Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe Okuva nga Bakyali Bawere
BAYIBULI egamba nti: “Laba! Abaana busika okuva eri Yakuwa; ekibala ky’olubuto mpeera okuva gy’ali.” (Zab. 127:3, NW) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti abazadde Abakristaayo basanyuka nnyo nga bazadde omwana.
Wadde ng’okuzaala omwana kireeta essanyu, abo ababa bamuzadde bafuna obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Omwana bw’aba ow’okukula obulungi, aba yeetaaga okulyanga emmere erimu ekiriisa. Mu ngeri y’emu, omwana bw’aba ow’okunywerera mu mazima, bazadde be baba balina okumuliisa obulungi mu by’omwoyo n’okumutendeka. Balina okumuyigiriza emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda. (Nge. 1:8) Abazadde basaanidde kutandika ddi okutendeka abaana baabwe, era bayinza kubatendeka batya?
ABAZADDE BEETAAGA OBULAGIRIZI
Lowooza ku Manowa, eyali abeera mu kibuga Zola ekya Isiraeri era eyalina omukyala omugumba. Malayika wa Yakuwa yalabikira mukyala we n’amugamba nti yali agenda kuzaala omwana ow’obulenzi. (Balam. 13:2, 3) Manowa ne mukyala we bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okuwulira ebigambo ebyo. Wadde kyali kityo, waliwo ekintu ekyali kibeeraliikiriza. Manowa yasaba Yakuwa nti: “Ai Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma ajje gye tuli olw’okubiri, atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.” (Balam. 13:8) Manowa ne mukyala we baali baagala okumanya engeri y’okukuzaamu omwana gwe baali bagenda okuzaala. Tewali kubuusabuusa nti omwana waabwe, Samusooni, baamuyigiriza amateeka ga Yakuwa, era kirabika naye yagakolerako. Bayibuli eraga nti Samusooni bwe yali aweereza ng’omulamuzi mu Isiraeri, omwoyo gwa Yakuwa gwamusobozesa okukola ebintu eby’amaanyi bingi.—Balam. 13:25; 14:5, 6; 15:14, 15.
Abazadde basaanidde kutandika ddi okutendeka abaana baabwe? Maama wa Timoseewo, Ewuniike, ne jjajjaawe, Looyi, baamuyigiriza ‘ebyawandiikibwa ebitukuvu okuva mu buwere.’ (2 Tim. 1:5; 3:15) Timoseewo yatandika okutendekebwa ng’akyali muwere.
Kikulu nnyo abazadde Abakristaayo okusaba Katonda abawe obulagirizi era n’okukola enteekateeka ezeetaagisa basobole okutendeka omwana waabwe “okuva mu buwere.” Engero 21:5 wagamba nti: “Ebirowoozo eby’omunyiikivu bireeta [bulungi] bwereere.” Omwami n’omukyala ababa basuubira okuzaala omwana, basaanidde okweteekateeka obulungi. Bayinza n’okukola olukalala lw’ebintu bye bajja okwetaaga okugulira omwana waabwe. Kyokka era kikulu nnyo abazadde okulowooza ku ngeri gye banaayigirizzaamu omwana waabwe ebikwata ku Yakuwa. Basaanidde okufuba okulaba nti batandika okutendeka omwana waabwe amangu ddala nga yaakazaalibwa.
Ekitabo ekimu ekyogera ku ngeri omwana gy’akulamu kigamba nti, emyezi egisooka ng’omwana y’akazaalibwa, obwongo bwe buba busobola okukwata ebintu bingi mu bwangu. N’olwekyo kikulu nnyo abazadde okukozesa ekiseera ekyo okuyigiriza omwana waabwe ebintu ebikwata ku Yakuwa n’emitindo gye!
Ng’ayogera ku muwala we omuto, mwannyinaffe omu aweereza nga payoniya owa bulijjo yagamba nti: “Nnatandika okutwala muwala wange mu buweereza bw’ennimiro nga wa mwezi gumu. Wadde nga yali tategeera bigenda mu maaso, ndi mukakafu nti ekyo kyamuyamba nnyo. We yaweereza emyaka ebiri, yali asobola bulungi okugabira abantu tulakiti nga taliimu kutya.”
