Waayo Ssaddaaka eri Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
“Buli kye mukola, mukikolenga n’omutima gwammwe gwonna, ng’abakolera Yakuwa.”—BAK. 3:23.
LABA OBANGA OSOBOLA OKUDDAMU EBIBUUZO BINO:
Tuyinza tutya okulaga nti tuwa Yakuwa ekitiibwa mu bintu bye tukola mu bulamu bwaffe obwa bulijjo?
Ssaddaaka za ngeri ki ze tuwaayo nga tusinza Katonda?
Bintu ki bye tusobola okuwa Yakuwa?
1-3. (a) Okuva bwe kiri nti Yesu yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, ekyo kiraga nti Yakuwa takyatwetaagisa kubaako ssaddaaka yonna gye tuwaayo? Nnyonnyola. (b) Kibuuzo ki ekikwata ku ssaddaaka kye tusaanidde okwebuuza?
MU KYASA ekyasooka E.E., Yakuwa yayamba abantu be okukitegeera nti ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu yali eggyewo Amateeka ga Musa. (Bak. 2:13, 14) Yakuwa yali takyetaagisa bantu kuwaayo ssaddaaka za nsolo n’ebiweebwayo ebirala Abayudaaya bye baali bamaze ebyasa by’emyaka nga bawaayo. Amateeka gaali gamaze okutuukiriza ekigendererwa kyago eky’okuba omutwazi atwala Abayudaaya eri Kristo.—Bag. 3:24.
2 Naye ekyo tekitegeeza nti Abakristaayo tebakyawaayo ssaddaaka. Mu butuufu, omutume Peetero yalaga nti Abakristaayo basaanidde “okuwaayo ssaddaaka ez’eby’omwoyo ezisiimibwa Katonda okuyitira mu Yesu Kristo.” (1 Peet. 2:5) Era n’omutume Pawulo yakiraga nti ebintu byonna Omukristaayo eyeewaddeyo eri Katonda by’akola mu bulamu bwe, bisobola okutwalibwa nga “ssaddaaka.”—Bar. 12:1.
3 N’olwekyo, Omukristaayo awaayo ssaddaaka eri Yakuwa ng’abaako ebintu by’awaayo eri Yakuwa oba bye yeerekereza okusobola okumuweereza obulungi. Okusinziira ku ebyo bye tumanyi ku ssaddaaka Abaisiraeri ze baawangayo, tuyinza tutya okukakasa nti tuwaayo ssaddaaka ezikkirizibwa mu maaso ga Yakuwa?
MU BULAMU OBWA BULIJJO
4. Kiki kye tusaanidde okujjukira nga tukola ebintu ebya bulijjo?
4 Kiyinza obutatwanguyira kulaba kakwate kali wakati w’ebintu bye tukola bulijjo n’okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa. Ebintu, gamba ng’emirimu gy’awaka, ebyo bye tukola ku ssomero, emirimu gye tukola okweyimirizaawo, n’okugula ebintu biyinza okulabika ng’ebintu ebitalina kakwate konna na bintu eby’omwoyo. Kyokka, bw’oba nga wamala dda okwewaayo eri Yakuwa oba ng’osuubira okukikola mu kiseera ekitali kya wala, kiba kikulu okukijjukira nti ebintu bye tukola mu bulamu obwa bulijjo birina engeri gye bikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Tuli Bakristaayo ekiseera kyonna, era twetaaga okukolera ku misingi gya Bayibuli mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba nti: “Buli kye mukola, mukikolenga n’omutima gwammwe gwonna, ng’abakolera Yakuwa so si abantu.”—Soma Abakkolosaayi 3:18-24.
5, 6. Kiki ekiyinza okutuyamba okumanya engeri gye tusaanidde okweyisaamu n’okwambalamu?
5 Kyo kituufu nti ebintu bye tukola mu bulamu bwaffe obwa bulijjo si kitundu kya buweereza bwaffe eri Katonda. Naye okuva bwe kiri nti Pawulo atukubiriza okukola ebintu byonna “n’omutima [gwaffe] gwonna, ng’abakolera Yakuwa,” ekyo kituleetera okulowooza ennyo ku bintu byonna bye tukola mu bulamu. Tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebyo? Tufaayo okweyisa obulungi n’okwambala mu ngeri esaana buli kiseera? Oba kyandiba nti engeri gye tweyisaamu n’engeri gye twambalamu etuleetera okutya okubuulira abalala nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa? Ekyo tetusaanidde kukikkiriza kubaawo! Tetwagala kukola kintu kyonna ekiyinza okuleeta ekivume ku linnya lya Katonda.—Is. 43:10; 2 Kol. 6:3, 4, 9.
