Mutunule Kaakano n’Okusinga Bwe Kyali Kibadde!
“Tulemenga okwebaka ng’abalala, naye tutunulenga.”—1 ABASESSALONIIKA 5:6.
1, 2. (a) Pompeyi ne Kaculaniyamu byali bibuga bya ngeri ki? (b) Kulabula ki abantu b’omu Pompeyi ne Kaculaniyamu kwe babuusa amaaso, era kiki ekyavaamu?
MU KYASA ekyasooka eky’embala eno gye tulimu, Pompeyi ne Kaculaniyamu byali bibuga by’Abaruumi ebigagga ebyali okumpi n’Olusozi Vesuviyasi. Abaruumi abagagga baagendangayo nnyo okusanyukirayo. Ebizimbe byamu omwalagibwanga emizannyo nga bisobola okugyamu abantu abasukka mu lukumi, era mu Pompeyi waaliyo ekyali kiyinza okugyaamu kumpi abantu b’omu kibuga bonna. Abayiikudde ettaka awaali ekibuga Pompeyi babaliridde ebbaala eziwera 118, ng’ezimu ku zo zaali zikozesebwa ng’ebifo by’okukubiramu zzaala oba eby’okukoleramu obwamalaaya. Ebifaananyi ebisiige ku bisenge n’ebisigalira ebirala biraga nti obugwenyufu n’okwagala ebintu byali bicaase nnyo mu bibuga ebyo.
2 Nga Agusito 24, 79 C.E., Olusozi Vesuviyasi lwatandika okuwandula omuliro. Bannasayansi abeekenneenya ensozi eziwandula omuliro bagamba nti, olusozi olwo bwe lwatandika okuwandula omuliro, era olutabu lw’amayinja agasaanuuse n’olunyata ne bikuluggukira ku bibuga ebyo ebibiri, oboolyawo ekyo tekyandirobedde batuuze baamu kubyamuka. Era kirabika bangi baasobola okubyamuka. Abalala abaagaya akabi ako oba abataafaayo ku bubonero obulabula, baasalawo okubisigalamu. Kyokka, ekiro nga mu ttumbi, ekibuga Kaculaniyamu kyajjula omukka ogwokya ennyo n’amayinja agasaanuuse era abatuuze baamu bonna ne bafa. Ekintu ekifaananako n’ekyo kyaliwo enkeera ku makya mu kibuga Pompeyi. Ekyo nga kyali kya nnaku nnyo ekyava mu kubuusa amaaso obubonero obulabula!
Enkomerero y’Enteekateeka y’Ekiyudaaya
3. Kufaanagana ki okuliwo wakati w’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi n’okwa Pompeyi ne Kaculaniyamu?
3 Okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi okwali kubaddewo emyaka mwenda emabega kwali kwa maanyi nnyo n’okusinga okwa Pompeyi ne Kaculaniyamu wadde nga kwo kwali kuleeteddwa bantu so si butyabaga obw’omu butonde. Ekibuga ekyo kyazingizibwa “mu ngeri ey’akabi ennyo,” era kigambibwa nti kyaviirako obukadde n’obukadde bw’Abayudaaya okufa. Kyokka, okufaananako okuzikirizibwa kwa Pompeyi ne Kaculaniyamu, waaliwo obubonero obulabula ng’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi tekunnabaawo.
4. Kabonero ki ak’obunnabbi Yesu ke yawa abagoberezi be akandibalaze nti enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eyo yali eri kumpi, era kaatuukirizibwa katya mu kyasa ekyasooka?