Abazadde bwe batandika okutendeka abaana baabwe okuva mu buto, kivaamu emiganyulo mingi. Kyokka okuyigiriza abaana abato ebikwata ku Katonda ebiseera ebisinga tekiba kyangu.
‘MUKOZESE BULUNGI BULI KAKISA KE MUFUNA’
Ekimu ku bintu ebikifuula ekizibu eri abazadde okuyigiriza abaana baabwe, kwe kuba nti abaana bawugulwa mangu. Abaana baba baagala okulaba buli kimu ekibasala mu maaso. Kiki abazadde kye bayinza okukola okuyamba abaana baabwe okussaayo omwoyo ku ebyo bye baba babayigiriza?
Lowooza ku ekyo Musa kye yagamba. Ekyamateeka 6:6, 7 wagamba nti: “Ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokonga.” Ebigambo “onoonyiikiranga okubiyigiriza” bitegeeza okuyigiriza ng’oddiŋŋana ensonga. Omwana omuto alinga omuti omuto oguba gwetaaga okufukirirwa buli kiseera. Okuva bwe kiri nti okuddiŋŋana ensonga kiyamba abantu abakulu okugijjukira, tewali kubuusabuusa nti kiyamba n’abaana abato!
Abazadde beetaaga okuwaayo ebiseera okusobola okuyigiriza abaana baabwe amazima. Kyokka ekyo si kyangu mu nsi eno omuli eby’okukola ebingi. Naye omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okukozesa obulungi buli kakisa ke bafuna’ okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. (Bef. 5:15, 16) Ekyo bayinza kukikola batya? Ow’oluganda omu aweereza ng’omukadde ate nga mukyala we aweereza nga payoniya owa bulijjo, yalina okukola enteekateeka okulaba nti tagwa lubege bwe kituuka ku kutendeka omwana waabwe, okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu kibiina, n’okukola omulimu gwe. Bandisobodde batya okufuna ebiseera okutendeka muwala waabwe? Ow’oluganda agamba nti: “Buli ku makya nga sinnagenda ku mulimu, nze ne mukyala wange tumusomera ekitundu okuva mu Kitabo Kyange eky’Engero za Bayibuli oba ekyawandiikibwa ky’olunaku. Era tukola kye kimu n’akawungeezi nga tanneebaka, era tugenda naye okubuulira. Twagala okukozesa obulungi ekiseera kino ng’akyali muto okumutendeka.”
‘ABAANA BALINGA OBUSAALE’
Twagala abaana baffe bakule bafuuke abantu ab’obuvunaanyizibwa. Kyokka ensonga esinga obukulu lwaki tubatendeka eri nti twagala okubayamba okwagala Katonda n’omutima gwabwe gwonna.—Mak. 12:28-30.
Zabbuli 127:4 wagamba nti: “Ng’obusaale bwe buli mu mukono gw’omuzira, abaana ab’omu buvubuka bwe bali bwe batyo.” Abaana bageraageranyizibwa ku busaale obulina okulasibwa obulungi okusobola okukuba ekintu omuntu ky’aba ayagala okukuba. Omuntu bw’aba alasa akasaale abeera nako mu ngalo okumala akaseera katono era aba tasobola kukakomyawo kasita kava mu mutego gwe. Mu ngeri y’emu, abazadde babeera n’abaana baabwe okumala ekiseera kitono. Ekiseera ekyo basaanidde okukikozesa obulungi okuyigiriza abaana baabwe emisingi gya Katonda.
Ng’ayogera ku abo be yayamba okuyiga amazima, omutume Yokaana yawandiika nti: “Tewali kisinga kunsanyusa ng’okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima.” (3 Yok. 4) Abazadde Abakristaayo nabo basobola okufuna essanyu ng’eryo bwe balaba abaana baabwe nga “batambulira mu mazima.”