ESSUULA 30
“Mutambulirenga mu Kwagala”
1-3. Kiki ekivaamu bwe tukoppa ekyokulabirako kya Yakuwa eky’okulaga okwagala?
“OKUGABA kuleeta essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35, NW) Ebigambo bya Yesu ebyo biggumiza ekintu kino ekikulu: Okwagala okw’okwerekereza kuganyula. Wadde ng’okuweebwa kireeta essanyu lingi, okugaba oba okulaga abalala okwagala kuleeta essanyu erisingawo.
2 Tewali amanyi ekyo okusinga Kitaffe ali mu ggulu. Nga bwe twalaba mu ssuula ezaasooka mu kitundu kino, Yakuwa kye kyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi eky’okwagala. Tewali n’omu alaze kwagala mu ngeri esingawo oba okumala ekiseera ekiwanvu okumusinga. N’olwekyo, kyewuunyisa nti Yakuwa ayitibwa ‘Katonda omusanyufu’?—1 Timoseewo 1:11.
3 Katonda waffe ow’okwagala ayagala tubeere nga ye, naddala bwe kituuka ku kulaga okwagala. Abeefeso 5:1, 2 watugamba: “Kale mugobererenga [“mukoppenga,” NW] Katonda, ng’abaana abaagalwa era mutambulirenga mu kwagala.” Bwe tukoppa ekyokulabirako kya Yakuwa eky’okulaga okwagala, tufuna essanyu erisingawo eriva mu kugaba. Era tumatira bwe tumanya nti tusanyusa Yakuwa, kubanga Ekigambo kye kitukubiriza “okwagalananga.” (Abaruumi 13:8) Naye waliwo ensonga endala lwaki ‘twanditambulidde mu kwagala.’
Ensonga Lwaki Okwagala Kukulu Nnyo
4, 5. Lwaki kikulu okulaga bakkiriza bannaffe okwagala okw’okwerekereza?
4 Lwaki kikulu okulaga bakkiriza bannaffe okwagala? Mu ngeri ennyangu, okwagala kwe kwoleka Obukristaayo obw’amazima. Awatali kwagala tetuyinza kubeera na nkolagana nnungi na Bakristaayo bannaffe, era n’ekisingawo n’obukulu, tetuba ba muwendo mu maaso ga Yakuwa. Weetegereze engeri Ekigambo kya Katonda gye kyogera ku mazima ago.
5 Mu kiro ekyasembayo eky’obulamu bwe, Yesu yagamba abagoberezi be: “Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:34, 35) “Nga bwe nnabaagalanga”—yee, tulagirwa okulaga okwagala ng’okwo Yesu kwe yalaga. Mu Ssuula 29, twalabye nti Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kulaga okwagala okw’okwerekereza, ng’akulembeza ebyetaago by’abalala. Naffe tuteekwa okulagira ddala okwagala okw’okwerekereza ne kiba nti kweyoleka n’eri abo abali ebweru w’ekibiina Ekikristaayo. Mazima ddala, okwagala okw’okwerekereza ke kabonero akatwawulawo ng’abagoberezi ba Kristo.
6, 7. (a) Tumanya tutya nti Ekigambo kya Yakuwa kiggumiza okulaga okwagala? (b) Ebigambo Pawulo bye yayogera mu 1 Abakkolinso 13:4-8 biggumiza ngeri ki ez’okwagala?
6 Kiba kitya singa tetuba na kwagala? ‘Bwe siba na kwagala,’ bw’atyo omutume Pawulo bwe yagamba, ‘mba nfuuse ekikomo ekivuga oba ebitaasa ebikubagana.’ (1 Abakkolinso 13:1) Ebitaasa ebikubagana bivuga bubi. Ate kyo ekikomo ekivuga? Enkyusa endala zigamba “ekide ekimala gavuga” oba “ekide ekireekaana.” Ng’ebyo byakulabirako ebituukirawo obulungi! Omuntu atalina kwagala alinga ekyuma ekivaamu eddoboozi eritasikiriza. Omuntu ng’oyo ayinza atya okubeera n’enkolagana ennungi n’abalala? Pawulo era yagamba: “Bwe mba n’okukkiriza kwonna, n’okuggyawo ne nziyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu.” (1 Abakkolinso 13:2) Kiteeberezeemu, omuntu atalina kwagala ‘taba na mugaso,’ k’abe ng’akoze bikolwa ki! (The Amplified Bible) Awo tekyeyoleka bulungi nti Ekigambo kya Yakuwa kiggumiza okulaga okwagala?
