Engeri Gye Tweyambulako Omuntu ow’Edda era ne Tumwewala
“Mweyambuleko omuntu ow’edda n’ebikolwa bye.”—BAK. 3:9.
1, 2. Biki abantu bye boogedde ku Bajulirwa ba Yakuwa?
ABANTU bangi boogedde ku ngeri ennungi Abajulirwa ba Yakuwa ze balina. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi w’ebitabo omu ayitibwa Anton Gill yagamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa baayigganyizibwa nnyo Abanazi. . . . Omwaka gwa 1939 we gwatuukira, Abajulirwa ba Yakuwa abaali mu nkambi z’abasibe baali bawerera ddala 6,000.” Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa baayisibwa bubi nnyo, omuwandiisi oyo era yagamba nti, “baali beesigika, baali bakkakkamu, baasigala banyweredde ku Katonda waabwe, era baali bumu.”
2 Gye buvuddeko awo, abantu abamu mu South Africa nabo baayogera ku ngeri ennungi Abajulirwa ba Yakuwa ze balina. Waliwo ekiseera mu nsi eyo Abajulirwa ba Yakuwa aba langi ez’enjawulo lwe baali nga tebakkirizibwa kukuŋŋaanira wamu. Naye ku Ssande nga Ddesemba 18, 2011, Abajulirwa 78,000 aba langi ez’enjawulo okuva mu South Africa n’ensi endala ezigiriraanye, baakuŋŋaanira mu kisaawe ekinene mu kibuga Johannesburg okusinziza awamu. Omu ku baali baddukanya ekisaawe ekyo yagamba nti: “Sirabangako bantu abeeyisa obulungi nga mmwe. Mmwenna mwambadde bulungi. Mulongoosezza bulungi nnyo ekisaawe. N’ekisinga okwewuunyisa, muli ba langi za njawulo.”
3. Kiki ekifuula Abajulirwa ba Yakuwa okuba ab’enjawulo?
3 N’abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa bakiraba nti tuli ba njawulo. (1 Peet. 5:9) Naye kiki ekitufuula okuba ab’enjawulo? Obulagirizi bwe tufuna mu Kigambo kya Katonda awamu n’omwoyo omutukuvu bituyamba ‘okweyambulako omuntu ow’edda,’ era ne ‘twambala omuntu omuggya.’—Bak. 3:9, 10.
4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino, era lwaki?
4 Bwe tumala okweyambulako omuntu ow’edda, tulina okufuba okulaba nga tumwewalira ddala. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okweyambulako omuntu ow’edda, ensonga lwaki tusaanidde okumweyambulako mu bwangu, n’ensonga lwaki tusobola okukyuka ka tube nga tulina mize ki emibi. Ate era tugenda kulaba abo abamaze emyaka emingi nga baweereza Yakuwa kye bayinza okukola okusobola okwewala omuntu ow’edda. Lwaki tugenda kulaba ensonga ezo? Abamu ku abo abaali baweereza Yakuwa, baalekera awo okuba obulindaala ne baddamu okukola ebintu ebibi bye baalinga bakola nga tebannatandika kuweereza Yakuwa. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okussaayo omwoyo ku kulabula kuno: “[Oyo] alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa.”—1 Kol. 10:12.
“MUFIISE” OKWEGOMBA KWONNA ‘OKUKWATA KU BUGWENYUFU’
5. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki kikulu okweyambulako omuntu ow’edda mu bwangu. (Laba ekifaananyi ku lupapula 17.) (b) Okusinziira ku Abakkolosaayi 3:5-9, ebikolwa by’omuntu ow’edda bizingiramu ki?
5 Kiki kye wandikoze singa engoye zo zicaafuwala era oboolyawo ne zitandika okuwunya? Awatali kubuusabuusa engoye ezo oziggyamu mu bwangu. Mu ngeri y’emu tulina okubaako kye tukolawo mu bwangu okweggyamu emize Katonda gy’atayagala. Tulina okukolera ku kubuulirira kuno: “Byonna mubyeggireko ddala.” Kati ka tulabeyo ebintu bibiri bye tusaanidde okwewala Pawulo bye yayogerako: ebikolwa eby’obugwenyufu n’obutali bulongoofu.—Soma Abakkolosaayi 3:5-9.
