Funa Omutima Ogusanyusa Yakuwa
“Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange.”—ZABBULI 51:10.
1, 2. Lwaki twandifuddeyo ku bikwata ku mutima gwaffe?
YALI muwanvu era ng’alabika bulungi. Nnabbi Samwiri yawuniikirira bwe yamulaba era n’asalawo nti omwana wa Yese ono omukulu, Katonda gwe yali alonze, okubeera kabaka mu kifo kya Sawulo. Naye Yakuwa yagamba: “Totunuulira maaso ge newakubadde embala ye bw’eri empanvu; kubanga mugaanyi: . . . abantu batunuulira okufaanana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.” Yakuwa yalonda, Dawudi, mutabani wa Yese omuto—“omusajja asanyusa omutima gwe.”—1 Samwiri 13:14, NW; 16:7.
2 Katonda asobola okutegeera ebiri mu mutima gw’omuntu, nga bwe yakitegeeza oluvannyuma nti: “Nze Mukama nkebera omutima, nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali, ng’ebibala bwe biri eby’ebikolwa bye.” (Yeremiya 17:10) Yee, ‘Mukama akebera emitima.’ (Engero 17:3) Kyokka, omutima Yakuwa gw’akebera mu muntu, gwe guluwa? Era tuyinza kukola ki okufuna omutima ogumusanyusa?
‘Omutima’
3, 4. Ekigambo ‘omutima’ kikozesebwa kitya mu Baibuli? Waayo ebyokulabirako.
3 Ekigambo ‘omutima’ kirabika mu Byawandiikibwa emirundi nga lukumi. Mu ngeri ezisinga obungi kikozesebwa mu ngeri y’akabonero. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yagamba nnabbi Musa: “Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange.” Era abo abawaangayo ne “bajja buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza.” (Okuva 25:2; 35:21) Kya lwatu engeri emu enkulu ey’omutima ogw’akabonero kwe kukubiriza omuntu okubaako ky’akola. Era omutima gwaffe ogw’akabonero, gwoleka enneewulira yaffe ey’omunda ne bye twagala. Omutima guyinza okubuubuuka n’obusungu, okutya, okunakuwala oba okusanyuka. (Zabbuli 27:3; 39:3; Yokaana 16:22; Abaruumi 9:2) Guyinza okuba ogw’amalala oba omwetoowaze, omwagazi oba omukyayi.—Engero 16:5; Matayo 11:29; 1 Peetero 1:22.
4 Bwe kityo, “omutima” gutera okukwataganyizibwa n’okukubirizibwa oba enneewulira, ng’ate “endowooza” yo okusingira ddala ekwataganyizibwa n’ebirowoozo wamu n’okutegeera. Ago ge gaba amakulu g’ebigambo ebyo bwe bikozesebwa awamu mu Byawandiikibwa. (Matayo 22:37; Abafiripi 4:7) Naye omutima n’endowooza tebyawukanira ddala. Ng’ekyokulabirako, Musa yakubiriza Abaisiraeri: “Mujjukire mu mutima gwammwe [oba, “mujjukire mu birowoozo byammwe,” obugambo obutono wansi] nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima.” (Ekyamateeka 4:39, NW) Eri abawandiisi abaali bakola olukwe lw’okumutta, Yesu yagamba: “Kiki ekibalowoozesa obubi mu mitima gyammwe?” (Matayo 9:4) ‘Okutegeera,’ ‘okumanya,’ ne ‘okulowooza’ biyinza okukwataganyizibwa n’omutima. (1 Bassekabaka 3:12; Engero 15:14; Makko 2:6) N’olwekyo, omutima ogw’akabonero nagwo guyinza okukwataganyizibwa n’ebirowoozo oba okutegeera.
