Essura 12
Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Kwetaagisa Okusobola Okubeera mu Mirembe
1-3. (a) Kiki ekiviiriddeko okujeemera ab’obuyinza okubunye wonna mu nnaku zaffe? (b) Endowooza eno eragibwa mu ngeri ki ez’enjawulo? (c) Bitundu ki ebikwatiddwako?
OMWOYO gwa kyetwala gubunye ensi ya leero. Obutassa bwesige mu ba buyinza bweyongedde, okusingira ddala mu abo abazaaliddwa oluvannyuma lwa Ssematalo II. Lwaki? Ensonga emu eri nti, bazadde baabwe baali balabye okunyigirizibwa okwali kutabangawo, era n’obukodyo obw’effugabbi era obubi obw’abo abaali mu buyinza. Baatandika okutunuulira obubi ab’obuyinza. Ekyavaamu, bangi ku bo, bwe baafuuka abazadde, tebaakubiriza baana baabwe kussa kitiibwa mu ba buyinza. Era n’obutali bwenkanya bw’ab’obuyinza obulabiddwa abaana bwongeddewo kizibu. Era ekivuddemu obutassa kitiibwa mu ba buyinza kufuuse kya bulijjo.
2 Obutassaamu kitiibwa obwo bulagiddwa mu ngeri ezitali zimu. Oluusi mu ngeri y’ennyambala oba okweyonja eraga okugaana emitindo egikkirizibwa. Kiyinza okutwaliramu okukontana mu lujjudde n’abapuliisi, oba n’ettemu n’okuyiwa omusaayi. Naye tekikoma ku bino. Wadde ne mu abo abateeyoleka mu ngeri zino ez’enkukunala ennyo, bangi bagaana oba bamenya amateeka bwe baba nti tebakkiriziganya nago oba bwe bagasanga okuba nti tegali nga bwe bandyagadde.
3 Embeera eno ekwatidde ddala kinene ku mbeera eriwo mu maka, mu masomero, mu bifo ebikolerwamu, ne mu nkolagana n’abakungu ba gavumenti. Nga kyeyongera bweyongezi, abantu tebaagala muntu yenna kubabuulira kya kukola. Baluubirira okufuna ekyo kye balowooza okuba eddembe erisingako. Ng’oyolekedde embeera eno onookola ki?
4. Olw’ekyo kye tukola mu kigambo kino, tulaga endowooza yaffe ku nsonga ki enkulu?
4 Ky’onookola kijja kulaga wa w’oyimiridde ku nsonga y’obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna. Ddala ggwe ossaamu Yakuwa ekitiibwa ng’Ensibuko y’emirembe n’obutebenkevu eby’amazima? Onoonoonyereza era n’ossa mu nkola mu bulamu bwo ekyo Ekigambo kye bye kiragira? Oba onoogendera wamu n’abo abeesalirawo ku lwabwe ekirungi n’ekibi?—Olubereberye 3:1-5; Okubikkulirwa 12:9.
5. (a) Kiki ekitera okuva mu kugoberera obukulembeze bw’abantu abasuubiza “eddembe”? (b) Omuntu akola Katonda by’ayagala aba na ddembe ki?
5 Okutegeera okutuufu okwa Baibuli kuyinza okukukuuma obutakyamizibwa abo, ‘abasuubiza eddembe nga bo bennyini baddu ba kuzikirira.’ Okugoberera ekkubo ly’abantu ng’abo kujja kukuteeka buteesi mu mbeera y’emu ey’obuddu. (2 Peetero 2:18, 19) Eddembe ery’amazima lisobola kufunika okuyitira mu kuyiga n’okukola Katonda by’ayagala. Ekiragiro kya Katonda ge “mateeka amatuukirivu ag’eddembe.” (Yakobo 1:25) Kino kiyinza okugambibwa kubanga Yakuwa tatukugira bitaliimu, ng’atussaako olukomera lw’amateeka agatalina mugaso. Naye etteeka lye liwa obulagirizi obuleeta eddembe, emirembe, n’obutebenkevu obwesigamye ku nkolagana entuufu ne Katonda awamu ne bantu bannaffe.
