Essuula 11
Zino Ze Nnaku ez’Enkomerero!
1. Lwaki abantu bangi bawulira nga balemeseddwa bwe balowooza ku mbeera y’ensi, naye ennyinnyonnyola eyeesigika ku bikwata ku biriwo mu nsi eyinza kusangibwa wa?
ENSI yatuuka etya mu mbeera eno? Wa gye tulaga? Wali weebuuzizzaako ebibuuzo ng’ebyo? Bangi bawulira nga basobeddwa bwe batunuulira embeera y’ensi. Ebintu ebiriwo ng’entalo, endwadde, n’obumenyi bw’amateeka bireetera abantu okwebuuza ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Abakulembeze ba gavumenti bawa essuubi ttono. Kyokka, okunnyonnyola okwesigika okukwata ku nnaku zino ez’obuyinike kutuweereddwa okuva eri Katonda mu Kigambo kye. Ddala Baibuli etuyamba okulaba wa we tuli mu ntambula y’ebiseera. Etulaga nti tuli mu ‘nnaku za nkomerero’ ez’embeera zino ez’ebintu.—2 Timoseewo 3:1.
2. Kibuuzo ki Yesu kye yabuuzibwa abayigirizwa be, era yabaddamu atya?
2 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo Yesu kye yaddamu mu bibuuzo abayigirizwa be baamubuuza. Ng’ebulayo ennaku ssatu Yesu afe, baamubuuza: “Kiki ekiriba akabonero k’okubeerawo kwo n’ak’amafundikira g’embeera z’ebintu?”a (Matayo 24:3, NW ) Mu kuddamu, Yesu yayogera ku bintu n’embeera ebyali eby’okubeererawo ddala nga biraga nti embeera zino ez’obutatya Katonda ziyingidde ennaku ez’enkomerero.
3. Lwaki embeera ku nsi zeeyongera kuba mbi nga Yesu atandise okufuga?
3 Nga bwe kiragiddwa mu ssuula evuddeko, embala ya Baibuli ey’ebiseera eraga nti Obwakabaka bwa Katonda butandise okufuga. Naye ekyo kisoboka kitya? Embeera yeeyongedde kwonooneka bwonoonesi, so si kulungiwa. Mu butuufu, kino kiraga lwatu nti Obwakabaka bwa Katonda butandise okufuga. Lwaki kiri bwe kityo? Zabbuli 110:2 lututegeeza nti Yesu yali wa kufugira ‘wakati mu balabe be’ okumala ekiseera. Ddala ddala, ekikolwa kye yasooka okukola nga Kabaka ow’omu ggulu kwali kusuula Setaani ne balubaale be mu muliraano gw’ensi. (Okubikkulirwa 12:9) Kiki ekyava mu ekyo? Kyekyo Okubikkulirwa 12:12 kye lwalagula: “Zisanze ensi n’ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” Kati tuli mu ‘kaseera ako akatono.’
4. Ebimu ku birina okubaawo mu nnaku ez’enkomerero bye biruwa, era kiki kye biraga? (Laba akasanduuko.)
4 N’olwekyo, tekyewuunyisa okuba nti Yesu bwe yabuuzibwa akabonero k’okubeerawo kwe n’ak’amafundikira g’embeera zino ez’ebintu bwe kandibadde, okuddamu kwe kwali kukulu nnyo. Ebintu eby’enjawulo ebiri mu kabonero ako bisangibwa mu kasanduuko akali ku lupapula 102. Nga bw’oyinza okulaba, abatume Abakristaayo Pawulo, Peetero, ne Yokaana batutegeeza ebintu ebirala ebikwata ku nnaku ez’enkomerero. Kituufu, ebisinga obungi ebiri mu kabonero ako era ebiri mu nnaku ez’enkomerero bikwata ku mbeera ezinakuwaza ennyo. Kyokka, okutuukirizibwa kw’obunnabbi buno kwanditukakasizza nti embeera zino embi zoolekedde enkomerero yaazo. Ka twekenneenye ebimu ku ebyo ebirina okubaawo mu nnaku ez’enkomerero.