5. Omutima ogw’akabonero gukiikirira ki?
5 Okusinziira ku kitabo ekimu, omutima ogw’akabonero gukiikirira ‘ekiri munda yaffe, endowooza n’enneewulira, era bwe kityo omutima ogw’akabonero gutegeeza omuntu ow’omunda ng’ayoleka ebikolwa bye ebitali bimu, by’ayagala, enneewulira ze, ebigendererwa bye, ebirowoozo bye, amagezi ge, by’amanyi, enzikiriza ze, ne by’ajjukira.’ Gukiikirira kye tuli ddala munda, ‘mu mutima.’ (1 Peetero 3:4) Ekyo Yakuwa ky’alaba era ky’akebera. Bwe kityo Dawudi yasaba: “Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange.” (Zabbuli 51:10) Tuyinza tutya okufuna omutima omulongoofu?
‘Muteeke Emitima Gyammwe’ ku Kigambo kya Katonda
6. Biki Musa bye yakubiriza Abaisiraeri nga basiisidde ku Nsenyi za Mowaabu?
6 Ng’abuulirira abaana ba Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde ku Nsenyi za Mowaabu nga tebannayingira Nsi Nsuubize, Musa yagamba: “Muteeke omutima gwammwe ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliragira abaana bammwe, okukwata ebigambo byonna eby’amateeka ago okubikolanga.” (Ekyamateeka 32:46) Abaisiraeri baalina ‘okussaayo omwoyo.’ (Okusinziira ku nkyusa ya Knox) Okumanya obulungi ebiragiro bya Katonda kyandibasobozesezza okubiyigiriza abaana baabwe.—Ekyamateeka 6:6-8.
7. Kiki ekizingirwa mu ‘kussa omutima gwaffe’ ku Kigambo kya Katonda?
7 Ekintu ekikulu ekyetaagisa okufuna omutima omulongoofu kwe kufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda, by’ayagala n’ebigendererwa bye. Mu Kigambo kya Katonda mwokka mwe tuyinza okufuna okumanya okwo. (2 Timoseewo 3:16, 17) Kyokka, okufuna obufunyi okumanya ku bwakyo, tekijja kutuyamba kufuna mutima gusanyusa Yakuwa. Okumanya okusobola okubaako kye kukola ku kye tuli munda, tuteekwa ‘okussa omutima gwaffe’ ku bye tuyiga. (Ekyamateeka 32:46) Kino kiyinza kukolebwa kitya? Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli annyonnyola: “Njijukira ennaku ez’edda; ndowooza ebikolwa byo byonna: nfumiitiriza omulimu ogw’engalo zo.”—Zabbuli 143:5.
8. Bibuuzo ki bye tuyinza okufumiitirizaako nga tuyiga?
8 Naffe twandifumiitirizza ku mirimu gya Yakuwa. Nga tusoma Baibuli oba ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, twetaaga okufumiitiriza ku bibuuzo nga: ‘Kino kinjigiriza ki ku Yakuwa? Ngeri ki eza Yakuwa ezeeyolese wano? Kino kinjigiriza ki ku ekyo Yakuwa ky’ayagala ne ky’atayagala? Biki ebiva mu kugoberera ekkubo Yakuwa ly’ayagala oba eryo ly’akyawa? Bino bikwatagana bitya ne bye mmanyi?’
