Beera Bulindaala Sitaani Ayagala Kukulya!
“Mubeere bulindaala. Omulabe wammwe Sitaani atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.”—1 PEET. 5:8.
1. Nnyonnyola engeri malayika omu gye yafuuka Sitaani.
MU KUSOOKA yalina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Kyokka ekiseera kyatuuka n’atandika okwagala abantu bamusinze. Mu kifo ky’okweggyamu okwegomba okwo okubi, malayika oyo yakuleka ne kukula mu mutima gwe okutuusa lwe kwazaala ekibi. (Yak. 1:14, 15) Malayika oyo amanyiddwa nga Sitaani era “teyanywerera mu mazima.” Yajeemera Yakuwa, bw’atyo n’afuuka “kitaawe w’obulimba.”—Yok. 8:44.
2, 3. Ebigambo “Sitaani,” “Omulyolyomi,” “omusota,” ne “ogusota ogunene” biraga ki ku mulabe wa Yakuwa asingayo?
2 Okuva lwe yajeema, Sitaani akyolese kaati nti ye mulabe wa Yakuwa asingayo, era tabangako mukwano gw’abantu. Bayibuli ekozesa ebigambo ebiraga nti Sitaani mubi nnyo. Ekigambo Sitaani kitegeeza “Omuziyiza,” ekiraga nti ekitonde ekyo eky’omwoyo tekiwagira bufuzi bwa Katonda. Mu butuufu, Sitaani tayagalira ddala bufuzi bwa Katonda era akola kyonna ekisoboka okubulwanyisa. Ekintu Sitaani ky’asinga okwagala kwe kulaba ng’obufuzi bwa Yakuwa bukoma.
3 Mu Okubikkulirwa 12:9, Sitaani ayitibwa Omulyolyomi, ekitegeeza “ayogera eby’obulimba ku mulala.” Sitaani aleese ekivume ku linnya lya Katonda ng’amuyita omulimba. Ebigambo “omusota ogw’edda” bitujjukiza engeri Sitaani gye yakozesaamu omusota mu Adeni okulimbalimba Kaawa. Ebigambo “ogusota ogunene” biraga nti Sitaani mukambwe era mubi nnyo. Ayagala okulemesa ekigendererwa kya Katonda okutuukirira era ayagala okusaanyaawo abantu ba Katonda.
4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
4 Kya lwatu nti Sitaani ayagala tulekere awo okuba abeesigwa eri Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etugamba nti: “Mubeere nga mutegeera bulungi, mubeere bulindaala. Omulabe wammwe Sitaani atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” (1 Peet. 5:8) N’olw’ensonga eyo, mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bisatu ebiraga ensonga lwaki tusaanidde okuba obulindaala tuleme kuliibwa Sitaani, omulabe wa Yakuwa era omulabe w’abantu ba Yakuwa.
SITAANI WA MAANYI
5, 6. (a) Waayo ebyokulabirako ebiraga nti bamalayika ‘ba maanyi’ nnyo. (b) Lwaki Bayibuli eyogera ku Sitaani ‘ng’oyo aleeta okufa’?
5 Bamalayika ‘ba maanyi’ nnyo. (Zab. 103:20) Amagezi ge balina n’amaanyi ge balina gasingira wala ag’abantu. Kya lwatu nti bamalayika abeesigwa bakozesa bulungi amaanyi gaabwe. Ng’ekyokulabirako, lumu malayika wa Yakuwa yatta abasirikale ba Bwasuli 185,000 mu kiro kimu, ekintu omuntu omu ky’atasobola kukola era nga n’eggye ly’abantu liyinza obutasobola kukikola. (2 Bassek. 19:35) Ate ku mulundi omulala, malayika yakozesa obukugu n’amaanyi ge okusumulula abatume ba Yesu mu kkomera. Wadde ng’abakuumi baaliwo, tebaalaba malayika ng’aggula enzigi z’ekkomera, n’afulumya abatume, era n’aggalawo enzigi z’ekkomera!—Bik. 5:18-23.
6 Wadde nga bamalayika abeesigwa bakozesa bulungi amaanyi gaabwe, Sitaani ye akozesa bubi amaanyi ge. Sitaani alina amaanyi mangi! Ebyawandiikibwa bigamba nti Sitaani ye ‘mufuzi w’ensi eno’ era nti ye “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno.” (Yok. 12:31; 2 Kol. 4:4) Ate era Sitaani Omulyolyomi ayogerwako ‘ng’oyo aleeta okufa.’ (Beb. 2:14) Naye ekyo tekitegeeza nti abantu bonna Sitaani abatta butereevu. Sitaani asize omwoyo omubi era ogw’ettemu mu bantu bangi mu nsi eno. Ate era olw’okuba Kaawa yakkiriza obulimba bwa Sitaani era ne Adamu n’ajeemera Katonda, ekibi n’okufa byabuna ku bantu bonna. (Bar. 5:12) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Omulyolyomi ayogerwako ‘ng’oyo aleeta okufa.’ Yesu yagamba nti Sitaani “mussi.” (Yok. 8:44) Mu butuufu, Sitaani mulabe wa maanyi nnyo!
