-
Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziyinza Kukuganyula Zitya?Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
ESSOMO 10
Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziyinza Kukuganyula Zitya?
Wali oyitiddwako okugenda mu lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa? Bw’oba nga togendangako mu nkuŋŋaana zaabwe, muli oyinza okuwulira ng’otya okugendayo. Oyinza okwebuuza nti: ‘Biki ebiba mu nkuŋŋaana ezo? Lwaki nkulu? Lwaki nsaanidde okuzibeeramu?’ Mu ssomo lino, ojja kuyiga engeri okukuŋŋaana awamu n’abalala gye kiyinza okukuyamba okweyongera okusemberera Katonda n’okukuganyula mu ngeri endala.
1. Ensonga esinga obukulu lwaki tusaanidde okukuŋŋaananga awamu y’eruwa?
Weetegereze engeri omu ku bawandiisi ba Bayibuli gye yalagamu ensonga esinga obukulu lwaki tusaanidde okukuŋŋaananga awamu n’abalala. Yagamba nti: “Nja kutendereza Yakuwa mu kibiina ekinene.” (Zabbuli 26:12) Abajulirwa ba Yakuwa bafuna essanyu lingi mu kukuŋŋaana awamu. Okwetooloola ensi, bakuŋŋaana buli wiiki okuyiga ebikwata ku Katonda, okumutendereza, n’okusaba. Ate emirundi egitali gimu mu mwaka, baba n’enkuŋŋaana ennene.
2. Biki by’onooyiga ng’ozze mu nkuŋŋaana zaffe?
Mu nkuŋŋaana, tunnyonnyolwa Ekigambo kya Katonda ne tukitegeera bulungi. (Soma Nekkemiya 8:8.) Bw’onojja mu nkuŋŋaana, ojja kuyiga ebikwata ku Yakuwa ne ku ngeri ze ennungi ennyo. Bw’oneeyongera okulaba engeri gy’akwagalamu, ojja kweyongera okumwagala. Ate era ojja kulaba engeri gy’asobola okukuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu.—Isaaya 48:17, 18.
3. Onooganyulwa otya bw’onoonyumyako n’abantu b’onoosanga ng’ozze mu nkuŋŋaana?
Yakuwa akubiriza ‘buli omu ku ffe okulowoozanga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu.’ (Abebbulaniya 10:24, 25) Mu nkuŋŋaana zaffe, ojja kusangayo abantu abafaayo ku bannaabwe, era abaagala ennyo okuyiga ebikwata ku Katonda. Ojja kubawulira nga boogera ebintu ebizzaamu amaanyi okuva mu Bayibuli. (Soma Abaruumi 1:11, 12.) Ate era ojja kusobola okwogerako n’abalala abasobodde okwaŋŋanga ebizibu abafumbo n’abatali bafumbo bye boolekagana nabyo. Ezo ze zimu ku nsonga lwaki Yakuwa ayagala tukuŋŋaane wamu obutayosa!
YIGA EBISINGAWO
Manya ebiba mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa n’emiganyulo egiri mu kuzibeeramu.
4. Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa
Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo baakuŋŋaananga wamu obutayosa okusinza Yakuwa. (Abaruumi 16:3-5) Soma Abakkolosaayi 3:16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Abakristaayo abaasooka baasinzanga batya Yakuwa?
Ne leero, Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaana wamu obutayosa. Okusobola okumanya ebiba mu nkuŋŋaana zaabwe, laba VIDIYO. Oluvannyuma mwetegereze ekifaananyi ekiraga olukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa, era mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino.
Kufaanagana ki kw’olabye wakati w’ebyo ebiba ku Kingdom Hall ne by’osomye mu Abakkolosaayi 3:16?
Mu vidiyo oba mu kifaananyi, olinayo ekintu ekirala ky’olabye ekiba mu nkuŋŋaana ekikukutteko?
Soma 2 Abakkolinso 9:7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa tezibeeramu kusolooza ssente?
Ng’oli wamu n’omusomesa wo, muyite mu ebyo ebigenda okuba mu lumu ku nkuŋŋaana ezigenda okubaayo mu wiiki eno.
Kitundu ki eky’olukuŋŋaana olwo ky’olowooza nti kye kijja okusinga okukunyumira oba okukuganyula?
Obadde okimanyi?
Ku jw.org, osobola okumanya ebifo awabeera enkuŋŋaana mu bitundu by’ensi ebitali bimu era n’ekiseera we zibeererayo.
