Ka Tubeere Abantu Abalina Okukkiriza
“Tetuli bantu abadda ennyuma mu kuzikirira.”—ABAEBBULANIYA 10:39, NW.
1. Lwaki kiyinza okugambibwa nti okukkiriza kwa buli muweereza wa Yakuwa omwesigwa kwa muwendo?
OMULUNDI oguddako ng’oli mu Kingdom Hall ejjudde abasinza ba Yakuwa, tunuulira abantu abakwetoolodde. Lowooza ku ngeri ennyingi mwe balagira okukkiriza. Oyinza okulaba bannamukadde abaweerezza Katonda okumala amakumi g’emyaka, abavubuka abagumira okupikirizibwa buli lunaku, n’abazadde abafuba ennyo okukuza abaana abatya Katonda. Waliwo abakadde mu kibiina n’abaweereza, abalina obuvunaanyizibwa obungi. Yee, oyinza okulaba baganda bo ne bannyoko ab’eby’omwoyo ab’emyaka egitali gimu abavvuunuse obuzibu obw’ekika kyonna okusobola okuweereza Yakuwa. Ng’okukkiriza kwa buli omu kwa muwendo nnyo!—1 Peetero 1:7.
2.Lwaki okubuulirira kwa Pawulo mu Abaebbulaniya essuula 10 ne 11 kwa muganyulo gye tuli leero?
2 Abantu abatali batuukirivu batono nnyo, kabekasinge n’obutabeerayo, abategedde obukulu bw’okukkiriza okusinga omutume Pawulo. Mu butuufu, yagamba nti okukkiriza okwa nnamaddala kusobozesa “okuwonyawo emmeeme.” (Abaebbulaniya 10:39, NW) Kyokka, Pawulo yali amanyi nti okukkiriza kuyinza okulumbibwa n’okuddirira mu nsi eno etaliimu kukkiriza. Yali afaayo nnyo ku Bakristaayo Abebbulaniya mu Yerusaalemi ne Buyudaaya, abaali bafuba okukuuma okukkiriza kwabwe. Nga tutunuulira ebitundu ebimu eby’essuula 10 ne 11 mu kitabo ky’Abaebbulaniya, ka twetegereze engeri Pawulo ze yakozesa okuzimba okukkiriza kwabwe. Nga tukola ekyo, tujja kulaba engeri gye tuyinza okunyweza okukkiriza kwaffe n’okw’abo abatwetoolodde.
Mussiŋŋanemu Obwesige
3. Ebigambo bya Pawulo ebisangibwa mu Abaebbulaniya 10:39 biraga bitya nti yalina obwesige mu baganda be ne bannyina mu kukkiriza?
3 Ekintu ekisooka kye tuyinza okulaba ye ndowooza ennungi Pawulo gye yalina eri abamuwuliriza. Yawandiika: “Kati ffe tetuli bantu abadda ennyuma mu kuzikirira, naye tuli bantu abalina okukkiriza okuwonyawo emmeeme.” (Abaebbulaniya 10:39, NW) Bakristaayo banne abeesigwa Pawulo yabalowoozaako bu- lungi so si bubi. Era weetegereze nti yakozesa ekigambo “ffe.” Pawulo yali musajja mutuukirivu. Kyokka, teyeekulumbaliza ku bamuwuliriza, nga gy’obeera nti yali mutuukirivu nnyo okubasinga. (Geraageranya Omubuulizi 7:16.) Wabula, yeetwalira wamu nabo. Yayoleka obwesige okuva mu mutima nti ye n’abasomi be Abakristaayo abeesigwa bandyolekaganye n’obuzibu obw’amaanyi mu maaso, nti bandigaanyi okudda ennyuma mu kuzikirira, era nti bandibadde abantu abalina okukkiriza.
