Kkiriza Yakuwa Akuwe Eddembe Erya Nnamaddala
“[Weetegereze] amateeka agaatuukirira, ag’eddembe.”—YAK. 1:25.
OSOBOLA OKUNNYONNYOLA?
Mateeka ki agasobola okuyamba abantu okufuna eddembe erya nnamaddala, era baani abaganyulwa mu mateeka ago?
Kiki kye tulina okukola okusobola okufuna eddembe erya nnamaddala?
Ddembe ki abo bonna abeeyongera okugondera Yakuwa lye bajja okufuna?
1, 2. (a) Kiki ekituuse ku ddembe ly’abantu leero, era lwaki? (b) Ddembe ki abaweereza ba Yakuwa lye bajja okufuna mu biseera eby’omu maaso?
LEERO, abantu bangi ba mululu, bamenyi ba mateeka, era batemu. (2 Tim. 3:1-5) Ekyo kireetedde gavumenti ezitali zimu okuteekawo amateeka amakakali, okunyweza ebitongole bya poliisi, n’okuteeka kamera mu bifo ebitali bimu okusobola okulaba ebyo abantu bye bakola. Mu nsi ezimu, abantu abamu basazeewo okuzimba ebikomera okwetooloola amayumba gaabwe era ne bateekako ne waya z’amasannyalaze. Ate abamu enzigi zaabwe baziteekako kufulu eziwerako. Bangi beewala okufuluma ebweru mu budde obw’ekiro era tebakkiriza baana baabwe kuzannyira wabweru nga tewali muntu mukulu abalaba. Kyeyoleka lwatu nti abantu tebalina ddembe era kirabika embeera yeeyongera bweyongezi kwonooneka.
2 Edda ennyo mu lusuku Adeni, Sitaani yagamba nti abantu basobola okufuna eddembe erya nnamaddala singa beewaggula ku Yakuwa. Naye ebyo ebibaddewo biraze bulungi nti ebyo Sitaani bye yayogera byali bya bulimba. Abantu bwe basambajja emitindo gya Katonda, ekyo kireetera abantu bonna okutwalira awamu okubonaabona. Ebizibu ebiriwo mu nsi naffe abaweereza ba Yakuwa bitukosa. Wadde kiri kityo, ffe tulina essuubi nti ekiseera kijja abantu lwe banaasumululwa okuva mu buddu bw’ekibi n’okuvunda bafune “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Bar. 8:21) Mu butuufu, Yakuwa yatandika dda okuteekateeka abaweereza be okufuna eddembe eryo. Abateekateeka atya?
3. Mateeka ki Yakuwa ge yawa abagoberezi ba Kristo, era bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
3 Okusobola okuteekateeka abaweereza be okufuna eddembe, Yakuwa yabawa ekyo Yakobo kye yayita “amateeka agaatuukirira, ag’eddembe.” (Soma Yakobo 1:25.) Mu nkyusa ya Bayibuli endala ebigambo ebyo byavvuunulwa nga “etteeka eritufuula ab’eddembe” (The New English Bible). Abantu bwe bawulira ekigambo amateeka, ebiseera ebisinga balowooza ku kukugirwa, so si ku kuweebwa ddembe. Kati olwo “amateeka agaatuukirira, ag’eddembe” kye ki? Era amateeka ago gatufuula gatya ab’eddembe?
AMATEEKA AGATUFUULA AB’EDDEMBE
4. “Amateeka agaatuukirira, ag’eddembe” kye ki, era baani abaganyulwa mu mateeka ago?
4 “Amateeka agaatuukirira, ag’eddembe” ga njawulo ku Mateeka ga Musa, kubanga Amateeka ga Musa gaali ga kwoleka byonoono era gaatuukirizibwa mu Kristo. (Mat. 5:17; Bag. 3:19) Kati olwo mateeka ki Yakobo ge yali ayogerako? Yali ayogera ku ‘tteeka lya Kristo,’ era eriyitibwa “etteeka ery’okukkiriza” oba ‘amateeka g’abantu ab’eddembe.’ (Bag. 6:2; Bar. 3:27; Yak. 2:12) N’olwekyo, “amateeka agaatuukirira” gazingiramu ebintu byonna Yakuwa by’atwetaagisa. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala’ bonna baganyulwa mu mateeka ago.—Yok. 10:16.
5. Lwaki amateeka ag’eddembe si mazibu kukwata?
5 Obutafaananako mateeka g’ensi nnyingi, “amateeka agaatuukirira” si mazibu kutegeera era tegazitowa kubanga galimu ebiragiro ebyangu okukwata n’emisingi emyangu okukolerako. (1 Yok. 5:3) Yesu yagamba nti: “Ekikoligo kyange kyangu n’omugugu gwange si muzito.” (Mat. 11:29, 30) Okugatta ku ekyo, “amateeka agaatuukirira” tegalina lukalala lwa bibonerezo kubanga geesigamiziddwa ku kwagala era gawandiikiddwa mu mitima, so si ku bipande bya mayinja.—Soma Abebbulaniya 8:6, 10.