6, 7. (a) Ebigambo bya Pawulo biraga bitya nti kitwetaagisa okufuba ennyo okweyambulako omuntu ow’edda? (b) Bulamu bwa ngeri ki Sakura bwe yalimu, era kiki ekyamuyamba okulekayo enneeyisa ye embi?
6 Ebikolwa eby’obugwenyufu. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ebikolwa eby’obugwenyufu” kizingiramu okwegatta kwonna okubaawo wakati w’abantu abatali bafumbo n’okulya ebisiyaga. Pawulo yagamba Bakristaayo banne ‘okufiisa ebitundu byabwe eby’omubiri,’ kwe kugamba, okweggiramu ddala okwegomba okw’obugwenyufu. Ebigambo bya Pawulo ebyo biraga nti kyetaagisa okufuba okw’amaanyi okusobola okweggyamu okwegomba okubi. Wadde kiri kityo, kisoboka okweggyamu okwegomba okubi.
7 Lowooza ku Sakuraa enzaalwa ya Japan. Bwe yali omuvubuka yalina ekiwuubaalo era yali awulira nga talina mugaso. Okuviira ddala nga wa myaka 15, yatandika okwegatta n’abasajja ab’enjawulo ng’alowooza nti ekyo kyandimumazeeko ekiwuubaalo. Agamba nti: “Mu bbanga lye nnamala nga ndi mu bulamu obwo, nnaggyamu embuto ssatu.” Era agamba nti: “Mu kusooka nnawulira ng’eyalina obulamu obweyagaza. Naye gye nnakoma okwegatta n’abasajja ab’enjawulo gye nnakoma okuggwebwako essanyu.” Sakura yeeyongera okutambulira mu bulamu obw’engeri eyo okutuusa bwe yaweza emyaka 23. Oluvannyuma yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Sakura yayagala ebyo bye yayiga era Yakuwa yamuyamba okulekayo ebikolwa eby’obugwenyufu era n’alekera awo okulumirizibwa olw’ebibi bye yakola emabega. Kati Sakura aweereza nga payoniya owa bulijjo era takyawulira kiwuubaalo. Agamba nti: “Yakuwa andaze okwagala kungi era ndi musanyufu nnyo.”
OKWEGGYAKO EBIKOLWA EBITALI BIRONGOOFU
8. Bintu ki ebiyinza okutufuula abatali balongoofu mu maaso ga Katonda?
8 Obutali bulongoofu. Mu Bayibuli, ebigambo ‘obutali bulongoofu’ birina amakulu magazi. Tebitegeeza bikolwa bya bugwenyufu byokka, wabula bizingiramu n’ebikolwa ebirala ebibi, gamba ng’okunywa ssigala n’okusaaga okw’obuwemu. (2 Kol. 7:1; Bef. 5:3, 4) Ate era bizingiramu n’ebintu ebirala ebibi omuntu by’akola ng’ali yekka gamba ng’okusoma ebitabo ebireetera omuntu okuwulira ng’ayagala okwegatta oba okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ebiyinza okuleetera omuntu okufuna omuze ogw’okwemazisa.—Bak. 3:5.b
9. Omuntu bw’akola oba bw’alaba ebintu ebimuleetera okwagala ennyo okwegatta biki ebivaamu?
9 Abantu abalina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu bafuna omuze ogw’okwagala ennyo okwegatta era batuuka n’okuba nga tebakyasobola kwefuga ku bikwata ku kwegatta. Okunoonyereza kulaga nti omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu gufaananako n’omuze ogw’okwekatankira omwenge n’ogw’okukozesa ebiragalalagala. Tekyewuunyisa nti omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu guviirako ebintu ebibi gamba nga, omuntu okuwulira ng’aweebuuse, obutakola bulungi mirimu gye, obufumbo obutaliimu ssanyu, n’okwetta. Omusajja omu bwe yali ajaguza okuweza omwaka ogumu ng’aleseeyo omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu yagamba nti: “Kati mpulira nzizeemu okubeera omuntu alina ekitiibwa.”
