Obulagirizi Obulungi eri Abafumbo
“Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe.”—ABAEFESO 5:22, 25.
1. Ndowooza ki entuufu gye twandibadde nayo ku bufumbo?
YESU yagamba nti obufumbo ye nteekateeka ya Katonda ey’okugatta awamu omusajja n’omukazi ne baba “omubiri gumu.” (Matayo 19:5, 6) Obufumbo bugatta wamu abantu babiri abalina engeri ez’enjawulo, ne bayiga okukolera awamu okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kimu. Obufumbo nteekateeka ya lubeerera era tebulina kumala gasattululwa. Mu nsi nnyingi, kyangu okugattulula obufumbo, naye eri Omukristaayo, obufumbo butukuvu. Ensonga eyinza okuviirako obufumbo okugattululwa eteekwa kuba nga nkulu nnyo.—Matayo 19:9.
2. (a) Buyambi ki abafumbo bwe balina? (b) Lwaki kikulu okufuba okufuula obufumbo obw’essanyu?
2 Omuwabuzi w’abafumbo omu yagamba: “Mu bufumbo obulungi mubaamu okukola enkyukakyuka, okugonjoola ebizibu ebiba bibaluseewo, n’okukozesa obuyambi bwonna obubaawo mu kiseera ekyo.” Eri abafumbo Abakristaayo, obuyambi obwo buzingiramu okubuulirira okusangibwa mu Baibuli, obuyambi bw’Abakristaayo bannaabwe, okusaba, era n’okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Obufumbo obulungi buwangaala, era emyaka bwe gigenda giyitawo, omwami n’omukyala beeyongera okufuna essanyu n’obumativu. N’ekisinga obukulu, butenderezesa Oyo eyatandikawo obufumbo, Yakuwa Katonda.—Olubereberye 2:18, 21-24; 1 Abakkolinso 10:31; Abaefeso 3:15; 1 Abasessaloniika 5:17.
Koppa Yesu n’Ekibiina Kye
3. (a) Nnyonnyola ensonga enkulu eziri mu kubuulira Pawulo kwe yawa abafumbo. (b) Kyakulabirako ki ekirungi Yesu kye yassaawo?
3 Emyaka enkumi bbiri egiyise, omutume Pawulo yawa abafumbo okubuulirira okulungi bwe yagamba: “Ng’ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo. Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo.” (Abaefeso 5:24, 25) Kuno nga kwali kugeraageranya kulungi nnyo! Abakazi Abakristaayo abagondera babbaabwe baba bakoppa ekibiina mu ngeri gye kigobereramu omusingi gw’obukulembeze. N’abasajja Abakristaayo abaagala bakazi baabwe wadde ne mu biseera ebizibu, baba bakoppa ekyokulabirako kya Kristo mu ngeri gy’ayagalamu ekibiina era n’okukifaako.
4. Abasajja basobola batya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu?
4 Abaami Abakristaayo gye mitwe gy’amaka gaabwe, naye era nabo balina omutwe gwabwe, Yesu. (1 Abakkolinso 11:3) N’olwekyo, nga Yesu bwe yalabirira ekibiina, n’abasajja bwe batyo bwe balina okulabirira ab’omu maka gaabwe mu by’omwoyo ne mu by’omubiri, ekyo ne bwe kiba nga kibeetaagisa okwerekereza ennyo. Bakulembeza ebyetaago by’ab’omu maka gaabwe mu kifo ky’ebyabwe. Yesu yagamba: “Byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.” (Matayo 7:12) Omusingi ogwo mukulu nnyo mu bufumbo. Kino Pawulo yakiraga bwe yagamba nti: “Kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng’emibiri gyabwe bennyini. Kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa agujjanjaba.” (Abaefeso 5:28, 29) Omusajja alina okuliisa era n’okulabirira mukazi we nga naye bwe yeerabirira.
