Tokkiriza Kintu Kyonna Kukulemesa Kufuna Mpeera
“Omuntu yenna . . . tabalemesanga kufuna mpeera.”—BAK. 2:18.
1, 2. (a) Mpeera ki abaweereza ba Katonda gye beesunga okufuna? (b) Kiki ekisobola okutuyamba okukuumira amaaso gaffe ku mpeera? (Laba ekifaananyi waggulu.)
OKUFAANANAKO omutume Pawulo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta balina essuubi ery’okufuna “empeera ey’okuyitibwa okw’omu ggulu.” (Baf. 3:14) Beesunga okufugira awamu ne Yesu Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu n’okukolera awamu naye okusobozesa abantu okufuuka abatuukiridde. (Kub. 20:6) Eyo nga nkizo ya maanyi! Naye bo ab’endiga endala balina ssuubi ddala. Beesunga nnyo okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi!—2 Peet. 3:13.
2 Okusobola okuyamba Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta okusigala nga beesigwa basobole okufuna empeera, Pawulo yabagamba nti: “Ebirowoozo byammwe mubikuumire ku bintu eby’omu ggulu.” (Bak. 3:2) Baalina okukuumira ebirowoozo byabwe ku ssuubi ery’okufuna obusika mu ggulu. (Bak. 1:4, 5) Mu butuufu, abaweereza ba Katonda bonna, ka babe nga balina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, bwe bafumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’agenda okuwa abantu be, kibayamba okukuumira amaaso gaabwe ku mpeera.—1 Kol. 9:24.
3. Kulabula ki Pawulo kwe yawa Bakristaayo banne?
3 Pawulo era yalabula Bakristaayo banne ku bintu ebyali bisobola okubalemesa okufuna empeera. Ng’ekyokulabirako, yalabula Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi ku Bakristaayo ab’obulimba abaali balowooza nti bajja kusiimibwa Katonda nga bagoberera Amateeka ga Musa mu kifo ky’okukkiririza mu Kristo. (Bak. 2:16-18) Pawulo era yayogera ne ku bintu ebirala ebiriwo n’okutuusa leero ebiyinza okutulemesa okufuna empeera. Ng’ekyokulabirako, yannyonnyola engeri gye tuyinza okwewalamu okwegomba okubi, engeri gye tuyinza okugonjoolamu obutakkaanya ne bakkiriza bannaffe, n’engeri gye tuyinza okugonjoolamu ebizibu mu maka. Amagezi ge yawa ku nsonga ezo ga muganyulo gye tuli ne leero. Kati ka tulabe okumu ku kubuulirira Pawulo kwe yawa okusangibwa mu bbaluwa gye yawandiikira Abakkolosaayi.
MUFIISE OKWEGOMBA OKUBI
4. Lwaki okwegomba okubi kusobola okutulemesa okufuna empeera?
4 Oluvannyuma lw’okujjukiza bakkiriza banne essuubi ery’ekitalo lye baalina, Pawulo yabagamba nti: “N’olwekyo, mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu, ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta, okuyaayaanira ebintu ebibi, n’omululu.” (Bak. 3:5) Okwegomba okubi kusobola okuba okw’amaanyi ennyo ne kutuviirako okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa n’empeera yaffe ey’omu kiseera eky’omu maaso. Ow’oluganda eyatwalirizibwa okwegomba okubi yayogera bw’ati ng’amaze okukomezebwawo mu kibiina, “Okwegomba okubi kwe nnalina kwali kwa maanyi nnyo era nnagenda okwejjuukiriza nga mmaze okukola ekibi eky’amaanyi.”