Enkuŋŋaana zaffe zibaamu okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli, okulaga ebyokulabirako, ne vidiyo. Enkuŋŋaana zitandika era ne zikomekkerezebwa n’okuyimba awamu n’okusaba
Mu bitundu ebimu eby’olukuŋŋaana, abawuliriza nabo babaako bye baddamu
Buli omu ayanirizibwa, abafumbo, abatali bafumbo, bannamukadde, n’abaana
Mu nkuŋŋaana zaffe tebaayo kusolooza ssente. Abajulirwa ba Yakuwa tebayisa kabbo
5. Kyetaagisa okufuba okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana
Lowooza ku maka Yesu mwe yakulira. Okusobola okubaawo mu lukuŋŋaana olumu olwabangawo buli mwaka, baatambulanga mayiro nga 60 nga bayita mu bitundu eby’ensozi okuva e Nazaaleesi okutuuka e Yerusaalemi. Soma Lukka 2:39-42, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Olowooza kyetaagisanga okufuba okusobola okutambula olugendo olwo okugenda e Yerusaalemi?
Lwaki kiyinza okukwetaagisa okufuba okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana?
Olowooza okufuba kwo kuba kwa bwereere? Lwaki ogamba bw’otyo?
Bayibuli egamba nti kikulu nnyo okukuŋŋaana awamu okusinza Yakuwa. Soma Abebbulaniya 10:24, 25, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki tusaanidde okugendanga mu nkuŋŋaana obutayosa?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Tekikwetaagisa kukuŋŋaana wamu na balala. Okusomera Bayibuli awaka kimala.”
Kyawandiikibwa ki oba kyakulabirako ki okuva mu Bayibuli ekiraga ekyo Yakuwa ky’ayagala?
MU BUFUNZE
Okubangawo mu nkuŋŋaana kijja kukuyamba okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa, okunyweza enkolagana yo naye, n’okusinziza awamu n’abalala.
Okwejjukanya
Lwaki Yakuwa atukubiriza okukuŋŋaananga awamu?
Biki by’ojja okuyiga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa?
Olowooza ngeri ki endala gy’oyinza okuganyulwa mu kubaawo mu nkuŋŋaana?
LABA EBISINGAWO
Watya singa otya okugenda mu nkuŋŋaana? Laba engeri omusajja omu eyali atya okugenda mu nkuŋŋaana gye yatandika okuzaagala.
Laba engeri omuvubuka omu gye yanyumirwa enkuŋŋaana era ne kye yakola okweyongera okukuŋŋaananga.
Laba engeri abalala gye batwalamu eky’okubangawo mu nkuŋŋaana.
“Lwaki Nsaanidde Okugenda mu Nkuŋŋaana ku Kingdom Hall?“ (Kiri ku mukutu)
Laba engeri obulamu bw’omusajja omu eyali mu kibinja kya bakkondo gye bwakyukamu oluvannyuma lw’okugenda mu lukuŋŋaana olumu olw’Abajulirwa ba Yakuwa.
“Nnatambulanga n’Emmundu Yange” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjulaayi 1, 2014)
-
-
Obwakabaka bwa Katonda Bufuga!Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
5. Ensi ekyuse nnyo okuva mu 1914
Yesu yayogera ku bintu ebyandibaddewo mu nsi ng’afuuse Kabaka. Soma Lukka 21:9-11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Ku bintu ebyo, biruwa bye wali olabyeko oba bye wali owuliddeko?
Omutume Pawulo yayogera ku ngeri abantu gye bandyeyisizzaamu ng’obufuzi bw’abantu bunaatera okuggibwawo. Soma 2 Timoseewo 3:1-5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Ebyo by’osomye mu nnyiriri ezo bikwatagana bitya nʼenneeyisa y’abantu leero?
6. Okuba nti Obwakabaka bwa Katonda bufuga, kisaanidde kutukwatako kitya?
Soma Matayo 24:3, 14, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Mulimu ki omukulu ogukolebwa leero ogulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bufuga?
Oyinza otya okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu ogwo?
Obwakabaka bwa Katonda kati bufuga, era mu kiseera ekitali kya wala bujja kufuga ensi yonna. Soma Abebbulaniya 10:24, 25, era oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Kiki buli omu ku ffe ky’asaanidde okukola ‘naddala nga bwe tulaba nti olunaku lusembedde’?
-