5. Abakazi basobola batya okukoppa ekibiina Ekikristaayo?
5 Abakazi abatya Katonda bakoppa ekibiina Ekikristaayo. Yesu bwe yali ku nsi, abagoberezi be baaleka byonna bye baali bakola ne bamugoberera. Oluvannyuma lw’okufa kwe, beeyongera okumugondera, era wadde nga kati wayiseewo emyaka egisukka mu 2,000, ekibiina Ekikristaayo eky’amazima kikyamugondera era kigoberera obukulembeze bwe mu bintu byonna. Mu ngeri y’emu, abakyala Abakristaayo tebanyooma babbaabwe era tebatwala nteekateeka ya bukulembeze mu bufumbo ng’ekintu ekitali kikulu. Wabula, bawagira babbaabwe, babagondera, bakolaganira wamu nabo, era bwe bakola bwe batyo, babazzaamu amaanyi. Omwami n’omukyala bwe balagaŋŋana okwagala mu ngeri eyo, obufumbo bwabwe bujja kuba bulungi era bombi bajja kufuna essanyu mu bufumbo.
Mweyongere Okubeera Nabo
6. Kubuulirira ki Peetero kwe yawa abasajja, era lwaki kukulu?
6 N’omutume Peetero yabuulirira abafumbo, era ebigambo bye eri abasajja byali bituukira ddala ku nsonga. Yagamba: “Mubeerenga n’abakazi bammwe n’amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng’ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab’ekisa eky’obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.” (1 Peetero 3:7) Obukulu bw’okubuulirira kwa Peetero bweyolekera mu bigambo ebisembayo mu lunyiriri olwo. Singa omusajja alemererwa okuwa mukazi we ekitiibwa, enkolagana ye ne Yakuwa tejja kuba nnungi. Okusaba kwe tekujja kuddibwamu.
7. Omusajja yandiwadde atya mukazi we ekitiibwa?
7 Kati olwo, abasajja basobola batya okuwa bakazi baabwe ekitiibwa? Okuwa omukazi ekitiibwa kitegeeza okumuyisa mu ngeri ey’okwagala era n’obutamuweebuula. Okuyisa omukazi mu ngeri eyo, tekyali kya bulijjo eri abantu bangi. Omwekenneenya Omuyonaani yagamba: “Mu mateeka g’Abaruumi, omukyala teyalinanga bwogerero. Mu mateeka omukyala yali atwalibwa ng’omwana omuto. . . . Yalinanga okugondera mwami we mu buli kimu era ng’omwami ky’ayagala ky’amukola.” Ekyo nga kyawukana nnyo ku njigiriza ez’Ekikristaayo! Omusajja Omukristaayo yawanga mukazi we ekitiibwa. Yagobereranga emisingi egy’Ekikristaayo mu ngeri gye yakolaganangamu naye so si okugoberera endowooza eyiye ku bubwe. Ate era yamufangako, ng’akolagana naye mu ngeri ‘ey’amagezi,’ ng’akimanyi nti mukazi we kibya ekinafu.
Mu Ngeri Ki Omukazi gy’Ali ‘Ekibya Ekinafu’?
8, 9. Mu ngeri ki abakazi gye benkanankana n’abasajja?
8 Peetero bwe yagamba nti omukazi ‘kibya kinafu,’ yali tategeeza nti abakazi banafu mu kutegeera oba mu by’omwoyo okusinga abasajja. Kyo kituufu nti, abasajja bangi Abakristaayo balina enkizo mu kibiina abakazi ze batasuubira kufuna, era ne mu maka abakazi bagondera babbaabwe. (1 Abakkolinso 14:35; 1 Timoseewo 2:12) Wadde kiri kityo, abasajja n’abakazi balina okubeera n’okukkiriza, obugumiikiriza, n’empisa ennungi. Era nga Peetero bwe yagamba, abasajja n’abakazi “basika . . . ab’ekisa eky’obulamu.” Ku bikwata ku kulokolebwa, Yakuwa Katonda ajja kuwonyawo abasajja n’abakazi. (Abaggalatiya 3:28) Peetero yali awandiikira Bakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu kyasa ekyasooka. N’olwekyo, ebigambo bye byajjukiza abasajja abafumbo Abakristaayo nti bo ne bakazi baabwe baalina essuubi lye limu ery’okugenda mu ggulu ‘okufuuka abasika awamu ne Kristo.’ (Abaruumi 8:17) Ekiseera kyandituuse abasajja n’abakazi ne baweereza nga bakabona era bakabaka mu Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu!—Okubikkulirwa 5:10.
