Ebikolwa
21 Kyaddaaki twasobola okubaleka ne tusaabala butereevu ne tutuuka e Koosi, olunaku olwaddako ne tugenda e Rodo, era bwe twavaayo ne tugenda e Patala. 2 Bwe twafuna ekyombo ekyali kigenda e Foyiniikiya, ne tukirinnya ne tugenda. 3 Bwe twalengera ekizinga ky’e Kupulo, ne tukireka ku mukono ogwa kkono ne twolekera Busuuli ne tugoba e Ttuulo, gye baali bagenda okutikkulira ekyombo. 4 Awo ne tunoonya abayigirizwa ne tubazuula, ne tubeera eyo okumala ennaku musanvu. Naye olw’ebyo omwoyo bye gwababikkulira, ne bagamba Pawulo enfunda n’enfunda obutagenda Yerusaalemi.+ 5 Ekiseera kyaffe eky’okubeera eyo bwe kyaggwaako, ne tuvaayo ne tweyongerayo ku lugendo lwaffe, naye bonna, nga mw’otwalidde abakazi n’abaana, ne batuwerekerako okutuuka ebweru w’ekibuga. Awo ne tufukamira ku lubalama lw’ennyanja ne tusaba, 6 oluvannyuma ne tusiibulagana, ne tulinnya ekyombo, bo ne baddayo ewaabwe.
7 Bwe twava e Ttuulo ne tusaabala ne tutuuka e Potolemaayi, ne tulamusa ab’oluganda ne tumala nabo olunaku lumu. 8 Ku lunaku olwaddako twavaayo ne tugenda e Kayisaliya, ne tuyingira mu nnyumba ya Firipo omubuulizi w’enjiri, eyali omu ku basajja omusanvu+ abaalondebwa abatume mu Yerusaalemi, ne tubeera naye. 9 Omusajja oyo yalina abawala bana abataali bafumbo,* abaayogeranga obunnabbi.+ 10 Bwe twamalayo ennaku eziwerako, nnabbi omu ayitibwa Agabo+ n’ava e Buyudaaya, 11 n’ajja gye tuli, n’akwata olukoba lwa Pawulo, n’alwesiba ebigere n’emikono, n’agamba nti: “Omwoyo omutukuvu gugamba nti, ‘Nnannyini lukoba luno Abayudaaya bajja kumusiba bwe bati mu Yerusaalemi+ bamuweeyo mu mikono gy’ab’amawanga.’”+ 12 Bwe twawulira ekyo, ffe n’abalala abaaliwo ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. 13 Pawulo n’agamba nti: “Lwaki mukaaba okunafuya omutima gwange? Nze ndi mwetegefu okusibibwa era n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu.”+ 14 Bwe twalemererwa okukyusa endowooza ye, ne tubivaako* ne tugamba nti: “Yakuwa* ky’ayagala kye kiba kikolebwa.”
15 Oluvannyuma lw’ebyo, tweteekateeka okusitula okugenda e Yerusaalemi. 16 Abamu ku bayigirizwa okuva e Kayisaliya nabo baagenda naffe, ne batutwala ew’omusajja ayitibwa Munasoni ow’e Kupulo, omu ku bayigirizwa abaasooka, eyali ow’okutusuza mu maka ge. 17 Bwe twatuuka mu Yerusaalemi ab’oluganda ne batwaniriza n’essanyu. 18 Naye ku lunaku olwaddako, Pawulo n’agenda naffe ewa Yakobo,+ era abakadde bonna baaliwo. 19 Awo n’abalamusa era n’atandika okubabuulira ebintu byonna Katonda bye yakola mu b’amawanga okuyitira mu buweereza bwe.
