Engeri Ze Tulina Okufuba Okuba Nazo
‘Gobereranga obutuukirivu, okwemalira ku Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza n’obuteefu.’—1 TIM. 6:11, NW.
1. Waayo ekyokulabirako ekiraga amakulu agali mu kigambo ‘okugoberera.’
KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’owulira ekigambo ‘okugoberera’? Oboolyawo olowooza ku kiseera kya Musa, eggye ly’Abamisiri lwe lyazikirizibwa mu Nnyanja Emmyufu nga ligezaako ‘okuwondera’ Abaisiraeri. (Kuv. 14:23, NW) Oba oyinza okuba ng’ojjukira akabi omuntu ke yabangamu mu Isiraeri ey’edda bwe yabanga asse munne mu butanwa. Omussi oyo yalinanga okuddukira mu kimu ku bibuga omukaaga eby’okuddukiramu. Awatali kukola atyo, ‘oyo awalana eggwanga ly’omusaayi yali ayinza okumugoba ng’omutima gwe gukyasunguwadde, n’amutuukako era n’amuta.’—Ma. 19:6.
2. (a) Kirabo ki Katonda kye yateerawo Abakristaayo abamu? (b) Kiki Yakuwa ky’asuubiza Abakristaayo abasinga obungi leero?
2 Ng’oggyeko ebyokulabirako ebyo waggulu, weetegereze ekiruubirirwa omutume Pawulo kye yalina: “Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.” (Baf. 3:14) Baibuli eraga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000, nga mu bano mwe muli ne Pawulo, be baweebwa ekirabo ekyo eky’obulamu obw’omu ggulu. Bajja kufugira wamu ne Yesu Kristo mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi. Ng’ekiruubirirwa ekyo Katonda kye yabateerawo kirungi nnyo! Kyokka, Abakristaayo abasinga obungi leero bo balina essuubi lya njawulo. Yakuwa asuubiza okubawa ekyo Adamu ne Kaawa kye baafiirwa, nga buno bwe bulamu obutaggwawo era obutuukiridde mu lusuku lwa Katonda ku nsi.—Kub. 7:4, 9; 21:1-4.
3. Tuyinza tutya okulaga nti ddala tusiima ekisa kya Katonda eky’ensusso?
3 Abantu abatatuukiridde, ne bwe bafuba batya, ku lwabwe tebasobola kufuna bulamu butaggwawo. (Is. 64:6) Okusobola okufuna obulamu obutaggwawo omuntu alina okukkiririza mu nteekateeka ya Katonda ey’obulokozi okuyitira mu Yesu Kristo. Tuyinza kukola ki okulaga nti tusiima ekisa kya Katonda ekyo eky’ensusso? Kye tuyinza okukola kwe kugondera ekiragiro kino: ‘Gobereranga obutuukirivu, okwemalira ku Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza n’obuteefu.’ (1 Tim. 6:11, NW) Okwetegereza engeri zino kiyinza okuyamba buli omu ku ffe okuba omumalirivu ‘okweyongera’ okuzooleka mu bujjuvu.—1 Bas. 4:1.
‘Gobereranga Obutuukirivu’
4. Kiki ekiraga nti okugoberera “obutuukirivu” kintu kikulu, era omuntu alina kusooka kukola ki?
4 Mu bbaluwa zombi ze yawandiikira Timoseewo, omutume Pawulo yanokolayo engeri ze tulina okuba nazo, nga buli mulundi asooka na ‘butuukirivu.’ (1 Tim. 6:11; 2 Tim. 2:22) Ate era, emirundi mingi Baibuli etukubiriza okunoonya obutuukirivu. (Nge. 15:9; 21:21; Is. 51:1) Kino tuyinza okutandika okukikola nga tufuba “okutegeera . . . Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe [yatuma] Yesu Kristo.” (Yok. 17:3) Okugoberera obutuukirivu kireetera omuntu okubaako ky’akolawo—yeenenya ebibi bye ‘n’akyuka’ asobole okukola Katonda by’ayagala.—Bik. 3:19.
5. Tulina kukola ki okusobola okuba abatuukirivu mu maaso ga Katonda?
5 Abantu bangi abafuba okugoberera obutuukirivu beewaddeyo eri Yakuwa era ne babatizibwa. Bw’oba oli Mukristaayo mubatize, okimanyi nti by’okola birina okukyoleka nti ofaayo okugoberera obutuukirivu? Engeri emu gy’okyolekamu kwe kuba nti osobola okwawulawo ‘ekirungi n’ekibi’ okusinziira ku Baibuli ng’olina by’osalawo mu bulamu bwo. (Soma Abaebbulaniya 5:14.) Ng’ekyokulabirako, bw’oba oli Mukristaayo atuuse okuyingira obufumbo, oli mumalirivu okwewala okufumbiriganwa n’omuntu atali Mukristaayo mubatize? Bw’oba ogoberera obutuukirivu, ojja kukyewala.—1 Kol. 7:39.