9 Abakyala Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebaali ba wansi ku babbaabwe Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Era omusingi ogwo gukwata ne ku abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Abasajja n’abakazi ‘ab’ekibiina ekinene’ bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga. Abasajja n’abakazi batendereza Yakuwa “emisana n’ekiro” mu nsi yonna. (Okubikkulirwa 7:9, 10, 14, 15) Abasajja n’abakazi beesunga “okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda” bwe balifuna ‘obulamu obwa nnamaddala.’ (Abaruumi 8:21; 1 Timoseewo 6:19) Ka babe nga baafukibwako amafuta, oba nga ba ndiga ndala, Abakristaayo bonna baweerereza wamu Yakuwa ‘ng’ekisibo kimu’ wansi ‘w’omusumba omu.’ (Yokaana 10:16) Ekyo nga kyandikubirizza nnyo omusajja n’omukazi Abakristaayo okuwaŋŋana ekitiibwa!
10. Mu ngeri ki abakazi gye bali ‘ebibya ebinafu’?
10 Kati olwo, mu ngeri ki abakazi gye bali ‘ebibya ebinafu’? Oboolyawo Peetero yali ategeeza nti okutwalira awamu, abakazi baba batono mu kikula era nga tebalina maanyi ng’abasajja. Okugatta ku ekyo, olw’okuba tetutuukiridde, enkizo gye balina ey’okuzaala abaana, ekosa nnyo obulamu bwabwe. Abakazi abali mu myaka egy’okuzaala, batera nnyo okutawaanyizibwa mu mibiri gyabwe. Mu butuufu, baba beetaaga okufiibwako mu ngeri ey’enjawulo mu kiseera we babeerera olubuto ne mu kiseera eky’okuzaala. Omwami awa mukazi we ekitiibwa, era n’amanya obuyambi bwe yeetaaga, akola kinene nnyo mu kusobozesa obufumbo bwabwe okubeera obulungi.
Mu Maka Agatali Bumu mu Nzikiriza
11. Mu ngeri ki obufumbo gye busobola okubeera obulungi wadde ng’omwami n’omukyala tebali bumu mu nzikiriza?
11 Kati ate kiba kitya singa abafumbo baba n’enzikiriza ez’enjawulo ng’omu ku bo yakkiriza amazima nga bamaze kufumbiriganwa? Obufumbo ng’obwo busobola okubeera obulungi? Ebyokulabirako eby’abafumbo bangi biraga nti kisoboka. Omwami n’omukyala abalina enzikiriza ez’enjawulo basobola okubeera n’obufumbo obulungi, obuwangaazi, era obw’essanyu. Ng’oggyeko ekyo, obufumbo obwo buba bukyakkirizibwa mu maaso ga Yakuwa olw’okuba baba bakyali “omubiri gumu.” N’olwekyo, Abakristaayo bakubirizibwa okusigala ne bannaabwe mu bufumbo wadde nga tebali bumu mu nzikiriza kasita munne aba ng’ekyo akyagala. Bwe baba nga balina abaana, abaana abo bayambibwa omuzadde Omukristaayo.—1 Abakkolinso 7:12-14.
12, 13. Nga bagoberera okubuulira kwa Peetero, abakazi Abakristaayo basobola batya okuyamba babbaabwe abatali bakkiriza?
12 Mu ngeri ey’ekisa, Peetero abuulirira abakazi Abakristaayo abali mu maka agatali bumu mu nzikiriza. Omusingi ogwo gusobola n’okukozesebwa abasajja Abakristaayo abali mu mbeera y’emu. Peetero agamba: “Abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe; bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez’okutya.”—1 Peetero 3:1, 2.