EBIRINA OKUBAAWO MU NNAKU EZ’ENKOMERERO
5, 6. Obunnabbi obukwata ku ntalo n’enjala butuukirizibwa butya?
5 “Eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka.” (Matayo 24:7; Okubikkulirwa 6:4) Omuwandiisi w’ebitabo Ernest Hemingway, Ssematalo I yamuyita “okusanjaga okusingira ddala okuba okunene, okw’ettemu, era okw’ekikungo okwali kubaddewo ku nsi.” Okusinziira ku kitabo The World in the Crucible—1914-1919, luno lwali lutalo lwa “ngeri mpya, olutalo olwazingiramu ebitundu byonna olwasookera ddala mu byafaayo by’omuntu. Ebbanga lye lwamala, okunyiinyiitira kwalwo, n’ekigero kyalwo byasukkuluma ekintu kyonna ekyali kimanyiddwako emabega oba ekyali kisuubirwa.” Naye ate lwagobererwa Ssematalo II, olwazikiriza ennyo n’okusinga Ssematalo I. Kakensa mu byafaayo Hugh Thomas agamba nti: “Ekyasa eky’amakumi abiri kibaddemu emmundu sseruwandula masasi, tanka, ennyonyi B-52 ensuuzi za bbomu, bbomu ez’amaanyi ga nukuliya, era ne zimizayiro. Kibaddemu entalo omufukumikidde omusaayi era ezoonoonye ennyo ebintu okusinga ezo ezaaliwo mu mulembe omulala gwonna.” Kituufu, eky’okukendeeza eby’okulwanyisa kyayogerwako nnyo nga Olutalo olw’Ekimugunyu luwedde. Kyokka, lipoota emu eraga nti okukendeeza eby’okulwanyisa okwateesebwako bwe kunaaba kukoleddwa, emitwe gy’eby’okulwanyisa eby’amaanyi ga nukuliya wakati wa 10,000 ne 20,000 gijja kuba nga gikyaliwo—amaanyi gaagyo gakubisaamu emirundi 900 ag’eby’okulwanyisa ebyakozesebwa mu Ssematalo II.
6 “Walibaawo enjala.” (Matayo 24:7; Okubikkulirwa 6:5, 6, 8) Okuva mu 1914 wabaddewo enjala ey’amaanyi emirundi nga 20. Ebifo ebikoseddwa mulimu Bangladesh, Burundi, Cambodia, China, Ethiopia, Greece, India, Nigeria, Russia, Rwanda, Somalia, ne Sudan. Naye enjala emirundi gyonna tesibuka ku bbula lya mmere. “Emmere yeeyongedde obungi ku nsi mu makumi g’emyaka agaakayita okusinga okweyongera kw’obungi bw’abantu,” bwe kityo bwe kyagamba ekibiina ky’abakugu mu by’obulimi. “Naye olw’okuba abantu obukadde nga 800 baavu lunkupe, . . . tebasobola kugula mmere ebamala ku nnyingi ennyo eyo eriwo basobole okuvvuunuka enjala gye balimu.” Ebiseera ebimu esibuka ku nsonga za bya bufuzi. Dr. Abdelgalil Elmekki ow’omu Univasite y’e Toronto anokolayo ebyokulabirako bibiri eby’ensi omuli abantu enkumi n’enkumi abaafa enjala songa ate ensi zaabwe zaali zitunda emmere nnyingi nnyo ebweru waazo. Gavumenti zirabika nga zaali zifaayo nnyo ku kufuna ensimbi ez’ebweru ez’okusaasaanya ku ntalo zaazo okusinga okuliisa abatuuze baazo. Dr. Elmekki yafundikira atya? Enjala emirundi egisinga esibuka ku “ngabanya ya mmere n’enkola ya gavumenti.”
