Obulamu Obutaggwawo ku Nsi—Kisuubizo kya Katonda
“Ebitonde byalekebwa okufugibwa obutaliimu . . . naye mu kiseera kye kimu ne biweebwa essuubi.”—BAR. 8:20.
1, 2. (a) Lwaki essuubi ly’obulamu obutaggwawo ku nsi kkulu nnyo gye tuli? (b) Lwaki abantu babuusabuusa obanga wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi?
Oboolyawo ojjukira essanyu lye wawulira bwe wayiga nti mu biseera eby’omu maaso abantu bajja kuba balamu ku nsi emirembe gyonna nga tebakaddiwa era nga tebafa. (Yok. 17:3; Kub. 21:3, 4) Oyinza n’okuba ng’olina abalala be wabuulirako ku ssuubi eryo ery’omu Byawandiikibwa. Bwe kiba kityo, wakola bulungi kubanga essuubi ly’obulamu obutaggwawo kye kimu ku bintu ebikulu ebiri mu mawulire amalungi ge tubuulira. Essuubi lino lirina kinene kye likola ku ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe.
2 Okutwalira awamu, amadiini ga Kristendomu tegakkiriza nti wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi. Wadde nga Baibuli eyigiriza nti emmeeme efa, amadiini ago agasinga gayigiriza nti omuntu bw’afa wasigalawo omwoyo ne gugenda mu ttwale ery’omwoyo. (Ez. 18:20) Bwe kityo abantu bangi babuusabuusa obanga wajja kubaayo obulamu obutaggwawo ku nsi. Kati tuyinza okwebuuza: Ddala Baibuli eyigiriza nti wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi? Bwe kiba kityo, kino Katonda yasooka ddi okukibikkulira abantu?
‘Byalekebwa Okufugibwa Obutaliimu Naye Byaweebwa Essuubi’
3. Katonda yalaga atya ekigendererwa kye eri olulyo lw’omuntu nga yaakatonda abantu abasooka?
3 Yakuwa yalaga bulungi ekigendererwa kye eri olulyo lw’omuntu nga yaakatonda abantu abasooka. Katonda yakiraga nti Adamu yandibadde mulamu emirembe gyonna bwe yandisigadde nga muwulize. (Lub. 2:9, 17; 3:22) Awatali kubuusabuusa bazzukulu ba Adamu abaasooka baategeera engeri omuntu gye yafuuka atatuukiridde, era waaliwo n’obukakafu kwe baakirabiranga. Awayingirirwa mu lusuku Adeni waali wazibiddwa era abantu baali bakaddiwa ne bafa. (Lub. 3:23, 24) Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, n’emyaka abantu gye baawangaalanga gyagenda gikendeera. Adamu yawangaala emyaka 930. Seemu yawangaala emyaka 600, ne mutabani we Alupakusaadi yawangaala emyaka 438. Teera kitaawe wa Ibulayimu yawangaala emyaka 205. Ibulayimu yawangaala emyaka 175, mutabani we Isaaka yawangaala emyaka 180, ne Yakobo yawangaala emyaka 147. (Lub. 5:5; 11:10-13, 32; 25:7; 35:28; 47:28) Abantu bangi bateekwa okuba nga baamanya ensonga ekyo kwe kyali kiva—obulamu obutaggwawo baali baabufiirwa! Baalina kwe basinziira okuba n’essuubi nti wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi?
4. Lwaki abasajja abeesigwa ab’edda baalina essuubi nti Katonda ajja kuwa abantu ekyo Adamu kye yabafiiriza?
4 Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Ebitonde byalekebwa okufugibwa obutaliimu . . . naye mu kiseera kye kimu ne biweebwa essuubi.” (Bar. 8:20) Ssuubi ki eryo? Obunnabbi obwasookera ddala mu Baibuli bw’ayogera ku ‘zzadde eryandibetense omusota omutwe.’ (Soma Olubereberye 3:1-5, 15.) Obunnabbi obwo obukwata ku Zzadde bwawa abantu essuubi nti Katonda yali ajja kutuukiriza ekigendererwa kye eri olulyo lw’omuntu. Bwawa abasajja nga Abbeeri ne Nuuwa essuubi nti Katonda yali ajja kuwa abantu ekyo Adamu kye yabafiiriza. Abasajja bano bayinza okuba nga baakiraba nti ‘ezzadde okubetentebwa ekisinziiro’ kyandizingiddemu okuyiwa omusaayi.—Lub. 4:4; 8:20; Beb. 11:4.
