Abakkolosaayi
3 Naye bwe muba nga mwazuukirira wamu ne Kristo,+ mweyongere okunoonya ebintu eby’omu ggulu, eyo Kristo gy’atudde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.+ 2 Ebirowoozo byammwe mubikuumire ku bintu eby’omu ggulu+ so si eby’oku nsi.+ 3 Kubanga mwafa, era obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda. 4 Kristo, obulamu bwaffe,+ bw’anaalabisibwa, nammwe mujja kulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.+
5 N’olwekyo, mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri+ ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu,* ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta,+ okuyaayaanira ebintu ebibi, n’omululu, nga kwe kusinza ebifaananyi. 6 Ku lw’ebintu ebyo, obusungu bwa Katonda bujja. 7 Bwe mutyo nammwe bwe mweyisanga* edda.+ 8 Naye kati byonna mubyeggireko ddala: obusungu, ekiruyi, ebikolwa ebibi,+ okuvuma,+ n’eby’obuwemu,+ tebiyitanga mu kamwa kammwe. 9 Temulimbagananga.+ Mweyambuleko omuntu ow’edda+ n’ebikolwa bye, 10 mwambale omuntu omuggya,+ oyo afuulibwa omuggya okuyitira mu kumanya okutuufu, mu kifaananyi ky’Oyo eyamutonda.+ 11 Olwo waba tewakyaliwo Muyonaani wadde Omuyudaaya, okukomolebwa oba obutakomolebwa, omugwira, Omusukusi,* omuddu, oba ow’eddembe; naye Kristo ye byonna mu byonna.+
12 Kale, ng’abalonde ba Katonda+ abatukuvu era abaagalwa, mwambale obusaasizi,+ ekisa, obwetoowaze,+ obukkakkamu+ n’obugumiikiriza.+ 13 Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga+ omuntu yenna ne bw’aba n’ensonga ku munne.+ Era nga Yakuwa* bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.+ 14 Naye okugatta ku ebyo byonna, mwambale okwagala+ kubanga kunywereza ddala obumu.+
15 Ate era, emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe,+ kubanga egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu. Era, mulage nti musiima. 16 Ekigambo kya Kristo ka kikolere mu mmwe mu bujjuvu kibaleetere amagezi gonna. Muyigirizaganenga era muzziŋŋanemu amaanyi* nga mukozesa zabbuli,+ ennyimba ezitendereza Katonda, n’ennyimba ez’eby’omwoyo eziyimbibwa n’essanyu, nga muyimbira Yakuwa* mu mitima gyammwe.+ 17 Buli kimu kye mukola mu bigambo oba mu bikolwa, mukikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe okuyitira mu ye.+
18 Mmwe abakyala, mugonderenga abaami bammwe+ nga bwe kigwanira mu Mukama waffe. 19 Mmwe abaami, mwagalenga bakyala bammwe+ era temubasunguwaliranga.*+ 20 Mmwe abaana, mugonderenga bazadde bammwe mu buli kimu,+ kubanga kino kisanyusa Mukama waffe. 21 Mmwe bataata, temunyiizanga baana bammwe,+ baleme okuggwaamu amaanyi. 22 Mmwe abaddu, mugonderenga bakama bammwe ab’oku nsi*+ mu buli kimu, si mu biseera ebyo byokka nga babalaba, olw’okwagala okusanyusa obusanyusa abantu, naye nga mukola n’omutima omwesimbu nga mutya Yakuwa.* 23 Buli kye mukola, mukikolenga n’omutima gwammwe gwonna, ng’abakolera Yakuwa*+ so si abantu, 24 kubanga mumanyi nti Yakuwa* y’ajja okubawa obusika ng’empeera.+ Muweereze Mukama waffe, Kristo. 25 Awatali kubuusabuusa, oyo akola ekikyamu ajja kufuna empeera okusinziira ku ekyo kye yakola,+ kubanga Katonda tasaliriza.+