1 Timoseewo
2 Okusookera ddala, nkubiriza bonna okwegayiriranga, okusabanga, okusabiranga abalala, n’okwebazanga, ku lw’abantu aba buli ngeri, 2 bakabaka, n’abo bonna abali mu bifo ebya waggulu,*+ tusobole okubeera mu bulamu obuteefu era obw’emirembe nga twemalira ku Katonda era nga tuba beegendereza mu buli kintu.+ 3 Kino kirungi era kikkirizibwa mu maaso g’Omulokozi waffe Katonda,+ 4 ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa+ era bategeerere ddala amazima. 5 Kubanga waliwo Katonda omu,+ era n’omutabaganya+ wa Katonda n’abantu+ ali omu, Kristo Yesu,+ 6 eyeewaayo okuba ekinunulo* ku lwa bonna*+—kino kye kijja okuweebwako obujulirwa mu kiseera kyakyo. 7 Olw’ekigendererwa eky’okuwa obujulirwa buno,+ nnalondebwa okuba omubuulizi era omutume+—njogera mazima, sirimba—era nnalondebwa okuba omuyigiriza w’ab’amawanga+ ku bikwata ku kukkiriza n’amazima.
8 N’olwekyo, njagala mu buli kifo abasajja basabenga nga bayimusizza emikono gyabwe+ mu bwesigwa, nga tebalina busungu+ era nga tebakuba mpaka.+ 9 Mu ngeri y’emu, obulungi bw’abakazi bulemenga kubeera mu misono gya nviiri oba okwambala zzaabu oba luulu oba engoye ez’ebbeeyi, wabula bubeerenga mu kwambala ebyambalo ebisaana, ebiweesa ekitiibwa, era ebiraga nti beegendereza.*+ 10 Beekolengako mu ngeri esaanira abakazi abagamba nti bawa Katonda ekitiibwa.+ Bakolenga ebirungi, era ng’obwo bwe bulungi bwabwe.
11 Omukazi asirikenga* ng’ayiga, era abenga muwulize ddala.+ 12 Sikkiriza mukazi kuyigiriza oba okufuga omusajja, wabula asirikenga.*+ 13 Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa oluvannyuma Kaawa naye n’atondebwa.+ 14 Era Adamu teyalimbibwa wabula omukazi ye yalimbibwa+ n’agwa mu kibi. 15 Naye omukazi ajja* kukuumibwanga okuyitira mu kuzaala,+ singa aneeyongera okuba mu kukkiriza, mu kwagala, mu butukuvu, era nga yeegendereza.*+