7. Kiki ekiyinza okwogerwa ku kawumpuli aliwo mu kiseera kino?
7 “Kawumpuli.” (Lukka 21:11; Okubikkulirwa 6:8) Sseseeba ow’omu 1918-19 yatta abantu ng’obukadde 21. “Mu byafaayo byonna ensi yali tetaagulwataagulwangako mussi eyatta abantu abangi ennyo bwe batyo mu kabanga akatono ennyo,” bwe yawandiika A. A. Hoehling mu kitabo The Great Epidemic. Leero, endwadde zeeyongera okutaaluuka. Buli mwaka, kookolo atta abantu obukadde butaano, endwadde ez’ekiddukano zitta abaana abawere n’abalala abakyali abato abasukka mu bukadde obusatu, ate akafuba katta abantu obukadde busatu. Endwadde z’omu mawuggwe, naddala lubyamira, buli mwaka zitta abaana abato abatannaweza myaka etaano obukadde 3.5. Ate abantu ng’obuwumbi 2.5—kimu kya kubiri eky’abantu abali mu nsi yonna—balumizibwa endwadde eziva mu butaba na mazzi gamala oba mazzi malungi era n’enteekateeka z’eby’obuyonjo ezitamala. AIDS kye kintu ekirala ekitujjukiza nti omuntu, wadde ng’akuguse nnyo mu by’ekisawo, tasobola kumalawo ndwadde.
8. Abantu beeraze batya okuba ‘abaagazi ba ssente’?
8 “Abantu baliba . . . baagazi ba ssente.” (2 Timoseewo 3:2, NW ) Okwetooloola ensi, abantu balabika okuba nga balina okwegomba kunene nnyo okw’okufuna eby’obugagga ebisingawo. “Obuwanguzi” butera okupimirwa ku bunene bw’omusaala omuntu gw’afuna, ate “okuba obulungi” ne kupimirwa ku bungi bw’ebintu by’alina. “Okulowooleza mu bintu kujja kweyongera okuba ekimu ku bya maanyi ennyo ebikubiriza abantu mu Amereka . . . era omwoyo ogwo gugenda gweyongerayongera ne mu bitundu ebirala,” bw’atyo bwe yayogera omusigire w’oyo akulira ekitongole ekirangirira eby’amaguzi. Bwe kiri mu kitundu kyo?
9. Kiki ekiyinza okwogerwa ku butagondera bazadde obwalagulwako?
9 “Abatagondera bazadde.” (2 Timoseewo 3:2) Abazadde, abasomesa, era n’abantu abalala mu kiseera kino beerabiddeko n’agaabwe nti abaana bangi tebawa bantu kitiibwa era tebawulira. Abamu ku baana bano bakoppa oba basinziira ku nneeyisa ya bazadde baabwe embi. Abaana abatakkiririza mu—era abataagalira ddala—kusoma, mateeka, ddiini, na bazadde baabwe beeyongedde obungi. “Ng’enkola eriwo,” bw’agamba omusomesa omu omumanyirivu ennyo “kirabika nga tebakyawa kintu kyonna kitiibwa.” Naye, eky’essanyu abaana abatya Katonda balina empisa ennungi.
10, 11. Bujulizi ki obuliwo obulaga nti abantu bakambwe era tebalina kwagala kwa ba luganda?