7. Badayimooni bakiraze batya nti ba maanyi?
7 Bwe tuziyiza Sitaani, tufuuka balabe be era tufuuka balabe b’abo bonna abali ku ludda lwe abaziyiza obufuzi bwa Katonda. Mu abo mwe muli ne bamalayika abalala abajeemu abayitibwa badayimooni. (Kub. 12:3, 4) Emirundi mingi, badayimooni bakiraze nti balina amaanyi mangi, era babonyaabonyezza abantu bangi. (Mat. 8:28-32; Mak. 5:1-5) N’olwekyo, tusaanidde okukijjukira nti bamalayika abo ababi awamu ‘n’omufuzi wa badayimooni,’ ba maanyi. (Mat. 9:34) Mu butuufu, awatali buyambi bwa Yakuwa, tetusobola kuwangula Sitaani.
SITAANI MUKAMBWE NNYO
8. (a) Kiki Sitaani ky’ayagala? (Laba ekifaananyi ku lupapula 9.) (b) Okusinziira ku ebyo by’omanyi, abantu mu nsi boolese batya obukambwe ng’obwa Sitaani?
8 Omutume Peetero yageraageranya Sitaani ku ‘mpologoma ewuluguma.’ Okusinziira ku kitabo ekimu, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okuwuluguma’ kitegeeza “okukaaba kw’ensolo enkambwe ng’erumwa enjala.” N’olwekyo, ebigambo bya Peetero ebyo biraga nti Sitaani mukambwe nnyo. Wadde ng’ensi yonna eri mu buyinza bwe, Sitaani akyayagala okulya abantu abalala. (1 Yok. 5:19) Abantu b’asinga okwagala okulya be Bakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi, ne bannaabwe ‘ab’endiga endala.’ (Yok. 10:16; Kub. 12:17) Sitaani ayagala okusaanyaawo abantu ba Yakuwa. Okuyigganyizibwa kw’aleetedde abagoberezi ba Yesu okuviira ddala mu kyasa ekyasooka kulaga bulungi nti Sitaani mukambwe nnyo.
9, 10. (a) Sitaani yagezaako atya okuziyiza ekigendererwa kya Katonda eri eggwanga lya Isiraeri? (Waayo ebyokulabirako.) (b) Lwaki Sitaani yayagala nnyo okulumba eggwanga lya Isiraeri? (c) Olowooza Omulyolyomi awulira atya ng’omu ku baweereza ba Yakuwa akoze ekibi eky’amaanyi?
9 Waliwo n’engeri endala Sitaani gy’akiraze nti mukambwe. Empologoma bw’eba erumwa enjala, tesaasira ekyo ky’eba eyagala kulya. Ate n’oluvannyuma lw’okukitta n’okukirya, teyejjusa. Mu ngeri y’emu, Sitaani talaga kisa eri abo b’ayagala okulya. Ng’ekyokulabirako, olowooza Sitaani Omulyolyomi yawuliranga atya buli lwe yalabanga Abaisiraeri nga beenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu oba nga boolese omululu? Lowooza ku ngeri Sitaani gye yasanyukamu olw’ebizibu eby’amaanyi ebyavaamu oluvannyuma lwa Zimuli okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’oluvannyuma lwa Gekazi okwoleka omululu?—Kubal. 25:6-8, 14, 15; 2 Bassek. 5:20-27.
10 Waliwo ensonga enkulu lwaki Sitaani yayagala nnyo okulumba eggwanga lya Isiraeri. Mu ggwanga eryo mwe mwali mugenda okuva Masiya eyandibetense Sitaani era n’akiraga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga. (Lub. 3:15) Sitaani yali tayagala Baisiraeri kusiimibwa mu maaso ga Katonda, bw’atyo yakola kyonna ekisoboka okubaleetera okwonoona. Sitaani ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okulaba nga Dawudi agudde mu bwenzi era ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okulaba nga Musa alemereddwa okuyingira mu Nsi Ensuubize. Mu butuufu, Sitaani asanyuka nnyo okulaba ng’omu ku baweereza ba Katonda akoze ekibi eky’amaanyi, era ekyo kiyinza okuba nga kye kimu ku bintu Omulyolyomi by’akozesa okusoomooza Yakuwa.—Nge. 27:11.