5. Kiki ekiraga nti Ibulayimu yali akkiririza mu kuzuukira?
5 Lowooza ku Ibulayimu. Bwe yagezesebwa, Ibulayimu “yalinga ddala awaddeyo omwana we Isaaka, . . . omwana we eyazaalibwa omu yekka.” (Beb. 11:17) Lwaki yali mwetegefu okukola ekyo? (Soma Abebbulaniya 11:19.) Yali akkiririza mu kuzuukira era yalina kw’asinziira okukkiriza atyo! Ggwe ate oba ye kennyini ne mukyala we Saala Yakuwa yali abasobozesezza okuzaala omwana wadde nga baali bakaddiye. (Lub. 18:10-14; 21:1-3; Bar. 4:19-21) Ate era Yakuwa yali yamugamba nti: “Ezzadde lyo liriyitira mu Isaaka.” (Lub. 21:12, NW) N’olwekyo, Ibulayimu yalina ensonga ennungi kw’asinziira okusuubira nti Katonda yandizuukizza Isaaka.
6, 7. (a) Ndagaano ki Yakuwa gye yakola ne Ibulayimu? (b) Ekisuubizo kya Yakuwa eri Ibulayimu kyawa kitya olulyo lw’omuntu essuubi?
6 Olw’okuba Ibulayimu yalina okukkiriza okw’amaanyi, Yakuwa yakola naye endagaano ekwata ku mwana we, oba “ezzadde.” (Soma Olubereberye 22:18.) “Ezzadde” ekkulu ye Yesu Kristo. (Bag. 3:16) Yakuwa yali yagamba Ibulayimu nti “ezzadde” lye lyandyaze “ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, ng’omusenyu oguli ku ttale lye nnyanja”—omuwendo Ibulayimu gwe yali tamanyi bunene. (Lub. 22:17) Kyokka, oluvannyuma omuwendo ogwo gwamanyibwa. Yesu Kristo ne 144,000 abajja okufuga naye mu Bwakabaka bwe lye ‘zzadde.’ (Bag. 3:29; Kub. 7:4; 14:1) Okuyitira Mu Bwakabaka bwa Masiya ‘amawanga gonna ag’omu nsi gajja kuweebwa omukisa.’
7 Ibulayimu yali tasobola kutegeera byonna ebyali bizingirwa mu ndagaano Yakuwa gye yakola naye. Wadde kyali kityo, Baibuli egamba nti, “yali alindirira ekibuga ekirina emisingi gyennyini.” (Beb. 11:10) Ekibuga ekyo bwe Bwakabaka bwa Katonda. Ibulayimu okusobola okufuna emikisa Obwakabaka obwo gye bulireeta, alina okuddamu okuba omulamu. Bw’anaazuukizibwa, ajja kuweebwa obulamu obutaggwawo ku nsi. N’abo abanaawonawo ku Kalumagedoni oba abo abanaazuukizibwa bajja kufuna obulamu obutaggwawo.—Kub. 7:9, 14; 20:12-14.
‘Omwoyo Oguli mu Nze Gumpaliriza’
8, 9. Lwaki tuyinza okugamba nti okugezesebwa okwogerwako mu kitabo kya Yobu tekukwata ku muntu omu yekka?
8 Wakati w’ekiseera muzzukulu wa Ibulayimu Yusufu we yabeererawo n’ekyo nnabbi Musa we yabeererawo, waaliwo omusajja ayitibwa Yobu. Ekitabo kya Yobu, ekirabika nga kyawandiikibwa Musa, kiraga ensonga lwaki Yakuwa yakkiriza Yobu okubonaabona, n’ebyo ebyavaamu. Kyokka ekitabo kya Yobu tekikoma ku kwogera ebyo ebyatuuka ku muntu omu; kyogerako ku nsonga ezikwata ku bantu bonna ku nsi, awamu n’ebitonde eby’omwoyo. Ekitabo ekyo kituyamba okulaba nti Yakuwa afuga mu ngeri ya butuukirivu, era kiraga nti ensonga eyabalukawo mu Adeni yali ezingiramu obugolokofu bw’abaweereza ba Katonda bonna ku nsi n’essuubi lye balina ery’okuba abalamu emirembe gyonna. Wadde ng’ensonga eyo Yobu teyagitegeera, teyakkiriza ebyo banne abasatu bye baayogera kumuleetera kulowooza nti yali alemeddwa okukuuma obugolokofu bwe. (Yob. 27:5) Kino kinyweza okukkiriza kwaffe era kituyamba okukiraba nti tusobola okukuuma obugolokofu bwaffe n’okuwagira obufuzi bwa Yakuwa.