10 “Abakambwe.” (2 Timoseewo 3:3) Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusiddwa nga “abakambwe” kitegeeza ‘atali wa mu bantu, omulalu, atalina busaasizi bwonna oba okulumirirwa okw’obuntu.’ Nga kinnyonnyola bulungi nnyo abo abasibukako ettemu eririwo leero! “Obulamu bulimu ebintu ebikosa bingi, bulimu eby’entiisa eby’okuyiwa omusaayi bingi ne kiba nga olina okuba omugumu ennyo okusobola okusoma amawulire agafuluma buli lunaku,” bw’atyo bwe yayogera omukuŋŋaanya w’amawulire omu. Omukungu omu akola ku by’okukuuma amayumba yagamba nti abavubuka bangi balabika nga tebalowooza n’akamu ku ebyo ebiyinza okuva mu bikolwa byabwe. Yagamba: “Waliwo endowooza egamba nti, ‘Simanyi bya nkya. Nja kufuna kye njagala leero.’ ”
11 “Abatayagala ba luganda.” (2 Timoseewo 3:3) Ebigambo bino bikyusiddwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “ettima, obutalumirirwa balala” era kitegeeza “obutaba na kwagala eri ab’eŋŋanda.” (The New International Dictionary of New Testament Theology) Yee, okwagala emirundi mingi tekubaawo mu kifo ekyo mwennyini mwe kusaanidde okuba mu bungi—awaka. Okutuntuza bannaabwe mu bufumbo, abaana, era n’abazadde abakaddiye kicaase nnyo. Abanoonyereza abamu baagamba: “Ettemu—kibe kukozesa luyi oba kusindika, kufumita kiso oba kukuba ssasi—lyeyongedde mu maka okusinga mu kifo ekirala kyonna.”
12. Lwaki kiyinza okugambibwa nti abantu balina kifaananyi bufaananyi eky’okutya Katonda?
12 “Nga balina ekifaananyi ky’okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo.” (2 Timoseewo 3:5) Baibuli erina amaanyi okukyusa obulamu ne buba bulungi okusingawo. (Abeefeso 4:22-24) Kyokka, abantu bangi bakozesa eddiini yaabwe ng’eky’okwekwekamu okukola ebikolwa ebitali bya butuukirivu ebitasanyusa Katonda. Okulimba, okubba, n’empisa ez’obukaba bitera okuzibiikirizibwa abakulembeze b’eddiini. Eddiini nnyingi zibuulira kwagala naye ne ziwagira entalo. “Mu linnya ly’Omutonzi Omukulu,” bwe kigamba ekitundu ky’omukuŋŋaanya mu katabo India Today, “abantu bakoze bannaabwe ebikolobero ebisingirayo ddala obubi.” Mu butuufu, entalo ebbiri ezikyasingidde ddala okutokomekeramu obulamu bw’abantu mu biseera bino—Ssematalo I ne II—zaasibukira ddala wakati mu Kristendomu.
13. Bujulizi ki obuliwo obulaga nti ensi eyonoonebwa?
13 “Aboonoona ensi.” (Okubikkulirwa 11:18) Bannasayansi abasukka mu 1,600 okuva mu nsi ezitali zimu, nga mw’otwalidde n’abantu 104 abaali bawangudde ku kirabo kya Nobel, baasemba okulabula okwakolebwa Ekibiina kya Bannasayansi Abeeraliikirivu (UCS), okwali kugamba nti: “Abantu n’obutonde bw’ensi byolekedde akatyabaga. . . . Esigadde emyaka mitono nnyo omukisa ogw’okuziyiza akatyabaga ako gube nga tegukyaliwo.” Alipoota eyo yagamba nti ebikolwa by’omuntu eby’akabi eri obulamu “biyinza okukyusa ensi n’eba nga tekyasobola kuwanirira bulamu mu ngeri gye tumanyi.” Okumalibwawo kwa ozone, okwonoonebwa kw’amazzi, okutema ebibira, ettaka obutakyabaza bintu, era n’okusaanyizibwawo kw’ebika by’ebisolo n’eby’ebimera bingi byanokolwayo ng’ebimu ku bizibu ebirina okukolebwako amangu. “Okutaataaganya enkolagana y’obutonde,” bwe kyagamba ekibiina kya UCS, “kuyinza okuviirako emitawaana okubuna buli wamu, nga mw’otwalidde n’okwonoonebwa kw’enkola z’obutonde ze tutageera bulungi.”
