Okuzuula eby’Obugagga ‘Ebyaterekebwa mu Ye’
“Mu ye eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya mwe byaterekebwa.”—BAK. 2:3.
1, 2. (a) Bintu ki eby’omuwendo ebyazuulibwa mu 1922, era biri ludda wa? (b) Ekigambo kya Katonda kitukubiriza kukola ki?
EMIKUTU gy’amawulire gyogera nnyo ku by’obugagga ebikusike ebiba bizuuliddwa. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okunoonyeza ebbanga eddene era mu mbeera enzibu ennyo, Omungereza Howard Carter ayiikuula ebikwata ku bantu ab’edda, mu 1922 yagwa ku kintu ekyawuniikiriza buli omu. Yazuula entaana ya Falaawo Tutankhamen mwe yasanga ebintu ebitali bimu nga 5,000.
2 Wadde ng’ebintu Carter bye yazuula byali biwuniikiriza, ebisinga ku byo byaterekebwa buterekebwa mu myuziyamu ezitali zimu, ebirala ne bitwalibwa abantu kinnoomu. Ebintu ebyo biyinza okuba eby’omuwendo eri abo abaagala okumanya ebyafaayo, naye tebirina nnyo kye bigasa bantu mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Kyokka, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okunoonya eby’obugagga ebisobola okutugasa. Buli omu ku ffe asobola okuzuula eby’obugagga ebyo, era okubifuna kirimu omuganyulo okusinga okufuna eby’obugagga ebirala byonna.—Soma Engero 2:1-6.
3. Eby’obugagga Yakuwa by’akubiriza abaweereza be okunoonya bibaganyula bitya?
3 Lowooza ku by’obugagga eby’omuwendo Yakuwa by’akubiriza abaweereza be okunoonya. Mu bino mwe muli “okutya Yakuwa,” nga kino kisobola okutuwa obukuumi mu biseera bino ebizibu ennyo. (Zab. 19:9, NW) Okuvumbula ‘okumanya okukwata ku Katonda’ kisobola okutuyamba okufuna enkizo esinga zonna—enkolagana ennungi n’Omuyinza w’Ebintu Byonna. Eby’obugagga Katonda by’atuwa, gamba ng’amagezi, okumanya, n’okutegeera, bituyamba nga tulina ebizibu oba nga tulina ebintu ebirala ebitweraliikiriza. (Nge. 9:10, 11) Tuyinza tutya okuvumbula eby’obugagga ebyo?
Okuzuula Eby’obugagga Eby’omwoyo
4. Tumanya tutya eby’obugagga eby’omwoyo we biri?
4 Obutafaananako bayiikuuzi na bavumbuzi abanoonya obunoonya eby’omuwendo bye baagala, ffe tumanyi bulungi eby’obugagga eby’omwoyo we bisangibwa. Okufaananako mmaapu eragirira awali eby’obugagga, Ekigambo kya Katonda kitulaga ebintu Katonda bye yasuubiza we biri. Ng’ayogera ku Kristo, omutume Pawulo yawandiika nti: “Mu ye eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya mwe byaterekebwa.” (Bak. 2:3) Okusoma ebigambo ebyo kiyinza okutuleetera okwebuuza: ‘Lwaki tusaanidde okunoonya eby’obugagga ebyo? “Byaterekebwa” bitya mu Kristo? Era tuyinza tutya okubizuula?’ Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka twetegereze ebigambo ebyo omutume bye yayogera.
5. Lwaki Pawulo yawandiika ku by’obugagga eby’omwoyo?
5 Ebigambo ebyo Pawulo yabiwandiikira Bakristaayo banne ab’e Kkolosaayi. Yabagamba nti yali afuba nnyo ku lwabwe, “emitima gyabwe gisobole okubudaabudibwa, [era] basobole okubeera obumu mu kwagala.” (Soma Abakkolosaayi 2:1, 2.) Kiki ekyali kimweraliikiriza? Yali akimanyi nti ab’oluganda abo bandiba nga baali babuzaabuziddwa bannaabwe abaali bakkiririza mu njigiriza z’abafirosoofo Abayonaani, oba abo abaali baagala okuddamu okukwata Amateeka ga Musa. Yalabula ab’oluganda abo nti: “Mwegendereze: oboolyawo wayinza okubaawo omuntu ababuzaabuza ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu n’ebintu eby’omu nsi ebisookerwako so si ku Kristo.”—Bak. 2:8.