9 Abo abaali beefuula ababudaabuda Yobu bwe baamala okwogera, ‘Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’atandika okwogera.’ Kiki ekyamuleetera okwogera? Yagamba nti: ‘Nzijudde ebigambo; omwoyo oguli mu nze gumpaliriza.’ (Yob. 32:5, 6, 18) Wadde ng’ebigambo Eriku bye yaluŋŋamizibwa okwogera byatuukirizibwa nga Yakuwa aggyewo ebizibu bya Yobu, birina amakulu mangi gye tuli. Biyamba abo bonna abakuuma obugolokofu okuba n’essuubi.
10. Kiki ekiraga nti Yakuwa oluusi awa omuntu omu obubaka naye nga bulina amakulu eri abantu bonna okutwalira awamu?
10 Oluusi Yakuwa awa omuntu omu obubaka naye nga bulina amakulu eri abantu bonna okutwalira awamu. Kino kyeyolekera mu bunnabbi bwa Danyeri obukwata ku kirooto kya Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni eky’omuti omunene ogwatemebwa. (Dan. 4:10-27) Wadde ng’ekirooto ekyo kyatuukirizibwa ku Nebukadduneeza, kyali era kisonga ku kintu ekikulu ennyo. Kyalaga nti obufuzi bwa Katonda ku nsi obwakiikirirwanga obwakabaka bw’omu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi bwandizziddwawo oluvannyuma lw’emyaka 2,520, ng’emyaka gino gibalibwa okuva mu 607 E.E.T.a Obufuzi bwa Katonda bwaddamu okweyoleka ku nsi Yesu Kristo bwe yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu mu 1914. Lowooza ku ngeri Obwakabaka obwo gye bugenda okutuukirizaamu ebyo abantu abawulize bye beesunga!
“Muwonye Okugenda mu Bunnya!”
11. Ebigambo bya Eriku biraga ki ku Katonda?
11 Eriku bw’aba addamu Yobu ayogera ku ‘mubaka, oba omwogezi, omu ku lukumi, okutegeeza omuntu obutuukirivu bwe.’ Kiba kitya singa omubaka oyo ‘asaba Katonda amukwatirwe ekisa’? Eriku agamba nti: “Awo [Katonda] amukwatirwa ekisa era agamba nti Muwonye okugenda mu bunnya! Nfunye ekinunulo. Omubiri gwe ka gudde buggya okusinga bwe gwali mu buvubuka; addemu abe n’amaanyi nga bwe yali nnaku ez’obuvubuka bwe.” (Yob. 33:23-26, NW) Ebigambo bino biraga nti Katonda mwetegefu okukkiriza “ekinunulo” ku lw’abantu ababa beenenyezza.—Yob. 33:24.
12. Ebigambo bya Eriku ebyo biwa ssuubi ki eri olulyo lw’omuntu?
12 Kirabika Eriku teyategeera makulu ga kinunulo nga bannabbi ab’edda bwe bataategeera bulungi ebyo bye baawandiika. (Dan. 12:8; 1 Peet. 1:10-12) Kyokka ebigambo bye byalaga nti ekiseera kyandituuse Katonda n’akkiriza ekinunulo era n’aggya abantu mu mbeera ebaviirako okukaddiwa n’okufa. Ebigambo bya Eriku biwa essuubi ery’ekitalo ery’obulamu obutaggwawo. Ekitabo kya Yobu era kiraga nti wajja kubaawo okuzuukira.—Yob. 14:14, 15.
13. Ebigambo bya Eriku birina makulu ki eri Abakristaayo?
13 Ebigambo bya Eriku ebyo bya makulu nnyo leero eri Abakristaayo bonna abalina essuubi ery’okuwonawo ng’enteekateeka eno ey’ebintu ezikirizibwa. Bannamukadde abaliba bawonyeewo balidda buto. (Kub. 7:9, 10, 14-17) Ate era abaweereza ba Katonda abeesigwa beesunga okulaba abo abaliba bazuukiziddwa nga bazze buto. Kya lwatu nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaliweebwa obutafa mu ggulu era ‘n’ab’endiga endala’ abaliweebwa obulamu obutaggwawo ku nsi balina okuba nga bakkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo.—Yok. 10:16; Bar. 6:23.
Okufa Kumiribwa Okuva ku Nsi
14. Kiki ekiraga nti ng’oggyeko Amateeka ga Musa, Abaisiraeri baalina ekintu ekirala kye beetaaga okusobola okufuna obulamu obutaggwawo?