5. Tuyinza tutya okwewala embeera eziyinza okutusuula mu bikemo?
5 Kikulu nnyo okuba obulindaala, naddala nga twolekaganye n’embeera ezisobola okutuviirako okumenya amateeka ga Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, kiba kya magezi omusajja n’omukazi aboogerezeganya okuteekawo ekkomo ku bintu gamba ng’okwekwatako, okwenywegera, oba okubeera bokka. (Nge. 22:3) Embeera endala ezisobola okuleetawo ebikemo ziyinza okujjawo ng’Omukristaayo alina olugendo lw’agenzeeko oba ng’akola n’omuntu gwe batafaanaganya naye kikula. (Nge. 2:10-12, 16) Bwe weesanga mu mbeera ng’ezo, tegeeza abalala nti oli Mujulirwa wa Yakuwa, weeyise bulungi, era kijjukire nti okuzannyirira n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula kisobola okuvaamu ebizibu eby’amaanyi. Ate era kisobola okuba ekyangu okutwalirizibwa ebikemo bwe tuba nga tuli bennyamivu oba nga tuweddemu amaanyi. Mu mbeera ng’ezo, tuyinza okuwulira nga twetaaga omuntu ow’okutubudaabuda. Tuyinza okwagala ennyo okubudaabudibwa ne tutuuka n’okukkiriza okubudaabudibwa okuva eri omuntu yenna. Ekyo bwe kikutuukako, saba Yakuwa akuyambe era funa obuyambi okuva mu bakkiriza banno oleme kukola kintu kyonna ekiyinza okukulemesa okufuna empeera.—Soma Zabbuli 34:18; Engero 13:20.
6. Kiki kye tusaanidde okujjukira nga tulondawo eby’okwesanyusaamu?
6 Okusobola okufiisa okwegomba okubi, tulina okwewala eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu eby’obugwenyufu. Eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi leero birimu ebintu ebyakolebwanga mu Sodomu ne Ggomola. (Yud. 7) Abazannyi ba firimu, abayimbi, n’abalala abalinga abo baleetera abantu okulowooza nti ebikolwa eby’obugwenyufu tebiriimu kabi konna. N’olwekyo tulina okuba obulindaala. Tetulina kumala gakkiriza buli kya kwesanyusaamu ekiriwo. Tusaanidde okufuba okulonda eby’okwesanyusaamu ebitaatulemese kukuumira maaso gaffe ku mpeera ey’obulamu.—Nge. 4:23.
“MWAMBALE” OKWAGALA N’EKISA
7. Buzibu ki obuyinza okujjawo mu kibiina?
7 Tugitwala nga nkizo okuba mu kibiina Ekikristaayo. Bwe tuba mu nkuŋŋaana zaffe, tusoma Ekigambo kya Katonda era buli omu afaayo ku munne ne kituyamba okukuumira amaaso gaffe ku mpeera. Naye oluusi obutakkaanya buyinza okuleetawo obuzibu wakati waffe ne bakkiriza bannaffe. Bwe tulemererwa okugonjoola obuzibu obwo, kiyinza okutuviirako okusibira bannaffe ekiruyi.—Soma 1 Peetero 3:8, 9.
8, 9. (a) Ngeri ki ezinaatuyamba okufuna empeera? (b) Kiki ekisobola okutuyamba okukuuma emirembe nga Mukristaayo munnaffe atunyiizizza?
8 Tuyinza tutya obutakkiriza kiruyi kutulemesa kufuna mpeera? Pawulo yagamba bakkiriza banne mu Kkolosaayi nti: “Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambale obusaasizi, ekisa, obuwombeefu, obukkakkamu n’obugumiikiriza. Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo. Naye okugatta ku ebyo byonna, mwambale okwagala kubanga kwe kunywereza ddala obumu.”—Bak. 3:12-14.
9 Okwagala n’ekisa bisobola okutuyamba okusonyiwagana. Ng’ekyokulabirako, abalala bwe boogera oba bwe bakola ebintu ebitulumya tusaanidde okujjukira omulundi naffe lwe twayogera oba lwe twakola ekintu ekyalumya abalala. Tekyatusanyusa okuba nti bakkiriza bannaffe abo baatulaga okwagala n’ekisa ne batusonyiwa? (Soma Omubuulizi 7:21, 22.) Ate era tusiima nnyo ekisa Yesu kye yatulaga n’atuleeta mu kibiina ekiri obumu. (Bak. 3:15) Ffenna tusinza Katonda omu gwe twagala, tubuulira obubaka bwe bumu, era bangi ku ffe twolekagana n’okusoomooza kwe kumu. Bwe tulagaŋŋana ekisa era ne tusonyiwagana, tweyongera okuba obumu era kituyamba okukuumira amaaso gaffe ku mpeera.