4 Yesu Kristo yali alagudde ku kuzikirizibwa kw’ekibuga ekyo, era yayogera n’ebintu ebyandibaddewo nga tekunnabaawo—ebintu ng’entalo, ebbula ly’emmere, musisi n’obumenyi bw’amateeka. Wandibaddewo bannabbi obulimba, kyokka amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gandibuuliddwa mu nsi yonna. (Matayo 24:4-7, 11-14) Wadde ng’ebigambo bya Yesu bituukirizibwa mu ngeri esingawo obukulu leero, naye era, byatuukirizibwa mu kigero ekitono mu biseera ebyayita. Ebyafaayo bitutegeeza nti waaliwo enjala ey’amaanyi ennyo mu Buyudaaya. (Ebikolwa 11:28) Munnabyafaayo Omuyudaaya Josephus agamba nti ng’ebulayo akaseera katono okuzikirizibwa okwo kubeewo, mu Yerusaalemi mwalimu enjala ya maanyi nnyo. Ng’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi kubindabinda, waalingawo obwegugungo, entalo wakati w’ebibiina by’obufuzi eby’Abayudaaya n’okuttiŋŋana okw’ekikungo mu bibuga ebitali bimu omwali Abayudaaya ne Bannaggwanga. Wadde kyali kityo, amawulire amalungi gaali gabuulirwa “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.”—Abakkolosaayi 1:23.
5, 6. Bigambo ki eby’obunnabbi bwa Yesu ebyatuukirizibwa mu 66 C.E.? (b) Lwaki abantu bangi nnyo baafa Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa mu 70 C.E.?
5 Mu 66 C.E., Abayudaaya beewaggula ku Rooma. Cestius Gallus bwe yakulembera eggye lye ne lizingiza Yerusaalemi, abagoberezi ba Yesu bajjukira ebigambo bye: “Naye bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka. Mu biro ebyo ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n’ababanga wakati mu kyo bakifulumangamu; n’ababanga mu byalo tebakiyingirangamu.” (Lukka 21:20, 21) Ekiseera kyali kituuse okwamuka Yerusaalemi, naye mu ngeri ki? Ekyali kitasuubirwa n’akatono, Gallus yajjulula amagye ge era ekyo ne kisobozesa Abakristaayo abaali mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya okukolera ku bigambo bya Yesu ne baddukira mu nsozi.—Matayo 24:15, 16.
6 Nga wayiseewo emyaka ena, ng’embaga ey’Okuyitako enaatera okutuuka, eggye ly’Abaruumi lyakomawo nga likulemberwa Omugabe Tito, eyali amaliridde okusaanyaawo obwewagguzi bw’Abayudaaya. Eggye lye lyetooloola Yerusaalemi era ne ‘likizimbako ekigo,’ ne kiba nti tewali n’omu yali asobola kukifuluma. (Lukka 19:43, 44) Wadde ng’olutalo lwali lubindabinda, Abayudaaya bangi okuva mu bitundu ebitali bimu eby’Obwakabaka bwa Rooma, baali bazze mu Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako. Naye kati baali bazingiziddwa mu kibuga ekyo. Okusinziira ku Josephus, abasinga obungi ku abo abattibwa, baali bagenyi.a Yerusaalemi bwe yazikirizibwa, kumpi kimu kya musanvu eky’Abayudaaya bonna abaali mu Bwakabaka bwa Rooma baafa. Okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo, kwakomya obufuzi bw’Abayudaaya awamu n’enteekateeka yaabwe ey’okusinza okwali kwesigamiziddwa ku Mateeka ga Musa.b—Makko 13:1, 2.
7. Lwaki Abakristaayo abeesigwa baasimatuka okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi?
7 Abakristaayo Abayudaaya bandibadde battibwa oba batwalibwa mu buddu awamu n’abantu abalala bonna abaali mu Yerusaalemi mu 70 C.E. Kyokka okusinziira ku bujulizi obuli mu byafaayo, baali bagoberedde okulabula Yesu kwe yali awadde emyaka 37 emabega. Ekibuga baali bakivuddemu.
Okulabula Okuva eri Abatume
8. Bwetaavu ki Peetero bwe yalaba, era bigambo ki bye yali ajjukira Yesu bye yayogera?
8 Leero, okuzikirizibwa okw’amaanyi ennyo n’okusingawo kubindabinda, okujja okuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno yonna. Ng’ekyabulayo emyaka mukaaga Yerusaalemi kizikirizibwe, omutume Peetero yawa okubuulirira okukulu ennyo okusingira ddala okukwata ku Bakristaayo ab’omu kiseera kyaffe: Mubeere bulindaala! Peetero yalaba obwetaavu ‘bw’okukubiriza’ Abakristaayo baleme okubuusa amaaso ‘ekiragiro kya Mukama waffe,’ Yesu Kristo. (2 Peetero 3:1, 2) Peetero okukubiriza Abakristaayo okuba obulindaala, kirabika yali ajjukira ebyo bye yawulira nga Yesu agamba abatume ng’ebulayo ennaku ntono attibwe: “Mwekuumenga, mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira.”—Makko 13:33.