9. Okweyigiriza n’okufumiitiriza bya muganyulo kwenkana wa?
9 Lisa ow’emyaka asatu mu ebiria annyonnyola engeri gye yasiimamu omuganyulo oguli mu kuyiga n’okufumiitiriza: “Oluvannyuma lw’okubatizibwa mu 1994, nnali munyiikivu mu mazima okumala emyaka ebiri. Nnagendanga mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo zonna, ne mbuulira essaawa eziri wakati wa 30 ne 40 buli mwezi mu buweereza bw’ennimiro, era n’embeera ne Bakristaayo bannange. Kyokka oluvannyuma nnatandika okuddirira. Nnaddirira nnyo n’entuuka n’okumenya etteeka lya Katonda. Naye n’ekuba ku kifuba n’ensalawo okulongoosa obulamu bwange. Nga ndi musanyufu nnyo nti Yakuwa yakkiriza okwenenya kwange n’anzikiriza okukomawo! Ntera okwebuuza: ‘Lwaki nnaddirira?’ Ekitera okunzigyira mu birowoozo kiri nti nnalagajjalira okuyiga n’okufumiitiriza. Amazima ga Baibuli gaali tegannatuuka ku mutima gwange. Okuva olwo n’okweyongerayo, okweyigiriza n’okufumiitiriza bintu bikulu mu bulamu bwange.” Nga tweyongera okukula mu kumanya okukwata ku Yakuwa, Omwana we, n’Ekigambo kye, nga kikulu nnyo okuwaayo ekiseera okufumiitiriza!
10. Lwaki kikulu nnyo ffe okuwaayo ebiseera okuyiga n’okufumiitiriza?
10 Mu nsi eno omuli eby’okukola ebingi, si kyangu kufuna ebiseera eby’okuyiga n’okufumiitiriza. Kyokka, Abakristaayo leero banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize—ensi ya Katonda empya ey’Obutuukirivu. (2 Peetero 3:13) Ebintu ebyewuunyisa, ng’okuzikirizibwa kwa ‘Babulooni Ekinene’ era n’olulumba lwa ‘Googi ow’omu nsi ya Magoogi’ ku bantu ba Yakuwa, biri kumpi. (Okubikkulirwa 17:1, 2, 5, 15-17; Ezeekyeri 38:1-4, 14-16; 39:2) Ebiri mu maaso biyinza okugezesa okwagala kwaffe eri Yakuwa. N’olwekyo, kikulu nnyo okugula ebiseera n’okussa omutima gwaffe ku Kigambo kya Katonda!—Abaefeso 5:15, 16.
‘Teekateeka Omutima Gwo Okusoma Ekigambo kya Katonda’
11. Omutima gwaffe guyinza gutya okugeraageranyizibwa ku ttaka?
11 Omutima ogw’akabonero guyinza okugeraageranyizibwa ku ttaka omuyinza okusigibwa ensigo z’amazima. (Matayo 13:18-23) Ettaka litera okuteekebwateekebwa okusobola okukakasa nti ebimera bikula bulungi. Mu ngeri y’emu, omutima gwaffe gusaanidde okuteekebwateekebwa gusobole okukkiriza Ekigambo kya Katonda. Ezera kabona ‘yateekateeka omutima gwe okusoma amateeka ga Yakuwa.’ (Ezera 7:10, NW) Tuyinza tutya okuteekateeka emitima gyaffe?
12. Kiki ekinaayamba okuteekateeka omutima okuyiga?
12 Engeri emu ey’okuteekateeka emitima gyaffe nga tusoma Ekigambo kya Katonda, kwe kusaba. Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo ez’abasinza ab’amazima ziggulwawo era ne zifundikirwa n’okusaba. Nga kituukirawo bwe tusaba nga tutandika okuyiga Baibuli ate era ne tuba banyiikivu nga tuyiga!
13. Okufuna omutima ogusanyusa Yakuwa, kiki kye tuteekwa okukola?
13 Omutima ogw’akabonero guteekwa okuba omwetegefu okwesamba endowooza enkyamu. Abakulembeze b’eddiini mu kiseera kya Yesu tebaali beetegefu kukola bwe batyo. (Matayo 13:15) Ku luuyi olulala, Maliyamu, maama wa Yesu alina bye yasalawo mu ‘mutima gwe’ okusinziira ku mazima ge yali awulidde. (Lukka 2:19, 51) Yafuuka omuyigirizwa wa Yesu omwesigwa. Ludiya ow’e Suwatira yawuliriza Pawulo, ‘era Yakuwa n’aggula omutima gwe okussaayo omwoyo.’ Yafuuka omukkiriza. (Ebikolwa 16:14, 15) Tetukalambiranga ku ndowooza zaffe oba enjigiriza ze twagala ennyo. Wabula, tubeere beetegefu ‘okuleka Katonda okuba ow’amazima wadde buli muntu aba mulimba.’—Abaruumi 3:4.
14. Tuyinza tutya okutegeka emitima gyaffe okuwuliriza mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo?
14 Kikulu nnyo okuteekateeka omutima okuwuliriza mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Ebintu ebimu biyinza okutuwugula okuva ku byogerwa. Ebigambo ebyogerwa biyinza okutuganyula ekitono singa twemalira ku bintu ebyabaddewo mu lunaku oba ne tulowooza ku kinaabaawo enkeera. Tulina okuba abamalirivu okuwuliriza n’okuyiga bwe tuba ab’okuganyulwa mu ebyo ebyogerwa. Nga tujja kufuna emiganyulo mingi singa tuba bamalirivu okutegeera ebyawandiikibwa ebinnyonnyolwa n’amakulu gaabyo!—Nekkemiya 8:5-8, 12.
15. Obwetoowaze butuyamba butya okubeera abantu abaagala okuyigirizibwa?
15 Ng’ebigimusa bwe biyinza okulongoosa ettaka, obwetoowaze, okwagala eby’omwoyo, obwesigwa, okutya Katonda n’okumwagala nabyo biyinza okulongoosa omutima gwaffe ogw’akabonero. Obwetoowaze bugonza omutima, ne kitufuula abantu abaagala okuyigirizibwa. Yakuwa yagamba Yosiya, Kabaka wa Yuda: “Kubanga omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaliza mu maaso ga Mukama bw’owulidde bye nnayogera . . . n’okaaba amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde.” (2 Bassekabaka 22:19) Omutima gwa Yosiya gwali mwetoowaze era oguwuliriza. Obwetoowaze bwayamba abayigiriza ba Yesu abaali ‘batamanyi kusoma era abatayigirizibwa nnyo’ okutegeera n’okugoberera amazima g’eby’omwoyo, “abagezi n’abakabakaba” ge baalemererwa okutegeera. (Ebikolwa 4:13; Lukka 10:21) “Twetoowaze mu maaso ga Katonda” nga tugezaako okufuna omutima ogusanyusa Yakuwa.—Ezera 8:21.
16. Lwaki twetaaga okufuba okusobola okulaakulanya enjala ey’eby’omwoyo?
16 Yesu yagamba: “Balina essanyu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Matayo 5:3, NW) Wadde tulina obusobozi bw’okusiima ebintu by’omwoyo, okunyigirizibwa okuva mu nsi eno embi oba obugayaavu biyinza okutulemesa okulaba obwetaavu obwo. (Matayo 4:4) Tuteekwa okukulaakulanya okwegomba emmere ey’eby’omwoyo. Wadde nga mu kusooka tuyinza obutanyumirwa kusoma Baibuli n’okweyigiriza, bwe tunyiikira tujja kukisanga nti okumanya ‘kuwomera emmeeme yaffe,’ ne kiba nti twesunga ebiseera eby’okuyiga.—Engero 2:10, 11.
17. (a) Lwaki kitugwanidde okussa obwesige mu Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okussa obwesige mu Katonda?