14 Bazzukulu ba Ibulayimu baafuuka eggwanga eryetongodde Katonda bwe yakola nabo endagaano. Bwe yali abawa Amateeka ago, Yakuwa yagamba nti: “Kale mwekuumenga amateeka gange n’emisango gyange; ebyo omuntu bw’abikolanga, anaabanga mulamu olw’ebyo.” (Leev. 18:5) Olw’okuba baali tebasobola kutambulira ku Mateeka ago mu bujjuvu, Abaisiraeri baaliko omusango era bwe batyo baali beetaaga okununulibwa.—Bag. 3:13.
15. Dawudi yaluŋŋamizibwa kwogera ku mikisa ki egy’omu biseera eby’omu maaso?
15 Oluvannyuma lw’ekiseera kya Musa, Yakuwa yaluŋŋamya abawandiisi ba Baibuli abalala okwogera ku ssuubi ly’obulamu obutaggwawo. (Zab. 21:4; 37:29) Ng’ekyokulabirako, bwe yali amaliriza zabbuli ekwata ku bumu bw’abasinza ab’amazima abali ku Lusozi Sayuuni, Dawudi yagamba nti: “Eyo Mukama gye yalagirira omukisa, bwe bulamu obw’emirembe n’emirembe.”—Zab. 133:3.
16. Okuyitira mu Isaaya, Yakuwa yasuubiza kukola ki “ku nsi yonna”?
16 Yakuwa yaluŋŋamya Isaaya okwogera ku bulamu obutaggwawo ku nsi. (Soma Isaaya 25:7, 8.) Okufaananako “ekibikka” ekiringa bulangiti, ekibi n’okufa byabuutikira abantu bonna. Yakuwa akakasa abantu be nti ekibi n’okufa bijja kumiribwa, oba kuggibwawo, “ku nsi yonna.”
17. Kiki ekyalagulwa Masiya kye yandikoze okusobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwawo?
17 Ate era lowooza ku ebyo ebyakolebwanga ku mbuzi ya Azazeri okusinziira ku Mateeka ga Musa. Omulundi gumu mu mwaka ku Lunaku olw’Okutangirirako, kabona omukulu ‘yateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi ennamu, n’ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw’abaana ba Isiraeri n’abuteeka ku mutwe gw’embuzi, era embuzi eyo yasitulanga obutali butuukirivu bwabwe bwonna n’ebutwala mu ddungu.’ (Leev. 16:7-10, 21, 22) Isaaya yalagula ku kujja kwa Masiya eyandyetisse ‘obuyinike, ennaku, n’ebibi by’abangi,’ n’abasobozesa okufuna obulamu obutaggwawo.—Soma Isaaya 53:4-6, 12.
18, 19. Ssuubi ki eryogerwako mu Isaaya 26:19 ne mu Danyeri 12:13?
18 Ng’ayitira mu Isaaya, Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti: “Abafu bo baliba balamu; emirambo gyange girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng’omusulo ogw’oku middo, n’ettaka liriwandula abafu.” (Is. 26:19) Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya biraga bulungi nti wajja kubaawo okuzuukira era nti wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi. Ng’ekyokulabirako, Danyeri bwe yali aweza emyaka nga 100, Yakuwa yamukakasa nti: “Oliwummula, era oliyimirira mu mugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.”—Dan. 12:13.
19 Olw’okuba yalina essuubi nti abantu balizuukira, Maliza yayogera ku mwannyina eyali afudde n’agamba Yesu nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.” (Yok. 11:24) Ebyo Yesu bye yayigiriza n’ebyo abayigirizwa be bye baaluŋŋamizibwa okuwandiika byakyusa essuubi lino? Yakuwa akyalina ekigendererwa ky’okuwa abantu obulamu obutaggwawo ku nsi? Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
Osobola Okunnyonnyola?
• Ebitonde ebyalekebwa ‘okufugibwa obutaliimu’ byaweebwa ssuubi ki?
• Kiki ekiraga nti Ibulayimu yali akkiririza mu kuzuukira?
• Ebigambo Eriku bye yagamba Yobu abantu bibawa ssuubi ki?
• Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya biraga bitya nti wajja kubaawo okuzuukira era nti wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ebigambo Eriku bye yagamba Yobu biwa essuubi nti abantu bajja kuggibwa mu mbeera ebaviirako okukaddiwa n’okufa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Danyeri yakakasibwa nti ‘yandiyimiridde n’aweebwa omugabo gwe ng’ennaku zikomye’