6 Kati ka twetegereze engeri okwagala okukola ebintu byonna “n’omutima [gwaffe] gwonna, ng’abakolera Yakuwa” gye kikwata ku mbeera ezitali zimu ez’obulamu bwaffe. Nga twetegereza ensonga eyo, tusaanidde okukijjukira nti ebyo byonna Abaisiraeri bye baawangayo eri Yakuwa nga ssaddaaka byalinanga okuba ebyo ebyali bisingayo obulungi.—Kuv. 23:19.
ENGERI OBULAMU BWO GYE BUKWATIBWAKO
7. Kiki ekizingirwa mu kwewaayo eri Yakuwa?
7 Bwe wasalawo okwewaayo eri Yakuwa, wakola ekintu ekirungi ennyo. Weeyama okukozesa obulamu bwo bwonna okumuweereza. Kino kitegeeza nti weeyama okukulembeza Yakuwa by’ayagala mu buli kimu ky’okola mu bulamu bwo. (Soma Abebbulaniya 10:7.) Oteekwa okuba ng’okirabye nti okufuba okumanya Yakuwa by’ayagala n’okubikolerako kivaamu emiganyulo mingi. (Is. 48:17, 18) Abantu ba Yakuwa batukuvu era basanyufu kubanga bakoppa engeri za Yakuwa, Oyo abayigiriza.—Leev. 11:44; 1 Tim. 1:11.
8. Lwaki kikulu okukijjukira nti ssaddaaka Abaisiraeri ze baawangayo, Yakuwa yazitwalanga okuba entukuvu?
8 Ssaddaaka Abaisiraeri ze baawangayo, Yakuwa yazitwalanga okuba entukuvu. (Leev. 6:25; 7:1) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “obutukuvu” kisobola okutegeeza ekintu ekyawuliddwawo oba ekya Katonda yekka. Ssaddaaka zaffe bwe ziba ez’okukkirizibwa mu maaso ga Yakuwa, tuteekwa okwewala ekintu kyonna ekitali kiyonjo. Tuteekwa okukyawa ebintu byonna Yakuwa by’akyawa. (Soma 1 Yokaana 2:15-17.) Kino kitegeeza nti tulina okwewala omuntu yenna oba ekintu kyonna ekisobola okutufuula abatali bayonjo mu maaso ga Katonda. (Is. 2:4; Kub. 18:4) Ate era kitegeeza nti tulina okwewala okutunuulira ebintu ebitali biyonjo oba eby’obugwenyufu era tulina n’okwewala okubirowoozaako.—Bak. 3:5, 6.
9. Lwaki kikulu nnyo okuyisa abalala obulungi?
9 Pawulo yagamba bakkiriza banne nti: “Temwerabiranga kukola birungi n’okugabana ebintu n’abalala, kubanga ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.” (Beb. 13:16) N’olwekyo, bwe tukola ebintu ebirungi buli kiseera era ne tuyamba n’abantu abalala, ebintu ng’ebyo Yakuwa abitwala nga ssaddaaka ezikkirizibwa mu maaso ge. Bwe tukola tutyo, tuba tulaga nti tuli Bakristaayo ab’amazima.—Yok. 13:34, 35; Bak. 1:10.
SSADDAAKA MU KUSINZA
10, 11. Yakuwa atwala atya omulimu gwaffe ogw’okubuulira n’okusinza kwaffe, era ekyo kyanditukutteko kitya?
10 Engeri emu gye tukolera abantu abalala ebirungi kwe “kwatula essuubi lyaffe mu lujjudde.” Okozesa buli kakisa k’ofuna okuwa obujulirwa? Paul yagamba nti twetaaga okuwaayo “ssaddaaka ez’okutendereza, kwe kugamba, ekibala eky’emimwa egyatula mu lujjudde erinnya [lya Katonda].” (Beb. 10:23; 13:15; Kos. 14:2) Tusaanidde okulowooza ku biseera bye tumala nga tubuulira amawulire amalungi n’engeri gye tuyinza okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu. Ebitundu bingi ebibeera mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza bituyamba mu nsonga eyo. Okuva bwe kiri nti ebiseera bye tumala nga tubuulira oba nga tuwa obujulirwa embagirawo eba ‘ssaddaaka ey’okutendereza,’ ssaddaaka eyo esaanidde okuba eyo esingayo obulungi. Wadde ng’embeera zaffe za njawulo, ebiseera bye tumala nga tubuulira amawulire amalungi bisobola okulaga obanga tusiima ebintu eby’omwoyo.