6. Lwaki tusaanidde okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo?
6 Ne leero, enjigiriza ng’ezo zitumbulwa Sitaani n’enteekateeka ye. Enjigiriza z’ekifirosoofo, gamba ng’eyo egamba nti ebintu byajja bifuukafuuka, zirina kinene nnyo kye zikoze ku ndowooza z’abantu, empisa zaabwe, n’ebiruubirirwa byabwe mu bulamu. Eddiini ez’obulimba zirina akakwate ka maanyi n’ennaku enkulu nnyingi abantu ze bakuza leero. Eby’okwesanyusaamu ebisinga bikubiriza abantu okukkusa okwegomba okubi okw’omubiri, era ebintu bingi ebiba ku Internet bya bulabe eri abakulu n’abato. Bino byonna awamu n’ebirala ebiri mu nsi eno biyinza okutuleetera okuva ku bulagirizi obutuweebwa Yakuwa era ne bitulemesa okunyweza obulamu obwa namaddala. (Soma 1 Timoseewo 6:17-19.) N’olwekyo, twetaaga okutegeera obulungi amakulu g’ebigambo ebyo Pawulo bye yagamba Abakkolosaayi n’okubikolerako, bwe tuba ab’okwewala okugwa mu mitego gya Sitaani.
7. Pawulo yayogera ku bintu ki ebibiri ebyandiyambye Abakkolosaayi?
7 Weetegereze nti Pawulo bwe yamala okugamba Abakkolosaayi ekyali kimweraliikiriza, yayogera ebintu bibiri ebyandibayambye okubudaabudibwa n’okuba obumu mu kwagala. Ekisooka, yayogera ku ‘kutegeerera ddala.’ Baalina okuba abakakafu nti Ebyawandiikibwa babitegeera mu ngeri entuufu, olwo okukkiriza kwabwe kube nga kwesigamye ku musingi omunywevu. (Beb. 11:1) Ekyokubiri, yayogera ku ‘kumanyira ddala ekyama kya Katonda ekitukuvu.’ Mu kifo ky’okukoma ku njigiriza ezisookerwako, baalina okufuba okumanyira ddala ebintu bya Katonda eby’omunda. (Beb. 5:13, 14) Nga kuno kwali kubuulirira kulungi eri Abakkolosaayi n’eri ffe leero! Kati olwo tuyinza tutya naffe okuba n’okutegeera ng’okwo awamu n’okumanya? Kino Pawulo yakiraga mu bigambo ebikulu ennyo bye yayogera ku Yesu Kristo: “Mu ye eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya mwe byaterekebwa.”
Eby’obugagga ‘Ebyaterekebwa’ mu Kristo
8. Eby’obugagga okuba nti “byaterekebwa” mu Kristo kitegeeza ki?
8 Eky’okuba nti eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya “byaterekebwa” mu Kristo tekitegeeza nti tewali muntu yenna asobola kubitegeera, wabula kitegeeza nti okusobola okubizuula kyetaagisa okufuba nnyo, era n’okussaayo omwoyo ku Yesu Kristo. Kino kikwatagana bulungi n’ekyo Yesu kye yeeyogera nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yok. 14:6) Yee, okusobola okufuna okumanya okukwata ku Katonda, twetaaga obuyambi n’obulagirizi bwa Yesu.
9. Yesu yaweebwa buvunaanyizibwa ki?
9 Ng’oggyeko okuba nti Yesu lye “kkubo,” Yesu yagamba nti ye ge “mazima, n’obulamu.” Kino kiraga nti Yesu takoma ku kubeera bubeezi oyo gwe tuyitamu okutuukirira Kitaawe, wabula era alina ekifo kikulu nnyo mu kuyamba abantu okutegeera amazima ga Baibuli n’okufuna obulamu obutaggwawo. Mazima ddala, mu Yesu mulimu eby’obugagga eby’omuwendo bingi ebyaterekebwa, abo abayiga Baibuli bye balina okufuba okuzuula. Kati ka twetegereze ebimu ku by’obugagga ebirina akakwate n’ebiseera byaffe eby’omu maaso awamu n’enkolagana yaffe ne Katonda.
10. Kiki kye tuyiga ku Yesu mu Abakkolosaayi 1:19 ne 2:9?
10 “Amaanyi ga Katonda gali mu ye.” (Bak. 1:19; 2:9) Olw’okuba abadde ne Kitaawe ow’omu ggulu okumala emyaka butabalika, Yesu amanyi bulungi engeri za Katonda ne by’ayagala okusinga omuntu omulala yenna. Mu buweereza bwe bwonna ku nsi, Yesu yayigiriza abalala Kitaawe bye yamuyigiriza era yayoleka engeri za Kitaawe zonna mu bikolwa bye. Eno ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti: “Alabye nze aba alabye ne Kitange.” (Yok. 14:9) Amagezi ga Katonda gonna n’okumanya biterekeddwa mu Kristo, era gye tukoma okuyiga ebikwata ku Yesu gye tukoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa.