6, 7. (a) Ani ali mu kifo ekituufu okubaako ky’akola ku kukozesa obubi obuyinza? (b) Yesu yalaga atya ekituuka ku bantu abatwalira amateeka mu ngalo zaabwe?
6 Okusinga omuntu omulala yenna, Katonda amanyi obwonoonyi bw’omuntu we butuuse era n’okukozesa obubi obuyinza. Era amaze okutegeeza nti abo abavaako okunyigirizibwa ka babeere nga ba waggulu batya, ajja kubavunaana. (Abaruumi 14:12) Mu kiseera kya Katonda ekitegeke, “ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.” (Engero 2:22) Naye tewali kya muganyulo kya lubeerera kijja kutuviiramu singa tulekera awo okugumiikiriza ne tutwalira amateeka mu ngalo zaffe.—Abaruumi 12:17-19.
7 Mu kiro kye yaliirwamu olukwe era n’okukwatibwa, Yesu yaggumiza kino eri abatume. Olw’embeera y’omu nsi, nga kw’otadde n’ensolo ez’omu nsiko, abantu baateranga okuba n’eby’okulwanyisa. Kale ku mulundi ogwo waaliwo ebitala bibiri mu batume ba Yesu. (Lukka 22:38) Kiki ekyaliwo? Baalaba obutali bwenkanya obw’enkukunala ddala Yesu bwe yali akwatibwa awatali nsonga. Bwe kityo omutume Peetero yasowolayo amangu ago ekitala kye era n’atemako okutu kw’omu ku basajja. Naye Yesu n’azzaawo okutu okutemeddwako era n’abuulirira Peetero nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.” (Matayo 26:52) Abantu bangi, wadde mu kiseera kyaffe, bandibadde bawonyezebwa okuva mu kufa ebitaliimu nga bagoberera amagezi gano.—Engero 24:21, 22.
Endowooza Entuufu eri Ab’Obuyinza
8. (a) Nga bwe kitegeezebwa mu Baruumi 13:1, 2, Abakristaayo basaanidde kutwala batya abafuzi b’ensi? (b) Kiki ekitegeezebwa n’ebigambo nti ‘baalagirwa Katonda ebifo byabwe eby’ekiseera’?
8 Bwe yali awandiikira Abakristaayo mu Ruumi, omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa Katonda okutegeeza engeri gye baali ab’okweyisaamu eri ab’obuyinza. Yawandiika nti: “Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n’abakulu abaliwo [mu bifo byabwe eby’ekiseera, NW] baalagirwa Katonda. Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda: era abawakana balyezzaako omusango bo bokka.” (Abaruumi 13:1, 2) Kino kitegeeza nti Katonda y’atadde ab’obuyinza bano mu buyinza? Baibuli eddamu kaati nti nedda! (Lukka 4:5, 6; Okubikkulirwa 13:1, 2) Naye babeerawo lwa kukkiriza kwe. Era ‘ekifo eky’ekiseera’ kye babaddemu mu bbanga ly’ebyafaayo kyagerekebwa Katonda. Kibadde kifo ki?
9. Newakubadde ng’abakulu bennyigira mu bikolwa ebikyamu, tuyinza tutya okubassaamu ekitiibwa?
9 Ekyawandiikibwa ekiva okujulizibwa kigamba nti kya ‘bukulu.’ Bwe kityo abakungu ba gavumenti si ba kuyisibwa awatali kussibwamu kitiibwa. Amateeka ge bassaawo si ga kunyoomebwa. Kino tekitegeeza nti otenda abantu kinnoomu bennyini, oba nti osiima obwonoonefu bwonna bwe bayinza okwenyigiramu. Naye ekitiibwa kiragibwa butuufu olw’obuvunaanyizibwa bwe balimu.—Tito 3:1, 2.
