Weeyongere Okutambula nga Yesu Kristo
“Ayogera ng’abeera mu [Katonda] kimugwanira naye yennyini okutambulanga era nga [Yesu] bwe yatambula.”—1 YOKAANA 2:6.
1, 2. Kiki kye tulina okukola bwe tuba ab’okutunuulira Yesu?
OMUTUME Pawulo yawandiika nti: ‘Tuddukenga n’okugumiikiriza mu mpaka eziteekeddwa mu maaso gaffe, nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w’okukkiriza kwaffe.’ (Abaebbulaniya 12:1, 2) Okusobola okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu, twetaaga okutunuulira Yesu Kristo.
2 Okusinziira ku Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo ekivvuunuddwa “okutunuulira” kitegeeza “okwetegereza ennyo ekintu,” “okussa amaaso ku kintu kimu kyokka” oba “okutunula enkaliriza.” Ekitabo ekimu kigamba nti: “Omuddusi Omuyonaani bwe kaamutandanga n’aggya ebirowoozo bye ku kagwa, n’atunuulira abawagizi abali ebbali w’ekisaawe, sipiidi ye yakendeeranga. Ekyo kyennyini kye kituuka ne ku Bakristaayo.” Bwe wabaawo ebituwugula mu by’omwoyo kisobola okutulemesa okukulaakulana. Okusobola okwewala embeera ng’eyo, tuteekwa okutunuulira Yesu Kristo. Lwaki tusaanidde okutunuulira Omukulu w’okukkiriza kwaffe? Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “omukulu” kitegeeza “omukulembeze, kwe kugamba, oyo awoma omutwe mu kintu, n’ateerawo abalala ekyokulabirako.” N’olwekyo okusobola okutunuulira Yesu kitwetaagisa okukoppa ekyokulabirako kye.
3, 4. (a) Kiki kye twetaaga okukola okusobola okutambula nga Yesu Kristo? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okulowoozaako?
3 Baibuli egamba nti: “Ayogera ng’abeera mu [Katonda] kimugwanira naye yennyini okutambulanga era nga [Yesu] bwe yatambula.” (1 Yokaana 2:6) Tubeera mu Katonda bwe tukwata ebiragiro bya Yesu nga naye bwe yakwata ebya Kitaawe.—Yokaana 15:10.
4 Kyokka, okusobola okutambula nga Yesu twetaaga okumutunuulira ennyo ng’Omukulembeze waffe Omukulu, n’okutambuliranga mu bigere bye. Kati ebibuuzo ebikulu ebijjawo biri nti: Kristo atukulembera atya mu kiseera kino? Bwe tukoppa engeri gye yatambulamu, kikwata kitya ku ngeri gye tukolaganamu n’abalala? Miganyulo ki egiri mu kugoberera ekyokulabirako kya Yesu Kristo?
Engeri Kristo gy’Akulemberamu Abagoberezi Be
5. Nga tannaddayo mu ggulu, kiki Yesu kye yasuubiza abagoberezi be?
5 Nga tannaddayo mu ggulu, Yesu Kristo eyali azuukiziddwa yalabikira abayigirizwa be n’abawa omulimu omukulu ennyo. Yabagamba nti: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa.” Ate era Omukulembeze waabwe Omukulu yabasuubiza okubeeranga nabo nga bakola omulimu ogwo. Yabagamba: “Laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” (Matayo 28:19, 20) Mu ngeri ki Yesu Kristo gy’ali awamu n’abagoberezi be mu kiseera kino eky’enkomerero y’emirembe gino?
6, 7. Mu ngeri ki Yesu gy’atukulemberamu ng’akozesa omwoyo omutukuvu?
6 Ekimu ku bintu Yesu by’akozesa okutukulembera, gwe mwoyo omutukuvu Yakuwa Katonda gw’amuwadde. (Matayo 28:18) Yesu yabagamba nti: “Omubeezi, [o]mwoyo [o]mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.” (Yokaana 14:26) Leero, omwoyo omutukuvu ogwatumibwa mu linnya lya Yesu gutuwa obulagirizi era gutuzzaamu amaanyi. Gututangaaza mu by’omwoyo era gutuyamba okutegeera ‘ebintu ebizibu ennyo ebiri mu Kigambo kya Katonda.’ (1 Abakkolinso 2:10) Ate era, omwoyo gwa Katonda omutukuvu gusobola okutuyamba okukulaakulanya engeri ennungi nga ‘okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza,’ era nga bino bye ‘bibala eby’omwoyo.’—Abaggalatiya 5:22, 23.
