“Nja Kutambulira mu Mazima Go”
“Ai Yakuwa, njigiriza amakubo go. Nja kutambulira mu mazima go.”—ZAB. 86:11.
1-3. (a) Amazima agali mu Bayibuli tusaanidde kugatwala tutya? Waayo ekyokulabirako. (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
KYA bulijjo abantu okuzzaayo ebintu bye baba baguze. Okunoonyereza kulaga nti ebintu 9 ku buli kikumi ku ebyo ebigulibwa mu maduuka bizzibwayo. Ate ebintu nga 30 ku buli kikumi ebigulibwa okuyitira ku Intaneeti oluvannyuma bizzibwayo. Oluusi kino kiva ku kuba nti ebintu ebyo tebiba ng’abo ababa babiguze bwe babadde basuubira, oba nga biriko ekikyamu, oba nga tebabyagala. Bwe kityo abo ababa baabigula basaba babawaanyisizeemu ebirala oba babaddize ssente zaabwe.
2 Wadde nga tuyinza okuzzaayo ebintu bye tuba tuguze oba okusaba okuddizibwa ssente zaffe, tetusaanidde kuzzaayo oba kutunda ‘mazima’ ge ‘tugula’ agali mu Bayibuli. (Soma Engero 23:23; 1 Tim. 2:4) Nga bwe twalaba mu kitundu ekyaggwa, okusobola okufuna amazima ago twawaayo ebiseera bingi. Ate era okusobola okugula amazima tuyinza okuba nga twerekereza omulimu ogusasula ssente ennyingi oba enkolagana gye twalina n’abalala. Ate era tuyinza okuba nga twakola enkyukakyuka mu ndowooza ne mu nneeyisa yaffe oba ne tulekayo obulombolombo n’emikolo ebikontana ne Bayibuli. Naye ebyo bye twefiiriza bitono nnyo bw’obigeraageranya ku mikisa gye twafuna.
3 Amazima agali mu Bayibuli naffe tugatwala ng’omusajja Yesu gwe yayogerako mu lugero olumu. Okusobola okulaga engeri abo abazuula amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda gye batwalamu amazima ago, Yesu yagera olugero olukwata ku musuubuzi eyali anoonya luulu ennungi era n’azuulayo emu. Luulu eyo yali ya muwendo nnyo ne kiba nti ‘amangu ddala’ yatunda buli kimu kye yalina n’agigula. (Mat. 13:45, 46) Mu ngeri y’emu, amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’amazima amalala ge twazuula mu Kigambo kya Katonda, ga muwendo nnyo gye tuli ne kiba nti twefiiriza ebintu ebitali bimu okusobola okugafuna. Bwe tweyongera okutwala amazima nga ga muwendo, tetusobola ‘kugatunda.’ Eky’ennaku, abamu ku bantu ba Katonda amazima balekedde awo okugatwala nga ga muwendo era bagatunze. Ekyo tetusaanidde kukikkiriza kututuukako! Okusobola okulaga nti amazima tugatwala nga ga muwendo era nti tetusobola kugatunda, tusaanidde okweyongera ‘okutambulira mu mazima,’ nga Bayibuli bw’etukubiriza. (Soma 3 Yokaana 2-4.) Okutambulira mu mazima kitegeeza okugakolerako, nga mu kino muzingiramu n’okugakulembeza mu bulamu bwaffe. Kati ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Lwaki abamu batunda amazima era bagatunda batya? Tuyinza tutya okwewala okukola ensobi eyo? Tuyinza tutya okuba abamalirivu okweyongera okutambulira mu mazima?