10. Okusasula emisolo kwa kutwalibwa kutya, era lwaki?
10 Mu kutwalira awamu, amateeka ga gavumenti galiwo ku lwa bulungi bw’abantu. Gayamba mu kukuuma entegeka era n’okuwa obukuumi obw’ekigero eri abantu n’ebintu byabwe. (Abaruumi 13:3, 4) Era gavumenti zitera okussaawo enguudo, eby’obuyonjo, okukuumibwa omuliro, eby’enjigiriza, n’emirimu emirala egigasa abantu. Ba kusasulwa olw’emirimu gino? Tusaanidde okusasula emisolo? Ekibuuzo kino kitera okusitulawo enkayaana ey’amaanyi olw’emisolo egya waggulu n’olw’enkozesa embi ey’ensimbi z’abawi b’omusolo. Ne mu kiseera kya Yesu, ekibuuzo kino kyali kyekuusa ku by’obufuzi. Naye Yesu teyalina ndowooza nti embeera eyaliwo yali yeetaagisa omuntu okugaana okusasula. Ng’ayogera ku ssente ezaali zikoleddwa Kayisaali Omuruumi, yagamba nti: “Musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.” (Matayo 22:17-21; Abaruumi 13:6, 7) Nedda, Yesu teyawagira ndowooza eya buli muntu okwekolera nga bw’ayagala.
11, 12. (a) Ebyawandiikibwa biraga bitya nga waliwo obufuzi obulala obw’okulowoozebwako? (b) Wandikoze ki singa abafuzi b’ensi bawa ebiragiro ebikontana n’ebyo Katonda bye yeetaaga, era lwaki?
11 Kyokka, Yesu yalaga nti “Kayisaali,” gavumenti ey’eby’obufuzi, si bwe bufuzi bwokka obulina okulowoozebwako. “Abakulu abafuga” tebali waggulu wa Katonda oba wadde okumwenkana. Ku luuyi olulala, bo ba wansi nnyo gy’ali. Bwe kityo obukulu bwabwe buliko we bukoma, tebwemalirira. Olw’ensonga eno, Abakristaayo emirundi mingi boolekanyiziddwa n’eky’okusalawo ekizibu ddala. Kye ky’okusalawo ggwe naawe ky’oteekwa okwolekera. Abantu abali mu buyinza bwe balagira baweebwe ekyo ekya Katonda, onookola ki? Bwe bagaana ekyo Katonda ky’alagira, onoogondera ani?
12 Abatume ba Yesu, mu ngeri essaamu ekitiibwa, naye nga banywevu baategeeza ekifo kyabwe eri ab’omu kkooti enkulu mu Yerusaalemi nti: “Tetuyinza kulema kwogeranga bye twalaba bye twawulira. . . . Kigwanira okuwulira Katonda okusinga abantu.” (Ebikolwa 4:19, 20; 5:29) Oluusi gavumenti zissaawo okukugira mu biseera eby’omutawaana, era kino kitegeerekeka. Naye oluusi okukugira okuteekeddwawo gavumenti kuyinza okuba nti kuteekeddwawo okuyingirira okusinza kwaffe okwa Katonda n’okutulemesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutuweereddwa Katonda. Olwo kiki? Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa kiddamu nti: “Kigwanira okuwulira Katonda okusinga abantu.”
13, 14. (a) Tusaanidde kwegendereza tutya okujeemera amateeka g’ensi olw’ensonga ezaffe ku bwaffe? (b) Wa ensonga ku kino okuva mu Byawandiikibwa.
13 Newakubadde nga okukuuma obuvunaanyizibwa buno eri Katonda kiyinza okukontana n’ekyo “Kayisaali” kye yeetaaga, kino kya njawulo nnyo ddala okuva ku kumenya kyeyagalire amateeka ge tutakkiriziganya nago. Kya mazima nti, okusinziira ku ndaba y’omuntu omu, amateeka agamu gayinza okufaanana nga agateetaagisa oba agakugira ekisukkiridde. Naye kino tekiwa bbeetu kulagajjalira mateeka agatakontana na mateeka ga Katonda. Kyandibadde kitya singa abantu bonna bagonderako mateeka ago gokka ge balowooza nti ga mugaso gye bali? Kyandivuddemu buvi mitawaana.