4. Pawulo yalina obwesige mu bakkiriza banne lwa nsonga ki?
4 Pawulo yandisobodde atya okubeera n’obwesige ng’obwo? Yali abuusizza amaaso obunafu bw’Abakristaayo Abebbulaniya? Okwawukana ku ekyo, yabawa okubuulirira okwandibayambye okuvvuunuka obunafu bwabwe obw’eby’omwoyo. (Abaebbulaniya 3:12; 5:12-14; 6:4-6; 10:26, 27; 12:5) Wadde kyali kityo, Pawulo yalina ensonga bbiri ennungi lwaki yalina obwesige mu baganda be. (1) Ng’oyo akoppa Yakuwa, Pawulo yafuba okutunuulira abantu ba Katonda nga Yakuwa bw’abatunuulira. Si kulaba bisobyo byabwe kyokka naye engeri zaabwe ennungi era n’obusobozi bwabwe obw’okulondawo okukola ekituufu mu biseera eby’omu maaso. (Zabbuli 130:3; Abaefeso 5:1) (2) Pawulo yali akkiririza ddala mu maanyi g’omwoyo omutukuvu. Yali amanyi nti tewali kizibu kyonna, bunafu bwa muntu bwonna, obwandiziyizza Yakuwa okuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo’ Omukristaayo yenna afuba okumuweereza n’obwesigwa. (2 Abakkolinso 4:7; Abafiripi 4:13) N’olwekyo, obwesige bwa Pawulo mu baganda be ne bannyina tebwali bwa bwereere, obutasaanira, oba obutalaba kibi. Bwalina kye businziirako ekinywevu era nga businziira mu Byawandiikibwa.
5. Tuyinza tutya okukoppa obwesige bwa Pawulo, era kiki ekiyinza okuvaamu?
5 Mazima ddala, obwesige Pawulo bwe yayoleka bwasaasaana ku balala. Kiteekwa okuba nga kyaganyula nnyo ebibiina mu Yerusaalemi ne Buyudaaya Pawulo bwe yayogera gye bali mu ngeri eyo ezzaamu amaanyi. Mu kunyoomebwa okungi ennyo n’okusuulayo ogwa nnagamba okw’Abayudaaya abaali babaziyiza, Abakristaayo Abebbulaniya baayambibwa ebigambo ng’ebyo okumalirira mu mitima gyabwe okubeera abantu abalina okukkiriza. Tuyinza okukola kye kimu eri bannaffe leero? Kyangu nnyo okulaba mu balala olukalala lw’ebisobyo n’obunafu bwabwe bwokka. (Matayo 7:1-5) Naye, tuyinza okuyambagana ennyo singa tufaayo era ne tutwala okukkiriza okw’enjawulo buli omu kw’alina ng’okw’omuwendo. Nga tuzzibwamu amaanyi mu ngeri eyo, okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okunywera.—Abaruumi 1:11, 12.
Okukozesa Obulungi Ekigambo kya Katonda
6. Pawulo yajuliza wa bwe yawandiika ebigambo ebiri mu Abaebbulaniya 10:38?
6 Pawulo era yazimba okukkiriza kwa bakkiriza banne ng’akozesa bulungi Ebyawandii kibwa. Ng’ekyokulabirako, yawandiika: “Naye omutuukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza: era bw’addayo ennyuma, emmeeme yange temusanyukira.” (Abaebbulaniya 10:38) Pawulo wano yali ajuliza nnabbi Kaabakuuku.a Kirabika ebigambo bino byali bimanyiddwa abasomi ba Pawulo, Abakristaayo Abebbulaniya abaali bamanyi obulungi ebitabo by’obunnabbi. Ng’olowooza ku kiruubirirwa kye —okunyweza okukkiriza kw’Abakristaayo mu Yerusaalemi n’emiriraano gyakyo mu mwaka 61 C.E.—ekyokulabirako kya Kaabakuuku kyali kituukirawo bulungi. Lwaki?