ENSONGA LWAKI ABAMU ‘BATUNDA’ AMAZIMA N’ENGERI GYE BAGATUNDAMU
4. Lwaki abantu abamu mu kyasa ekyasooka ‘baatunda’ amazima?
4 Mu kyasa ekyasooka abamu ku abo mu kusooka abakkiriza enjigiriza za Yesu baalekera awo okutambulira mu mazima. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lwa Yesu okuliisa ekibiina ky’abantu, abantu abo baamugoberera bwe yagenda ku ludda olulala olw’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Bwe baali eyo, Yesu yayogera ekintu ekyabeewuunyisa. Yagamba nti: “Okuggyako nga mulidde omubiri gw’Omwana w’omuntu era ne munywa n’omusaayi gwe, temulina bulamu.” Mu kifo ky’okubuuza Yesu amakulu g’ebigambo ebyo, beesittala ne bagamba nti: “Ebigambo ebyo byesisiwaza; ani ayinza okubiwuliriza?” N’ekyavaamu, “bangi ku bayigirizwa baddira ebintu bye baali balese, ne balekera awo okutambula naye.”—Yok. 6:53-66.
5, 6. (a) Kiki ekiviiriddeko abantu abamu mu kiseera kyaffe okulekera awo okutambulira mu mazima? (b) Omuntu ayinza atya okuwaba okuva mu mazima?
5 Eky’ennaku, abamu leero balekedde awo okutambulira mu mazima. Abamu beesittala olw’enkyukakyuka eyakolebwa mu ngeri gye tutegeeramu ekintu ekimu ekyogerwako mu Bayibuli oba olw’ekyo ow’oluganda omu ali mu kifo eky’obuvunaanyizibwa kye yayogera oba kye yakola. Abalala beesittala olw’okuwabulwa okuva mu Byawandiikibwa okwabaweebwa oba olw’okufuna obutakkaanya ne mukkiriza munnaabwe. Ate abalala baasalawo okwegatta ku bakyewaggula n’abantu abalala abavumirira ekibiina kya Yakuwa. N’ekyavaamu, abamu mu bugenderevu, baasalawo “okuva” ku Yakuwa ne ku kibiina kye. (Beb. 3:12-14) Nga kyandibadde kya magezi singa baanyweza okukkiriza kwabwe era ne beeyongera okwesiga Yesu, ng’omutume Peetero bwe yakola! Yesu bwe yabuuza abatume obanga nabo baali baagala okugenda, amangu ddala Peetero yaddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.”—Yok. 6:67-69.
6 Ate abalala amazima baagenda bagaleka mpolampola, nga tebakimanyi na kukimanya nti bagaleka. Omuntu agenda ng’ava mu mazima empolampola, abanga eryato eriva empolampola ku lubalama we liba lisimbiddwa. Embeera eyo Bayibuli egyogerako nga ‘okuwaba.’ (Beb. 2:1) Obutafaananako muntu ava mu mazima mu bugenderevu, omuntu awaba takigenderera kugavaamu. Naye aleka enkolagana ye ne Yakuwa okugenda ng’enafuwa, era ekiseera bwe kigenda kiyitawo asobola okugifiirwa. Tuyinza tutya okwewala ekyo okututuukako?
TUYINZA TUTYA OKWEWALA OKUTUNDA AMAZIMA?
7. Ekimu ku bintu bye twetaaga okukola okusobola okwewala okutunda amazima kye kiruwa?
7 Okusobola okweyongera okutambulira mu mazima tulina okukkiriza era ne tugondera byonna Yakuwa by’atugamba. Amazima ge tulina okukulembeza mu bulamu bwaffe era tusaanidde okukolera ku misingi egiri mu Bayibuli. Bwe yali asaba Yakuwa, Kabaka Dawudi yagamba nti: “Nja kutambulira mu mazima go.” (Zab. 86:11) Dawudi yali mumalirivu okutambulira mu mazima. Naffe tusaanidde okuba abamalirivu okweyongera okutambulira mu mazima Katonda g’atuyigirizza. Bwe tutaba bamalirivu, tuyinza okutandika okwejjusa ebyo bye twefiiriza okusobola okugula amazima oboolyawo ne twagala n’okubiddira. Naye mu kifo ky’okukola tutyo, tusaanidde okunyweza amazima. Tukimanyi nti tetulina kulondawo kukolera ku mazima agamu ate amalala ne tugaleka. Tulina okutambulira mu mazima gonna. (Yok. 16:13) Mu kitundu ekyaggwa twalaba ebintu bitaano bye tuyinza okuba nga twefiiriza okusobola okugula amazima. Kati tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwewala okuddira ebintu ebyo bye twaleka.—Mat. 6:19.