14 Oluusi omuntu ayinza okuwulira nti asobola obutafaayo ku ba buyinza n’akola ye ky’ayagala olw’okuba kirabika nti tajja kukwatibwa na kubonerezebwa. Naye waliwo akabi ak’amaanyi mu kino. Wadde nga okulagajjalira etteeka kuyinza okusooka okuba nti kukwata ku busonga obutonotono, omuntu obutabonerezebwa kiyinza okumugumya omwoyo okutuuka ku bumenyi bw’amateeka obusingawo. Nga Omubuulizi 8:11 bwe lutegeeza nti: “Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw’abaana kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi.” Naye ensonga yennyini ereetera okugondera etteeka kutya kubonerezebwa kyokka olw’okujeema? Eri Omukristaayo, wateekwa okubaawo ekimuwaliriza ekisingawo amaanyi. Omutume Pawulo yakiyita “ensonga ebawaliriza”—okwagala okubeera n’omuntu ow’omunda omulungi. (Abaruumi 13:5, NW) Omuntu alina omuntu ow’omunda atendekeddwa n’emisingi egy’omu Byawandiikibwa akimanyi nti okugoberera ekkubo ery’obumenyi bw’amateeka kyandibadde okuwakanya “okulagira kwa Katonda.” Ne bwe kibeera nti abantu abalala bamanyi kye tukola oba tebakimanyi, Katonda amanyi, era essuubi lyaffe ery’obulamu obw’omu maaso lyesigamye ku ye.—1 Peetero 2:12-17.
15. (a) Kiki ekyandiruŋŋamizza omuntu mu ndowooza ye eri omusomesa oba omukozesa? (b) Mu ngeri eno twewala okuba nga tutwalibwa omwoyo gw’ani?
15 Bwe kityo bwe kiri era ku ndowooza y’omuto eri omusomesa we ku ssomero era ne ku ndowooza y’omukulu eri amukozesa. Ekiriwo nti abantu bangi okutwetooloola bakola ebintu ebibi si kye kyanditusaliddewo eky’okukola. Okuba nti omusomesa oba omukozesa amanyi kye tukola tekyandibadde na njawulo gye kikolawo. Ekibuuzo kiri nti, Ekituufu kye kiruwa? Kiki ekisanyusa Katonda? Nate, bwe kiba nti kye tusabiddwa okukola tekikontana na tteeka lya Katonda oba emisingi egy’obutuukirivu, tukkiriza. Abasomesa mu masomero mu kutwalira awamu babaka ba gavumenti, bwe kityo nga bakiikirira “abakulu abafuga,” era n’olwekyo nga basaanidde okussibwamu ekitiibwa. Ate ku bikwata ku bakozesa ku mirimu, omusingi gwa Baibuli oguli mu Tito 2:9, 10 guyinza okukozesebwa, newakubadde ng’awo Pawulo yali awandiika ku nkolagana ey’enjawulo, ey’abaddu ne bakama baabwe. Pawulo yagamba nti: “Okusiimibwanga mu byonna, . . . okulaganga obwesigwa obulungi bwonna; [mu]lyoke [mu]yonjenga okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda mu byonna.” (Tito 2:9, 10) Bwe kityo, tuba twewala enkola ya Setaani, omwoyo gwe “ogukolera kaakano mu baana abatawulira,” era tuba tuzimba enkolagana ey’emirembe ne bantu bannaffe.—Abaefeso 2:2, 3.
Obuyinza Munda mu Maka
16. Kisaanyizo ki mu kuba n’obulamu bw’amaka obutebenkevu ekitegeezebwa mu 1 Abakkolinso 11:3?
16 Amaka kye kifo ekirala okussa ekitiibwa mu b’obuyinza mwe kusobolera okuleetawo enkolagana ey’emirembe. Emirundi egisinga okussaamu ekitiibwa ng’okwo okusaanidde tekubaawo, n’ekivaamu enkolagana y’ab’omu maka kusasika era emirundi mingi okusasika kw’amaka. Kiki ekiyinza okukolebwa okulongoosa embeera? Enteekateeka ey’obukulembeze, nga bw’eragibwa mu 1 Abakkolinso 11:3, ewa eky’okuddamu: “Omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.”
