Abaruumi
16 Mbanjulira* mwannyinaffe Feyibe aweereza mu kibiina ky’omu Kenkereya,+ 2 musobole okumusembeza mu Mukama waffe mu ngeri egwanira abatukuvu, era mumuwe obuyambi bwonna bw’ayinza okwetaaga,+ kubanga yayamba bangi nga nange mw’ontwalidde.
3 Munnamusize Pulisika ne Akula,+ bakozi bannange mu Kristo Yesu, 4 abassa obulamu* bwabwe mu kabi ku lw’obulamu bwange,+ si nze nzekka abeebaza wabula n’ebibiina byonna eby’ab’amawanga. 5 Ate era, munnamusize n’ekibiina ekikuŋŋaanira mu nnyumba yaabwe.+ Munnamusize Epayineeto omwagalwa, omu ku abo abaasooka okufuuka abagoberezi ba Kristo mu Asiya. 6 Munnamusize Maliyamu abakoledde ennyo. 7 Munnamusize Anduloniiko ne Yuniya be nninako oluganda+ era basibe bannange, abamanyiddwa ennyo abatume era ababadde abagoberezi ba Kristo okumala ekiseera ekiwanvu okunsinga.
8 Munnamusize Ampuliyaato, omwagalwa mu Mukama waffe. 9 Munnamusize Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, ne Sutaku omwagalwa. 10 Munnamusize Apere, asiimibwa mu Kristo. Munnamusize ab’ennyumba ya Alisutobulo. 11 Munnamusize Kerodiyoni gwe nninako oluganda. Munnamusize ab’ennyumba ya Nalukiso abali mu Mukama waffe. 12 Munnamusize Terufayina ne Terufoosa, abakyala abakola ennyo mu Mukama waffe. Munnamusize Perusi omwagalwa waffe, kubanga yakola nnyo mu Mukama waffe. 13 Munnamusize Luufo, omulonde mu Mukama waffe, ne maama we era maama wange. 14 Munnamusize Asunkulito, Fulegoni, Kerume, Patuloba, Keruma, n’ab’oluganda abali nabo. 15 Munnamusize Firologo, Yuliya, Nerewu ne mwannyina, ne Olimpasi n’abatukuvu bonna abali nabo. 16 Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu. Ebibiina byonna ebya Kristo bibalamusizza.
17 Kaakano mbakubiriza ab’oluganda okwetegereza abo abaleetawo enjawukana n’ebintu ebyesittaza ebyawukana ku ebyo bye mwayigirizibwa, era mubeewale.+ 18 Abantu ab’engeri eyo si baddu ba Mukama waffe Kristo, wabula baddu ba mbuto zaabwe, era bakozesa ebigambo ebirungi era ebiwaanawaana ne basendasenda emitima gy’abo abatalina bumanyirivu. 19 Obuwulize bwammwe bumanyiddwa abantu bonna. N’olwekyo nsanyuka ku lwammwe. Naye njagala mubeere bagezi ku bikwata ku kirungi, naye mubeere nga temulina kye mumanyi ku bikwata ku kibi.+ 20 Mu kiseera kitono, Katonda agaba emirembe ajja kubetenta Sitaani+ wansi w’ebigere byammwe. Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu kibeere nammwe.
21 Timoseewo mukozi munnange abalamusizza, era ne Lukiyo ne Yasooni ne Sosipateri, be nninako oluganda.+
22 Nze Terutiyo akoze omulimu gw’okuwandiika ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe.
23 Gayo+ eyansembeza era eyasembeza n’ekibiina kyonna abalamusizza. Erasuto omuwanika w’ekibuga abalamusizza, era ne Kwaluto muganda we. 24 *—
25 Oyo asobola okubanyweza okuyitira mu mawulire amalungi ge nnangirira, n’okuyitira mu kubuulira ebikwata ku Yesu Kristo, okusinziira ku kubikkulwa kw’ekyama ekitukuvu+ ekibadde kikwekeddwa okuva edda n’edda 26 naye nga kati kyoleseddwa* era ne kimanyisibwa eri amawanga gonna okuyitira mu Byawandiikibwa eby’obunnabbi, nga Katonda ataggwaawo bwe yalagira, amawanga gasobole okubeera n’okukkiriza, gamugondere; 27 Katonda ow’amagezi yekka,+ aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe okuyitira mu Yesu Kristo. Amiina.