8. Okukozesa obubi ebiseera kiyinza kitya okuleetera Omukristaayo okuwaba okuva mu mazima? Waayo ekyokulabirako.
8 Ebiseera. Okusobola okwewala okuwaba okuva mu mazima, tulina okukozesa obulungi ebiseera byaffe. Bwe tuteegendereza tuyinza okutandika okumalira ebiseera bingi ku by’okwesanyusaamu, ku bintu ebitunyumira okukola, ku Intaneeti, oba ku ttivi. Wadde ng’ebintu ebyo ku bwabyo si bibi, tuyinza okubimalirako ebiseera bingi ne kiba nti tetukyafuna biseera bimala kwesomesa oba okwenyigira mu bintu ebirala eby’omwoyo. Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Emma.a Okuviira ddala mu buvubuka, Emma yali ayagala nnyo okuvuga embalaasi. Buli lwe yafunanga akaseera yagendanga okuvuga embalaasi. Oluvannyuma lw’ekiseera omutima gwatandika okumulumiriza olw’okuba yali akiraba nti yali amalira ebiseera bingi mu kukola ekintu ekyo ekyali kimunyumira ennyo. Emma yakola enkyukakyuka era yasobola okussa eby’okwesanyusaamu mu kifo kyabyo ekituufu. Ate era yakwatibwako nnyo bwe yasoma ebikwata ku mwannyinaffe Cory Wells, edda eyazannyanga omuzannyo ogw’okwebagala embalaasi enkambwe.b Kati Emma ebiseera bye ebisinga obungi abimalira mu bintu eby’omwoyo ng’ali wamu n’ab’omu maka ge ne mikwano gye. Awulira ng’enkolagana ye ne Yakuwa nnywevu era awulira emirembe ku mutima olw’okuba ebiseera bye abikozesa bulungi.
9. Okwagala ennyo ebintu kiyinza kitya okuleetera abamu okulagajjalira ebintu eby’omwoyo?
9 Ebintu. Bwe tuba ab’okweyongera okutambulira mu mazima tulina okukuumira ebintu mu kifo kyabyo ekituufu. Bwe twayiga amazima twatandika okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu kifo ky’okukulembeza eby’obugagga. Twali beetegefu okwerekereza ebintu okusobola okutambulira mu mazima. Naye ekiseera bwe kigenda kiyitawo, tuyinza okulaba abalala nga bagula amasimu oba bukompyuta obw’omu ngalo obuli ku mulembe oba ebintu ebirala. Tuyinza okutandika okuwulira nti tulina kye tufiirwa. Ekyo kiyinza okutuviirako okulekera awo okuba abamativu n’ebyo bye tulina ne tulekera awo okukulembeza ebintu eby’omwoyo tusobole okwenoonyeza ebintu. Lowooza ku Dema. Okwagala kwe yalina eri “ebintu by’ensi eno” kwamuviirako okulekera awo okuweerereza awamu n’omutume Pawulo. (2 Tim. 4:10) Lwaki Dema yalekawo Pawulo? Bayibuli tetubuulira obanga kyava ku kuba nti yayagala eby’obugagga okusinga ebintu eby’omwoyo oba yali takyayagala kwefiiriza okusobola okweyongera okuweerereza awamu ne Pawulo. Tusaanidde okwegendereza tuleme kuddamu kuba na mwoyo gwa kwagala bintu, kubanga ekyo kiyinza okutuviirako okulekera awo okwagala amazima.