17. (a) Ku bikwata ku bukulu, ekifo ky’omusajja kye kiruwa? (b) Kyakulabirako ki ekirungi ku bikwata ku bukulembeze bw’omusajja Kristo kye yassaawo?
17 Weetegereze nti ebitegeezeddwa bino ku nteekateeka ya Yakuwa tebisooka kwogera ku bukulu bwa musajja. Wabula, bisonga ku ekyo nti waliwo omuntu omusajja gw’asaanidde okutunuulira okufuna obukulembeze, oyo ow’ekyokulabirako ky’asaanidde okugoberera. Omuntu oyo ye Yesu Kristo. Ye gwe mutwe gw’omusajja. Era mu nkolagana ze n’ekibiina kye, ekifaananyizibwa omugole omukazi, Kristo awadde ekyokulabirako ku ngeri ey’okutuukirizaamu obulungi obukulembeze bw’omusajja. Ekyokulabirako kye ekirungi kyasikiriza abagoberezi be. Bwe yali akulembera, mu kifo ky’okwekulumbaza, okuba omukambwe era ow’ebboggo eri abagoberezi be, Yesu yali “muteefu era omuwombeefu mu mutima,” bwe kityo ne bafuna okuwummuzibwa eri emmeeme zaabwe. (Matayo 11:28-30) Yabafeebyanga olw’ensobi zaabwe? Ku luuyi olulala, mu ngeri ey’okwagala yababuuliriranga era n’awaayo n’obulamu bwe okubanaazako ebibi byabwe. (Abaefeso 5:25-30) Nga mukisa munene nnyo eri amaka okuba n’omusajja afubira ddala mu bwesimbu okugoberera ekyokulabirako ekyo!
18. (a) Mu ngeri ki omukyala mw’ayinza okulaga nti assaamu ekitiibwa obufuzi bwa bba? (b) Abaana bandiraze batya ekitiibwa eri abazadde baabwe, era lwaki?
18 Bwe wabaawo obukulembeze ng’obwo mu maka, tekibeera kizibu eri omukazi okweyuna bbaawe. Era obuwulize bujja mangu okuva eri abaana. Naye era waliwo bingi omukyala n’abaana bye bayinza okukola okuleeta essanyu mu maka. Olw’obunyiikivu bwe mu kulabirira amaka n’olw’omwoyo gwe ogw’okukolera awamu, omukyala alaga nti ‘assaamu bbaawe ekitiibwa kya maanyi.’ Bwe kityo bwe kiri mu maka go? (Abaefeso 5:33, NW; Engero 31:10-15, 27, 28) Eri abaana, obuwulize eri bombi kitaabwe ne nnyaabwe bulaga nti bassaamu bazadde baabwe ekitiibwa, nga Katonda bw’alagira. (Abaefeso 6:1-3) Tewandibaddewo emirembe gya maanyi nnyo era n’omuntu okuwulira ennyo obutebenkevu mu maka ng’ago okusinga mu ago omutali kussa kitiibwa mu bukulu?
19. Bw’oba ng’oli bw’omu wekka mu maka agezaako okukulemberwa Ekigambo kya Katonda, wandikoze ki?
19 Oyinza okuyamba mu kufuula amaka go ekifo ekifaanana ng’ekyo. Ab’omu maka abalala ka babeere nga balonzewo okugoberera amakubo ga Yakuwa oba nedda, ggwe oyinza okukikola. Abalala bayinza okugoberera ekyokulabirako kyo ekirungi. (1 Abakkolinso 7:16; Tito 2:6-8) Ne bwe baba tebasobodde, ggwe ky’okola kijja kubeerawo ng’obujulirwa obulaga obutuufu bw’amakubo ga Katonda, era ekyo kye kintu ekitali kya mugaso mutono.—1 Peetero 3:16, 17.
20, 21. (a) Baibuli eraga etya ng’obukulu bw’omwami n’obw’abazadde buliko we bukoma? (b) Bwe kityo, kusalawo ki omukyala Omukristaayo oba abaana abakkiriza kwe bayinza okwolekera, era kiki ekyandibadde ekiruubirirwa kyabwe?