14. Oyinza kukakasa otya nti Matayo 24:14 lutuukirizibwa mu kiseera kyaffe?
14 “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu.” (Matayo 24:14, NW ) Yesu yalagula nti amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna, okuba obujulirwa eri amawanga gonna. Awamu n’obuyambi bwa Katonda era n’emikisa gye, Abajulirwa ba Yakuwa bukadde na bukadde bawaayo essaawa buwumbi na buwumbi mu kukola omulimu guno ogw’okubuulira n’okufuula abayigirizwa. (Matayo 28:19, 20) Yee, Abajulirwa bakimanyi nti bajja kuvunaanibwa omusaayi singa tebabuulira mawulire ago amalungi. (Ezeekyeri 3:18, 19) Naye balina essanyu nti buli mwaka nkumi na nkumi bakkiriza obubaka bw’Obwakabaka era ne bafuuka Abakristaayo ab’amazima, kwe kugamba, Abajulirwa ba Yakuwa. Nkizo ya maanyi nnyo okuweereza Yakuwa n’okubunyisa okumanya okukwata ku Katonda. Era ng’amawulire gano amalungi gamaze okubuulirwa mu nsi yonna, enkomerero y’embeera zino embi ez’ebintu ejja kujja.
KOLERA KU BUJULIZI
15. Embeera zino embi zinaakoma zitya?
15 Embeera zino zinaakoma zitya? Baibuli eragula nti “ekibonyoobonyo ekinene” kijja kutandika nga bannabyabufuzi balumba “Babulooni Ekinene,” obwakabaka obw’ensi yonna obw’eddiini ez’obulimba. (Matayo 24:21; Okubikkulirwa 17:5, 16) Yesu yagamba nti mu kiseera kino ‘enjuba erifuuka kizikiza, n’omwezi tegulyolesa kitangaala kyagwo, era n’emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n’amaanyi ag’omu ggulu galinyeenyezebwa.’ (Matayo 24:29) Kino kiyinza okutegeeza ebitali bya bulijjo mu bwengula. Mu buli ngeri, ebyaka eby’eby’eddiini bijja kuwemuukirizibwa era biggibwewo. Awo, Setaani, ayitibwa “Googi ow’omu nsi ya Magoogi” ajja kukozesa abantu aboonoonefu mu kukola olulumba ssinziggu ku bantu ba Yakuwa. Naye Setaani tajja kuwangula, kuba Katonda ajja kubawonya. (Ezeekyeri 38:1, 2, 14-23) “Ekibonyoobonyo ekinene” kijja kutuuka ku ntikko yaakyo mu Kalumagedoni, “olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna.” Lujja kusaanyirizaawo ddala buli katundu konna akasigadde ak’entegeka ya Setaani ey’oku nsi, kisobozese emikisa egitakoma okuyiikira abantu abanaawonawo.—Okubikkulirwa 7:9, 14; 11:15; 16:14, 16; 21:3, 4.
16. Tumanya tutya ng’ebyalagulibwa okubaawo mu nnaku ez’enkomerero bikwata ku kiseera kyaffe?
16 Ku bwabyo, ebitundu ebimu eby’obunnabbi obunnyonnyola ennaku ez’enkomerero biyinza okulabika ng’ebikwata ku biseera birala eby’omu byafaayo. Naye nga bigattiddwa wamu, obujulizi obwo obwalagulibwa busonga ku kiseera kyaffe. Okuwa ekyokulabirako: Emisittale egikola ekinkumu girina engeri gye gifaananamu etayinza kuba ya muntu mulala yenna. Mu ngeri y’emu, ennaku ez’enkomerero zirina enfaanana yaazo ku bwazo, oba ebintu ebirimu. Bino bikola “ekinkumu” ekitayinza kuba kya mu kiseera kirala kyonna. Obujulizi obuliwo bwe buba bwekenneenyezeddwa awamu n’ebyo Baibuli by’eyogera ebiraga nti Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu bufuga kati, buwa omusingi omunywevu ddala okukakasa nti zino ze nnaku ez’enkomerero. Ate era, waliwo obukakafu okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti embeera zino embi eziriwo zinaatera okuzikirizibwa.