6. Okugoberera obutuukirivu okwa nnamaddala kutwaliramu ki?
6 Okuba omutuukirivu si kye kimu n’okwetwala nti oli mutuukirivu, oba okwefuula ‘omutuukirivu ekisukkiridde.’ (Mub. 7:16) Yesu yalabula ku ky’okwefuula omutuukirivu okusinga abalala. (Mat. 6:1) Okugoberera obutuukirivu okwa nnamaddala kutwaliramu omutima—okweggyamu endowooza n’ebigendererwa ebikyamu, wamu n’okwegomba okubi. Bwe tunaafuba okukola bwe tutyo, tujja kwewala okukola ebibi eby’amaanyi. (Soma Engero 4:23; geraageranya Yakobo 1:14, 15.) Ng’oggyeko ekyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa gye era ajja kutuyamba nga tufuba okuba n’engeri z’Ekikristaayo endala.
‘Gobereranga Okwemalira ku Katonda’
7. “Okwemalira ku Katonda” kitegeeza ki?
7 Okwemalira ku kintu kitwaliramu okukikola n’obunyiikivu awamu n’okukinywererako. Enkuluze ya Baibuli emu egamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okwemalira ku Katonda” kitegeeza “okufuba obutaddirira mu kutya Katonda.” Emirundi mingi Abaisiraeri baalemwa okwemalira ku Katonda mu ngeri eyo. Kino kyeyolekera mu bikolwa byabwe eby’obujeemu, Katonda ne bwe yali ng’amaze okubanunula okuva e Misiri.
8. (a) Okwonoona kwa Adamu kwaleetawo kibuuzo ki? (b) Ekibuuzo ekyo kyaddibwamu kitya okuyitira mu ‘kyama’ ekitukuvu?
8 Oluvannyuma lwa Adamu eyali atuukiridde okwonoona, waayita emyaka nkumi na nkumi ng’ekyebuuzibwa kiri nti, “Waliyo omuntu yenna asobola okwemalira ku Katonda mu ngeri etuukiridde?” Ebbanga eryo lyonna, tewali muntu yenna yasobola kutambulira mu bulamu bwa kwemalira ku Katonda mu ngeri etuukiridde. Naye mu kiseera kye ekigereke, Yakuwa yaddamu ekibuuzo ekyo ng’ayitira mu ‘kyama’ ekitukuvu. Yaddira obulamu bw’Omwana we ow’omu ggulu eyazaalibwa omu yekka n’abuteeka mu lubuto lwa Malyamu Yesu asobole okuzaalibwa ng’omuntu atuukiridde. Mu bulamu bwe bwonna ku nsi n’okutuusa lwe yattibwa, Yesu yalaga kye kitegeeza okwemalira ku Katonda ow’amazima n’okukuuma obwesige. Essaala ze zaalaga nti Kitaawe ow’omu ggulu yali amussaamu nnyo ekitiibwa. (Mat. 11:25; Yok. 12:27, 28) Ye nsonga lwaki Yakuwa yaluŋŋamya Pawulo okukozesa ebigambo ‘okutya Katonda,’ oba okwemalira ku Katonda ng’ayogera ku bulamu bwa Yesu.—Soma 1 Timoseewo 3:16.
9. Tuyinza tutya okugoberera okwemalira ku Katonda?
9 Olw’okuba tuli boonoonyi, tetusobola kwemalira ku Katonda mu ngeri etuukiridde. Naye tuyinza okukola kye tusobola. Ekyo kiba kitwetaagisa okugoberera ennyo ekyokulabirako kya Kristo. (1 Peet. 2:21) Bwe tukola tutyo, tetujja kuba nga bannanfuusi ‘abalina ekifaananyi eky’okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo.’ (2 Tim. 3:5) Kino tekitegeeza nti okwemalira ku Katonda okwa nnamaddala tekusobola kweyolekera mu bikolwa. Kusobolera ddala. Ng’ekyokulabirako, ka tube nga tulonda lugoye lwa kwambala ku mbaga oba nga tugenda mu katale, ennyambala yaffe bulijjo erina okulaga nti ‘tutya Katonda.’ (1 Tim. 2:9, 10) Yee, okugoberera okwemalira ku Katonda kitwetaagisa bulijjo okutambulira ku misingi gya Katonda egy’obutuukirivu.