9. (a) Ndowooza ki ey’akabi abamu gye bayinza okubeera nayo? (b) Lwaki okubuusabuusa kwa kabi nnyo?
9 Leero, abasekerezi babuuza: “Okusuubiza kw’okujja kwe kuli luuyi wa?” (2 Peetero 3:3, 4) Mazima ddala, abantu ng’abo balowooza nti ebintu tebikyuka naye nti byeyongera okubeera nga bwe byali okuva ensi lwe yatondebwa. Endowooza ng’eyo ya kabi. Okubuusabuusa kuyinza okutwerabiza obukulu bw’ebiseera bye tulimu, era ne tutandika okwemalira ku byaffe ku bwaffe. (Lukka 21:34) Ng’oggyeko ekyo, nga Peetero bwe yayogera, abasekerezi abo beerabira Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa, agaasaanyawo enteekateeka eyaliwo mu nsi. Mazima ddala ensi yonna yakyuka nnyo mu kiseera ekyo!—Olubereberye 6:13, 17; 2 Peetero 3:5,6.
10. Bigambo ki Peetero by’akozesa okukubiriza abo abandibadde baggwaamu amaanyi?
10 Peetero ayamba abo abasoma ebbaluwa ye okubeera n’obugumiikiriza ng’abajjukiza ensonga lwaki emirundi mingi Katonda takolerawo mangu ago. Okusooka, Peetero agamba: “Olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi, n’emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu.” (2 Peetero 3:8) Okuva Yakuwa bw’abeerawo emirembe gyonna, asobola okwekenneenya ensonga zonna ezizingirwamu era n’asalawo ekiseera okubaako ky’akola. Awo ate Peetero n’alaga nti Yakuwa ayagala abantu bonna okwenenya. Obugumiikiriza bwa Katonda bujja kusobozesa bangi okufuna obulokozi abandibadde bazikirizibwa singa yandibaddeko ky’akolawo mu bwangu. (1 Timoseewo 2:3, 4; 2 Peetero 3:9) Kyokka, olw’okuba Yakuwa mugumiikiriza, ekyo tekitegeeza nti tajja kubaako ky’akolawo. Peetero yagamba, ‘olunaku lwa Yakuwa lulijja nga mubbi.’—2 Peetero 3:10.
11. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo, era kino ‘kinaayanguya’ kitya olunaku lwa Yakuwa?
11 Kituukirawo bulungi Peetero bw’akozesa ekyokulabirako eky’omubbi. Tekiba kyangu kukwata mubbi, naye omukuumi asigala ng’atunula ekiro kyonna, asobola okulaba omubbi ng’ajja okusinga oyo asumagira ebiseera bimu. Omukuumi asobola atya okusigala ng’atunula? Okutambulatambulako kuyinza okumusobozesa okusigala ng’atunula okusinga okutuula obutuuzi mu kifo ekimu ekiro kyonna. Mu ngeri y’emu, okubeera abanyiikivu mu by’omwoyo, kutuyamba okusigala nga tutunula. Bwe kityo, Peetero atukubiriza okubeera abanyiikivu mu “mpisa entukuvu n’okutyanga Katonda.” (2 Peetero 3:11) Ebintu ng’ebyo bijja kutuyamba okweyongera ‘okusuubira olunaku lwa Yakuwa.’ Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okusuubira’ kiyinza okutegeeza “okwanguyaako.” (2 Peetero 3:12) Kyo kituufu nti, tetusobola kukyusa nteekateeka ya Yakuwa. Olunaku lwe lujja kujjira mu kiseera kye ekigereke. Naye ekiseera ekisigaddeyo okuva kati kijja kuyita mangu nnyo singa tubeera banyiikivu mu buweereza bwe.—1 Abakkolinso 15:58.