7. Kaabakuuku yawandiika ddi obunnabbi bwe, era embeera zaali zitya mu Yuda mu kiseera ekyo?
7 Kirabika Kaabakuuku yawandiika ekitabo kye ng’ebulayo ebyasa by’emyaka ebisukka mu bibiri nga Yerusaalemi tekinnazikirizibwa mu 607 B.C.E. Mu kwolesebwa, nnabbi yalaba Abakaludaaya (oba, Abababulooni), ’eggwanga ekkakali eryanguyiriza,’ nga lizinda Yuda era nga lizikiriza Yerusaalemi, ne liwamba abantu n’amawanga. (Kaabakuuku 1:5-11) Naye akabi ako kaali kaalagulwa okuva mu nnaku za Isaaya, emyaka egisukka mu kikumi emabega. Mu kiseera kya Kaabakuuku, Yekoyakimi yadda mu bigere bya Kabaka omulungi Yosiya, era obubi ne buddamu mu Yuda. Yekoyakimi yayigganya era n’atemula abo abaakozesanga erinnya lya Yakuwa. (2 Ebyomumirembe 36:5; Yeremiya 22:17; 26:20-24) N’olwekyo tekyewuunyisa nti nnabbi Kaabakuuku eyali omunakuwavu yagamba: “Ai Yakuwa ndituusa wa?“—Kaabakuuku 1:2, NW.
8. Lwaki ekyokulabirako kya Kaabakuuku kyali kya muganyulo eri Abakristaayo mu kyasa ekyasooka ne leero?
8 Kaabakuuku yali tamanyi ddi Yerusaalemi bwe kyandizikiriziddwa. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali tebamanyi ddi enteekateeka y’Ekiyudaaya ey’ebintu bwe yandizikiriziddwa. Naffe leero tetumanyi ‘lunaku na kiseera’ Yakuwa bw’alituukiriza omusango gwasalidde embeera y’ebintu eno embi. (Matayo 24:36) N’olwekyo, ka twekenneenye okuddamu kwa Yakuwa okw’emiru ndi ebiri mu kibuuzo kya Kaabakuuku. Okusooka, yakakasa nnabbi nti enkomerero yandizze mu kiseera kyennyini ekituufu. ‘Terirwawo,’ bw’atyo Katonda bwe yagamba, wadde ng’okusinziira ku ndowooza y’omuntu, eyinza okulabika ng’erudde. (Kaabakuuku 2:3) Eky’okubiri, Yakuwa yajjukiza Kaabakuuku: “Naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kwe.” (Kaabakuuku 2:4) Nga ago mazima malungi nnyo era agategeerekeka amangu! Ekisinga obukulu, si ddi enkomerero lw’enejja, naye obanga tuneeyongera okubeera n’okukkiriza.
9. Abaweereza ba Yakuwa abawulize baasigala batya nga balamu olw’obwesigwa bwabwe (a) mu 607 B.C.E.? (b) oluvannyuma lwa 66 C.E.? (c) Lwaki kikulu nnyo ffe okunyweza okukkiriza kwaffe?
9 Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa mu 607 B.C.E., Yeremiya, omuwandiisi we Baluki, Ebedumereki, n’Abalekabu abeesigwa baalaba okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Yakuwa eri Kaabakuuku. ‘Baaba balamu’ nga bawonawo ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Lwaki? Yakuwa yasasula obwesigwa bwabwe. (Yeremiya 35:1-19; 39:15-18; 43:4-7; 45:1-5) Mu ngeri y’emu, Abakristaayo Abebbulaniya ab’omu kyasa ekyasooka bateekwa okuba nga baasiima okubuulirira kwa Pawulo, kubanga amagye g’Abaruumi bwe gaalumba Yerusaalemi mu 66 C.E. ate oluvannyuma ne gejjulula, Abakristaayo abo baagoberera okulabula kwa Yesu okw’okudduka. (Lukka 21:20, 21) Baasigala balamu olw’obwesigwa bwabwe. Mu ngeri y’emu, tujja kusigala nga tuli balamu singa tusangibwa nga tuli beesigwa ng’enkomerero ezze. Nga nsonga ya maanyi nnyo okunyweza okukkiriza kwaffe kati!
