Olubereberye
22 Oluvannyuma lw’ebyo, Katonda ow’amazima n’agezesa Ibulayimu,+ n’amugamba nti: “Ibulayimu!” ye n’amuddamu nti: “Nzuuno!” 2 N’amugamba nti: “Twala omwana wo, omwana wo omu yekka Isaaka+ gw’oyagala ennyo,+ ogende mu nsi y’e Moliya+ omuweeyo ng’ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi ze nnaakulaga.”
3 Bw’atyo Ibulayimu n’agolokoka ku makya, n’assa amatandiiko ku ndogoyi ye n’atwala abaweereza be babiri awamu ne mutabani we Isaaka. N’ayasa enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’agenda mu kifo Katonda ow’amazima kye yali amugambye. 4 Ku lunaku olw’okusatu Ibulayimu n’ayimusa amaaso ge n’alengera ekifo ekyo. 5 Ibulayimu n’agamba abaweereza be nti: “Mmwe musigale wano n’endogoyi, nze n’omulenzi tugende eri tusinze oluvannyuma tukomewo gye muli.”
6 Awo Ibulayimu n’addira enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa n’azitikka mutabani we Isaaka, ye n’akwata omuliro n’akambe, bombi ne bagenda. 7 Isaaka n’agamba kitaawe Ibulayimu nti: “Taata!” N’amuddamu nti: “Wangi mwana wange!” Isaaka n’agamba nti: “Laba, omuliro n’enku biibino, naye endiga ey’ekiweebwayo ekyokebwa eruwa?” 8 Ibulayimu n’amuddamu nti: “Mwana wange, Katonda kennyini ajja kutuwa endiga ey’ekiweebwayo ekyokebwa.”+ Bombi ne batambula ne beeyongerayo.
9 Baalwaddaaki ne batuuka mu kifo Katonda ow’amazima kye yamugamba, era Ibulayimu n’azimba eyo ekyoto n’akissaako enku, n’asiba mutabani we Isaaka emikono n’amagulu n’amuteeka ku kyoto waggulu ku nku.+ 10 Ibulayimu n’agolola omukono gwe n’akwata akambe atte omwana we.+ 11 Naye malayika wa Yakuwa n’amuyita ng’ayima mu ggulu n’agamba nti: “Ibulayimu, Ibulayimu!” N’addamu nti: “Nzuuno!” 12 N’amugamba nti: “Omulenzi tomutta era tomukolako kabi konna; kaakano ntegedde nti otya Katonda kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu yekka.”+ 13 Awo Ibulayimu n’ayimusa amaaso ge n’alengera endiga ennume ng’amayembe gaayo gakwatidde mu kisaka. Ibulayimu n’agenda n’agiggyayo n’agiwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa mu kifo ky’omwana we. 14 Ibulayimu ekifo ekyo n’akituuma Yakuwa-yire.* Eyo ye nsonga lwaki ne leero bagamba nti: “Kinaafunibwa ku lusozi lwa Yakuwa.”+
15 Malayika wa Yakuwa n’ayita Ibulayimu omulundi ogw’okubiri ng’ayima mu ggulu, 16 n’amugamba nti: “‘Ndayira mu linnya lyange,’ Yakuwa bw’agamba,+ ‘nti olw’okuba okoze ekintu kino n’otonnyima mwana wo, omwana wo omu yekka,+ 17 nja kukuwa omukisa, era nja kwaza ezzadde lyo libe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja;+ era ezzadde lyo liritwala omulyango* gw’abalabe baalyo.+ 18 Era amawanga gonna ag’oku nsi galyefunira omukisa okuyitira mu zzadde lyo+ olw’okuba owulirizza eddoboozi lyange.’”+
19 Oluvannyuma Ibulayimu n’addayo eri abaweereza be, ne basituka ne baddayo bonna e Beeru-seba;+ Ibulayimu ne yeeyongera okubeera e Beeru-seba.
20 Ebyo bwe byaggwa ne babuulira Ibulayimu nti: “Laba, Mirika yazaalira Nakoli muganda wo abaana ab’obulenzi.+ 21 Omwana we omubereberye ye Uzzi, Buzi ye muganda we, ne Kemweri kitaawe wa Alamu, 22 ne Kesedi, ne Kazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu, ne Besweri.+ 23 Besweri ye yazaala Lebbeeka.+ Abo omunaana Mirika be yazaalira Nakoli muganda wa Ibulayimu. 24 Omuzaana we ayitibwa Lewuma naye yamuzaalira abaana ab’obulenzi bano: Teba, Gakamu, Takasi ne Maaka.