20 Bwe baabiwulira, ne batandika okugulumiza Katonda, ne bamugamba nti: “Ow’oluganda, ndowooza olaba nti waliwo abakkiriza Abayudaaya nkumi na nkumi, era bonna banyiikira okugoberera Amateeka.+ 21 Naye bawulidde nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu b’amawanga okuleka Amateeka ga Musa, ng’obagaana okukomola abaana baabwe n’okugoberera obulombolombo obulina okugobererwa.+ 22 Kati kikolebwe kitya? Mu buli ngeri yonna bagenda kuwulira nti ozze. 23 N’olwekyo kola kye tukugamba: Tulina abasajja bana abaakola obweyamo. 24 Twala abasajja abo weetukulize wamu nabo era obasasulire ebyetaagibwa, balyoke bamweko enviiri zaabwe. Olwo nno buli muntu ajja kumanya nti bye baakwogerako si bituufu, era nti weeyisa bulungi era nti okwata Amateeka.+ 25 Naye abakkiriza abaava mu b’amawanga twabawandiikira ne tubategeeza kye twasalawo, nti balina okwewalanga ebiweereddwayo eri ebifaananyi,+ omusaayi,+ ebitugiddwa,*+ n’ebikolwa eby’obugwenyufu.”*+
26 Ku lunaku olwaddako, Pawulo yatwala abasajja ne yeetukuliza wamu nabo,+ n’ayingira mu yeekaalu okumanyisa ennaku ez’okwetukuza lwe zandiweddeko, ekiweebwayo kya buli omu ku bo kiryoke kiweebweyo.
27 Ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okuggwaako, Abayudaaya okuva mu Asiya ne bamulaba ng’ali mu yeekaalu ne bakuma omuliro mu bantu bonna, ne bamukwata 28 nga bwe baleekaana nti: “Abasajja ba Isirayiri, mutuyambe! Ono ye musajja ayigiriza abantu bonna mu buli kifo ng’avumirira abantu baffe, Amateeka, n’ekifo kino; aleese n’Abayonaani mu yeekaalu n’ayonoona ekifo kino ekitukuvu.”+ 29 Baayogera batyo olw’okuba emabegako baali balabye Pawulo mu kibuga ng’ali ne Tulofiimo+ ow’e Efeso, ne balowooza nti yali amuleese mu yeekaalu. 30 Ekibuga kyonna ne kikyankalana, abantu bonna wamu ne badduka ne bagenda mu yeekaalu ne bakwata Pawulo ne bamuwalula ne bamufulumya mu yeekaalu, era amangu ago enzigi ne ziggalwawo. 31 Bwe baali baagala okumutta, ebigambo ne bituuka eri omuduumizi w’ekibinja ky’amagye nti Yerusaalemi yonna yali ekyankalanye; 32 amangu ago n’atwala abasirikale n’abakulu baabwe ne badduka ne bagenda awaali abantu. Bwe baalaba omuduumizi w’amagye n’abasirikale, ne balekera awo okukuba Pawulo.
33 Awo omuduumizi w’amagye n’asembera n’amukwata era n’alagira asibibwe enjegere bbiri;+ n’ababuuza nti y’ani era akoze ki? 34 Naye abamu ku abo abaali mu kibiina ky’abantu ne baleekana nga bagamba kino, ate abalala nga bagamba kiri. Bwe yalemererwa okubaako ky’ategeera olw’oluyoogaano olwaliwo, n’alagira bamutwale mu nkambi y’abasirikale. 35 Pawulo bwe baamutuusa ku madaala, abasirikale ne bamusitula kubanga ekibiina ky’abantu kyali kitaamye, 36 era nga kibagoberera nga bwe kireekaana nti: “Mumutte!”
37 Bwe baali banaatera okumuyingiza mu nkambi, Pawulo n’agamba omuduumizi w’amagye nti: “Nzikirizibwa okubaako kye nkugamba?” Omuduumizi w’amagye n’amubuuza nti: “Omanyi Oluyonaani? 38 Si ggwe Mumisiri eyaleetera abantu okujeemera gavumenti gye buvuddeko awo, n’otwala abatemu 4,000 mu ddungu?” 39 Pawulo n’amugamba nti: “Nze ndi Muyudaaya,+ omutuuze w’e Taluso+ eky’omu Kirikiya, ekibuga ekimanyiddwa ennyo. N’olwekyo, nkusaba onzikirize njogere eri abantu.” 40 Bwe yamuwa olukusa, Pawulo n’ayimirira ku madaala, n’awenya ku bantu n’omukono. Bwe baasirika, n’ayogera gye bali mu Lwebbulaniya+ ng’agamba nti: