ESSUULA 3
“Mujjukirenga Abo Ababakulembera”
OKUVA ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. n’okweyongerayo, abatume ba Yesu Kristo abeesigwa be baaweerezanga ng’akakiiko akafuzi, era Yakuwa be yakozesanga okuwa ekibiina Ekikristaayo obulagirizi. (Bik. 6:2-4; Beb. 13:7) Omwaka 49 E.E. we gwatuukira, akakiiko ako kaaliko n’abalala abataali batume ba Yesu. Ensonga ekwata ku kukomolebwa bwe yali esalibwawo, akakiiko akafuzi kaali Yerusaalemi era kaaliko “abatume n’abakadde.” (Bik. 15:1, 2) Baalina obuvunaanyizibwa obw’okukola ku nsonga ezaali zikwata ku Bakristaayo bonna. Baaweerezanga ebibiina amabaluwa okubitegeeza ebintu bye baabanga basazeewo, era ekyo kyanyweza ebibiina era ne kisobozesa abayigirizwa okusigala nga bassa kimu era nga ne bye bakola bikwatagana. Ebibiina byakkirizanga obulagirizi obwavanga eri akakiiko akafuzi era ne bibukolerako. N’ekyavaamu, Yakuwa yabiwanga emikisa ne bikulaakulana.—Bik. 8:1, 14, 15; 15:22-31; 16:4, 5; Beb. 13:17.
2 Oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, wajjawo bakyewaggula. (2 Bas. 2:3-12) Nga Yesu bwe yagamba mu lugero lwe olukwata ku ŋŋaano n’omuddo, eŋŋaano (Abakristaayo abaafukibwako amafuta) yasigibwamu omuddo (Abakristaayo ab’obulimba). Okumala ebyasa bingi, eŋŋaano n’omuddo byalekebwa bisobole okukulira awamu okutuuka mu kiseera eky’amakungula, ‘amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.’ (Mat. 13:24-30, 36-43) Wadde nga mu kiseera ekyo tewaaliwo kakiiko kafuzi, kwe kugamba, mukutu ku nsi Yesu mwe yali ayitira okuwa abagoberezi be obulagirizi, Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kiseera ekyo Yesu yali abasiima. (Mat. 28:20) Kyokka Yesu yali yagamba nti wandibaddewo enkyukakyuka mu kiseera eky’amakungula.
3 “Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani?” Yesu Kristo bwe yabuuza ekibuuzo ekyo, yawa n’ekyokulabirako, era ng’ekyokulabirako ekyo kye kimu ku bintu ebiri mu “kabonero” akakwata ku ‘mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.’ (Mat. 24:3, 42-47) Yesu yalaga nti omuddu oyo omwesigwa yandibadde akola butaweera okuwa abantu ba Katonda emmere ey’eby’omwoyo “mu kiseera ekituufu.” Mu kyasa ekyasooka, Yesu yakozesa abasajja abawerako okuwa ekibiina obulagirizi, mu kifo ky’okukozesa omuntu omu. Ne mu kiseera kino, omuddu omwesigwa Yesu gw’akozesa si muntu omu.
“OMUDDU OMWESIGWA ERA OW’AMAGEZI” Y’ANI?
4 Baani Yesu be yawa obuvunaanyizibwa obw’okuliisa abagoberezi be mu by’omwoyo? Abakristaayo abaafukibwako amafuta be baali bagwanira okuweebwa obuvunaanyizibwa obwo. Bayibuli ebayita “bakabona abaweereza nga bakabaka,” abaatumibwa “‘okulangirira obulungi’ bw’Oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky’ekitalo.” (1 Peet. 2:9; Mal. 2:7; Kub. 12:17) Kati olwo omuddu omwesigwa be Bakristaayo bonna abaafukibwako amafuta? Nedda. Yesu bwe yakola ekyamagero n’aliisa abasajja 5,000, nga tobaliddeeko bakazi na baana, emmere yagikwasa abayigirizwa be ne bagigabira abantu. (Mat. 14:19) Yaliisa bangi ng’ayitira mu batono. Ne leero, Yesu akozesa enkola y’emu okutuwa emmere ey’eby’omwoyo.
5 N’olwekyo, “omuwanika omwesigwa era ow’amagezi,” be b’oluganda abatonotono abaafukibwako amafuta abeenyigira obutereevu mu kuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo n’okugigabula mu kiseera kino eky’okubeerawo kwa Kristo. (Luk. 12:42) Mu kiseera kino eky’enkomerero, ab’oluganda abo abaafukibwako amafuta abaweereza ‘ng’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ baweerereza wamu ku kitebe kyaffe ekikulu. Ab’oluganda abo be bali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa.