ENGERI “AMATEEKA AGAATUUKIRIRA” GYE GATUFUULA AB’EDDEMBE
6, 7. Kiki kye tuyinza okwogera ku bintu Yakuwa bye yeetaagisa abantu, era amateeka ag’eddembe gatukkiriza kukola ki?
6 Amateeka Yakuwa ge yateerawo abantu, yagateekawo ku lwa bulungi bwabwe era gabakuuma. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mateeka agafuga obutonde. Tewali muntu n’omu ayinza kugamba nti amateeka ago gamunyigiriza. Mu kifo ky’ekyo, abantu bonna bakiraba nti amateeka ago gabaganyula. Mu ngeri y’emu, ebintu Yakuwa bye yeetaagisa abantu ebiri mu ‘mateeka ga Kristo agaatuukirira,’ biganyula bo.
7 Ng’oggyeko okuba nti amateeka ag’eddembe ga bukuumi gye tuli, amateeka ago gatukkiriza okukola ebintu ebirungi bye twagala awatali kwetuusaako kabi konna wadde okuyingirira eddembe ly’abalala. N’olwekyo, bwe tuba twagala okuba n’eddembe erya nnamaddala, ebintu bye twagala birina okuba nga bituukana n’ebyo Yakuwa by’ayagala. Tulina okuyiga okwagala ebyo Yakuwa by’ayagala n’okukyawa ebyo by’akyawa. Amateeka ag’eddembe gatuyamba okukola ekyo.—Am. 5:15.
8, 9. Abo abagondera amateeka ag’eddembe baganyulwa batya? Waayo ekyokulabirako.
8 Olw’okuba tetutuukiridde, twetaaga okufuba ennyo okusobola okwewala okwegomba okubi. Wadde kiri kityo, singa tukolera ku mateeka ag’eddembe, tusobola okufuna eddembe ne mu kiseera kino. Ng’ekyokulabirako: Jay we yatandikira okuyiga Bayibuli, yalina omuze ogw’okunywa sigala. Bwe yakitegeera nti okunywa sigala kyali tekisanyusa Katonda, yalina okusalawo obanga yandyeyongedde okugoberera ekyo omubiri gwe kye gwali gwegomba oba yandisazeewo okugondera Yakuwa. Yasalawo okugondera Katonda wadde nga tekyamwanguyira kulekayo muze ogwo. Jay yawulira atya oluvannyuma lw’okulekayo omuze ogwo? Yagamba nti: “Nnawulira nga nfunye eddembe era nnawulira essanyu lingi nnyo.”
9 Ebyo Jay bye yayitamu byamuyamba okukimanya nti eddembe ensi ly’ewa, erikkiriza abantu “okulowooza eby’omubiri,” libafuula baddu, so ng’ate eddembe Yakuwa ly’awa, erireetera abantu “okulowooza eby’omwoyo,” libafuula ba ddembe era libayamba okufuna “obulamu n’emirembe.” (Bar. 8:5, 6) Kiki ekyayamba Jay okulekayo omuze ogwo ogwali gumufudde omuddu? Katonda ye yamuyamba okulekayo omuze ogwo. Agamba nti: “Nnasomanga Bayibuli obutayosa, nnasabanga Katonda ampe omwoyo gwe omutukuvu, era n’ab’oluganda mu kibiina bannyamba nnyo.” Ebintu ebyo naffe bisobola okutuyamba okufuna eddembe erya nnamaddala. Ka tulabe engeri gye biyinza okutuyambamu.
EKIGAMBO KYA KATONDA
10. “Okwetegereza” amateeka ga Katonda kitegeeza ki?
10 Yakobo 1:25 wagamba nti: “Oyo eyeetegereza amateeka agaatuukirira, ag’eddembe era n’aganyiikiriramu . . . ajja kuba musanyufu mu kukola bw’atyo.” N’olwekyo, bwe tuba twagala amateeka ag’eddembe okuluŋŋamya omutima gwaffe, tulina okunyiikirira okwesomesa Bayibuli n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma.—1 Tim. 4:15.
11, 12. (a) Kiki Yesu kye yayogera ekiraga nti tusaanidde okukolera ku ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda? (b) Ng’ekyokulabirako waggulu bwe kiraga, kiki kye tulina okwewala naddala bwe tuba nga tukyali bavubuka?