10. Ribeiro yavvuunuka atya omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu?
10 Abantu abasinga obungi bazibuwalirwa nnyo okwekutula ku muze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Ng’ebyo ebyatuuka ku Ribeiro abeera mu Brazil bwe biraga, kisoboka okwekutula ku muze ogwo. Ribeiro yava ewaabwe ng’ali mu myaka gy’obutiini era oluvannyuma lw’ekiseera yatandika okukola mu kampuni ekola empapula okuva mu bitabo ebikadde, era eyo gye yasookera okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Agamba nti: “Ekiseera kyatuuka, okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ne gunfuukira omuze. Omuze ogwo gwakula ne kiba nti ekiseera kyatuuka ne mba nga sikyasooka na kulinda mukazi gwe nnali mbeera naye kuva waka ndyoke mbirabe.” Naye lumu Ribeiro bwe yali ku mulimu, yalaba mu bitabo ebyali bigenda okukolebwamu empapula akatabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Yakaggyamu n’akasoma. Ebyo bye yayiga mu katabo ako byamuleetera okutandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, naye kyamutwalira ekiseera kiwanvu okulekayo omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Kiki ekyamuyamba okuvvuunuka omuze ogwo? Agamba nti: “Okusaba, okusoma Bayibuli, n’okufumiitiriza ku bye nnali njiga kyannyamba okwongera okutegeera Yakuwa n’okumwagala. Ekiseera kyatuuka okwagala kwe nnalina eri Yakuwa ne kuba nga kwa maanyi okusinga okwegomba kwe nnalina okw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu.” Ekigambo kya Katonda awamu n’Omwoyo omutukuvu byasobozesa Ribeiro okweyambulako omuntu ow’edda, n’abatizibwa, era kati aweereza ng’omukadde mu kibiina.
11. Kiki ekisobola okuyamba omuntu okwekutula ku muze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu?
11 Weetegereze nti okusoma obusomi Bayibuli ku bwakyo si kye kyayamba Ribeiro okuvvuunuka omuze ogwo omubi. Yalina okubaako ky’akolawo okukakasa nti ebyo bye yali ayiga mu Bayibuli bimutuuka ku mutima. Okusaba n’okufumiitiriza ku bye yali ayiga kyaleetera okwagala kwe yalina eri Yakuwa okuba okw’amaanyi okusinga okwegomba okubi kwe yalina. Okweyongera okwagala Yakuwa n’okukyawa ekibi kisobola okuyamba omuntu okwekutula ku muze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu.—Soma Zabbuli 97:10.
MWEGGYEEMU OBUSUNGU, OKUVUMA, N’OKULIMBA
12. Kiki ekyayamba Stephen okulekayo obusungu n’okuvuma?
12 Abantu abasunguwala amangu batera okuvuma abalala. Naye ekyo tekisobozesa maka kubaamu ssanyu. Stephen abeera mu Australia yagamba nti: “Nnateranga okuyomba ennyo era nga n’obuntu obutono ennyo bunnyiiza. Nze ne mukyala wange twayawukana emirundi esatu era twali mu nteekateeka ez’okugattululwa.” Mu kiseera ekyo Stephen ne mukyala we baatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Stephen bwe yatandika okukolera ku bulagirizi bwa Bayibuli, biki ebyavaamu? Agamba nti: “Embeera mu maka gaffe yatereera. Yakuwa yannyamba era kati ndi muntu wa mirembe era ndi mukkakkamu, so ng’ate edda nnali muntu wa kasunguyira nga n’akantu akatono ennyo kanzigya mu mbeera.” Leero Stephen muweereza mu kibiina era mukyala we amaze emyaka egiwera ng’aweereza nga payoniya owa bulijjo. Abakadde mu kibiina Stephen mw’ali bagamba nti: “Stephen musirise, mukozi nnyo, era mwetoowaze.” Era bagamba nti tebamulabangako ng’anyiize. Kiki ekyayamba Stephen okuvvuunuka ekizibu kye yalina? Agamba nti: “Sandisobodde kuvvuunuka kizibu ekyo singa sakkiriza Yakuwa kunnyamba kweyambulako omuntu ow’edda.”
13. Lwaki obusungu bwa kabi, era kubuulirira ki Bayibuli kw’etuwa?
13 Bayibuli etukubiriza okweggyamu obusungu, okuvuma, n’okuyomba. (Bef. 4:31) Ebintu ebyo emirundi mingi biviirako abantu okukola ebikolwa eby’obukambwe. Ebintu ebyo abantu bangi mu nsi babitwala ng’ekintu ekya bulijjo, naye tebiweesa Katonda Kitiibwa. Bangi ku baganda baffe baalekayo emize egyo ne bambala omuntu omuggya.—Soma Zabbuli 37:8-11.