7 Bwe tusoma Ebyawandiikibwa era ne tufuba okussa mu nkola bye tuyiga, omwoyo gwa Yakuwa gutuyamba ne tweyongera okufuna amagezi, okutegeera, n’obusobozi bw’okulowooza. (Engero 2:1-11) Ate era gutuyamba okugumiikiriza nga twolekaganye n’okugezesebwa. (1 Abakkolinso 10:13; 2 Abakkolinso 4:7; Abafiripi 4:13) Abakristaayo bakubirizibwa ‘okwenaazaako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo, nga batuukiriza obutukuvu.’ (2 Abakkolinso 7:1) Naye ddala, tusobola okutuukana n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu awatali buyambi bwa mwoyo mutukuvu?
8, 9. Mu ngeri ki Kristo gy’akulemberamu ekibiina ng’akozesa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi”?
8 Ate lowooza ku ngeri endala Yesu gy’akulemberamu ekibiina mu kiseera kino. Ng’ayogera ku kubeerawo kwe n’enkomerero y’omulembe guno, Yesu yagamba: “Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow’amagezi, mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo? Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw’alisanga ng’azze ng’akola bw’atyo. Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.”—Matayo 24:3, 45-47.
9 ‘Mukama w’omuddu’ ayogerwako wano, ye Yesu Kristo. Ate “omuddu” kye kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi. Ekibiina kino eky’omuddu Yesu yakikwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ebintu bye eby’oku nsi n’okugaba emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo. Mu kibiina ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ mulimu abakadde abalina ebisaanyizo abakola Akakiiko Akafuzi akakiikirira ekibiina ky’omuddu. Bano be balabirira omulimu gw’okulangirira Obwakabaka mu nsi yonna, era bagaba emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo. Bwe kityo, Kristo akulembera ekibiina ng’akozesa ‘ab’ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ abaafukibwako amafuta n’Akakiiko Akafuzi.
10. Twanditunuulidde tutya abakadde, era lwaki?
10 Ate era Kristo akulembera ekibiina ng’akozesa “ebirabo mu bantu”—abakadde Abakristaayo oba abalabirizi. Baateekebwawo ‘olw’okutereeza abatukuvu, olw’omulimu ogw’okuweereza, n’olw’okuzimba omubiri gwa Kristo.’ (Abaefeso 4:8, 11, 12) Abaebbulaniya 13:7 lutukubiriza nti: “Mujjukirenga abo abaabafuga, abaababuulira ekigambo kya Katonda; era nga mutunuulira enkomerero y’empisa zaabwe, mugobererenga okukkiriza kwabwe.” Abakadde be batwala obukulembeze mu kibiina. Okuva bwe kiri nti bakoppa Yesu Kristo, naffe tusobola okukoppa okukkiriza kwabwe. (1 Abakkolinso 11:1) Tusobola okulaga nti tusiima enteekateeka eno nga tugondera abakadde era nga tuba bawulize eri ‘ebirabo bino mu bantu.’—Abaebbulaniya 13:17.
11. Kristo akulembera atya abagoberezi be ab’omu kiseera kino, era kiki ekizingirwa mu kutambula nga ye bwe yatambulanga?
11 Nga bwe tulabye, Yesu Kristo akulembera abagoberezi be ab’omu kiseera kino ng’akozesa omwoyo omutukuvu, “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” n’abakadde mu kibiina. Okutambula nga Kristo kizingiramu okutegeera engeri gy’akulemberamu abagoberezi be n’okugondera enteekateeka eyo. Ate era kizingiramu n’okukoppa engeri gye yatambulamu. Omutume Peetero yawandiika nti: “Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” (1 Peetero 2:21) Okukoppa ekyokulabirako kya Yesu ekituukiridde kikwata kitya ku ngeri gye tukolaganamu n’abalala?
Toba Mukakanyavu ng’Okozesa Obuyinza
12. Kiki abakadde mu kibiina kye balina okukoppa ku Kristo?
12 Wadde Yesu yali aweereddwa obuyinza bungi nnyo okuva eri Kitaawe, teyali mukakanyavu ng’akozesa obuyinza obwo. N’olwekyo bonna abali mu kibiina—n’okusingira ddala abakadde—‘tebasaanidde kuba bakakanyavu.’ (Abafiripi 4:5, NW; 1 Timoseewo 3:2, 3, NW) Okuva bwe kiri nti abakadde baweereddwa obuyinza mu kibiina, kiba kya magezi ne bakoppa Kristo nga bakozesa obuyinza obwo.
13, 14. Abakadde bayinza batya okukoppa Kristo nga bakubiriza abalala okuweereza Katonda?
13 Yesu yali amanyi bulungi obusobozi bw’abayigirizwa be. Yali tabasuubiramu bingi. (Yokaana 16:12) Nga tabakaka, Yesu yakubirizanga abagoberezi be ‘okufuba’ okukola Katonda by’ayagala. (Lukka 13:24) Kino yakikola ng’abateerawo ekyokulabirako era ng’abakubiriza okubaako kye bakolawo. Mu ngeri y’emu, abakadde Abakristaayo bwe baba bakubiriza abalala okuweereza Katonda, tebabakaka. Mu kifo ky’ekyo, babakubiriza okuweereza Yakuwa olw’okwagala kwe balina gy’ali, kwe balina eri omwana we Yesu n’eri balirwana baabwe.—Matayo 22:37-39.
14 Yesu teyakozesa bubi buyinza bwe. Teyateerawo bantu mitindo mikakali wadde olukunkumuli lw’amateeka. Yakubirizanga abantu okubaako kye bakolawo ng’akozesa emisingi egyali mu mateeka ga Musa. (Matayo 5:27, 28) Nga bakoppa Yesu Kristo, abakadde beewala okuteerawo ekibiina amateeka agaabwe ku bwabwe era tebakola bintu kusinziira ku ndowooza yaabwe. Bwe kituuka ku nnyambala n’okwekolako awamu n’eby’okwesanyusaamu, abakadde bagezaako okutuuka ku mitima gy’abalala nga bakozesa emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda, gamba ng’egyo egiri mu Mikka 6:8; 1 Abakkolinso 10:31-33; ne 1 Timoseewo 2:9, 10.
Lumirirwa Abalala era Sonyiwa
15. Yesu yayisa atya abayigirizwa be bwe baakolanga ensobi?
15 Kristo yatuteerawo ekyokulabirako mu ngeri gye yayisangamu abagoberezi be nga bakoze ensobi. Lowooza ku ebyo ebyaliwo mu kiro kye ekyasembayo ku nsi. Yesu bwe yatuuka e Gesusemane, ‘yatwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana’ n’abagamba nti “mutunule.” Oluvannyuma ‘yatambulako katono, n’avuunama, n’asaba.’ Bwe yakomawo ‘yabasanga beebase.’ Yabakola ki? Yagamba bugambi nti: ‘Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.’ (Makko 14:32-38) Mu kifo ky’okunenya Peetero, Yakobo ne Yokaana, Yesu yabasaasira! Mu kiro ekyo kyennyini, Peetero yeegaana Yesu emirundi esatu. (Makko 14:66-72) Yesu yayisa atya Peetero okuva olwo? Baibuli egamba nti: ‘Mukama waffe bwe yazuukira yalabikira Simooni Peetero.’ (Lukka 24:34) Oluvannyuma ‘yalabikira Keefa, n’ekkumi n’ababiri.’ (1 Abakkolinso 15:5) Mu kifo ky’okunyiiga, Yesu yasonyiwa omutume eyalaga nti anakuwalidde ky’akoze, era n’amuzzaamu amaanyi. Oluvannyuma Yesu yakwasa Peetero obuvunaanyizibwa obw’amaanyi.—Ebikolwa 2:14; 8:14-17; 10:44, 45.
16. Tuyinza tutya okukoppa Yesu singa mukkiriza munnaffe atunyiiza?
16 Singa bakkiriza bannaffe batunyiiza olw’obutali butuukirivu, naffe tetwandibasonyiye nga Yesu bwe yakola? Peetero yakubiriza bakkiriza banne nti: “Mwenna mubeerenga n’emmeeme emu, abasaasiragana, abaagalana ng’ab’oluganda, ab’ekisa, abawombeefu: abatawalananga kibi olw’ekibi, oba ekivume olw’ekivume; naye obutafaanana ng’ebyo, abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa.” (1 Peetero 3:8, 9) Ate kiri kitya singa omuntu tagoberera kyakulabirako kya Yesu n’agaana okutusonyiwa? Ne mu mbeera ng’eyo, twandikoze nga Yesu.—1 Yokaana 3:16.
Soosa Obwakabaka
17. Kiki ekiraga nti Yesu yasoosanga ebyo Katonda by’ayagala mu bulamu bwe?
17 Waliwo n’ekintu ekirala kye tulina okukola bwe tuba ab’okutambula nga Yesu Kristo. Yesu yali akitwala nga kikulu nnyo okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Oluvannyuma lw’okubuulira omukazi Omusamaliya eyali okumpi n’ekibuga Sukali eky’omu Samaliya, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Eky’okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by’ayagala n’okutuukiriza omulimu gwe.” (Yokaana 4:34) Yesu yayagalanga nnyo okukola Kitaawe by’ayagala; kyamusanyusanga, kyamuzzangamu amaanyi, era kyali ng’eky’okulya kye. Bwe tukoppa Yesu, naffe ne tukola Katonda by’ayagala, tetuube n’obulamu obulungi era obw’ekigendererwa?