11. Kiki ekiyinza okuba nga kyaleetera Sitaani okulumba Saala?
11 Okusingira ddala Sitaani yalina obukyayi eri olunyiriri Masiya mwe yandiyitidde. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo oluvannyuma lwa Yakuwa okusuubiza Ibulayimu nti yandimufudde “eggwanga eddene.” (Lub. 12:1-3) Ibulayimu ne Saala bwe baali mu Misiri, Falaawo yalagira batwale Saala ewuwe, ng’ayagala kumufuula mukazi we. Naye Yakuwa yayingira mu nsonga n’ayamba Saala okuva mu mbeera eyo eyali enzibu. (Soma Olubereberye 12:14-20.) Era Isaaka bwe yali anaatera okuzaalibwa, nga Ibulayimu ne Saala bali e Gerali, embeera efaananako ng’eyo yaddamu n’ebaawo. (Lub. 20:1-7) Sitaani ye yali emabega w’embeera ezo? Kijjukire nti Saala yaleka obulamu obulungi obw’omu kibuga Uli n’atandika okubeera mu weema. Kyandiba nti Sitaani yalowooza nti Saala yanditwaliriziddwa eby’obugagga ebyali mu lubiri lwa Falaawo n’olwa Abimereki? Kyandiba nti Sitaani yalowooza nti Saala yandiridde olukwe mu mwami we ne Yakuwa ng’akkiriza okufumbirwa omu ku bakabaka abo bw’atyo n’aba ng’akoze obwenzi? Ekyo Bayibuli tekyogera, naye waliwo ensonga nnyingi eziraga nti Sitaani yandisanyuse nnyo singa Saala yafiirwa enkizo ey’okubeera mu lunyiriri lwa Masiya. Sitaani teyandiwulidde nnaku yonna oluvannyuma lw’okulaba ng’obufumbo bwa Saala, erinnya lye eddungi, awamu n’enkolagana ye ne Yakuwa nga byonoonese. Nga Sitaani mubi nnyo!
12, 13. (a) Sitaani yayoleka atya obukambwe oluvannyuma lwa Yesu okuzaalibwa? (b) Olowooza Sitaani atunuulira atya abaana abaagala Yakuwa era abafuba okumuweereza?
12 Yesu yazaalibwa nga wayise emyaka mingi oluvannyuma lw’ekiseera kya Ibulayimu. Olowooza Yesu bwe yali akyali muwere, Sitaani yali amutwala ng’omwana alabika obulungi era asanyusa okutunuulira? Nedda. Sitaani yali akimanyi nti omwana oyo eyali azaaliddwa yali agenda kukula afuuke Masiya eyasuubizibwa. Mu butuufu, Yesu lye zzadde lya Ibulayimu ekkulu, oyo agenda “okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi.” (1 Yok. 3:8) Olowooza Sitaani yakirowoozanako nti okutta omwana oyo ng’akyali muto kyandibadde kikolwa kya bukambwe nnyo? Nedda. Sitaani talina kisa n’akamu. Eyo ye nsonga lwaki Yesu bwe yali akyali muto Sitaani yabaako ky’akolawo mu bwangu asobole okumutta. Kiki kye yakola?
13 Kabaka Kerode yasunguwala nnyo ng’abalaguzisa emmunyeenye babuuzizza ebikwata ku ‘kabaka w’Abayudaaya eyali azaaliddwa,’ era yali mumalirivu okumutta. (Mat. 2:1-3, 13) Okusobola okukakasa nti omwana oyo attibwa, yalagira batte abaana bonna ab’obulenzi mu Besirekemu n’ebitundu ebiriraanyeewo abaweza emyaka ebiri n’okukka wansi. (Soma Matayo 2:13-18.) Kyokka Yesu yakuumibwa n’atattibwa. Naye ekyo kiraga ki ku mulabe waffe Sitaani? Kyeyoleka lwatu nti Omulyolyomi tassa kitiibwa mu bulamu bw’abantu. N’abaana tabakwatirwa kisa. Mu butuufu, Sitaani alinga “empologoma ewuluguma.” Bulijjo teweerabiranga nti Sitaani mukambwe nnyo!
SITAANI MULIMBA
14, 15. Sitaani ‘azibye atya amaaso g’abatakkiriza’?
14 Engeri yokka Sitaani gy’asobola okukyamya abantu okubaggya ku Yakuwa Katonda kwe kuyitira mu bulimba. (1 Yok. 4:8) Sitaani alimba abantu n’abalemesa ‘okumanya obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.’ (Mat. 5:3) Bwe kityo, Sitaani “azibye amaaso [g’abatakkiriza], ekitangaala eky’amawulire amalungi ag’ekitiibwa agakwata ku Kristo ekifaananyi kya Katonda, kireme okubaakira.”—2 Kol. 4:4.