10, 11. (a) Lwaki kya kabi okukwatirwa abalala obuggya? (b) Tuyinza tutya obutakkiriza buggya kutulemesa kufuna mpeera?
10 Ebyo bye tusoma mu Bayibuli bituyamba okulaba nti obuggya busobola okutulemesa okufuna empeera. Ng’ekyokulabirako, Kayini yakwatirwa muganda we Abbeeri obuggya n’amutta. Koola, Dasani, ne Abiraamu baakwatirwa Musa obuggya ne batandika okumuwakanya. Ate ye Kabaka Sawulo yakwatirwa Dawudi obuggya n’ayagala okumutta. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Awaba obuggya n’okuyomba wabaawo okutabuka na buli kintu ekibi.”—Yak. 3:16.
11 Bwe tukulaakulanya okwagala n’ekisa, tetujja kukwatirwa balala buggya. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekukwatibwa buggya.” (1 Kol. 13:4) Okusobola okwewala okukwatirwa abalala obuggya, tusaanidde okufuba okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira, nga bakkiriza bannaffe tubatwala ng’ebitundu by’omubiri ogumu naffe kwe tuli. Ekyo kijja kutuleetera okubaagala n’okukolera ku kubuulirira kuno okugamba nti: “Singa ekitundu ekimu kigulumizibwa, ebitundu ebirala byonna bisanyukira wamu nakyo.” (1 Kol. 12:16-18, 26) Abalala bwe babaako enkizo ze bafunye, mu kifo ky’okubakwatirwa obuggya tujja kusanyukira wamu nabo. Lowooza ku kyokulabirako Yonasaani mutabani wa Kabaka Sawulo kye yateekawo. Yonasaani teyakwatirwa Dawudi buggya bwe yakimanya nti Katonda yali alonze Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri eyandizzeeko. Mu kifo ky’ekyo, yazzaamu Dawudi amaanyi. (1 Sam. 23:16-18) Naffe tusobola okwoleka ekisa n’okwagala nga Yonasaani?
MUFUNE EMPEERA NG’AMAKA
12. Magezi ki agali mu Bayibuli agasobola okutuyamba okufuna empeera?
12 Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kisobola okuleetera ab’omu maka emirembe n’essanyu era ne kibasobozesa okufuna empeera. Magezi ki Pawulo ge yawa ab’omu maka Amakristaayo? Yagamba nti: “Mmwe abakyala, mugonderenga abaami bammwe nga bwe kigwanira mu Mukama waffe. Mmwe abaami, mwagalenga bakyala bammwe era temubasunguwaliranga. Mmwe abaana, mugonderenga bazadde bammwe mu buli kimu, kubanga kino kisanyusa Mukama waffe. Mmwe bataata, temunyiizanga baana bammwe, baleme okuggwaamu amaanyi.” (Bak. 3:18-21) Tewali kubuusabuusa nti amagezi ago gasobola okuyamba amaka ne leero.
13. Omukyala Omukristaayo ayinza atya okuyamba omwami we atali mukkiriza okwagala amazima?
13 Watya singa owulira nti omwami wo atali mukkiriza takuyisa bulungi? Okumuyombesa kinaatereeza embeera? Ne bwe kiba nti omuleetedde okukola ky’oyagala, ddala ekyo kiyinza okumuleetera okwagala amazima? Nedda. Naye singa ogondera obukulembeze bw’omwami wo, kisobola okuleetawo emirembe mu maka, kisobola okuleetera Yakuwa ettendo, era kisobola okuleetera omwami wo okuyiga amazima, mwembi ne mufuna empeera.—Soma 1 Peetero 3:1, 2.