12. Tusobola tutya okuganyulwa mu bugumiikiriza bwa Yakuwa kinnoomu?
12 N’olwekyo, abo bonna abalowooza nti olunaku lwa Yakuwa luluddewo, bakubirizibwa okugoberera okubuulirira kwa Peetero okukwata ku kulindirira n’obugumiikiriza ekiseera kya Yakuwa ekigereke. Mazima ddala, tusobola okukozesa n’amagezi ekiseera ekisigaddeyo Katonda ky’akyaleseewo. Ng’ekyokulabirako, tusobola okweyongera okukulaakulanya engeri ennungi ez’Ekikristaayo awamu n’okubuulira amawulire amalungi abantu abalala bangi n’okusinga bwe kyali kibadde. Singa tusigala nga tutunula, Yakuwa ajja kutusanga nga ‘tetulina bbala newakubadde omusango’ ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno. (2 Peetero 3:14, 15) Ogwo nga gunaaba mukisa gwa maanyi nnyo!
13. Bigambo ki Pawulo bye yagamba Abakristaayo ab’omu Ssessaloniika ebituukirawo leero?
13 Mu bbaluwa ye esooka eri Abakristaayo ab’omu Ssessaloniika, Pawulo naye ayogera ku bwetaavu bw’okusigala nga tutunula mu by’omwoyo. Atubuulirira: “Tulemenga okwebaka ng’abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira.” (1 Abasessaloniika 5:2, 6) Ekyo nga kyetaagisa nnyo leero ng’okuzikirizibwa kw’enteekateeka y’ebintu mu nsi yonna kubindabinda! Abasinza Yakuwa bali mu nsi omuli abantu abatayagala bya mwoyo, era ekyo kiyinza okubaako kye kibakolako. N’olwekyo, Pawulo abuulirira: “Tulemenga okutamiira, nga twambadde eky’omu kifuba eky’okukkiriza n’okwagala, n’enkuufiira, essuubi ly’obulokozi. (1 Abasessaloniika 5:8) Okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa n’okukuŋŋaana awamu ne baganda baffe, bijja kutuyamba okugoberera okubuulirira kwa Pawulo n’obuteerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu.—Matayo 16:1-3.
Obukadde n’Obukadde Bali Bulindaala
14. Miwendo ki egiraga nti bangi leero bagoberera okubuulirira kwa Peetero okw’okusigala nga batunula mu by’omwoyo?
14 Waliwo bangi leero abagoberera okubuulirira okwaluŋŋamizibwa okukwata ku kubeera obulindaala? Yee. Mu mwaka gw’obuweereza 2002, entikko y’ababuulizi 6,304,645 nga kuno kweyongerayongera kwa bitundu 3.1 ku buli kikumi bw’ogeraageranya n’omwaka 2001—baalaga nti bali bulindaala mu by’omwoyo nga bawaayo essaawa 1,202,381,302 nga boogera n’abantu abalala ku Bwakabaka bwa Katonda. Obuweereza obwo baabutwala nga bukulu nnyo mu bulamu bwabwe. Bangi ku bo baayoleka endowooza ng’eya Eduardo ne Noemi abali mu El Salvador.
15. Kyakulabirako ki ekiweereddwa okuva mu El Salvador ekiraga nti bangi beeyongera okutunula mu by’omwoyo?
15 Emyaka mitono egiyiseewo, Eduardo ne Noemi bassaayo omwoyo ku bigambo bya Pawulo bino: “Embeera y’ensi eno ekyukakyuka.” (1 Abakkolinso 7:31, NW) Beerekereza ebintu ebyali bikalubiriza obulamu bwabwe ne bayingira mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ebiseera bwe byagenda biyitawo, baaweebwa omukisa mu ngeri nnyingi era Eduardo n’aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Wadde nga baayolekagana n’ebizibu bingi, Eduardo ne Noemi bakakafu nti baasalawo mu ngeri ennungi bwe beerekereza eby’obugagga ne basobola okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Bangi ku babuulizi 29,269—nga mw’otwalidde ne bapayoniya 2,454 abali mu El Salvador, balaze omwoyo gwe gumu ogw’okwerekereza, era ng’eyo y’emu ku nsonga lwaki mu nsi eyo waaliyo okweyongerayongera kwa bitundu 2 buli kikumi ku muwendo gw’ababuulizi omwaka oguwedde.