Okwogera ku Byokulabirako Eby’Okukkiriza
10 Pawulo yoyogera atya ku kukkiriza kwa Musa, era tuyinza tutya okukoppa Musa mu nsonga eno?
10 Era Pawulo yazimba okukkiriza ng’akozesa nnyo ebyokulabirako. Ng’osoma Abaebbulaniya essuula 11, weetegereze engeri gy’ayogera ku byokulabirako by’abantu abali mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, agamba nti Musa ‘yeeyongera okunywera ng’alaba Oyo atalabika.’ (Abaebbulaniya 11:27) Mu ngeri endala, Yakuwa yali wa ddala nnyo eri Musa ne kirabika ng’eyali asobola okulaba Katonda atalabika. Tuyinza okwogerwako kye kimu? Kyangu okwogera ku nkolagana ne Yakuwa, naye okuzimba n’okunyweza enkolagana eyo kyetaagisa okufuba. Okwo kwe kufuba kwe twetaaga okukola! Yakuwa wa ddala gye tuli ne kiba nti tumulowoozaako mu bye tusalawo, n’ebyo ebirabika ng’ebitono? Okukkiriza okw’engeri eyo kujja kutuyamba okugumira n’okuziyizibwa okw’amaanyi ennyo.
11, 12. (a) Okukkiriza kwa Enoka kuyinza okuba kwagezesebwa mu mbeera ki? (b) Mpeera ki ezzaamu amaanyi Enoka gye yafuna?
11 Era lowooza ku kukkiriza kwa Enoka. Okuziyizibwa kwe yayolekagana nakwo kuzibu okuteebereza. Enoka yalina okutegeeza obubaka obukakali obw’omusango ogusaliddwa ababi abaaliwo mu kiseera ekyo. (Yuda 14, 15) Okuyigganyizibwa omusajja ono omwesigwa kwe yali ayolekedde kirabika kwali kwa maanyi nnyo, era kwa bukambwe nnyo ne kiba nti Yakuwa “yamutwala,” ng’amuggya mu mbeera ey’okuba omulamu n’amuleka okwebaka mu kufa ng’abalabe tebannamukwata. N’olwekyo, Enoka teyalaba kutuukirizibwa kwa bunnabbi bwe yategeeza. Kyokka, yafuna ekirabo, mu ngeri ezimu ekyali kisingako obulungi.—Abaebbulaniya 11:5; Olubereberye 5:22-24.
12 Pawulo annyonnyola: “Nga tanatwalibwa [Enoka] yategeezebwa nti yali asanyusizza Katonda.” (Abaebbulaniya 11:5, NW) Kino kyali kitegeeza ki? Nga tanneebaka mu kufa, Enoka ayinza okuba yafuna okwolesebwa okw’ekika ekimu, oboolyawo okw’Olusuku lwa Katonda ku nsi mwe yandizuukiziddwa olunaku lumu. Ka kibe nga kyali ki, Yakuwa yategeeza Enoka nti Yasanyukira ekkubo lye ery’obwesigwa. Enoka yasanyusa omutima gwa Yakuwa. (Geraageranya Engero 27:11.) Okulowooza ku bulamu bwa Enoka kirina engeri gye kitukwatako, si bwe kiri? Wandyagadde okubeera n’obulamu ng’obwo obw’okukkiriza? Kale nno lowooza ku byokulabirako ng’ebyo; balabe ng’abantu aba ddala. Beera mumalirivu okubeera n’okukkiriza buli lunaku. Era, jjukira nti abantu abalina okukkiriza tebaweereza Yakuwa nga beesigama ku lunaku oba ekiseera ekigereke Katonda lw’alituukiriza ebisuubizo bye byonna. Wabula, tuli bamalirivu okuweereza Yakuwa emirembe gyonna! Okukola ekyo kitegeeza obulamu obusingayo obulungi mu mbeera z’ebintu zino n’ezijja.
Engeri y’Okunywezaamu Okukkiriza
13, 14. (a) Ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abaebbulaniya 10:24, 25 biyinza bitya okutuyamba okufuula enkuŋŋaana zaffe ebiseera eby’essanyu? (b) Ensonga enkulu ey’okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo y’eruwa?