7 Kati olwo, tuyinza tutya okulaga okwagala nga tukolagana n’abalala? Okuddamu ekyo, ka twekkaanye ebigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 13:4-8. Ekiggumizibwa mu nnyiriri zino si ye ngeri Katonda gy’atwagalamu oba engeri ffe gye tumwagalamu. Wabula, Pawulo yaggumiza engeri gye tulina okulagaŋŋanamu okwagala. Yayogera ku bintu ebimu ebiraga okwagala kye kuli ne kye kutali.
Okwagala Kye Kuli
8. Obugumiikiriza buyinza butya okutuyamba nga tukolagana n’abalala?
8 “Okwagala kugumiikiriza.” Okugumiikiriza kutegeeza okuzibiikirizagana. (Abakkolosaayi 3:13) Tetwetaaga bugumiikiriza ng’obwo? Olw’okuba tuli bantu abatatuukiridde abakolera awamu, emirundi egimu, baganda baffe Abakristaayo bayinza okutunyiiza oba naffe tuyinza okubanyiiza. Naye obugumiikiriza buyinza okutuyamba okwaŋŋanga obutategeeragana obutonotono obubaawo nga tukolagana n’abalala—awatali kutabangula mirembe gya kibiina.
9. Tuyinza tutya okulaga abalala ekisa?
9 “Okwagala . . . kulina ekisa.” Ekisa kiragibwa ng’oyamba abalala era ng’oyogera ebigambo ebizzaamu amaanyi. Okwagala kutukubiriza okunoonya engeri y’okulagamu ekisa, naddala eri abo abali mu bwetaavu. Ng’ekyokulabirako, mukkiriza munnaffe akaddiye ayinza okuba alina ekiwuubaalo era nga yeetaaga okumukyalira okumuzzaamu amaanyi. Maama ali obwannamunigina oba mwannyinaffe ali mu maka agatali bumu mu kukkiriza ayinza okuba yeetaaga obuyambi. Omulwadde oba alina ekizibu ayinza okwagala mukwano gwe okumuzzaamu amaanyi. (Engero 12:25; 17:17) Bwe tulaga ekisa mu ngeri ng’ezo, kikakasa nti okwagala kwaffe kwa nnamaddala.—2 Abakkolinso 8:8.
10. Okwagala kutuyamba kutya okunywerera ku mazima n’okwogera amazima, wadde nga kiyinza obutaba kyangu kukikola?
10 “Okwagala . . . kusanyukira wamu n’amazima.” Enkyusa endala egamba: “Okwagala . . . kusanyuka okubeera ku ludda lwa mazima.” Okwagala kutuleetera okunywerera ku mazima ‘n’okwogera amazima eri buli omu.’ (Zekkaliya 8:16) Ng’ekyokulabirako, singa omwagalwa akola ekibi eky’amaanyi, okwagala kwe tulina eri Yakuwa era n’eri oyo ayonoonye, bijja kutuyamba okunywerera ku mitindo gya Katonda mu kifo ky’okukweka ekibi, okubaako kye twekwasa oba n’okulimba. Amazima gali nti, kiyinza okuba ekizibu okwogera ekituufu. Naye bwe tuba twagaliza omwagalwa waffe ebirungi, twandyagadde Katonda atukangavvule. (Engero 3:11, 12) Era, ng’Abakristaayo abalina okwagala, twagala ‘okubeera abeesigwa mu byonna.’—Abebbulaniya 13:18.
11. Olw’okuba okwagala ‘kugumiikiriza byonna,’ kiki kye twandikoze ku bikwata ku bisobyo bya bakkiriza bannaffe?
11 “Okwagala . . . kugumiikiriza byonna.” Ebigambo ebyo obutereevu bitegeeza nti ‘kubikka ku bintu byonna.’ (Kingdom Interlinear) Peetero ekisooka 4:8 wagamba: “Okwagala kubikka ku bibi bingi.” Yee, Omukristaayo alina okwagala tayanguwa kwanika bisobyo bya Bakristaayo banne. Emirundi egisinga, ebisobyo bya bakkiriza bannaffe biba bitono nnyo era nga biyinza okubikkibwa okwagala.—Engero 10:12; 17:9.