6 Kristo akozesa ab’oluganda abo okukuba ebitabo ebinnyonnyola engeri obunnabbi bwa Bayibuli gye buzze butuukirizibwamu era n’okutulaga engeri gye tuyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli. Emmere eno ey’eby’omwoyo eweebwa abantu ba Katonda okuyitira mu bibiina gye bakuŋŋaanira. (Is. 43:10; Bag. 6:16) Mu biseera by’edda, omuddu eyeesigika, oba omuwanika, ye yaddukanyanga buli kimu mu nnyumba ya mukama we. Mu ngeri y’emu, omuddu omwesigwa era ow’amagezi ye yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu nnyumba ey’okukkiriza. Omuddu omwesigwa era alabirira ebizimbe n’ebintu ebirala eby’omuwendo ebikozesebwa mu mulimu gw’Obwakabaka, alabirira omulimu gw’okubuulira, ateekateeka enkuŋŋaana ennene, awa obulagirizi ku ngeri y’okulondamu abalabirizi abaweereza mu ngeri ezitali zimu mu kibiina kya Yakuwa, era alabirira omulimu gw’okukuba ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Bino byonna by’akola biganyula “ab’omu nju.”—Mat. 24:45.
7 Ate “ab’omu nju” be baani? Beebo abaweebwa emmere ey’eby’omwoyo. Mu kusooka, ab’omu nju bonna baali Bakristaayo abaafukibwako amafuta. Oluvannyuma, n’ab’ekibiina ekinene ‘eky’endiga endala’ baazingirwamu. (Yok. 10:16) N’olwekyo, abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala bonna balya ku mmere y’emu ey’eby’omwoyo omuddu omwesigwa gy’agabula.
8 Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, Yesu bw’anajja okusala omusango n’okuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi, ajja kusigira omuddu omwesigwa “ebintu bye byonna.” (Mat. 24:46, 47) Ab’oluganda abo abaweereza ng’omuddu omwesigwa bajja kufuna empeera yaabwe mu ggulu. Bajja kufuga ne Kristo nga bali wamu ne bannaabwe abalala abaafukibwako amafuta. Mu kiseera ekyo, ku nsi wajja kuba tewakyaliwo muddu mwesigwa era ow’amagezi. Kyokka abo abanaabeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Masiya, Yakuwa ne Yesu bajja kubawanga obulagirizi okuyitira mu bantu abanaalondebwa okuweereza ‘ng’abaami.’—Zab. 45:16.
LWAKI TUSAANIDDE ‘OKUJJUKIRA ABO ABATUKULEMBERA’?
9 Waliwo ensonga nnyingi lwaki tusaanidde ‘okujjukira abo abatukulembera’ n’okulaga nti tubeesiga. Lwaki bwe tukola bwe tutyo tuganyulwa? Omutume Pawulo yagamba nti: “Batunula ku lwammwe ng’abo abaliwoza; kino balyoke bakikole n’essanyu so si na kusinda, kubanga ekyo kiba kya kabi gye muli.” (Beb. 13:17) Kikulu nnyo okugondera abo abatukulembera olw’okuba batunula ku lwaffe tuleme kutuukibwako kabi mu by’omwoyo.
10 Mu 1 Abakkolinso 16:14, Pawulo yagamba nti: “Buli kimu kye mukola mukikolenga mu kwagala.” Byonna ebisalibwawo ebikwata ku bantu ba Katonda bisalibwawo mu kwagala. Bayibuli eyogera bw’eti ku kwagala mu 1 Abakkolinso 13:4-8: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekukwatibwa buggya, tekwewaana, tekwegulumiza, tekweyisa mu ngeri etesaana, tekwenoonyeza byakwo, tekunyiiga era tekusiba kiruyi. Tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n’amazima. Kugumira ebintu byonna, kukkiriza ebintu byonna, kusuubira ebintu byonna, kugumiikiriza ebintu byonna. Okwagala tekulemererwa.” Tusaanidde okugoberera obulagirizi bwonna obutuweebwa, kubanga byonna ebisalibwawo ebikwata ku baweereza ba Yakuwa bisalibwawo mu kwagala era ku lwa bulungi bwabwe. Obulagirizi bwe tufuna mu kibiina bukakafu obulaga nti Yakuwa atwagala nnyo.