20 Kijjukire nti enteekateeka yonna ey’obukulu obw’omu maka esibuka ku Katonda. Bwe kityo abasajja bafugibwa Kristo, abakazi babbaabwe “nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe,” era n’abaana eri bazadde baabwe “kubanga ekyo kye kisiimibwa mu Mukama waffe.” (Abakkolosaayi 3:18, 20; 1 Abakkolinso 11:3) Bwe kityo Katonda tayinza kusuulirirwa mu kino, asobola? Kino kitegeeza nti obukulu bw’omwami ku mukyala we, n’obw’abazadde ku baana baabwe, buliko we bukoma. Kwe kugamba, Omukristaayo omufumbo era n’abaana balina okuwulira Katonda ne Kristo okusooka, nga bagondera okubuulirira kwabwe. Eri abafumbo abatali bakkiriza oba abazadde ekirowoozo ekyo kiyinza okusooka obutabasanyusa. Naye nga ddala kiriwo ku lwa bulungi bwabwe, kubanga kijja kuyamba okufuula munne omukkiriza n’abaana okuba abeesigika ennyo era abassaamu ekitiibwa.
21 Kyokka, kitya singa omusajja alagira mukazi we akole ekintu ekitandibadde ‘kirungi mu Mukama waffe’? Ky’akola kijja kulaga obanga ddala ‘atya Katonda ow’amazima’ oba nedda. (Omubuulizi 12:13) Bwe kityo bwe kiri era ne ku baana bwe baba nga bakulu ekimala okutegeera n’okugondera Ekigambo kya Katonda. Singa bazadde baabwe tebalina kwagala kwe balina okuweereza Yakuwa, abaana bateekwa okusalawo obanga banaanywerera ku Katonda oba okussa ekimu ne bazadde baabwe abatayagala. (Matayo 10:37-39) Naye ng’otadde ku bbali obuvunaanyizibwa bwabwe obusooka eri Katonda, abaana basaanidde okuba abawulize “mu byonna,” ne bwe kiba kitegeeza okukola ebintu bo bye batayagala. (Abakkolosaayi 3:20) Enneeyisa ey’engeri eno eyinza n’okusikiriza bazadde baabwe eri enteekateeka ya Yakuwa ey’obulokozi. Ddala “kye kisiimibwa mu Mukama waffe” ekiruubirirwa ky’omuntu bwe kiba nti kunywerera ku Yakuwa n’amakubo ge ag’obutuukirivu, mu kifo ky’obujeemu obuva mu mwoyo ogwa kyetwala.
Mu Kibiina Ekikristaayo
22, 23. (a) Abakadde Abakristaayo baweereza batya ab’omu kibiina? (b) Bwe kityo, ndowooza ki Abaebbulaniya 13:17 gye lugamba gye twandibadde nayo gye bali?
22 Obunywevu bwe bumu obwo eri Yakuwa busaanidde okwolesebwa mu ndowooza yaffe eri ekibiina kye Ekikristaayo era n’abo abakirabirira. Yakuwa ataddewo abakadde okulabirira “ekisibo.” Tebafuna musaala naye beewaayo olw’okufaayo okw’amazima eri baganda baabwe ne bannyinaabwe Abakristaayo. (1 Peetero 5:2; 1 Abassesaloniika 2:7-9) Bayamba ekibiina okukola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Era, olw’okufaayo eri buli muntu ali mu kibiina, bayamba bano okuyiga engeri y’okukozesaamu emisingi gya Baibuli mu bulamu bwabwe. Era, singa omuntu yenna ow’omu kibiina akwata ekkubo essobu nga tategedde, okufuba kukolebwa okuddamu okumutereeza. (Abaggalatiya 6:1) Singa omuntu ow’omu kibiina agaana okubuulirirwa okw’omu Byawandiikibwa era n’agugubira mu kwonoona okw’amaanyi, abakadde balaba nti agobebwa. Bwe kityo ekibiina kikuumibwa okuva ku bwonoonyi bwe.—1 Abakkolinso 5:12, 13.