14. Kiki omwami Omukristaayo ky’asaanidde okukola nga mukyala we atali mukkiriza tamussaamu kitiibwa?
14 Watya singa owulira nti mukyala wo atali mukkiriza takussaamu kitiibwa? Wandisazeewo okumulaga nti ggwe mutwe gw’amaka ng’omuboggolera asobole okukuwa ekitiibwa? Nedda. Katonda akusuubira okukulembera ab’omu maka go mu ngeri ey’okwagala ng’okoppa Yesu. (Bef. 5:23) Yesu ayoleka okwagala n’obugumiikiriza ng’akulembera ekibiina. (Luk. 9:46-48) Omwami bw’akoppa Yesu kiyinza okuleetera mukyala we okutandika okuweereza Yakuwa.
15. Omusajja Omukristaayo ayinza atya okulaga nti ayagala mukyala we?
15 Yakuwa agamba abaami nti: “Mwagalenga bakyala bammwe era temubasunguwaliranga.” (Bak. 3:19) Omusajja ayagala mukyala we amuwa ekitiibwa era amuwuliriza ng’awa endowooza ye era by’ayogera abitwala nga bikulu. (1 Peet. 3:7) Wadde nga tekiri nti ajja kukola buli kimu mukyala we ky’aba amugambye, bw’amuwuliriza kimuyamba okusalawo mu ngeri ennungi. (Nge. 15:22) Omwami ayagala mukyala we tamukaka kumuwa kitiibwa, wabula akola ebintu ebireetera mukyala we okumuwa ekitiibwa. Omusajja ayagala mukyala we n’abaana be, amaka ge gabaamu essanyu era kiba kyangu ab’omu maka ge okufuna empeera.
ABAVUBUKA—TEMUKKIRIZA KINTU KYONNA KUBALEMESA KUFUNA MPEERA
16, 17. Omuvubuka, oyinza otya okwewala okunyiigira bazadde bo?
16 Omuvubuka, owulira nti bazadde bo tebakutegeera era nti bakumalako emirembe? Ekyo kiyinza okukuleetera okuwulira nti si kya magezi okuweereza Yakuwa. Naye ekyo bw’okikkiriza okukuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa ojja kwejjusa kubanga ojja kukiraba nti tewali walala mu nsi w’ojja kulagibwa kwagala ng’okwo bazadde bo abatya Yakuwa ne Bakristaayo banno kwe bakulaga.
17 Singa bazadde bo tebakuwabula, tekyandikuleetedde kwebuuza obanga ddala bakufaako? (Beb. 12:8) Oboolyawo engeri bazadde bo gye bakuwabulamu y’ekumalako emirembe. Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku ngeri gye bakuwabulamu, gezaako okumanya ensonga lwaki bakuwabula. Bwe bakuwabula, fuba okusigala ng’oli mukkakkamu era weewale okwogera oba okukola ekintu kyonna mu busungu. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Omuntu ow’amagezi yeefuga mu by’ayogera, n’omutegeevu asigala mukkakkamu.” (Nge. 17:27) Fuba okukula mu birowoozo obeere omuntu akkiriza okuwabulwa, nga tomalira birowoozo byo ku ngeri gy’owabulwamu. (Nge. 1:8) Nkizo ya maanyi okuba n’abazadde abaagala Yakuwa. Abazadde abo baba baagala okukuyamba okufuna empeera ey’obulamu.
18. Lwaki omaliridde okukuumira amaaso go ku mpeera?
18 Empeera Yakuwa gy’asuubizza okutuwa k’ebe nga ya kufuna obulamu obutasobola kuzikirizibwa mu ggulu oba obulamu obutaggwaawo ku nsi, ya muwendo nnyo. Empeera eyo ya ddala, kubanga Omutonzi waffe y’asuubizza okugituwa. Ng’ayogera ku nsi empya, Katonda agamba nti: “Ensi erijjula okumanya Yakuwa.” (Is. 11:9) Buli omu ku nsi aliba ayigiriziddwa Yakuwa. Ffenna twandifubye okukolerera empeera eyo. N’olwekyo, ebirowoozo byo bikuumire ku bintu Yakuwa by’atusuubizza, era tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kufuna mpeera!