13 Omukazi bw’aba ng’asobola okunnyonnyola omwami we enzikiriza ye mu ngeri ey’amagezi, ekyo kiba kirungi. Naye kiba kitya singa omusajja aba tayagala kuwuliriza? Ekyo kiri eri ye. Wadde ng’omusajja aba asazeewo obutawuliriza, omukazi talina kuggwaamu maanyi, okuva bw’asobola okuwa obujulirwa nga yeeyambisa empisa ennungi ez’Ekikristaayo. Abasajja bangi mu kusooka abaali tebaagala mazima oba abaali baziyiza bakazi baabwe, ‘bakkiriza amazima’ oluvannyuma lw’okulaba empisa za bakazi baabwe ennungi. (Ebikolwa 13:48) Omusajja ne bw’aba nga takkirizza mazima, ayinza okukwatibwako olw’empisa ennungi eza mukazi we, era ekyo kisobola okuviirako obufumbo okubeera obulungi. Omusajja omu alina mukazi we Omujulirwa wa Yakuwa yagamba nti ye tasobola kutuukanya bulamu bwe na mitindo gyabwe egya waggulu. Wadde kiri kityo, yagamba nti “musanyufu nnyo olw’okuba nti alina omukazi omulungi” era yatendereza nnyo mukazi we awamu n’Abajulirwa abalala mu bbaluwa gye yawandiika mu lupapula lw’amawulire.
14. Abasajja basobola batya okuyamba bakazi baabwe abatali bakkiriza?
14 Abasajja Abakristaayo abagoberedde omusingi Peetero gwe yawa, nabo basobodde okuwangula bakazi baabwe nga booleka empisa ennungi. Abakazi abatali bakkiriza balabye abaami baabwe nga bafuuka abantu ab’obuvunaanyizibwa, nga balekera awo okwonoonera ssente mu kunywa sigala, omwenge, okukuba zzaala n’okulekera awo okukozesa ebigambo ebivuma. Abamu ku bakazi abo abatali bakkiriza bamanyi Abajulirwa abalala. Abakazi abo baakwatibwako nnyo olw’okwagala ab’oluganda kwe balaga bannaabwe, era ekyo kyabaleetera okutandika okusinza Yakuwa.—Yokaana 13:34, 35.
“Omuntu ow’Omwoyo Atalabika”
15, 16. Mpisa za ngeri omukazi Omukristaayo z’alina okwoleka eziyinza okuwangula bba?
15 Mpisa za ngeri ki ezisobola okuwangula omusajja? Z’ezo omukazi Omukristaayo z’asaanidde okuba nazo. Peetero agamba: “Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw’okuluka enviiri n’okunaanika ezaabu n’okwambala engoye; naye omuntu ow’omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda. Kubanga bwe batyo edda era n’abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini: nga Saala bwe yawulira Ibulayimu, ng’amuyita omwami: nammwe muli baana b’oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna.”—1 Peetero 3:3-6.
16 Peetero abuulirira omukazi Omukristaayo obuteemalira ku ndabika ye ey’okungulu. Mu kifo ky’ekyo, yandirese mwami we okukiraba nti Baibuli emusobozesezza okukola enkyukakyuka. Omwami asaanidde okukiraba nti mukazi we ayambadde omuntu omuggya. Oboolyawo, ajja kugeraageranya omuntu omuggya gw’alina kati n’omukadde gwe yalina emabega. (Abaefeso 4:22-24) Omwami ajja kuzzibwamu nnyo amaanyi ‘olw’omwoyo ogw’obuwombeefu era omuteefu’ mukazi we gw’ayoleka. Enneeyisa eyo tejja kukoma ku kusanyusa mwami we yekka, naye era ‘esiimibwa mu maaso ga Katonda.’—Abakkolosaayi 3:12.