11 Ng’abakristaayo tufuba okusinza Yakuwa obutayosa nga tuli ffekka oba nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe. Ekyo Yakuwa ky’ayagala tukole. Wadde nga tekikyatwetaagisa kukwata Ssabbiiti oba kugendanga ku mbaga ezaabeeranga e Yerusaalemi, waliwo kye tuyigira ku bintu ebyo. Kyo kituufu nti buli lunaku tuba n’eby’okukola bingi, naye Katonda atusuubira okukozesa ebimu ku biseera byaffe okusoma Ekigambo kye, okusaba, n’okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Era emitwe gy’amaka balina obuvunaanyizibwa obw’okukubiriza okusinza kw’amaka gaabwe. (1 Bas. 5:17; Beb. 10:24, 25) N’olwekyo, tusaanidde okwebuuza, ‘Bwe kituuka ku kusinza kwange, waliwo we nneetaaga okulongoosaamu?’
12. (a) Obubaane obwaweebwangayo edda mu kusinza buyinza kugeraageranyizibwa ku ki leero? (b) Essaala zaffe ziyinza zitya okuba ng’obubaane?
12 Kabaka Dawudi yayimbira Yakuwa ng’agamba nti: “Okusaba kwange kuteekebwe mu maaso go ng’omugavu [“ng’obubaane,” NW].” (Zab. 141:2) Kikulu nnyo okusaba obutayosa n’okulowooza ku ebyo bye twogerako nga tusaba. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kigeraageranya “essaala z’abatukuvu” ku bubaane kubanga essaala ng’ezo ezikkirizibwa zambuka eri Yakuwa nga ziringa evvumbe eddungi eriwunya akawoowo. (Kub. 5:8) Mu Isiraeri ey’edda, obubaane obwaweebwangayo ku kyoto kya Yakuwa bwalinanga okuteekebwateekebwa obulungi. Yakuwa teyabukkirizanga okuggyako nga buteekeddwateekeddwa nga bwe yali alagidde. (Kuv. 30:34-37; Leev. 10:1, 2) Mu ngeri y’emu, bwe tusaba nga Yakuwa bw’atulagira okusaba era okusaba ne tukutwala ng’ekintu ekitukuvu, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kuwulira essaala zaffe.
OKUGABA N’OKUWEEBWA
13, 14. (a) Kiki Epafulodito awamu n’ab’oluganda mu Firipi kye baakolera Pawulo, era Pawulo yakitwala atya? (b) Ekyokulabirako kya Epafulodito n’ab’oluganda mu Firipi kituyigiriza ki?
13 Ssente ze tuwaayo, ka zibe ntono oba nnyingi, okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna ziringa ssaddaaka. (Mak. 12:41-44) Mu kyasa ekyasooka E.E., ekibiina ky’omu Firipi kyasindika Epafulodito okugenda e Rooma asobole okukola ku byetaago bya Pawulo eby’omubiri. Epafulodito yatwalira Pawulo ssente ng’ekirabo okuva eri ekibiina ky’e Firipi. Guno si gwe mulundi ogwali gusoose ab’oluganda mu Firipi okubaako ebintu bye bawa Pawulo. Baawa Pawulo ekirabo ekyo nga baagala aleme kweraliikirira ngeri gye yandyeyimirizzaawo, kimuyambe okwemalira ku mulimu gw’okubuulira. Pawulo yatwala atya ekirabo ekyo? Ekirabo ekyo yakiyita “evvumbe eriwunya obulungi, ssaddaaka ekkirizibwa era esanyusa Katonda.” (Soma Abafiripi 4:15-19.) Pawulo yasiima nnyo ekisa Abafiripi kye baamulaga, era ekyo kiteekwa okuba nga kyasanyusa ne Yakuwa.
14 Ne leero, Yakuwa asiima nnyo ebyo byonna bye tuwaayo okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Era asuubiza nti singa tweyongera okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe, ajja kukola ku byetaago byaffe byonna, eby’omwoyo n’eby’omubiri.—Mat. 6:33; Luk. 6:38.
KIRAGE NTI OSIIMA
15. Ebimu ku bintu ebikuleetera okusiima Yakuwa bye biruwa?
15 Waliwo ebintu bingi ebyandituleetedde okusiima Yakuwa. Buli lunaku tusaanidde okumwebaza olw’okutuwa ekirabo ky’obulamu. Atuwa buli kimu kye twetaaga okusobola okuba abalamu—emmere, eby’okwambala, aw’okusula, awamu n’omukka gwe tussa. Ate era atuyambye okuyiga amazima ga Bayibuli agatuyambye okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. N’olwekyo, tusaanidde okusinza Yakuwa n’okuwaayo ssaddaaka ez’okutendereza gy’ali olw’okuba ye Mutonzi waffe era olw’okuba atukoledde ebintu ebirungi bingi.—Soma Okubikkulirwa 4:11.
16. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo?
16 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, ekirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo Katonda kye yawa abantu ye ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo. Ekirabo ekyo kiraga nti Katonda atwagala nnyo. (1 Yok. 4:10) Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekirabo ekyo? Pawulo yagamba nti: “Okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza, kubanga tutegedde nti omuntu omu yafiiririra bonna; . . . era yafiiririra bonna, abo abalamu baleme okuba abalamu nate ku lwabwe, wabula ku lw’oyo eyabafiiririra era n’azuukira.” (2 Kol. 5:14, 15) Mu ngeri endala, Pawulo yali agamba nti bwe tuba nga ddala tusiima okwagala okw’ensusso Katonda kwe yatulaga, tujja kukozesa obulamu bwaffe mu ngeri emuweesa ekitiibwa awamu n’Omwana we. Tulaga nti twagala Katonda awamu n’Omwana we era nti tusiima ekyo kye baatukolera, nga tugondera amateeka ge era nga tufuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa.—1 Tim. 2:3, 4; 1 Yok. 5:3.
17, 18. Ab’oluganda abamu bakoze ki okulaba nti bawaayo ssaddaaka ey’okutendereza eri Katonda esingako obulungi? Waayo ekyokulabirako.
17 Waliwo ekintu kyonna kye weetaaga okukola okulaba nti owaayo ssaddaaka ey’okutendereza eri Katonda esingako obulungi? Oluvannyuma lw’okulowooza ku bintu ebirungi Yakuwa by’abakoledde, ab’oluganda bangi basazeewo okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe basobole okwongera ku biseera bye bamala mu mulimu gw’okubuulira ne mu mirimu gy’ekibiina emirala. Abamu basobodde okuweereza nga bapayoniya abawagizi okumala omwezi gumu oba n’okusingawo buli mwaka, ate abalala basazeewo okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Abalala basazeewo okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Ebyo bye bimu ku bintu bye tuyinza okukola okulaga nti tusiima Yakuwa olw’ebirungi by’atukoledde. Singa tukola ebintu ebyo n’ekigendererwa ekituufu—okwebaza Katonda n’okulaga nti tusiima ebyo byonna by’atukoledde—Katonda ajja kukkiriza obuweereza bwaffe.
18 Abakristaayo bangi basazeewo okubaako ne kye bakolawo okulaga nti basiima Yakuwa olw’ebirungi by’abakoledde. Mwannyinaffe Morena y’omu ku bo. Morena yalina ebibuuzo bingi ebikwata ku Katonda ne ku kigendererwa ky’obulamu bye yali yeebuuza, naye eddiini y’Ekikatuliki gye yakuliramu awamu n’obufirosoofo bw’omu Asiya tebyamuyamba kufuna bya kuddamu bimatiza. Kyokka bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, ebibuuzo bye byonna byaddibwamu bulungi. Morena yasiima nnyo Yakuwa olw’ebyo bye yali ayize okuva mu Bayibuli ebyamuyamba okufuna essanyu erya nnamaddala. Bw’atyo yasalawo okukozesa amaanyi ge gonna okumuweereza. Amangu ddala nga yaakabatizibwa, yatandika okuweereza nga payoniya omuwagizi, era oluvannyuma lw’ekiseera yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Kati Morena amaze emyaka egisukka mu 30 ng’ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna.
19. Oyinza otya okwongera ku ssaddaaka z’owaayo eri Yakuwa?
19 Kya lwatu nti abamu ku baweereza ba Yakuwa embeera zaabwe tezibasobozesa kuweereza nga bapayoniya. Naye ka tube mu mbeera ki, ffenna tusobola okuwaayo ssaddaaka ezikkirizibwa eri Yakuwa. Mu ngeri gye tweyisaamu, tusaanidde okufuba okukolera ku misingi gya Bayibuli, nga tukijjukira nti tukiikirira Yakuwa ekiseera kyonna. Mu kukkiriza, tulina okwesiga Katonda nti ajja kutuukiriza ebisuubizo bye byonna. Mu bikolwa ebirungi, tulina okubuulira abalala amawulire amalungi. Ka tukirage nti tusiima Yakuwa olw’ebintu byonna by’atukoledde nga tweyongera okuwaayo gy’ali ssaddaaka n’omutima gwaffe gwonna.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 25]
Okulowooza ku bulungi bwa Yakuwa kikukubiriza okuwaayo gy’ali ssaddaaka ey’okutendereza esingako obulungi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Okozesa buli kakisa k’ofuna okuwa obujulirwa?