14. Kisoboka omuntu ow’obusungu okufuuka omuntu omukkakkamu?
14 Lowooza ku Hans aweereza ng’omukadde mu kibiina ekimu mu Austria. Omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde mu kibiina Hans mw’ali agamba nti: “Ow’oluganda Hans muwombeefu nnyo.” Naye Hans si bw’atyo bwe yali edda. Bwe yali mu myaka gy’obutiini, yatandika okwekatankira omwenge, era yafuuka wa busungu. Lumu bwe yali atamidde era ng’asunguwadde yatta muganzi we, era n’asalirwa ekibonerezo kya kusibibwa myaka 20. Okusiba Hans mu kkomera tekyamuleetera kulekera awo kuba muntu wa busungu. Oluvannyuma lw’ekiseera, maama wa Hans yakola entegeka omukadde omu mu kibiina akyalireko Hans mu kkomera, era Hans yatandika okuyiga Bayibuli. Hans agamba nti: “Tekyannyanguyira kweyambulako muntu ow’edda. Mu byawandiikibwa ebyannyamba ennyo mwe muli Isaaya 55:7, awagamba nti: ‘Omubi aleke ekkubo lye,’ ne 1 Abakkolinso 6:11, awalaga nti Abakristaayo abamu ab’omu kyasa ekyasooka baali baleseeyo emize emibi. Okumala emyaka mingi Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okunnyamba okwambala omuntu omuggya.” Oluvannyuma lw’okumala emyaka kkumi na musanvu n’ekitundu mu kkomera, Hans yateebwa nga wa luganda mubatize. Agamba nti: “Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okunsaasira n’okunsoyiwa.”
15. Kintu ki abantu bangi kye bakola, naye Bayibuli ekyogerako ki?
15 Ekintu ekirala ekiraga nti omuntu ayambadde omuntu ow’edda kwe kulimba. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu batera okulimba okusobola okwewala okusasula emisolo oba okwewala okuvunaanibwa. Naye Yakuwa ye “Katonda ow’amazima.” (Zab. 31:5, obugambo obuli wansi.) N’olwekyo, Yakuwa yeetaagisa buli omu ku baweereza be ‘okwogera amazima buli omu eri munne n’obutalimbagana.’ (Bef. 4:25; Bak. 3:9) Bwe kityo, tusaanidde okwogera amazima ne bwe kiba nti si kyangu oba ne bwe kiba nga kijja kutuviiramu okuswala.—Nge. 6:16-19.
ENGERI GYE BAASOBOLA OKULEKAYO EMIZE EMIBI
16. Kiki ekiyinza okuyamba omuntu okweyambulako omuntu ow’edda?
16 Tetusobola kweyambulako muntu ow’edda mu maanyi gaffe. Sakura, Ribeiro, Stephen, ne Hans baalina okufuba ennyo okweggyako emize emibi. Bakkiriza Yakuwa okubayamba ng’ayitira mu kigambo kye n’omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13; Beb. 4:12) Okusobola okuganyulwa mu buyambi obwo Yakuwa bw’atuwa, tulina okusoma Bayibuli buli lunaku, okugifumiitirizaako, n’okumusaba atuwe amagezi n’obumalirivu tusobole okukolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli. (Yos. 1:8; Zab. 119:97; 1 Bas. 5:17) Era tusobola okuganyulwa mu buyambi obwo bwe twetegekera obulungi enkuŋŋaana era ne tuzibaamu. (Beb. 10:24, 25) Ate era tulina okufuba okulya emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa okuyitira mu bintu ebitali bimu.—Luk. 12:42.
17. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
17 Mu kitundu kino tulabye emize egitali gimu Abakristaayo gye basaanidde okweggyako era gye basaanidde okwewalira ddala. Naye ekyo kyokka kye tusaanidde okukola okusobola okusiimibwa Katonda? Nedda. Tulina n’okwambala omuntu omuggya era ne tusigala nga tumwambadde obulamu bwaffe bwonna. Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.
a Agamu ku mannya mu kitundu kino gakyusiddwa.
b Laba essuula 25 mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 1.