17. Okumanya nti zino ze nnaku ez’enkomerero kwandituleetedde kukola ki?
17 Onookolawo ki ku bujulizi buno obulaga nti zino ze nnaku ez’enkomerero? Lowooza ku kino: Singa embuyaga ey’amaanyi ennyo eba ejja, tubaako kye tukolawo amangu ago olw’okwekuuma. Bwe kityo, Baibuli kye yalagula ku mbeera zino eziriwo kyandituleetedde okubaako kye tukolawo. (Matayo 16:1-3) Tusobola okukirabira ddala bulungi nti tuli mu nnaku za nkomerero ez’embeera zino ez’ensi. Kino kyanditukubirizza okukola enkyukakyuka ezeetaagibwa okusobola okusiimibwa Katonda. (2 Peetero 3:3, 10-12) Nga yeeyogerako kennyini ng’oyo ayitirwamu obulokozi, Yesu akuba omulanga ogw’amangu: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika; kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna. Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’omuntu.”—Lukka 21:34-36.
[Obugambo obwa wansi]
a Baibuli ezimu zikozesa ekigambo “ensi” mu kifo kya “embeera z’ebintu.” Ekitabo Expository Dictionary of New Testament Words ekya W. E. Vine kigamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ai·onʹ “kitegeeza ebbanga eritamanyiddwa buwanvu bwalyo, oba ekiseera ekitunuulirwa okusinziira ku bibeerawo mu bbanga eryo.” Ekitabo Greek and English Lexicon to the New Testament ekya Parkhurst (olupapula 17) kirimu ekigambo “embeera zino ez’ebintu” bwe kiba kyogera ku nkozesa ya ai·oʹnes (mu bungi) mu Abaebbulaniya 1:2. N’olwekyo enkyusa “embeera z’ebintu” ekwatagana bulungi n’ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ebyasooka.
GEZESA OKUMANYA KWO
Kiki Baibuli kye yalagula ku byandibaddewo mu nsi ku ntandikwa y’obufuzi bwa Kristo?
Ebimu ku by’okubeera mu nnaku ez’enkomerero bye biruwa?
Kiki ekikumatiza nti zino ze nnaku ez’enkomerero?
[Akasanduuko akali ku lupapula 102]
EBIMU KU BY’OKUBA MU NNAKU EZ’ENKOMERERO
• Entalo ezitabangawo.—Matayo 24:7; Okubikkulirwa 6:4.
• Enjala.—Matayo 24:7; Okubikkulirwa 6:5, 6, 8.
• Kawumpuli.—Lukka 21:11; Okubikkulirwa 6:8.
• Okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka.—Matayo 24:12.
• Okwonoonebwa kw’ensi.—Okubikkulirwa 11:18.
• Musisi.—Matayo 24:7.
• Ebiseera ebizibu ennyo eby’okulaba ennaku.—2 Timoseewo 3:1.
• Okwagala ennyo essente.—2 Timoseewo 3:2, NW.
• Obutagondera bazadde.—2 Timoseewo 3:2.
• Obutaagala ba luganda.—2 Timoseewo 3:3.
• Okwagala amasanyu okusinga Katonda.—2 Timoseewo 3:4.
• Obutaba na kwefuga.—2 Timoseewo 3:3.
• Abatayagala bulungi.—2 Timoseewo 3:3.
• Obutafaayo ku kabi akajja.—Matayo 24:39.
• Abasekerezi bagaana obukakafu obulaga ennaku ez’enkomerero. —2 Peetero 3:3, 4.
• Okubuulira mu nsi yonna ku Bwakabaka bwa Katonda.—Matayo 24:14.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 101]