Okubikkulirwa
6 Ne ndaba Omwana gw’Endiga+ ng’abembula akamu ku bubonero omusanvu,+ era ne mpulira ekimu ku biramu ebina+ nga kyogera mu ddoboozi eriringa okubwatuka kw’eggulu nga kigamba nti: “Jjangu!” 2 Ne ndaba era laba! embalaasi enjeru;+ eyali agituddeko yalina omutego gw’akasaale; n’aweebwa engule,+ n’agenda ng’awangula asobole okumaliriza okuwangula kwe.+
3 Bwe yabembula akabonero ak’okubiri, ne mpulira ekiramu eky’okubiri+ nga kigamba nti: “Jjangu!” 4 Ne wavaayo embalaasi endala emmyufu; era oyo eyali agituddeko n’aweebwa obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi abantu battiŋŋane; era yaweebwa n’ekitala ekinene.+
5 Bwe yabembula akabonero ak’okusatu+ ne mpulira ekiramu eky’okusatu+ nga kigamba nti: “Jjangu!” Ne ndaba era laba! embalaasi enzirugavu; era oyo eyali agituddeko yalina minzaani mu mukono gwe. 6 Ne mpulira eddoboozi nga liringa eryogerera wakati w’ebiramu ebina nga ligamba nti: “Kilo emu ey’eŋŋaano ya ddinaali* emu,+ ne kilo ssatu eza ssayiri za ddinaali emu; amafuta g’ezzeyituuni n’omwenge tobyonoona.”+
7 Bwe yabembula akabonero ak’okuna ne mpulira eddoboozi ly’ekiramu eky’okuna+ nga ligamba nti: “Jjangu!” 8 Ne ndaba era laba! embalaasi ensiiwuufu; oyo eyali agituddeko yali ayitibwa Kufa. Era amagombe* gaali gamuvaako emabega. Ne biweebwa obuyinza ku kitundu eky’okuna eky’ensi, okutta n’ekitala ekiwanvu, n’enjala,+ n’endwadde ez’amaanyi, era n’ensolo ez’omu nsiko.+
9 Bwe yabembula akabonero ak’okutaano, ne ndaba wansi w’ekyoto+ omusaayi*+ gw’abo abattibwa olw’ekigambo kya Katonda n’olw’obujulirwa bwe baawa.+ 10 Ne boogera n’eddoboozi eddene nti: “Mukama Afuga Byonna omutukuvu era ow’amazima,+ olisalira ddi omusango era n’owoolera eggwanga abo abali ku nsi abaatutta?”+ 11 Buli omu n’aweebwa ekyambalo ekyeru;+ ne bagambibwa okulindirira okumala akaseera katono, okutuusa omuwendo omujjuvu lwe guliwera ogw’abaddu bannaabwe era baganda baabwe abaali banaatera okuttibwa nga nabo bwe battibwa.+
12 Akabonero ak’omukaaga bwe kaabembulwa, ne ndaba era laba! waaliwo musisi ow’amaanyi; era enjuba yafuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekiddugavu ekyakolebwa mu byoya by’ensolo,* omwezi gwonna ne guba ng’omusaayi,+ 13 era emmunyeenye ez’oku ggulu ne zigwa ku nsi ng’ebibala by’omutiini ebitannayengera bwe bikunkumuka nga kibuyaga ow’amaanyi agunyeenyezza. 14 Eggulu ne livaawo ng’omuzingo oguzingibwako,+ era buli lusozi na buli kizinga ne biggibwa mu bifo byabyo.+ 15 Bakabaka b’ensi, abakungu, abaduumizi b’amagye, abagagga, ab’amaanyi, abaddu bonna, n’abatali baddu bonna, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi ez’oku nsozi.+ 16 Ne bagamba ensozi n’enjazi nti: “Mutugweko+ era mutukweke Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka+ aleme kutulaba, era obusungu bw’Omwana gw’Endiga+ buleme kututuukako, 17 kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse,+ ani ayinza okuwonawo?”+