16. Mwoyo ki ow’oluganda omu omuto gwe yalaga mu Côte d’Ivoire?
16 Omuvubuka omu yalaga omwoyo gwe gumu mu Côte d’Ivoire era n’awandiikira ofiisi y’ettabi ng’agamba: “Mpeereza ng’omuweereza mu kibiina. Naye siyinza kukubiriza ba luganda kukola nga bapayoniya nga nze kennyini sitaddewo kyakulabirako kirungi. N’olwekyo, ndeseeyo omulimu ogusasula ennyo era kati nneekozesa nzekka, ne kimpa obudde bungi okusobola okwenyigira mu buweereza.” Omuvubuka oyo y’omu ku bapayoniya 983 abali mu Côte d’Ivoire, era nga mu ggwanga eryo waaliyo ababuulizi 6,701 omwaka oguwedde, ng’okwo kwali kweyongerayongera kwa bitundu 5 ku buli kikumi.
17. Omuvubuka omu Omujulirwa mu Bubirigi yalaga atya obuvumu?
17 Ababuulizi b’Obwakabaka 24,961 abali mu Bubirigi beeyongera okwolekagana n’ebizibu olw’obusosoze n’obukyayi ebiriyo. Wadde kiri kityo, banyiikivu era balaze obuvumu. Omujulirwa omu ow’emyaka 16 bwe yawulira ng’Abajulirwa ba Yakuwa boogerwako ng’akadiinidiini ak’akabi ku ssomero lye, yasaba abeeko ky’ayogera ku nsonga eyo. Ng’akozesa vidiyo Jehovah’s Witnesses—The Organization Behind the Name ne brocuwa Abajulirwa ba Yakuwa—Be Baani?, yasobola okunnyonnyola kiki Abajulirwa kye bali. Bye yayogera byasiimibwa nnyo, era wiiki eyaddako abayizi baaweebwa ekigezo ng’ebibuuzo byonna byali bikwata ku ddiini y’Abajulirwa ba Yakuwa.
18. Bujulizi ki obulaga nti ebizibu by’eby’enfuna tebyalemesa babuulizi mu Argentina ne mu Mozambique kuweereza Yakuwa?
18 Abakristaayo bangi boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo mu nnaku zino ez’enkomerero. Naye, tebabikkiriza kubawugula. Wadde nga mu Argentina waliyo ebizibu eby’amaanyi ennyo mu by’enfuna, baafuna entikko empya ey’Abajulirwa 126,709 omwaka oguwedde. Mu Mozambique ekyaliyo obwavu bwa maanyi nnyo. Wadde kiri kityo, ababuulizi 37,563 beenyigira mu mulimu gw’okuwa obujulirwa, era okwo kwali kweyongerayongera kwa butundu 4 ku buli kikumi. Obulamu buzibuwalidde abantu bangi nnyo mu Albania, naye wadde kiri kityo, ensi eyo yalimu okweyongerayongera kwa bitundu 12 ku buli kikumi, era ne batuuka ku ntikko y’ababuulizi 2,708. Mazima ddala, embeera enzibu teziyinza kuziyiza mwoyo gwa Yakuwa abaweereza be bwe bakulembeza Obwakabaka.—Matayo 6:33.
19. (a) Kiki ekiraga nti wakyaliwo abantu bangi abalumwa enjala ey’amazima? (b) Biki ebirala ebiri mu alipoota ey’omwaka ebiraga nti abaweereza ba Yakuwa batunula mu by’omwoyo? (Laba ekipande ekiri ku mpapula 22-25.)
19 Omuwendo gw’abantu 5,309,289, abaayigirizibwa Baibuli buli mwezi mu nsi yonna omwaka oguwedde, gulaga nti wakyaliyo abantu bangi abalina ennyonta ey’okuyiga amazima ga Baibuli. Ku ntikko empya ey’abantu 15,597,746 abaaliwo ku Kijjukizo, abasinga obungi ku bo tebannaba kutandika kuweereza Yakuwa. Ka beeyongere okufuna okutegeera era n’okwagala Yakuwa awamu n’ab’oluganda. Kisanyusa nnyo okulaba nti “ekibiina ekinene” ekya “endiga endala” beeyongera okubala ebibala ebirungi nga baweereza Omutonzi “emisana n’ekiro mu yeekaalu ye” nga bakolera wamu ne baganda baabwe abaafukibwako amafuta.—Okubikkulirwa 7:9, 15; Yokaana 10:16.