‘Gobereranga Okukkiriza’
10. Tulina kukola ki okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu?
10 Soma Abaruumi 10:17. Okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu, Omukristaayo alina okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda. ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ atuwadde ebitabo bingi ebituyamba mu nsonga eno. Ebitabo nga The Greatest Man Who Ever Lived, Learn From the Great Teacher, ne “Come Be My Follower,” bituyamba okutegeera obulungi Kristo tusobole okumukoppa. (Mat. 24:45-47) Omuddu omwesigwa era ateekateeka enkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ennene, nga nnyingi ku zo zissa essira ku “kigambo [ekikwata ku] Kristo.” Olina ky’oyinza okukola okusobola ‘okussaayo ennyo omwoyo’ weeyongere okuganyulwa mu bintu ebyo byonna Katonda by’atuwa?—Beb. 2:1.
11. Okusaba n’obuwulize binyweza bitya okukkiriza kwaffe?
11 Okusaba nakwo kuyamba mu kunyweza okukkiriza. Lumu abagoberezi ba Yesu baamugamba nti: ‘Twongere okukkiriza.’ Naffe tuyinza okusaba Katonda atukolere kye kimu. (Luk. 17:5) Tulina okusaba Katonda okutuwa omwoyo gwe omutukuvu kubanga okukkiriza kye kimu ku ‘bibala by’omwoyo.’ (Bag. 5:22) Okugondera ebiragiro bya Katonda nakyo kinyweza okukkiriza kwaffe. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okufuba okwongera ku biseera bye tumala mu mulimu gw’okubuulira. Ekyo kijja kutuleetera essanyu lingi nnyo. Era bwe tufumiitiriza ku miganyulo gye tufuna mu ‘kunoonya obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe,’ okukkiriza kwaffe kujja kunywera.—Mat. 6:33.
‘Gobereranga Okwagala’
12, 13. (a) Yesu yawa tteeka ki eriggya? (b) Ngeri ki enkulu mwe tuyinza okulagira okwagala ng’okwa Kristo?
12 Soma 1 Timoseewo 5:1, 2. Pawulo yalaga engeri Abakristaayo gye bayinza okulagaŋŋanamu okwagala. Okwemalira ku Katonda kutwaliramu okugondera etteeka lya Yesu eriggya ‘ery’okwagalananga’ nga naye bwe yatwagala. (Yok. 13:34) Omutume Yokaana yagamba nti: “Buli alina ebintu eby’omu nsi, n’atunuulira muganda we nga yeetaaga, n’amuggalirawo emmeeme ye, okwagala kwa Katonda kubeera kutya mu ye?” (1 Yok. 3:17) Wali olazeeko okwagala ng’oyamba abalala?
13 Okusonyiwa baganda baffe ne tutabasibira kiruyi ye ngeri endala gye tuyinza okugoberera okwagala. (Soma 1 Yokaana 4:20.) Twagala tukolere ku kubuulirira kuno: ‘Muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo.’ (Bak. 3:13) Waliwo omuntu yenna mu kibiina gwe weetaaga okusonyiwa? Era oli mwetegefu okumusonyiwa?
‘Gobereranga Okugumiikiriza’
14. Kiki kye tuyigira ku kibiina ky’omu Firaderufiya?
14 Ebiruubirirwa ebimu biba byangu okutuukako singa oba ofubye, ate ebirala bizibu oba bitwala ebbanga ddene okutuukako. Tewali kubuusabuusa nti okusobola okufuna obulamu obutaggwawo kyetaagisa okugumiikiriza. Mukama waffe Yesu yagamba ekibiina ky’omu Firaderufiya nti: “Kubanga weekuuma ekigambo eky’okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky’okukemebwa.” (Kub. 3:10) Yesu yayigiriza ku bukulu bw’okuba abagumiikiriza—ekintu ekituyamba okusigala nga tuli banywevu nga tugezesebwa oba nga tukemebwa. Ab’oluganda mu kibiina ky’omu Firaderufiya eky’omu kyasa ekyasooka bateekwa okuba nga baalaga nnyo obugumiikiriza okukkiriza kwabwe bwe kwali kugezesebwa. Yesu kye yava asuubiza okubayamba okugumira okugezesebwa okw’amaanyi okwali kugenda okujja.—Luk. 16:10.
