Abebbulaniya
10 Okuva Amateeka bwe gali ekisiikirize obusiikirize+ eky’ebintu ebirungi ebigenda okujja,+ so si ebintu ebyo byennyini, tegasobola* kufuula abo abasinza Katonda okuba abatuukiridde+ okuyitira mu kuwangayo ssaddaaka ze zimu buli mwaka. 2 Singa kyali bwe kityo, ssaddaaka zandibadde tezaakoma dda okuweebwayo, olw’okuba abo abazireeta * bandibadde baatukuzibwa omulundi gumu nga tebakyemanyiiko kibi? 3 Naye ssaddaaka ezo zijjukiza abantu ebibi buli mwaka,+ 4 kubanga omusaayi gw’ente ennume n’ogw’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.
5 N’olwekyo, bw’ajja mu nsi agamba nti: “‘Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala, naye wanteekerateekera omubiri. 6 Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi tewabisiima.’+ 7 Awo ne ŋŋamba nti, ‘Laba! Nzize (kyampandiikibwako mu muzingo*) okukola by’oyagala, Ai Katonda.’”+ 8 Oluvannyuma lw’okugamba nti: “Tewayagala era tewasiima ssaddaaka, n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ekibi”—ssaddaaka eziweebwayo okusinziira ku Mateeka— 9 agamba nti: “Laba! Nzize okukola by’oyagala.”+ Aggyawo ekisooka asobole okussaawo eky’okubiri. 10 Olw’ebyo Katonda ‘by’ayagala,’+ tutukuziddwa okuyitira mu kuweebwayo kw’omubiri gwa Yesu Kristo omulundi gumu.+
11 Era buli kabona ayimirira mu kifo kye buli lunaku okuweereza+ n’okuwaayo ssaddaaka ze zimu emirundi mingi,+ ezitasobola kuggirawo ddala bibi.+ 12 Naye ye yawaayo ssaddaaka emu olw’ebibi emirembe n’emirembe, n’alyoka atuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo,+ 13 era okuva olwo alindirira okutuusa abalabe be lwe balifuulibwa ng’entebe y’ebigere bye.+ 14 Kubanga okuyitira mu ssaddaaka emu eyaweebwayo, afudde abo abatukuzibwa okuba abatuukiridde+ emirembe n’emirembe. 15 Ate era, omwoyo omutukuvu nagwo gutuwa obujulirwa, kubanga bwe gumala okugamba nti: 16 “‘Eno ye ndagaano gye ndikola nabo oluvannyuma lw’ennaku ezo,’ Yakuwa* bw’agamba. ‘Nditeeka amateeka gange mu mitima gyabwe, era ndigawandiika mu birowoozo byabwe.’”+ 17 Era gugamba nti: “Siriddamu kujjukira bibi byabwe n’ebikolwa byabwe eby’obujeemu.”+ 18 Bwe kityo, ebyo bwe biba nga bibasonyiyiddwa, kiba tekikyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ekibi.
19 Kale ab’oluganda, okuyitira mu musaayi gwa Yesu tetutya kukozesa kkubo eriyingira mu kifo ekitukuvu,+ 20 ekkubo lye yatuggulirawo,* eriggya, eddamu, era eriyita mu lutimbe,+ kwe kugamba, omubiri gwe, 21 era okuva bwe tulina kabona omukulu ennyo bw’atyo akulira ennyumba ya Katonda,+ 22 ka tutuukirire Katonda nga tulina emitima egy’amazima era nga tulina okukkiriza okw’amaanyi, okuva emitima gyaffe bwe gimansiddwako ne giggibwako omuntu ow’omunda omubi+ era n’emibiri gyaffe ne ginaazibwa amazzi amayonjo.+ 23 Ka tunywerere ku kwatula essuubi lyaffe mu lujjudde awatali kuddirira,+ kubanga eyasuubiza mwesigwa. 24 Era ka buli omu ku ffe alowoozenga* ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi,+ 25 nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu+ ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi,+ naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.+
26 Bwe tukola ekibi mu bugenderevu oluvannyuma lw’okutegeerera ddala amazima,+ waba tewakyaliwo ssaddaaka ndala eweebwayo olw’ebibi byaffe,+ 27 naye wabaawo entiisa ey’okulindirira okusalirwa omusango, era wabaawo obusungu obubuubuuka obugenda okusaanyaawo abalabe ba Katonda.+ 28 Omuntu yenna amenya Amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa, kasita wabaawo obujulizi bwa bantu babiri oba basatu.+ 29 Mulowooza omuntu alinnyiridde Omwana wa Katonda, atatutte musaayi gw’endagaano+ ogwamutukuza ng’ogw’omuwendo, era anyoomodde omwoyo ogw’ekisa eky’ensusso,+ taaweebwe ekibonerezo ekisingawo obunene? 30 Kubanga tumumanyi Oyo eyagamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula.” Era nti: “Yakuwa* aliramula abantu be.”+ 31 Kya ntiisa nnyo okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.
32 Naye mujjukirenga ennaku ezaayita ze mwafuniramu ekitangaala,+ ne mugumiikiriza ensiitaano ey’amaanyi n’okubonaabona. 33 Oluusi mwafuukanga ng’ekyerolerwa nga muvumibwa era nga mubonyaabonyezebwa, ate oluusi mwabanga* wamu n’abo abaabanga boolekagana n’ebintu ng’ebyo. 34 Kubanga mwalumirirwa abo abali mu kkomera era ne mukkiriza okunyagibwako ebintu byammwe naye ne musigala nga muli basanyufu,+ nga mukimanyi nti mulina eky’obusika ekisingawo obulungi era eky’olubeerera.+
35 N’olwekyo, temulekangayo kuba bavumu,* kubanga ekyo kijja kubaweesa empeera ennene.+ 36 Mwetaaga okugumiikiriza+ musobole okufuna ekyo kye yasuubiza nga mumaze okukola Katonda by’ayagala. 37 Kubanga wasigaddeyo “akaseera katono nnyo,”+ era “oyo ow’okujja ajja era tajja kulwa.”+ 38 “Naye omutuukirivu wange anaabanga mulamu lwa kukkiriza,”+ era “bw’adda ennyuma simusanyukira.”+ 39 Tetuli abo abadda ennyuma mu kuzikirira,+ wabula tuli abo abalina okukkiriza okusobola okuwonyaawo obulamu.