11. Kakwate ki akali wakati wa Yesu n’obunnabbi bwa Baibuli?
11 “Okuwa obujulirwa ku Yesu kye kigendererwa ky’obunnabbi.” (Kub. 19:10) Ebigambo ebyo biraga nti Yesu alina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bungi obuli mu Baibuli. Okusobola okutegeera obunnabbi bwa Baibuli, okuviira ddala ku obwo obwayogerwa Yakuwa mu Olubereberye 3:15 okutuuka ku obwo obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa, omuntu alina okusooka okutegeera obulungi ekifo Yesu ky’alina mu Bwakabaka bwa Masiya. Eno ye nsonga lwaki abo abatakkiriza nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa, obunnabbi bungi obuli mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya tebabutegeera. Era eyo ye nsonga lwaki abantu abagamba nti Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya tebikyali bya mugaso, ng’ate birimu obunnabbi bungi obukwata ku Masiya, batwala Yesu ng’omusajja obusajja eyali ow’amaanyi. Okutegeera obulungi ebikwata ku Yesu kiyamba abantu ba Katonda okutegeera obunnabbi bwa Baibuli obutannaba kutuukirizibwa.—2 Kol. 1:20.
12, 13. (a) Mu ngeri ki Yesu gy’ali ‘ekitangaala ky’ensi’? (b) Abagoberezi ba Kristo balina buvunaanyizibwa ki olw’okuba baasumululwa okuva mu ddiini ez’obulimba?
12 “Nze kitangaala ky’ensi.” (Soma Yokaana 8:12; 9:5.) Emyaka mingi nga Yesu tannajja ku nsi, nnabbi Isaaya yalagula nti: “Abantu abaali batambulira mu kizikiza balabye ekitangaala eky’amaanyi. Abo abatuula mu nsi ey’ekisiikirize eky’amaanyi, ekitangaala kibaakidde.” (Is. 9:2, NW) Omutume Matayo yalaga nti Yesu yatuukiriza obunnabbi obwo bwe yatandika okubuulira ng’agamba nti: “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu buli kumpi.” (Mat. 4:16, 17) Obuweereza bwa Yesu bwaleetera abantu ekitangaala eky’eby’omwoyo era ne bubasumulula okuva mu njigiriza z’eddiini ez’obulimba. Yesu yagamba nti: “Nnajja ng’ekitangaala mu nsi, buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.”—Yok. 1:3-5; 12:46.
13 Nga wayise emyaka mingi, omutume Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti: “Edda mwali kizikiza, naye kati muli kitangaala kubanga muli ba Mukama waffe. Mutambulenga ng’abaana b’ekitangaala.” (Bef. 5:8) Olw’okuba baasumululwa okuva mu kizikiza ky’eddiini ez’obulimba, Abakristaayo balina okutambula ng’abaana b’ekitangaala. Kino kikwatagana bulungi n’ekyo Yesu kye yagamba abagoberezi be mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi: “Muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu, basobole okulaba ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.” (Mat. 5:16) Olaga okusiima olw’obugagga obw’eby’omwoyo bw’ofunye mu Yesu, era ofuba okusikiriza abalala okubufuna ng’obabuulira era ng’oyoleka empisa ez’Ekikristaayo?
14, 15. (a) Okusinziira ku Baibuli, endiga n’ebisolo ebirala byakozesebwanga bitya mu kusinza okw’amazima? (b) Lwaki Yesu, “Omwana gw’Endiga owa Katonda,” kya bugagga ekisinga eby’obugagga ebirala byonna?
14 Yesu ye ‘Mwana gw’Endiga owa Katonda.’ (Yok. 1:29, 36) Baibuli eraga nti abantu baawangayo endiga nga ssaddaaka okusobola okusonyiyibwa ebibi n’okutuukirira Katonda. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu bwe yamala okulaga nti mwetegefu okuwaayo Isaaka nga ssaddaaka, Katonda yamugamba obutakola kabi konna ku mwana we, era yamulaga endiga ensajja ey’okusaddaaka. (Lub. 22:12, 13) Ne mu kununulibwa kw’Abaisiraeri okuva e Misiri, endiga zaaweebwayo, nga ku mulundi guno zaakola ‘ng’okuyitako kwa Yakuwa.’ (Kuv. 12:1-13) Ate era okusinziira ku Mateeka ga Musa, ensolo gamba ng’endiga n’embuzi zaalina okuweebwangayo nga ssaddaaka.—Kuv. 29:38-42; Leev. 5:6, 7.