13 Pawulo yalaga Abakristaayo Abebbulaniya engeri ez’omuganyulo ez’okunywezaamu okukkiriza kwabwe. Ka twekenneenyeyo bbiri zokka. Kirabika tumanyi okubuulirira okuli mu Abaebbulaniya 10:24, 25, okutukubiriza oku- kuŋŋaana obutayosa mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo. Kyokka, jjukira nti ebigambo bya Pawulo ebyaluŋŋamizibwa tebitegeeza nti tulina kubeera bubeezi balabi mu nkuŋŋaana ng’ezo. Wabula, Pawulo ayogera ku nkuŋŋaana ng’eziwa omukisa okumanyagana, okukubirizigana okuweereza Katonda mu bujjuvu, era n’okuzziŋŋanamu amaanyi. Tubaayo okugaba so si okufuna kyokka. Ekyo kiyamba okufuula enkuŋŋaana zaffe ebiseera eby’essanyu.—Ebikolwa 20:35.
14 Kyokka, okusingira ddala tugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo okusinza Yakuwa Katonda. Tukola ekyo nga twenyigira mu kusaba n’okuyimba, nga tuwuliriza n’obwegendereza, era nga tuwaayo ‘ebibala by’emimwa’—ebigambo ebitendereza Yakuwa mu bye tuddamu mu nkuŋŋaana. (Abaebbulaniya 13:15) Singa tubeera n’ebiruubirirwa bino mu birowoozo era ne tufuba okubituukiriza mu buli lukuŋŋaana, okukkiriza kwaffe kujja kuzimbibwa buli mulundi.
15. Lwaki Pawulo yakubiriza Abakristaayo Abebbulaniya okunywerera ku buweereza bwabwe, era lwaki okubuulirira okwo kusaanira leero?
15 Engeri endala ey’okuzimba okukkiriza kwe kuyitira mu mulimu gw’okubuulira. Pawulo yawandiika: “Tunyweze okwatulanga essuubi lyaffe obutasagaasagana; kubanga eyasuubiza mwesigwa.” (Abaebbulaniya 10:23) Oyinza okukubiriza abalala okunywerera ku kintu bwe kirabika nti bali mu kabi k’okulekulira. Mazima ddala Setaani yali anyigiriza Abakristaayo abo Abebbulaniya okwabulira obuweereza bwabwe, era anyigiriza abantu ba Katonda leero mu ngeri y’emu. Nga twolekaganye n’okunyigirizibwa ng’okwo, twandikoze ki? Weetegereze Pawulo kye yakola.
16, 17. (a) Pawulo yafuna atya obuvumu mu buweereza? (b) Kiki kye twandikoze singa tukisanga nga tutya engeri emu ey’obuweereza bwaffe obw’Ekikristaayo?
16 Eri Abakristaayo ab’omu Ssessaloniika, Pawulo yawandiika: “Bwe twamala okubonaabona [n’okunyoomebwa] mu Firipi, nga bwe mumanyi, ne [tufuna obuvumu okuyitira] mu Katonda waffe okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kufuba okungi.” (1 Abasessaloniika 2:2) Pawulo ne banne ‘banyoomebwa’ batya mu Firipi? Okusinziira ku beekenneenya abamu, ekigambo ky’Oluyonaani Pawulo kye yakozesa kitegeeza okuvuma, okuswaza, oba okuyisa obubi ennyo. Ab’obuyinza mu Firipi baabakuba n’emiggo, ne babasuula mu kkomera, era ne babateeka mu nvuba. (Ebikolwa 16:16-24) Eby’ennaku ebyo Pawulo bye yayitamu byamukolako ki? Abantu mu Ssessaloniika, ekibuga kye yaddako okukyalira mu lugendo olw’obuminsani, baalaba nga Pawulo atidde nnyo? Nedda, ‘yafuna obuvumu.’ Yawangula okutya ne yeeyongera okubuulira n’obuvumu.