Eky’Okuyiga Kye Tufuna ku Lutti
20. Kiki kye tuyigira ku Lutti ne mukazi we?
20 Kya lwatu nti, olumu n’abaweereza ba Katonda abeesigwa bayinza okwerabira obukulu bw’ebiseera bye balimu. Lowooza ku Lutti mutabani wa muganda wa Ibulayimu. Bamalayika babiri abaamukyalira bamutegeeza nti Katonda yali ali kumpi okuzikiriza Sodomu ne Ggomola. Obubaka obwo tebwewuunyisa Lutti kubanga “yali nga yeeraliikirira nnyo olw’empisa ez’obukaba ez’ababi.” (2 Peetero 2:7) Wadde kyali kityo, bamalayika babiri bwe bajja okumuggya mu Sodomu, Lutti ‘yalonzalonza.’ Bamalayika baalina okumukwata ku mukono n’ab’omu maka ge okubaggya mu kibuga ekyo. Oluvannyuma, mukyala wa Lutti yajeemera ekiragiro kya bamalayika n’atunula emabega. Obulagajjavu obwo bwamuleetera okufiirwa obulamu bwe. (Olubereberye 19:14-17, 26) Yesu yalabula: “Mujjukire mukazi wa Lutti.—Lukka 17:32.
21. Lwaki kikulu okusigala nga tutunula mu by’omwoyo kaakano n’okusinga bwe kyali kibadde?
21 Akatyabaga akaatuuka ku Pompeyi ne Kaculaniyamu n’ebyo ebyaliwo mu kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, awamu n’ebyokulabirako ebikwata ku mataba ag’omu kiseera kya Nuuwa era ne ku Lutti, biraga nti tusaanidde okutwala okulabula ng’ekintu ekikulu ennyo. Ffe ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tumanyi akabonero k’ennaku ez’enkomerero. (Matayo 24:3) Tweyawudde ku ddiini ez’obulimba. (Okubikkulirwa 18:4) Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, twetaaga ‘okukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo byaffe.’ (2 Peetero 3:12) Yee, twetaaga okusigala nga tutunula mu by’omwoyo kaakano, n’okusinga bwe kyali kibadde! Biki bye tusaanidde okukola kinnoomu, era ngeri ki ze tusaanidde okuba nazo okusobola okusigala nga tutunula mu by’omwoyo? Ekitundu ekiddako kijja kunnyonnyola ensonga ezo.
[Obugambo obuli wansi]
a Kirowoozebwa nti ekibuga Yerusaalemi tekyalimu bantu basukka mu 120,000 mu kyasa ekyasooka. Eusebius abalirira nti abantu nga 300,000 okuva mu Buyudaaya be baali bagenze e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako mu 70 C.E. Abantu abalala abaafa bayinza okuba nga baali bavudde mu bitundu ebirala eby’Obwakabaka bwa Rooma.
b Kya lwatu, okusinziira ku ngeri Yakuwa gy’alabamu ebintu, Amateeka ga Musa gaali gavuddewo era mu kifo kyago ne waddawo endagaano empya mu 33 C.E.—Abaefeso 2:15.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki ekyasobozesa Abakristaayo Abayudaaya okusimattuka okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi?
• Okubuulirira kw’abatume Peetero ne Pawulo kutuyamba kutya okusigala nga tutunula mu by’omwoyo?
• Baani leero abatunula mu by’omwoyo?
• Kiki kye tuyiga okuva ku ebyo ebyatuuka ku Lutti ne mukazi we?
[Ekipande ekiri ku lupapula 22-25]
LIPOOTA Y’OBUWEEREZA EY’ENSI YONNA EY’ABAJULIRWA BA YAKUWA EYA 2002
(Laba omuzingo gwa magazini)
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Okubeera abanyiikivu kiyamba Abakristaayo okusigala nga batunula mu by’omwoyo