15 Ku ssaddaaka ezo zonna ezaaweebwangayo abantu, tekuli n’emu yali eyinza kununula bantu kuva mu kibi na kufa. (Beb. 10:1-4) Kyokka, Yesu ye ‘Mwana gw’Endiga owa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi.’ Kino kyokka kiraga nti Yesu kya bugagga ekisingira ewala eby’obugagga ebirala byonna ebyali bizuuliddwa. N’olwekyo, kya magezi okwekkaanya obulungi ebikwata ku kinunulo kya Yesu, n’okukkiririza mu kirabo kino eky’omuwendo ennyo. Bwe tukola tutyo tuba n’essuubi ery’okufuna emikisa egy’ekitalo; ‘ab’ekisibo ekitono’ bafuna enkizo ey’okufuga ne Kristo mu ggulu, ate ‘ab’endiga endala’ ne bafuna obulamu obutaggwawo mu Lusuku lwa Katonda.—Luk. 12:32; Yok. 6:40, 47; 10:16.
16, 17. Lwaki kikulu nnyo okutegeera Yesu ‘ng’Omubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe’?
16 Yesu ye ‘Mubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe.’ (Soma Abebbulaniya 12:1, 2.) Mu Abebbulaniya essuula 11, Pawulo yannyonnyola bulungi okukkiriza, n’awa n’olukalala lw’abasajja n’abakazi abaalaga okukkiriza, gamba nga Nuuwa, Ibulayimu, Ssaala, ne Lakabu. Bwe yamala okwogera ebyo byonna, Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne ‘okwekaliriza Yesu, Omubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe.’ Lwaki?
17 Wadde ng’abasajja n’abakazi abo abeesigwa aboogerwako mu Abebbulaniya essuula 11 baali bakkiririza nnyo mu bisuubizo bya Katonda, baali tebamanyi ngeri Katonda gye yali agenda kubituukirizaamu ng’ayitira mu Masiya n’Obwakabaka. Mu ngeri eyo, okukkiriza kwabwe tekwali kujjuvu. Mu butuufu, n’abo Yakuwa be yakozesa okuwandiika obunnabbi bwonna obukwata ku Masiya baali tebabutegeera bulungi. (1 Peet. 1:10-12) Engeri yokka gye tusobola okufuna okukkiriza okujjuvu kwe kuyitira mu Yesu. Mazima ddala kikulu okutegeera obulungi n’okukkiririza mu Yesu, “Omubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe.”
Weeyongere Okunoonya
18, 19. (a) Menyayo eby’obugagga ebirala ebyaterekebwa mu Kristo. (b) Lwaki tusaanidde kutunuulira Yesu okusobola okutegeera eby’obugagga ebirala eby’omwoyo?
18 Tulabyeko bitono nnyo ku buvunaanyizibwa obukulu Yesu bw’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda eky’okulokola abantu. Waliyo eby’obugagga eby’omwoyo ebirala bingi ebyaterekebwa mu Kristo, era okubizuula kijja kutuviiramu essanyu n’emiganyulo mingi. Ng’ekyokulabirako, omutume Peetero yayita Kristo “Omubaka Omukulu ow’Obulamu,” era “emmunyeenye ey’oku makya” evaayo. (Bik. 3:15; 5:31; 2 Peet. 1:19) Era Baibuli eraga nti Yesu ye “Amiina.” (Kub. 3:14) Ebyo byonna omanyi amakulu agabirimu? Nga Yesu bwe yagamba, ‘weeyongere okunoonya, ojja kuzuula.’—Mat. 7:7.
19 Mu byafaayo by’omuntu byonna, Yesu yekka ye yakola ebintu ebisobola okutuviiramu emikisa egy’olubeerera. Mu ye mulimu eby’obugagga eby’omwoyo bingi, era omuntu yenna asobola okubizuula bw’abinoonya n’omutima gwe gwonna. Ka ffenna tufube okufuna essanyu n’emikisa ebiri mu kuzuula eby’obugagga ‘ebyaterekebwa mu ye.’
Ojjukira?
• Abakristaayo bakubirizibwa kunoonya bya bugagga ki?
• Lwaki okubuulirira kwa Pawulo eri Abakkolosaayi kwa muganyulo gye tuli leero?
• Menyayo era onnyonnyole ebimu ku by’obugagga eby’omwoyo ‘ebyaterekebwa’ mu Kristo.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
Baibuli eringa mmaapu eragirira awali eby’obugagga ‘ebyaterekebwa’ mu Kristo