11 Ate era tulina ‘okunyiikira,’ oba okufuba okukolera ku ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda. Bwe yali ayogera n’abamu ku abo abaali bafuuse abagoberezi be, Yesu yagamba nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala, era mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yok. 8:31, 32) Tusobola okukiraga nti ‘tumanyi’ amazima singa tugakolerako mu bulamu bwaffe. Bwe tukola bwe tutyo, olwo nno “ekigambo kya Katonda” kiba ‘kikolera’ mu ffe. Ekyo kijja kutuyamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe tusobole okwongera okwoleka engeri za Kitaffe ow’omu ggulu.—1 Bas. 2:13.
12 Kati weebuuze, ‘Ddala amazima ngamanyi bulungi? Ngakolerako mu bulamu bwange? Oba nkyegomba “eddembe” abantu b’ensi lye balina?’ Mwannyinaffe omu eyakulira mu maka Amakristaayo, ayogera bw’ati ku myaka gye egy’obuvubuka: “Bw’okulira mu mazima, oba okkiriza nti Yakuwa gy’ali. Naye nze nnali simumanyi bulungi. Nnali sikyawa bintu by’akyawa. Nnali sikitwala nti enneeyisa yange eyinza okumusanyusa oba okumunyiiza. Era bwe nnafunanga ebizibu, saamusabanga. Nneesigamanga ku kutegeera kwange, ekintu kati kye mmanyi nti kyali kikyamu, kubanga nnali sirina kye mmanyi.” Eky’essanyu kiri nti mwannyinaffe oyo oluvannyuma yakiraba nti endowooza ye yali nkyamu nnyo era n’akola enkyukakyuka ezeetaagisa. Yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo.
OMWOYO OMUTUKUVU
13. Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya okufuna eddembe?
13 Mu 2 Abakkolinso 3:17, tusoma nti: “Omwoyo gwa Yakuwa we guba wabaawo eddembe.” Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya okufuna eddembe? Gutuyamba okuba ‘n’okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, n’okwefuga.’ (Bag. 5:22, 23) Abantu tebasobola kuba na ddembe lya nnamaddala singa baba tebalina ngeri ezo, naddala okwagala. Ebyo ebiriwo mu nsi leero biraga bulungi ensonga eyo. Omutume Pawulo bwe yamala okumenya engeri eziri mu kibala ky’omwoyo, yagamba nti: “Ebiri ng’ebyo tebikontana na mateeka.” Kiki kye yali ategeeza? Yali alaga nti tewali tteeka lyonna lisobola kukugira muntu kwongera kwoleka kibala ky’omwoyo mu bulamu bwe. (Bag. 5:18) Yakuwa ayagala tweyongere okukulaakulanya engeri eziri mu kibala ky’omwoyo era tuzooleke emirembe gyonna.
14. Omwoyo gw’ensi gufuula gutya abo abagugoberera abaddu?
14 Abo abagoberera omwoyo gw’ensi bayinza okulowooza nti balina eddembe olw’okuba basobola okukkusa okwegomba kwabwe okw’omubiri. (Soma 2 Peetero 2:18, 19.) Naye ekituufu kiri nti baba baddu. Abantu ng’abo baba beetaaga okubateerawo amateeka mangi okusobola okubaziyiza okukola ebikolwa eby’obujeemu. Pawulo yagamba nti: “Amateeka tegaateekerwawo muntu mutuukirivu wabula abajeemu, abatafugika.” (1 Tim. 1:9, 10) Ate era abantu ng’abo baddu ba kibi, kubanga batwalirizibwa ‘ebintu omubiri bye gwagala,’ ate ng’omubiri mufuzi mubi. (Bef. 2:1-3) Okufaananako obuwuka obusikirizibwa okulya omubisi ne buyingira mu ccupa y’omubisi ne bwesanga nga bulemedde mu ccupa, abantu abo bagoberera okwegomba kwabwe okubi bwe batyo ne bafuuka abaddu b’ekibi.—Yak. 1:14, 15.
EKIBIINA EKIKRISTAAYO
15, 16. Okuba mu kibiina Ekikristaayo kituganyudde kitya, era ddembe ki lye tuwulira nga tuli mu kibiina?
15 Okusobola okwegatta ku kibiina Ekikristaayo, tewasooka kujjuza foomu kusaba kukyegattako, wabula Yakuwa ye yakuleeta mu kibiina kye. (Yok. 6:44) Lwaki Yakuwa yakuleeta mu kibiina kye? Kyandiba nti yalaba ng’oli mutuukirivu era ng’oli muntu atya Katonda? Oyinza okugamba nti si bwe kityo bwe kyali. Kati olwo kiki Katonda kye yakulabamu? Yalaba ng’omutima gwo gwagala okukolera ku mateeka ag’eddembe. Okuva lwe weegatta ku kibiina Ekikristaayo, Yakuwa abadde akulabirira ng’akuyigiriza ebintu ebirungi okuva mu Kigambo kye. Akuyambye okwekutula ku njigiriza n’obulombolombo bw’amadiini ag’obulimba era akuyigirizza okwoleka engeri z’Ekikristaayo. (Soma Abeefeso 4:22-24.) N’ekivuddemu, kati olina enkizo ey’amaanyi ennyo okuba omu ku bantu ba Katonda, nga bano be bantu bokka mu nsi yonna abalina eddembe erya nnamaddala.—Yak. 2:12.