18. Mikisa ki egiva mu kukubiriza abaana okukola ng’abaweereza ab’ekiseera kyonna?
18 Abazadde bwe bakubiriza abaana baabwe okukola ng’abaweereza ab’ekiseera kyonna, bo n’abaana baabwe bafuna emikisa. Taata omu yakubirizanga batabani be abalongo okweteerawo ekiruubirirwa eky’okukola nga bapayoniya. Bwe baamala okusoma baatandika okukola nga bapayoniya. Ng’alowooza ku ssanyu ly’afunye ng’abaana be bakola nga bapayoniya, taata ono yagamba nti: “Batabani baffe tebaasuula muguluka kubuulirira kwaffe. Mazima ddala tuyinza okugamba nti ‘Abaana bwe busika bwa Mukama.’” (Zabbuli 127:3) Abaana baganyulwa batya bwe babeera n’ekiruubirirwa eky’okufuuka abaweereza ab’ekiseera kyonna? Maama alina abaana abataano yagamba nti: “Okuweereza nga payoniya kiyambye abaana bange okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, okulongoosa mu ngeri gye beesomesaamu, okuyiga okukozesa obulungi ebiseera byabwe n’okuteeka eby’omwoyo mu kifo ekisooka. Wadde nga bonna baalina okukola enkyukakyuka eziwerako, tewali n’omu yejjusa olw’ekyo kye yasalawo okukola.”
19. Biruubirirwa ki abavubuka bye bandyeteereddewo?
19 Abavubuka, muteeseteese kukola ki mu biseera byammwe eby’omu maaso? Mwagala kusoma nnyo mukuguke mu mirimu egimu? Oba muluubirira kufuuka baweereza ab’ekiseera kyonna? Pawulo yawa okubuulirira kuno nti: “Mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng’abatalina magezi, naye ng’abalina amagezi; nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi.” Era yagattako nti: “Kale temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky’ayagala bwe kiri.”— Abaefeso 5:15-17.
Beera Mwesigwa
20, 21. Mu ngeri ki Yesu gye yali omwesigwa era tuyinza tutya okukoppa obwesigwa bwe?
20 Okutambula nga Yesu era kizingiramu okuba omwesigwa nga naye bwe yali omwesigwa. Ng’eyogera ku bwesigwa bwa Yesu, Baibuli egamba: “Oyo bwe yasooka okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y’omuddu, n’abeera mu kifaananyi ky’abantu; era bwe yalabikira mu mutindo ogw’obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw’oku [muti].” Yesu yagulumiza Yakuwa ng’omufuzi w’obutonde bwonna nga yeewaayo okukola Katonda by’ayagala. Yali muwulize n’atuuka n’okukkiriza okufiira ku muti. Naffe tuteekwa ‘okuba n’endowooza ng’eyo’ nga tuba beetegefu okukola Katonda by’ayagala.— Abafiripi 2:5-8.
21 Yesu era yali mwesigwa eri abatume be. Wadde tebaali batuukirivu era nga balina obunafu obutali bumu Yesu yabaagala okutuusa ku ‘nkomerero.’ (Yokaana 13:1) Naffe tetusaanidde kuvumirira baganda baffe olw’obutali butuukirivu bwabwe.
Koppa Ekyokulabirako kya Yesu
22, 23. Miganyulo ki gye tufuna bwe tugoberera ekyokulabirako kya Yesu?
22 Ng’abantu abatatuukiridde, kya lwatu nti tetusobola kutambulira ddala nga Yesu bwe yatambulanga. Kyokka bwe tufuba, tusobola okutambulira mu bigere bye. Kino okusobola okukikola kitwetaagisa okutegeera engeri Kristo gy’akulemberamu ekibiina, n’okugoberera ekyokulabirako kye.
23 Bwe tukoppa Kristo tufuna emiganyulo mingi. Obulamu bwaffe bufuuka bwa kigendererwa era tuba bamativu kubanga tuba tukoze ekyo Yakuwa ky’ayagala mu kifo ky’ebyo bye twagala. (Yokaana 5:30; 6:38) Ate era bwe tukoppa Yesu tuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Tuba tuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi. Yesu yasembeza abo bonna abaali bakooye era abazitoowereddwa era n’abawummuza. (Matayo 11:28-30) Bwe tugoberera eky’okulabirako kya Yesu, naffe tusobola okuzzaamu abalala amaanyi. N’olwekyo, ka tweyongere okutambula nga Yesu bwe yatambulanga.
Ojjukira?
• Kristo akulembera atya abagoberezi be ab’omu kiseera kino?
• Abakadde bayinza batya okugoberera obukulembeze bwa Kristo nga bakozesa obuyinza obwabaweebwa Katonda?
• Tuyinza tutya okugoberera ekyokulabirako kya Yesu bwe kituuka ku bunafu bw’abalala?
• Abavubuka bayinza batya okukulembeza Obwakabaka?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Abakadde Abakristaayo batuyamba okugoberera obukulembeze bwa Kristo
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Abavubuka, mweteereddewo biruubirirwa ki ebinaabasobozesa okuba n’obulamu obw’amakulu?