukyala asaanidde okufuba okuwagira omwami we mu kutuukiriza ekyo ky’aba asazeewo. Bw’akola bw’atyo, kireeta essanyu n’emirembe mu maka. Soma 1 Peetero 3:3-5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Yakuwa awulira atya, omukyala bw’assaamu omwami we ekitiibwa?
6. Musobola okugonjoola ebizibu bye muba mufunye mu bufumbo bwammwe
Teri bufumbo butuukiridde. N’olwekyo, abafumbo basaanidde okukolera awamu okusobola okugonjoola ebizibu bye baba bafunye. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Mu vidiyo, biki ebiraze nti okwagala wakati w’abafumbo abo kwali kugenda kukendeera?
Biki bye baakola okusobola okunyweza obufumbo bwabwe?
Soma 1 Abakkolinso 10:24 ne Abakkolosaayi 3:13. Oluvannyuma lw’okusoma buli kyawandiikibwa, mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Okukolera ku magezi agali mu kyawandiikibwa ekyo, kisobola kitya okunyweza obufumbo?
Bayibuli egamba nti tusaanidde okuwaŋŋana ekitiibwa. Okuwa omuntu ekitiibwa kizingiramu okumuyisa mu ngeri ey’ekisa. Soma Abaruumi 12:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Omwami oba omukyala yandibadde alinda munne y’aba asooka okumuwa ekitiibwa? Lwaki ogamba bw’otyo?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Nze ne munnange tetukyayagalana nga bwe kyali mu kusooka.”
Oyinza otya okubalaga nti Bayibuli esobola okubayamba?
MU BUFUNZE
Omwami n’omukyala basobola okuba abasanyufu singa baba baagalana, nga bawaŋŋana ekitiibwa, era nga bakolera ku magezi agali mu Bayibuli.
Okwejjukanya
Biki omwami by’asobola okukola ebireeta essanyu mu bufumbo?
Biki omukyala by’asobola okukola ebireeta essanyu mu bufumbo?
Bw’oba ng’oli mufumbo, magezi ki agali mu Bayibuli agasobola okukuyamba okunyweza obufumbo bwo?
LABA EBISINGAWO
Laba amagezi agasobola okuyamba amaka gammwe okubaamu essanyu.
Laba vidiyo y’oluyimba eraga emiganyulo egiri mu kukolera ku magezi agava eri Katonda mu bufumbo bwammwe.
Laba kye kitegeeza okugondera obukulembeze bw’omwami wo.
“Abakazi, Lwaki Musaanidde Okukkiriza Obukulembeze?” (Omunaala gw’Omukuumi, Maayi 15, 2010)
Omwami omu ne mukyala we bavvuunuka batya ebizibu ebyʼamaanyi mu bufumbo bwabwe, omwali nʼokugattululwa?.