12. Omutume Pawulo yalaga atya nti yasuubira ebisingayo obulungi okuva eri Firemooni, era kiki kye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako kya Pawulo ekyo?
12 “Okwagala . . . kukkiriza byonna.” Enkyusa ya Moffat egamba nti okwagala “bulijjo kusuubira ebirungi.” Tetwekengera bakkiriza bannaffe nga tubuusabuusa ebiruubirirwa byabwe. Okwagala kutusobozesa ‘okusuubira ebirungi’ mu baganda baffe era n’okubeesiga.a Weetegereze kino mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Firemooni. Pawulo yawandiikira Firemooni okumukubiriza okwaniriza n’ekisa Onnessimo, omuddu eyali adduse, kyokka kati eyali afuuse Omukristaayo. Mu kifo ky’okuwaliriza Firemooni, Pawulo yamusaba mu ngeri ey’okwagala. Yeesiga Firemooni okukola ekituufu, ng’agamba: “Nkuwandiikidde nga nneesiga obugonvu bwo, nga mmanyi ng’olikola [n’okusinga] bye njogera.” (Olunyiriri 21) Okwagala bwe kutukubiriza okussa obwesige ng’obwo mu baganda baffe, kibaviirako okukola ekisingayo obulungi.
13. Tuyinza tutya okulaga nti tusuubira birungi okuva eri baganda baffe?
13 “Okwagala . . . kusuubira byonna.” Ng’okwagala bwe kwesiga abalala, era kusuubira. Olw’okwagala, tusuubira ebirungi okuva eri baganda baffe. Ng’ekyokulabirako, singa ow’oluganda ‘akwata ekkubo ekyamu,’ tusuubira nti ajja kukkiriza okuyambibwa. (Abaggalatiya 6:1) Era tusuubira nti abanafu mu kukkiriza bajja kunywera. Tugumiikiriza abalinga abo, ne tukola kyonna kye tusobola okubayamba okuddamu okuba abanywevu mu kukkiriza. (Abaruumi 15:1; 1 Abasessalonika 5:14) Omwagalwa ne bw’awaba, tetuggwaamu ssuubi nti lumu ajja kwekuba mu kifuba akomewo eri Yakuwa, okufaananako omwana omujaajaamya mu lugero lwa Yesu.—Lukka 15:17, 18.
14. Mu ngeri ki obugumiikiriza bwaffe gye buyinza okugezesebwa mu kibiina, era okwagala kunaatuyamba kutya?
14 “Okwagala . . . kugumiikiriza byonna.” Obugumiikiriza butusobozesa okubeera abanywevu nga twolekaganye n’ebintu ebimalamu amaanyi oba ebizibu. Ebizibu ebitugezesa tebiva bweru wa kibiina wokka. Emirundi egimu tugezesebwa okuva mu kibiina mwennyini. Olw’okuba baganda baffe tebatuukiridde, emirundi egimu bayinza okutumalamu amaanyi. Omuntu omu ayinza okutulumya olw’okumala googera bigambo. (Engero 12:18) Oboolyawo ensonga emu mu kibiina tekoleddwako nga bwe twandisuubidde. Engeri ow’oluganda assibwamu ekitiibwa gye yeeyisaamu eyinza okutunyiiza, n’etuleetera okwebuuza, ‘Omukristaayo ayinza atya okweyisa bw’atyo?’ Bwe twolekagana n’embeera ng’ezo, tunaava mu kibiina ne tulekera awo okuweereza Yakuwa? Bwe tuba n’okwagala tetuyinza kukivaamu! Yee, bwe tuba n’okwagala obunafu bwa muganda waffe tebujja kutuziba maaso tuleme n’okulaba ekirungi kyonna ky’akola wadde ebirungi ebiri mu kibiina kyonna okutwalira awamu. Okwagala kutusobozesa okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda era n’okuwagira ekibiina ka kibe ng’abantu boogedde ki oba bakoze ki.—Zabbuli 119:165.