16 Lowooza ku kino: Bw’obeera awamu n’abantu abaagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna, obaamu okutya kwonna? Bw’oba mu Kizimbe ky’Obwakabaka ng’onyumya ne bakkiriza banno, oba mweraliikirivu nti waliwo ayinza okubba ebintu mu nsawo yo? Nedda. Owulira ng’olina obukuumi era ng’olina eddembe. Naye ddala bw’otyo bw’owulira ng’oliko w’oli ng’oli mu bantu abatasinza Yakuwa? Nedda. Kyokka eddembe ly’owulira ng’oli mu bantu ba Katonda leero ttono nnyo bw’oligeraageranya ku ddembe lye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso.
“EDDEMBE ERY’EKITIIBWA ERY’ABAANA BA KATONDA”
17. ‘Okubikkulibwa kw’abaana ba Katonda’ kunaayamba kutya abantu okufuna eddembe?
17 Bwe yali ayogera ku ddembe Yakuwa ly’anaawa abaweereza be abanaabeera ku nsi, Pawulo yagamba nti: “Ebitonde byesunga nnyo nga birindirira okubikkulwa kw’abaana ba Katonda.” Era yagattako nti: “[Ebitonde] bijja kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda bifune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Bar. 8:19-21) “Ebitonde” ebyogerwako awo be bantu abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, abajja okuganyulwa mu ‘kubikkulibwa’ kw’abaana ba Katonda abaafukibwako amafuta. Okubikkulibwa okwo kujja kutandika ng’abaafukibwako amafuta, abanaaba mu ggulu, bakolera wamu ne Kristo okuzikiriza abantu ababi bonna era nga bayamba ‘ab’ekibiina ekinene’ okuyingira mu nteekateeka empya ey’ebintu.—Kub. 7:9, 14.
18. Abantu abawulize baneeyongera batya okufuna eddembe, era ddembe ki abantu lye bajja okufuna oluvannyuma lw’okugezesebwa?
18 Abantu abanaawonawo bajja kufuna eddembe eritabangawo ku nsi. Sitaani ne badayimooni bajja kuba tebakyasobola kubalumba. (Kub. 20:1-3) Ng’abantu bajja kufuna obuweerero obw’amaanyi ennyo! Abantu 144,000 abanaafugira awamu ne Kristo nga bakabaka era nga bakabona bajja kweyongera okuyamba abantu okufuna eddembe nga babayamba okuganyulwa mu ssaddaaka y’ekinunulo okutuusiza ddala ng’ekibi n’obutali butuukirivu ebyaleetebwa Adamu biweereddewo ddala. (Kub. 5:9, 10) Oluvannyuma lw’okugezesebwa, abantu abawulize bajja kufuna eddembe erya nnamaddala Yakuwa lye yali ayagaliza abantu okuva ku lubereberye. Bajja kufuna “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” Kirowoozeeko! Mu kiseera ekyo ojja kuba tokyazibuwalirwa kukola kituufu mu maaso ga Katonda, kubanga omubiri gwo, omutima gwo, n’ebirowoozo byo byonna bijja kuba bituukiridde, era ojja kuba osobola okwoleka engeri za Katonda mu ngeri etuukiridde.
19. Kiki kye tulina okweyongera okukola bwe tuba ab’okufuna eddembe erya nnamaddala?
19 Oyagala okufuna “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda”? Bwe kiba kityo, weeyongere okukolera ku ‘mateeka agaatuukirira, ag’eddembe.’ Nnyiikira okusoma Bayibuli. Kolera ku ebyo by’oyiga mu Bayibuli, era amazima gafuule gago. Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Weekuumire ku kibiina kya Yakuwa era weeyongere okulya emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa. Tokkiriza Sitaani kukulimbalimba nga bwe yalimbalimba Kaawa nti ebiragiro bya Yakuwa bitumalako eddembe. Kyo kituufu nti Sitaani mukalabakalaba, naye ng’ekitundu ekiddako bwe kiraga, tusobola okumuwangula “kubanga tumanyi enkwe ze.”—2 Kol. 2:11.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]
Okyegomba “eddembe” abantu b’ensi lye balina?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]
Engeri gye ntambuzaamu obulamu bwange eraga nti mmanyi amazima?