15. Kiki Yesu kye yayigiriza ku kugumiikiriza?
15 Yesu yali akimanyi nti abagoberezi be bandikyayiddwa ab’eŋŋanda zaabwe abatali bakkiriza awamu n’ensi eno, era bw’atyo emirundi ebiri yabagamba nti: ‘Aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero ye alirokolebwa.’ (Mat. 10:22, NW; 24:13) Yesu era yalaga engeri abayigirizwa be gye bandisobodde okugumiikiriza mu kiseera ekyo. Mu kyokulabirako ekimu, abantu ‘abakkiriza n’essanyu ekigambo’ kya Katonda naye ne bagwa nga wazzeewo okugezesebwa yabageraageranya ku ttaka ery’olwazi. Kyokka, abagoberezi be abeesigwa yabageraageranya ku ttaka eddungi kubanga ‘banyweza’ ekigambo kya Katonda ne “babala [ebibala] n’okugumiikiriza.”—Luk. 8:13, 15.
16. Kiki ekiyambye obukadde n’obukadde bw’abantu okugumiikiriza?
16 Weetegerezza ekituyamba okugumiikiriza? Tuteekwa ‘okunyweza’ ekigambo kya Katonda mu mitima gyaffe ne mu birowoozo byaffe. Kino kitwanguyira olw’okuba tulina New World Translation of the Holy Scriptures—Baibuli eyavvuunulwa obulungi era ennyangu okusoma—egenda yeeyongera okuvvuunulwa mu nnimi endala. Okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda buli lunaku kijja kutuwa amaanyi ge twetaaga tusobole okubala ebibala “n’okugumiikiriza.”—Zab. 1:1, 2.
‘Gobereranga Obuteefu’ n’Emirembe
17. (a) Lwaki kikulu nnyo okuba ‘omuteefu’? (b) Yesu yalaga atya obuteefu?
17 Tewali muntu ayagala kumusibako kintu ky’atayogedde oba ky’atakoze. Abantu batera okukwatibwa obusungu nga waliwo ebikyamu ebiboogeddwako. Naye nga kiba kirungi okulaga ‘obuteefu’! (Soma Engero 15:1.) Okusobola okusigala nga tuli bateefu bwe wabaawo atuwaayirizza kyetaagisa okwefuga kwa maanyi. Yesu Kristo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ku nsonga eno. ‘Bwe yavumibwa, ye teyavuma; bwe yabonyaabonyezebwa, teyakanga; wabula yeewaayo eri oyo asala omusango ogw’ensonga.’ (1 Peet. 2:23) Tetuyinza kulaga buteefu kutuuka ku kigero kya Yesu, naye bwe tufuba tusobola okulongoosaamu.
18. (a) Birungi ki ebiva mu kuba abateefu? (b) Ngeri ki endala gye tukubirizibwa okugoberera?
18 Ka tukoppe Yesu nga ‘bulijjo tuba beetegefu okuddamu’ ebibuuzo ebikwata ku nzikiriza zaffe, nga tukikola “n’obuteefu n’okutya.” (1 Peet. 3:15, NW) Yee, okuba abateefu kituyamba obutayomba na bantu be tusanga mu nnimiro oba obutayomba na bakkiriza bannaffe olw’okuba endowooza yaffe eyawukana n’eyaabwe. (2 Tim. 2:24, 25) Obuteefu butuyamba okuleetawo emirembe. Eno yandiba nga ye nsonga lwaki mu bbaluwa ye ey’okubiri eri Timoseewo Pawulo yayogera ku ‘mirembe’ ng’emu ku ngeri ze tulina okugoberera. (2 Tim. 2:22; geraageranya 1 Timoseewo 6:11.) Yee, Ebyawandiikibwa bitukubiriza okugoberera “emirembe.”—Zab. 34:14; Beb. 12:14.
19. Oluvannyuma lw’okwetegereza engeri z’Ekikristaayo omusanvu, omaliridde kukola ki, era lwaki?
19 Twogedde ku ngeri z’Ekikristaayo musanvu ze tukubirizibwa okugoberera—obutuukirivu, okwemalira ku Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuteefu, n’emirembe. Nga kiba kirungi nnyo ab’oluganda mu buli kibiina okufuba okwoleka engeri zino ennungi mu bujjuvu! Yakuwa ajja kuweebwa ekitiibwa era ajja kutuyamba okukola ebintu ebimugulumiza.
Eby’Okufumiitirizaako
• Okugoberera obutuukirivu n’okwemalira ku Katonda kitwaliramu ki?
• Kiki ekinaatuyamba okugoberera okukkiriza n’okugumiikiriza?
• Okwagala kwandikutte kutya ku nkolagana yaffe n’abalala?
• Lwaki tulina okugoberera obuteefu n’emirembe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Yesu yalaga nti si kirungi muntu kweraga nti mutuukirivu abantu bamuwane
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Tusobola okugoberera okukkiriza nga tufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Tusobola okugoberera okwagala n’obuteefu