Kikulu nnyo okugondera abo abatukulembera olw’okuba batunula ku lwaffe tuleme kutuukibwako kabi mu by’omwoyo
11 Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, abo Yakuwa b’akozesa okukulembera abantu be tebatuukiridde. Ne mu biseera eby’edda Yakuwa yakozesanga abantu abatatuukiridde. Nuuwa yazimba eryato era yabuulira abantu ab’omu kiseera kye nti ensi yali egenda kuzikirizibwa. (Lub. 6:13, 14, 22; 2 Peet. 2:5) Musa yalondebwa okukulembera abantu ba Yakuwa okubaggya e Misiri. (Kuv. 3:10) Yakuwa yaluŋŋamya abantu abatatuukiridde ne bawandiika Bayibuli. (2 Tim. 3:16; 2 Peet. 1:21) N’okwekyo, okuba nti Yakuwa akozesa abantu abatatuukiridde tekyandituleetedde buteesiga kibiina kye. Tusaanidde okukyesiga olw’okuba tukimanyi nti ebintu byonna ebikolebwa mu kibiina kya Yakuwa tebyandisobose awatali buyambi bwe. Ate era ebyo omuddu omwesigwa by’akoze n’ebizibu by’ayiseemu bikakasizza nti omwoyo gwa Katonda gwe gumuwa obulagirizi. Yakuwa awadde ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye emikisa mingi nnyo. N’olwekyo, ka tweyongere okukiwagira era n’okukyesiga.
ENGERI GYE TULAGA NTI TWESIGA EKIBIINA KYA YAKUWA
12 Abo abaweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina bakiraga nti beesiga ekibiina kya Katonda nga bakkiriza n’essanyu obuvunaanyizibwa obuba bubaweereddwa era ne babutuukiriza bulungi. (Bik. 20:28) Ffenna ababuulizi b’amawulire amalungi ag’Obwakabaka tunyiikira okubuulira nnyumba ku nnyumba, tuddayo eri abantu abasiima obubaka bwaffe, era tuyigiriza abantu Bayibuli. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu mmere ey’eby’omwoyo etuweebwa omuddu omwesigwa, tulina okwetegekera enkuŋŋaana z’Ekikristaayo, ka zibeere nnene oba ntono, era ne tufuba okuzibeeramu. Bwe tubeera awamu ne baganda baffe mu nkuŋŋaana, tuzziŋŋanamu amaanyi.—Beb. 10:24, 25.
13 Bwe tukozesa ebintu byaffe okuwagira ekibiina, kiba kiraga nti tukyesiga. (Nge. 3:9, 10) Baganda baffe bwe baba mu bwetaavu, tukola kye tusobola okubayamba. (Bag. 6:10; 1 Tim. 6:18) Tukola ebintu ebyo olw’okuba twagala baganda baffe era n’okulaga nti tusiima ebyo Yakuwa by’atukolera n’ebyo ekibiina kye bye kitukolera.—Yok. 13:35.
14 Ate era tulaga nti twesiga ekibiina nga tuwagira ebyo ebiba bisaliddwawo. Kino kizingiramu okugoberera obulagirizi obuba butuweereddwa abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina, gamba ng’abakadde awamu n’abalabirizi abakyalira ebibiina. Ab’oluganda abo be bamu ku ‘abo abatukulembera,’ be tusaanidde okugondera. (Beb. 13:7, 17) Ne bwe tuba tetutegedde bulungi nsonga ze basinziddeko okusalawo ebintu ebimu, tuba tukimanyi nti okuwagira ekyo kye baba basazeewo kijja kutuviiramu emiganyulo egy’olubeerera. Yakuwa ajja kutuwa emikisa olw’okukolera ku bulagirizi obuva mu Kigambo kye n’eri ekibiina kye. Ate era bwe tukolera ku bulagirizi obwo, tuba tulaga nti tugondera Omukulembeze waffe, Yesu Kristo.
15 Mazima ddala waliwo ensonga nnyingi lwaki tusaanidde okwesiga omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Sitaani, katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno, akola kyonna ekisoboka okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa n’ekibiina kye. (2 Kol. 4:4) Tokkiriza kugwa mu mitego gya Sitaani! (2 Kol. 2:11) Akimanyi nti asigazza “akaseera katono” asuulibwe mu bunnya, era amaliridde okuggya abantu bangi ku Katonda. (Kub. 12:12) Wadde kiri kityo, ffe ka tweyongere okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ka tweyongere okwesiga Yakuwa n’ekibiina ky’akozesa okuwa abantu be obulagirizi. Bwe tunaakola bwe tutyo tujja kusigala nga tuli bumu.