17 Kabaka Sulemaani yagamba: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe.” (Engero 3:5) Omutima ogwesiga Yakuwa gumanyi nti buli kintu ky’Atwetaaza oba ky’atubuulira okuyitira mu Kigambo kye, kituufu. (Isaaya 48:17) Mazima ddala tugwanidde okuteeka obwesige bwaffe mu Yakuwa. Alina obusobozi bw’okutuukiriza ebigendererwa bye byonna. (Isaaya 40:26, 29) Erinnya lye litegeeza “Asobozesa Ebintu Okubaawo,” era ekyo kituwa obukakafu nti asobola okutuukiriza ebyo bye yasuubiza! “Mutuukirivu mu makubo ge gonna, era wa kisa mu mirimu gye gyonna.” (Zabbuli 145:17) Kya lwatu, okusobola okumwesiga, twetaaga ‘okulegako n’okulaba nti Yakuwa mulungi’ nga tukozesa bye tuyiga mu Baibuli mu bulamu bwaffe era n’okufumiitiriza ku miganyulo egiva mu kukola bwe tutyo.—Zabbuli 34:8.
18. Okutya Katonda kutuyamba kutya okukkiriza obulagirizi bwe?
18 Ng’ayogera ku kintu ekirala ekisobozesa emitima gyaffe okukkiriza obulagirizi obuva eri Katonda, Sulemaani yagamba: “Tyanga Mukama ove mu bubi.” (Engero 3:7) Yakuwa yayogera bw’ati ku bikwata ku Isiraeri eky’edda: “Singa mulimu omutima mu bo ogufaanana bwe guti n’okutya bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna ennaku zonna, balyoke balabe ebirungi n’abaana baabwe emirembe gyonna!” (Ekyamateeka 5:29) Yee, abo abatya Katonda, bamugondera. Yakuwa asobola “okweraga bwali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali” n’okubonereza abo abamujeemera. (2 Ebyomumirembe 16:9) Ka okutya okunyiiza Katonda kutukubirize mu bikolwa byaffe byonna, mu ndowooza zaffe ne mu nneewulira zaffe ez’omunda.
‘Yagala Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna’
19. Okwagala kulina kifo ki mu kuyamba omutima gwaffe okukkiriza obulagirizi bwa Yakuwa?
19 Okusinga engeri endala zonna, okwagala kuleetera emitima gyaffe okukkiriza obulagirizi bwa Yakuwa. Omutima ogujjudde okwagala okwo, guleetera omuntu okwagala okumanya ebisanyusa Katonda n’ebimunyiiza. (1 Yokaana 5:3) Yesu yagamba: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Matayo 22:37) Ka tunyweze okwagala kwaffe eri Katonda, nga tugifuula empisa yaffe okufumiitiriza ku bulungi bwe, nga twogera naye obutayosa nga mukwano gwaffe ow’oku lusegere, era nga tumwogerako n’eri abalala.
20. Tuyinza tutya okufuna omutima ogusanyusa Yakuwa?
20 Nga twejjukanya: Okufuna omutima ogusanyusa Yakuwa kizingiramu okuleka Ekigambo kye okubaako kye kikola ku kye tuli munda, mu mutima. Kikulu nnyo okwesomesa Ebyawandiikibwa n’okubifumiitirizaako. Engeri esingayo obulungi ey’okukola bwe tutyo, kwe kuteekateeka omutima—omutima ogutalina ndowooza nkyamu, era ogujjudde engeri ezitufuula abantu abaagala okuyigirizibwa! Yee, nga tuyambibwako Yakuwa, tuyinza okufuna omutima ogumusanyusa. Kyokka, biki bye tuyinza okukola okusobola okukuuma omutima gwaffe?
[Obugambo obuli wansi]
a Erinnya likyusiddwa.
Wandizzeemu Otya?
• Omutima ogw’akabonero Yakuwa gw’akebera gwe guluwa?
• Tuyinza tutya ‘okussa omutima gwaffe’ ku Kigambo kya Katonda?
• Tuyinza tutya okuteekateeka omutima gwaffe okusoma Ekigambo kya Katonda?
• Oluvannyuma lw’okwekenneenya ekitundu kino, owulira ng’okubiriziddwa kukola ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Dawudi yafumiitiriza ku bintu eby’omwoyo. Naawe bw’otyo bw’okola?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Teekateeka omutima gwo nga tonnayiga Kigambo kya Katonda