17. Mu ngeri ki Saala gy’ali ekyokulabirako ekirungi eri abakazi Abakristaayo abafumbo?
17 Saala yassaawo ekyokulabirako ekirungi eri abakazi Abakristaayo abafumbo ku ngeri gye bandyeyisizzaamu eri babbaabwe ka babe bakkiriza oba nga si bakkiriza, era ekyokulabirako kye kisaanidde okukoppebwa. Awatali kubuusabuusa, Saala yatwala Ibulayimu okuba omutwe gwe. Era ne mu mutima gwe, yamuyitanga “mukama wange.” (Olubereberye 18:12) Kyokka ekyo tekyamufeebya. Yali mukazi munywevu nnyo mu by’omwoyo olw’okuba yali akkiririza mu Yakuwa. Mazima ddala, Saala y’omu ku abo abali mu ‘lufu lw’abajulirwa’ abassaawo ekyokulabirako ekirungi eky’okukkiriza ekitukubiriza ‘okudduka n’obugumiikiriza embiro eziteekeddwa mu maaso gaffe.’ (Abaebbulaniya 11:11; 12:1) Tekifeebya mukazi Mukristaayo bwe yeeyisa nga Saala.
18. Misingi ki egirina okugobererwa mu maka agatali bumu mu nzikiriza?
18 Ne mu maka agatali bumu mu nzikiriza, omusajja y’aba omutwe gw’amaka. Omusajja bw’aba nga ye mukkiriza, alina okussa ekitiibwa mu nzikiriza za mukazi we naye ate nga teyekkiriranya nzikiriza ze. Omukazi bw’aba nga ye mukkiriza, naye tateekwa kwekkiriranya zize. (Ebikolwa 5:29) Naye wadde kiri kityo, tajja kunyooma bukulembeze bwa bba. Ajja kussa ekitiibwa mu kifo ky’omwami we era asigale wansi ‘w’obuyinza bwe.’—Abaruumi 7:2.
Obulagirizi bwa Baibuli Obulungi
19. Ebimu ku bintu ebisobola okuleetawo ebizibu mu bufumbo bye biruwa, naye bisobola bitya okuziyizibwa?
19 Leero waliwo ebintu bingi ebisobola okuleetawo ebizibu mu bufumbo. Abasajja abamu balemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Abakazi abamu bagaana okukkiriza obukulembeze bw’abaami baabwe. Mu bufumbo obumu, omu ku bo avumibwa era n’akubibwa. Ate era, ebizibu eby’eby’enfuna, obutali butuukirivu, n’obugwenyufu obucaase ennyo mu nsi, bisobola okugezesa obwesigwa bw’Omukristaayo. Wadde nga kiri kityo, Abasajja n’abakazi Abakristaayo abagoberera emisingi gya Baibuli, ka babe nga bali mu mbeera ki, bafuna emikisa gya Yakuwa. Ne bwe kiba nti omu yekka mu bufumbo obwo y’agoberera emisingi gya Baibuli, embeera eba nnungi okusinga nga tewali n’omu ku bo agigoberera. Ate era, Yakuwa ayagala era ayamba abaweereza be abeeyongera okunywerera ku bannaabwe mu bufumbo embeera ne bwe ziba nga nzibu zitya. Tasobola kwerabira bwesigwa bwabwe.—Zabbuli 18:25; Abaebbulaniya 6:10; 1 Peetero 3:12.
20. Peetero yabuulirira atya Abakristaayo bonna?
20 Oluvannyuma lw’okubuulirira abasajja n’abakazi abafumbo, omutume Peetero yafundikira n’ebigambo ebizzaamu amaanyi. Yagamba bw’ati: “Eky’enkomerero, mwenna mubeerenga n’emmeeme emu, abasaasiragana, abaagalana ng’ab’oluganda, ab’ekisa, abawombeefu: abatawalananga kibi olw’ekibi, oba ekivume olw’ekivume; naye obutafaanana ng’ebyo, abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa.” (1 Peetero 3:8, 9) Okwo nga kubuulirira kulungi nnyo, naddala eri abafumbo!
Ojjukira?
• Abasajja Abakristaayo bakoppa batya Yesu?
• Abakazi Abakristaayo bakoppa batya ekibiina?
• Mu ngeri ki abasajja gye bawaamu bakazi baabwe ekitiibwa?
• Omukazi Omukristaayo alina bba atali mukkiriza yandikoze ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Omusajja Omukristaayo ayagala era afaayo ku mukazi we
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Omukazi Omukristaayo assa ekitiibwa mu bba
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Abasajja n’abakazi ‘ab’ekibiina ekinene’ basuubira okufuna obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Saala yatwala Ibulayimu nga mukama we