Kolera Abalala Ebirungi
1 Doluka ‘yakoleranga abalala ebintu ebirungi.’ (Bik. 9:36, 39, NW) Yakuwa Katonda n’abantu abalala abaali bamumanyi, baamwagala olw’omwoyo ogw’okugaba gwe yalina. Abaebbulaniya 13:16 lugamba nti: ‘Teweerabiranga okukola obulungi era n’okuyamba abalala, kubanga ssaddaaka eziri ng’ezo zisanyusa nnyo Katonda.’ Tuyinza tutya okukolera abalala ebirungi leero?
2 Engeri emu kwe kubawa ku ‘bintu byaffe eby’omuwendo.’ (Nge. 3:9) Okuwaayo kwaffe eri omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna, kusobozesa okuzimba Ebizimbe eby’Obwakabaka, eby’Enkuŋŋaana Ennene, n’amatabi ga ofiisi. Okuwaayo kwaffe kuyambye obukadde n’obukadde bw’abantu okuganyulwa mu kuyigirizibwa kwa teyokulase era n’okuzimba ab’oluganda mu by’omwoyo.
3 Okuzziŋŋanamu Amaanyi: Akatyabaga bwe kagwawo, abantu ba Yakuwa bakolera bakkiriza bannaabwe n’abantu abalala ‘ebintu ebirungi.’ (Bag. 6:10) Oluvannyuma lw’ekkolero erimu mu Bufalansa okwabika ne likwata omuliro, omugogo gw’abafumbo ogumu ogwali gubeera okumpi nalyo, gwagamba bwe guti: “Bakristaayo bannaffe bajja mangu okutuyamba okulongoosa ennyumba yaffe n’ez’abalala. Baliraanwa baffe beewuunya nnyo okulaba ng’abantu bangi abajja okutuyamba.” Mwannyinaffe omulala yagattako: “Abakadde baatuyamba era ne batuzzaamu amaanyi. Mu butuufu, kino kye twali twetaaga okusinga obuyambi bw’ebintu.”
4 Wadde nga waliwo ebintu bingi ebirungi bye tusobola okukolera baliraanwa baffe, ekintu ekisingayo okuba eky’omuganyulo kwe kubayigiriza amazima ag’omuwendo agakwata ku ‘essuubi ery’obulamu obutaggwaawo’ Yakuwa bwe yasuubiza. (Tito 1:1, 2) Obubaka obuli mu Baibuli bubudaabuda abo abanakuwavu olw’embeera eri mu nsi n’olw’obutali butuukirivu bwabwe. (Mat. 5:4) Ka tweyongere okukolera abalala ebirungi ng’obusobozi bwaffe bwe buli.—Nge. 3:27.