15 Ekintu Sitaani ky’asinga okukozesa okubuzaabuza abantu ge madiini ag’obulimba. Sitaani kimusanyusa nnyo okulaba ng’abantu basinza abafu, obutonde, ensolo, oba ekintu ekirala kyonna. Akimanyi nti Yakuwa ayagala abantu okumwemalirako! (Kuv. 20:5) Eky’ennaku kiri nti waliwo abantu bangi abalowooza nti basinza Katonda mu ngeri entuufu naye ng’ekituufu kiri nti bagoberera enjigiriza enkyamu n’obulombolombo obutamusanyusa. Embeera gye balimu mbi nnyo, era efaananako ey’abantu Yakuwa be yagamba nti: “Lwaki okuwaayo ebigula olw’ebyo ebitali bya kulya? Lwaki okuteganira ebyo ebitakkutibwa? Mumpulirire ddala nze, mulye ebirungi, obulamu bwammwe busanyukire amasavu.”—Is. 55:2.
16, 17. (a) Lwaki Yesu yagamba Peetero nti: “Dda ennyuma wange Sitaani”? (b) Sitaani ayinza atya okutulimba ne tulekera awo okuba obulindaala?
16 Sitaani asobola n’okulimba abaweereza ba Yakuwa abanyiikivu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo Yesu bwe yagamba abagoberezi be nti yali anaatera okuttibwa. Nga talina biruubirirwa bibi, Peetero yazza Yesu ebbali n’amugamba nti: “Weesaasire Mukama wange; kino tekirikutuukako n’akatono.” Yesu yamuddamu nti: “Dda ennyuma wange Sitaani!” (Mat. 16:22, 23) Lwaki Yesu yayita Peetero “Sitaani”? Kubanga yali amanyi bulungi ekyo ekyali kinaatera okubaawo. Ekiseera kyali kinaatera okutuuka Yesu okuttibwa, aweeyo obulamu bwe nga ssaddaaka y’ekinunulo era akirage nti Omulyolyomi mulimba. Mu kiseera ekyo ekyali ekikulu ennyo, Yesu yali teyeetaaga ‘kwesaasira.’ Singa Yesu yalekera awo okuba obulindaala, ekyo kyandisanyusizza nnyo Sitaani.
17 Okuva bwe kiri nti enkomerero eneetera okutuuka, naffe ekiseera kye tulimu kikulu nnyo. Sitaani ayagala tulekere awo okuba obulindaala, ‘twesaasire’ nga twemalira ku kwenoonyeza ebintu mu nsi eno. Ekyo tokikkiriza kukutuukako! ‘Beera bulindaala.’ (Mat. 24:42) Tokkiriza Sitaani kukulimba nti enkomerero ekyali wala nnyo oba nti eyinza n’obutajjira ddala.
18, 19. (a) Sitaani ayinza atya okutulimbalimba bwe kituuka ku ngeri gye twetunuuliramu? (b) Yakuwa atuyamba atya okusigala nga tuli bulindaala?
18 Waliwo n’engeri endala Sitaani gy’agezaako okutulimba. Ayagala tulowooze nti Katonda tatwagala era nti tasobola kutusonyiwa nga tukoze ebibi. Naye ekyo si kituufu. Kirowoozeeko: Ddala ani Katonda gw’atayagala? Sitaani. Ate ani Katonda gw’atasobola kusonyiwa? Era Sitaani. Kyokka ffe Bayibuli etugamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye.” (Beb. 6:10) Yakuwa asiima nnyo ebyo byonna bye tukola okusobola okumusanyusa era okufuba kwaffe okumuweereza si kwa bwereere. (Soma 1 Abakkolinso 15:58.) N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza bulimba bwa Sitaani.
19 Nga bwe tulabye, Sitaani wa maanyi, mukambwe, era mulimba. Kati olwo tuyinza tutya okulwanyisa omulabe oyo ne tumuwangula? Yakuwa asobola okutuyamba. Ekigambo kye kituyamba ‘okumanya enkwe’ za Sitaani. (2 Kol. 2:11) Bwe tumanya engeri Sitaani gy’abuzaabuzaamu abantu, kitwanguyira okusigala nga tuli bulindaala. Kyokka okumanya obumanya enkwe za Sitaani tekimala. Bayibuli egamba nti: “Muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga.” (Yak. 4:7) Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku bintu bisatu bye tulina okwewala bwe tuba ab’okulwanyisa Sitaani ne tumuwangula.