10. Okusobola okweyongera okutambulira mu mazima, kiki kye tulina okwewala?
10 Enkolagana gye tulina n’abalala. Okusobola okweyongera okutambulira mu mazima tetusaanidde kukkiriza kutwalirizibwa balala. Bwe twatandika okutambulira mu mazima, enkolagana gye twalina ne mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe abatali Bajulirwa ba Yakuwa yakyuka. Abamu ku bo bayinza okuba nga tebaatuziyiza naye abalala bayinza okuba nga baatandika okutuziyiza. (1 Peet. 4:4) Wadde nga tufuba okubeera n’enkolagana ennungi n’ab’eŋŋanda zaffe n’okubayisa obulungi, tulina okwegendereza tuleme kubakkiriza kutuleetera kuleka mazima olw’okwagala okubasanyusa. Tujja kufuba okweyongera okuba n’enkolagana ennungi n’ab’eŋŋanda zaffe. Naye okusinziira ku 1 Abakkolinso 15:33, mikwano gyaffe egy’oku lusegere gijja kuba egyo egyagala Yakuwa.
11. Tuyinza tutya okwewala ebikolwa ebivumirirwa mu Byawandiikibwa?
11 Endowooza embi n’enneeyisa embi. Abo bonna abatambulira mu mazima bateekwa okuba abatukuvu. (Is. 35:8; soma 1 Peetero 1:14-16.) Bwe twali tuyiga amazima, ffenna tulina enkyukakyuka ze twakola okusobola okutuukana n’emitindo gya Bayibuli egy’obutuukirivu. Abamu baalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi. Ka tube nga twalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi oba nedda, tetusaanidde kukkiriza bugwenyufu obuli mu nsi ya Sitaani kutuleetera kulekera awo kuba batukuvu. Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa ebikolwa eby’obugwenyufu? Fumiitiriza ku muwendo omungi Yakuwa gwe yasasula okutusobozesa okuba abatukuvu. Yawaayo omusaayi gw’Omwana we, Yesu Kristo, ogw’omuwendo omungi. (1 Peet. 1:18, 19) Okusobola okusigala nga tuli batukuvu mu maaso ga Yakuwa, tusaanidde okulowoozanga ku muwendo omungi ogwa ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu.
12, 13. (a) Lwaki kikulu okukuumira mu birowoozo byaffe engeri Yakuwa gy’atwalamu ennaku ezikuzibwa? (b) Kiki kye tugenda okuddako okulaba?
12 Emikolo n’obulombolombo ebikontana ne Bayibuli. Ab’eŋŋanda zaffe, abo be tukola nabo, ne bayizi bannaffe, bayinza okwagala tubeegatteko nga bakuza emikolo gyabwe. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala okwenyigira mu bulombolombo n’emikolo ebitaweesa Yakuwa kitiibwa? Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu emikolo n’obulombolombo obwo kisobola okutuyamba. Bwe tusoma ebitabo byaffe ne twejjukanya ensibuko y’ennaku ezikuzibwa, kisobola okutuyamba okwewala okuzikuza. Bwe twejjukanya ensonga eziri mu Byawandiikibwa kwe tusinziira obuteenyigira mu mikolo n’obulombolombo ebyo tuba bakakafu nti tutambulira mu kkubo ‘erikkirizibwa Mukama waffe.’ (Bef. 5:10) Okwesiga Yakuwa n’Ekigambo kye eky’amazima kijja kutuyamba ‘obutatya bantu.’—Nge. 29:25.
13 Okutambulira mu mazima tekukoma. Tujja kweyongera okugatambuliramu emirembe gyonna. Kiki ekinaatuyamba okuba abamalirivu okweyongera okutambulira mu mazima? Ka tulabeyo ebintu bisatu.
MALIRIRA OKUTAMBULIRA MU MAZIMA
14. (a) Okweyongera okugula amazima kituyamba kitya okuba abamalirivu obutagatunda? (b) Lwaki amagezi, okuyigirizibwa, n’okutegeera bikulu?