Okwagala Kye Kutali
15. Obuggya kye ki, era okwagala kutuyamba kutya okwewala engeri eno embi?
15 “Okwagala tekuba na buggya.” Tuyinza okukwatirwa abalala obuggya olw’ebyo bye balina—ebintu byabwe, enkizo zaabwe, oba obusobozi bwabwe. Obuggya ng’obwo bubi nnyo, era singa tebufugibwa, buyinza okutabangula emirembe gy’ekibiina. Kiki ekinaatuyamba ‘obutakwatibwa buggya’? (Yakobo 4:5) Kwe kwagala. Engeri eno ey’omuwendo eyinza okutuyamba okusanyukira awamu n’abo abalina enkizo ffe ze tutalina. (Abaruumi 12:15) Okwagala kutuyamba obutayisibwa bubi singa omuntu omu atenderezebwa olw’ekitone ky’alina oba olw’ekintu ky’akoze.
16. Bwe tuba nga ddala twagala baganda baffe, lwaki tetwandyewaanyewaanye olw’ebyo bye tukola mu buweereza bwa Yakuwa?
16 “Okwagala . . . tekwekulumbaza, tekwegulumiza.” Okwagala kutuziyiza okwewaana olw’ebitone bye tulina oba olw’ebyo bye tukoze. Bwe tuba nga ddala twagala baganda baffe, tuyinza tutya okwewaanawaana olw’ebyo bye tukoze mu buweereza oba olw’enkizo gye tulina mu kibiina? Okwewaanawaana mu ngeri eyo kuyinza okumalamu abalala amaanyi, ne kubaleetera okuwulira nga ba wansi. Okwagala kutuziyiza okwewaanawaana olw’enkizo z’obuweereza Katonda z’atuwadde. (1 Abakkolinso 3:5-9) Okugatta ku ekyo, okwagala “tekwegulumiza,” oba ng’enkyusa emu bw’egamba, “tekwetwala nga kukulu nnyo.” Okwagala kutuziyiza okwetwala okuba aba waggulu.—Abaruumi 12:3.
17. Okwagala kutukubiriza kufaayo tutya ku balala, era nneeyisa ki gye tulina okwewala?
17 “Okwagala . . . tekukola bitasaana.” Omuntu akola ebitasaana yeeyisa bubi oba akola ebintu ebyesittaza. Tekyoleka kwagala okweyisa mu ngeri eyo kubanga oba tufuddeeyo ku nneewulira n’obulungi bw’abalala. Okwawukana ku ekyo, okwagala kutukubiriza okufaayo ku balala. Okwagala kutuleetera okuba n’empisa ennungi ezisiimibwa Katonda, era n’okussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe. Bwe kityo, okwagala kujja kutuziyiza ‘okweyisa mu ngeri eswaza’—engeri yonna eyinza okusasamaza oba okwesittaza Bakristaayo bannaffe.—Abeefeso 5:3, 4.
18. Lwaki omuntu alina okwagala takaka balala kukola nga bw’ayagala?
18 “Okwagala . . . tekunoonya byakwo.” Enkyusa endala egamba: “Okwagala tekukalambira ku kye kwagala.” Omuntu alina okwagala takaka balala kukola nga bw’ayagala, nga gy’obeera nti ye aba mutuufu buli kiseera. Takozesa buyinza bwe kunyigiriza balina ndowooza eyawukana ku yiye. Okweyisa mu ngeri eyo, kyoleka malala, ate nga Baibuli egamba nti: “Amalala gakulembera okuzikirira.” (Engero 16:18) Bwe tuba nga ddala twagala baganda baffe, tujja kussa ekitiibwa mu ndowooza zaabwe era we kiba kisoboka, tukkirize bye baagala. Okukkiriza abalala bye baagala kituukagana n’ebigambo bya Pawulo: “Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne.”—1 Abakkolinso 10:24.
19. Okwagala kutuyamba kukola ki ng’abalala batunyiiziza?
19 “Okwagala . . . tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo.” Okwagala tekunyiiga mangu olw’ebyo abalala bye boogera oba bye bakola. Kyo kituufu nti, mu butonde tunyiiga abalala bwe batuyisa obubi. Naye ne bwe tuba n’ensonga entuufu okunyiiga, okwagala tekusigala nga kunyiivu. (Abeefeso 4:26, 27) Tetwandikuumidde mu birowoozo byaffe bigambo oba ebikolwa ebitulumizza, nga tulinga ababiwandiise mu kitabo tuleme okubyerabira. Mu kifo ky’ekyo, okwagala kutukubiriza okukoppa Katonda waffe ow’okwagala. Nga bwe twalabye mu Ssuula 26, Yakuwa asonyiwa nga waliwo ensonga esinziirwako okusonyiwa. Bw’atusonyiwa, yeerabira, era tatuvunaana bibi ebyo mu biseera eby’omu maaso. Tetuli basanyufu nti Yakuwa takuuma bubi ku mwoyo?