17 Obuvumu Pawulo bwe yalina bwava wa? Mu ye yennyini? Nedda, yagamba nti yafuna obuvumu “okuyitira mu Katonda waffe.” Ekitabo ekimu abavvuunuzi ba Baibuli kye bajulizaamu kigamba nti ebigambo bino biyinza okukyusibwa nga “Katonda yaggya okutya mu mitima gyaffe.” N’olwekyo, bw’oba owulira nga toli muvumu mu buweereza bwo, oba bwe kiba nti engeri emu ey’obuweereza bwo ekutiisa, lwaki tosaba Yakuwa akukolere kye kimu? Musabe aggye okutya mu mutima gwo. Musabe akuyambe okufuna obuvumu okukola omulimu. Okugatta ku ekyo, baako ebirala eby’omuganyulo by’okola. Ng’ekyokulabirako, teekateeka okukola n’omuntu omukenkufu mu ngeri ey’okuwa obujulirwa ekuzibuwalira. Eyinza okutwaliramu okubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi, okuwa obujulirwa ku nguudo, okubuulira embagirawo, oba okuwa obujulirwa ku ssimu. Oboolyawo munno ajja kuba mwetegefu okutwala obukulembeze. Bwe kiba bwe kityo, weetegereze ky’akola era oyige. Awo nno, funa obuvumu era ogezeeko.
18. Mikisa ki gye tuyinza okufuna singa tufuna obuvumu mu buweereza bwaffe?
18 Singa ofuna obuvumu, lowooza ku kiyinza okuvaamu. Bw’ofuba n’otaggwaamu maanyi, ojja kufuna ebyokulabirako ebirungi mu kubuulira amazima, ebyokulabirako bye wandifiiriddwa okufuna. (Laba olupapula.) Ojja kubeera mumativu olw’okumanya nti osanyusizza Yakuwa ng’okoze ekintu ekikuzibuwalira. Ojja kufuna emikisa gye n’obuyambi okuvvuunuka okutya kw’olina. Okukkiriza kwo kujja kunywera. Mazima ddala, toyinza kuzimba kukkiriza kw’abalala ng’okukwo nakwo tokuzimbye mu kiseera kye kimu.—Yuda 20, 21.
19. Mpeera ki ey’omuwendo erindiridde ‘abantu abalina okukkiriza’?
19 Weeyongere okunyweza okukkiriza kwo n’okw’abo abakwetoolodde. Oyinza okukikola ng’ozimba okukwo n’okw’abalala okuyitira mu kukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda, okuyiga ku byokulabirako by’omu Baibuli eby’okukkiriza, nga weeteekerateekera era nga weenyigira mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, era ng’onywerera ku nkizo ey’omuwendo ey’okubuulira mu lujjudde. Ng’okola ebintu bino, beera mukakafu nti, mazima ddala, oli ‘muntu alina okukkiriza.’ Era jjukira nti abantu ng’abo balina empeera ey’omuwendo. Be “bantu abalina okukkiriza okuwonyawo emmeeme.”b Okukkiriza kwo ka kweyongere okukula, era Yakuwa Katonda akukuume ng’oli mulamu emirembe gyonna!
[Obugambo obuli wansi]
a Pawulo yajuliza Kaabakuuku 2:4 okuva mu Septuagint, eyakozesa ebigambo “singa omuntu yenna adda ennyuma, emmeeme yange temusanyukira.” Ebigambo bino tebisangibwa mu biwandiiko eby’edda eby’Olwebbulaniya. Abamu bagambye nti Septuagint yeesigamizibwa ku biwandiiko by’Olwebbulaniya eby’edda ebitakyaliwo. Ka kibe ki, Pawulo yabiteekamu ng’akubirizibwa omwoyo gwa Katonda. N’olwekyo, bisembebwa Katonda.
b Ekyawandiikibwa ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’omwaka 2000 kijja kubeera: “Tetuli bantu abadda ennyuma . . . naye tuli bantu abalina okukkiriza.“—Abaebbulaniya 10:39, NW.
Wandizzeemu Otya?
• Pawulo yayoleka atya obwesige mu Bakristaayo Abebbulaniya, era kiki kye tuyinza okuyigira ku kino?
• Lwaki kyali kituukirawo Pawulo okujuliza nnabbi Kaabakuuku?
• Byakulabirako ki eby’okukkiriza eby’omu Byawandiikibwa Pawulo bye yayogerako?
• Ngeri ki ez’omuganyulo ez’okuzimba okukkiriza Pawulo ze yasemba?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Oluvannyuma lw’ebintu eby’ennaku bye yayitamu mu Firipi, Pawulo yafuna obuvumu okweyongera okubuulira
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Oyinza okufuna obuvumu okugezaako engeri ezitali zimu ez’okuwa obujulirwa?