14 Ekisooka, weeyongere okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda era ogafumiitirizeeko. Gula amazima nga bulijjo ofissaayo ekiseera okwesomesa amazima ag’omuwendo agali mu Kigambo kya Katonda. Ekyo kijja kukuyamba okweyongera okwagala amazima n’okuba omumalirivu obutagatunda. Ng’oggyeeko okugula amazima, Engero 23:23 era watukubiriza okugula “amagezi, n’okuyigirizibwa, awamu n’okutegeera.” Okufuna okumanya tekimala. Tulina okukolera ku mazima ge tuyiga. Okutegeera kutuyamba okulaba akakwate akaliwo wakati w’ebyo byonna Yakuwa by’agamba. Amagezi gatuleetera okukolera ku ebyo bye tuba tumanyi. Oluusi amazima gatuyigiriza, ne kituyamba okulaba we twetaaga okukola enkyukakyuka. Ka bulijjo tukolerenga ku bulagirizi obwo obutuweebwa. Obulagirizi obwo bwa muwendo nnyo okusinga ffeeza.—Nge. 8:10.
15. Olukoba olw’amazima lutukuuma lutya?
15 Eky’okubiri, malirira okutambulira mu mazima buli lunaku. Weesibe olukoba olw’amazima mu kiwato. (Bef. 6:14) Mu biseera eby’edda, olukoba lwanywezanga ekiwato ky’omusirikale era lwakuumanga ebitundu bye eby’omunda. Naye olukoba okusobola okuwa omusirikale obukuumi yalinanga okulusiba n’alunyweza. Olukoba olulagaya telwamuyambanga nnyo. Amazima gatukuuma gatya ng’olukoba? Bwe twesiba amazima ne tuganyweza ng’olukoba, gajja kutukuuma tuleme kutwalirizibwa ndowooza nkyamu era gajja kutuyamba okusalawo obulungi. Bwe tukemebwa oba bwe twolekagana n’ebigezo, amazima agali mu Bayibuli gajja kutuyamba okuba abamalirivu okukola ekituufu. Ng’omusirikale bwe yali tasobola kugenda mu lutalo nga teyeesibye lukoba, naffe tulina okuba abamalirivu obuteggyako lukoba lwaffe olw’amazima. Naye tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okulunyweza nga tufuba okukolera ku mazima mu bulamu bwaffe. Ate era ku lukoba olwo omusirikale kwe yateekanga ekitala kye. Ekyo kitutuusa ku kintu ekirala ekinaatuyamba okweyongera okutambulira mu mazima.
16. Okubuulira abalala amazima agali mu Bayibuli kituyamba kitya okuba abamalirivu okweyongera okugatambuliramu?
16 Eky’okusatu, weenyigire mu bujjuvu mu mulimu gw’okuyigiriza abalala amazima agali mu Bayibuli. Bw’onookola bw’otyo, ojja kusobola okunyweza ekitala eky’eby’omwoyo, nga kino kye “Kigambo kya Katonda.” (Bef. 6:17) Ffenna tusobola okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu nga ‘tukwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu.’ (2 Tim. 2:15) Bwe tukozesa Bayibuli okuyamba abalala okugula amazima n’okulekayo enjigiriza ez’obulimba, tuba tunnyikiza Ekigambo kya Katonda mu mitima gyaffe. Ekyo kituyamba okweyongera okuba abamalirivu okutambulira mu mazima.
17. Lwaki amazima ogatwala nga ga muwendo nnyo?
17 Amazima kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa. Amazima ago gatusobozesa okufuna ekintu ekisingayo okuba eky’omuwendo, ng’eno ye nkolagana yaffe ne Kitaffe ow’omu ggulu. Ebyo Yakuwa bye yaakatuyigirizaako ntandikwa butandikwa! Katonda atusuubizza okutuwa obulamu obutaggwaawo era tujja kweyongera okuyiga amazima mangi tugongere ku ago ge twamala okugula. N’olwekyo amazima gatwale nga ga muwendo nnyo nga luulu ennungi. Weeyongere ‘okugula amazima, era togatundanga.’ Okufaananako Dawudi, naawe osobola okusuubiza Yakuwa nti, “nja kutambulira mu mazima go,” era ojja kusobola okutuukiriza ekisuubizo ekyo.—Zab. 86:11.
a Erinnya likyusiddwa.
b Genda ku JW Broadcasting, wansi wa INTERVIEWS AND EXPERIENCES > TRUTH TRANSFORMS LIVES.