20. Twandikoze ki singa mukkiriza munnaffe asobya n’agwa mu mitawaana?
20 “Okwagala . . . tekusanyukira bitali bya butuukirivu.” Enkyusa endala egamba: “Okwagala . . . tekusanyuka ng’abalala bakoze ensobi.” Enkyusa ya Moffat egamba: “Okwagala tekusanyuka abalala bwe bagwa mu mitawaana.” Okwagala tekusanyukira butali butuukirivu, n’olwekyo tetuttira liiso bikolwa bya bugwenyufu. Tukola ki singa mukkiriza munnaffe asobya n’agwa mu mitawaana? Okwagala kutuziyiza okusanyuka, nga tugamba nti ‘Alyose! Kibadde kimugwanira.’ (Engero 17:5) Kyokka, tusanyuka singa ow’oluganda asobezza abaako ne kyakolawo okunyweza okukkiriza kwe.
‘Ekkubo Erisingayo Obulungi’
21-23. (a) Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti ‘okwagala tekuggwaawo’? (b) Kiki ekijja okwogerwako mu ssuula esembayo?
21 “Okwagala tekuggwaawo.” Pawulo yali ategeeza ki bwe yayogera ebigambo ebyo? Okutwalira awamu Pawulo yali ayogera ku birabo by’omwoyo ebyali mu Bakristaayo abaasooka. Ebirabo ebyo byalaga nti Katonda yali asiima ekibiina ekyali kyakatandikibwawo. Naye Abakristaayo bonna baali tebayinza kuwonya, kulagula oba okwogera mu nnimi. Kyokka ,ekyo tekyali kikulu; ebirabo ebyo eby’ekyamagero byali bya kuggwaawo. Naye, waaliwo ekyandisigaddewo, buli Mukristaayo kye yali ayinza okukulaakulanya. Kyali kikulu nnyo okusinga ekirabo kyonna eky’ekyamagero. Mu butuufu, Pawulo yakiyita ‘ekkubo erisingayo obulungi.’ (1 Abakkolinso 12:31) ‘Ekkubo eryo erisingayo obulungi’ lye liruwa? Lye kkubo ery’okwagala.
Abantu ba Yakuwa baawulibwawo olw’okulagaŋŋana okwagala
22 Mazima ddala, okwagala kw’Ekikristaayo Pawulo kwe yayogerako ‘tekuggwaawo,’ kwe kugamba, kujja kubaawo emirembe gyonna. Na guno gujwa, okwagala okw’okwerekereza kwe kwawulawo abagoberezi ba Yesu ab’amazima. Tetulaba kwagala ng’okwo mu bibiina by’abasinza ba Yakuwa mu nsi yonna? Okwagala ng’okwo kujja kubaawo emirembe gyonna, kubanga Yakuwa asuubiza okuwa abaweereza be abeesigwa obulamu obutaggwaawo. (Zabbuli 37:9-11, 29) Ka tukole kyonna ekisoboka ‘okutambuliranga mu kwagala.’ Bwe tukola bwe tutyo, tujja kufuna essanyu erisingawo eriva mu kugaba. Ekisingawo ne ku ekyo, tujja kuba balamu, era tujja kweyongera okulaga okwagala okwo emirembe gyonna, nga tukoppa Katonda waffe ow’okwagala, Yakuwa.
23 Mu ssuula eno ekomekkereza ekitundu ekyogera ku kwagala, tulabye engeri gye tuyinza okulagaŋŋanamu okwagala. Naye okuva bwe tuganyulwa ennyo mu kwagala kwa Yakuwa, awamu n’amaanyi ge, obwenkanya bwe n’amagezi ge, tuyinza okwebuuza, ‘Nnyinza ntya okulaga Yakuwa nti ddala mwagala?’ Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu ssuula esembayo.
a Kya lwatu, okwagala kw’Ekikristaayo tekumala gakkiriza buli kimu. Baibuli etukubiriza: “Mutunuulirenga abo abaleeta eby’okwawukanya n’eby’okwesittaza, . . . mubakubenga amabega abo.”—Abaruumi 16:17.