23 Olw’okusiima enteekateeka ya Yakuwa eno ey’okwagala okukuuma emirembe mu bantu be, tusaanidde okugondera okubuulirira okusangibwa mu Abaebbulaniya 13:17: “Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw’obulamu bwammwe, ng’abaliwoza bwe bakola; balyoke bakolenga bwe batyo n’essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.”
24, 25. (a) Ebyo abakadde bye bayigiriza byandikoze bitya ku ngeri gye tubatwalamu? (b) Ddi era wa we twandissirizza mu nkola bye tuyigirizibwa mu Baibuli? Lwaki?
24 Baibuli eggumiza nti ensonga enkulu abalabirira bano oba abakadde kyebava basaanira okussibwamu ekitiibwa eri nti bayigiriza “ekigambo kya Katonda.” (Abaebbulaniya 13:7; 1 Timoseewo 5:17) Era ku bikwata ku maanyi ga “ekigambo” ekyo, Abaebbulaniya 4:12, 13 wategeeza nti: “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mu mutima. So siwali kitonde ekitalabika mu maaso ge: naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g’oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.”
25 Bwe kityo amazima agali mu Kigambo kya Yakuwa gayatuukiriza enjawulo eriwo wakati w’ekyo omuntu ky’alabika kungulu n’ekyo ky’ali. Singa aba alina okukkiriza okw’amazima mu Katonda era n’okwagala okwa nnamaddala okusanyusa Omutonzi we, ebikolwa bye bijja kwoleka bulungi ‘ekitiibwa kya Katonda’ wadde nga ali abakadde b’omu kibiina we batamulabira. (Abaruumi 3:23) Teyandyennyigidde mu mpisa ezikontana n’ebyawandiikibwa olw’okuba obubeezi nti tezibalirwa mu bibi eby’amaanyi ebyandisobodde okugobesa omuntu mu kibiina. Bwe kityo, singa omuntu alina endowooza etwala okubuulirira okumu okusangibwa mu Kigambo kya Katonda ng’okutali kukulu, asaanidde okukebera n’obwegendereza endowooza ye ddala bw’eri eri Katonda. Aba afaanana n’omuntu oyo Zabbuli 14:1 gw’eyogerako nti: “Omusirusiru ayogedde”—nedda, si mu lwatu—naye “mu mutima gwe nti Siwali [Yakuwa, NW]”?
26, 27. (a) Lwaki kikulu okulowooza ennyo ku “buli kigambo” kya Yakuwa? (b) Obulamu bwaffe bukwatibwako butya bwe tulaga bwe tutyo ekitiibwa eri obufuzi?
26 Bwe yakemebwa Omulyolyomi, Yesu yalangirira nti: “Omuntu . . . mulamu . . . na buli kigambo ekiva mu kamwa ka [Yakuwa, NW].” (Matayo 4:4) Okkiriza nti “buli kigambo” kya Yakuwa kikulu, nti tewali na kimu kya kulagajjalira? Okugonderako ebimu ku ebyo Yakuwa bye yeetaaga, ng’ebirala obitwala ng’ebitali bikulu, tekimala bumazi. Oba tulondawo okuwagira obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa oba okudda ku luuyi lwa Setaani olw’ensonga enkulu nga twessizaawo omutindo ogwaffe ogw’ekirungi n’ekibi. Ba ssanyu abo abalaga nti baagalira ddala etteeka lya Yakuwa.—Zabbuli 119:165.
27 Abantu ng’abo tebagwa mu kyambika eky’omwoyo gw’ensi ogwawulayawulamu. Era tebeevuluga mu mpisa ez’obugwenyufu ez’abo abeesamba emitindo gy’empisa ennungi. Okussa ennyo ekitiibwa mu Yakuwa n’amakubo ge ag’obutuukirivu kireeta obutebenkevu mu bulamu bwabwe. Okussa ekitiibwa ng’ekyo mu Yakuwa n’amakubo ge kibasobozesa okulaga ekitiibwa ekisaanidde eri ab’obuyinza ab’oku nsi, ekyetaagibwa okubeera mu mirembe.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 134]
Abatume ba Yesu baagamba kkooti enkulu nti: “Kigwana okuwulira Katonda [ng’omufuzi, NW] okusinga abantu”