“Olunaku Olukulu Olwa Yakuwa Luli Kumpi”
“Olunaku olukulu olwa Yakuwa luli kumpi. Luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo.”—ZEFFANIYA 1:14, NW.
1, 2. (a) Lunaku ki olw’enjawulo Abakristaayo lwe beesunga? (b) Bibuuzo ki bye tulina okwebuuza, era lwaki?
O MUWALA ali okumpi okufumbirwa yeesunga olunaku lw’embaga ye. Omukazi ali olubuto yeesunga okuzaala omwana we. Omukozi yeesunga oluwummula lw’alinze okumala akabanga. Kiki abantu bano bonna kye bafaanaganya? Bonna balina olunaku olw’enjawulo lwe beesunga, olunaku olujja okuleetawo ekintu eky’enjawulo mu bulamu bwabwe. Olunaku lwe beesunga lujja kutuuka, era buli omu asuubira nti ajja kuba alwetegekedde.
2 Abakristaayo ab’amazima nabo balina olunaku olw’enjawulo lwe beesunga. Lwe ‘lunaku lwa Yakuwa’ olukulu. (Isaaya 13:9; Yoweeri 2:1; 2 Peetero 3:12) “Olunaku lwa Yakuwa” luno lwe luluwa, era abantu balikwatibwako batya nga lutuuse? Ye ate, tuyinza tutya okukakasa nti tulwetegekedde? Kikulu nnyo okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino kubanga ebiriwo kati biraga nti ebigambo bya Baibuli bino bituufu: “Olunaku olukulu olwa Yakuwa luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo.”—Zeffaniya 1:14, NW.
“Olunaku Olukulu Olwa Yakuwa”
3. “Olunaku olukulu olwa Yakuwa” lwe luluwa?
3 “Olunaku olukulu olwa Yakuwa” lwe luluwa? Mu Baibuli, ebigambo “olunaku olukulu olwa Yakuwa” bitegeeza ekiseera eky’enjawulo Yakuwa lwe yazikiriza abalabe be era n’agulumiza erinnya lye. Abantu b’omu Yuda ne Yerusaalemi abataali beesigwa era n’abantu b’omu Babulooni ne Misiri bonna ‘ennaku za Yakuwa’ zaabatuukako Yakuwa bwe yababonereza. (Isaaya 2:1, 10-12; 13:1-6; Yeremiya 46:7-10) Kyokka, “olunaku lwa Yakuwa” olusinga obukulu lukyali mu maaso. Lwe ‘lunaku’ Yakuwa kw’ajja okuzikiririza abo abatyoboola erinnya lye. Lujja kutandika n’okuzikirizibwa kwa “Babulooni [E]kinene,” amadiini ag’obulimba gonna mu nsi, era lukomekkerezebwe ng’ebitundu [ebirala] byonna ebisigadde eby’enteekateeka eno embi bizikirizibwa mu lutalo olwa Kalumagedoni.—Okubikkulirwa 16:14, 16; 17:5, 15-17; 19:11-21.
4. Lwaki abantu abasinga obungi bandibadde batya olunaku lwa Yakuwa olugenda lusembera amangu?
4 Ka babeere nga kino bakimanyi oba nedda abantu abasinga obungi bandibadde batya olunaku luno olugenda lusembera amangu. Lwaki? Yakuwa ayogera bw’ati okuyitira mu nnabbi Zeffaniya: “Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike, n’okulaba ennaku, lunaku lwa kuzikirirako n’okulekebwawo, lunaku lwa kizikiza n’ekikome, lunaku lwa bire n’ekizikiza ekikutte.” Mazima ddala lunaku lwa ntiisa! Ate era nnabbi agamba nti: “Ndireeta obuyinike ku bantu . . . kubanga bayonoonye Mukama.”—Zeffaniya 1:15, 17.
5. Lwaki waliwo abantu bangi abeesunga olunaku lwa Yakuwa?
5 Kyokka ate waliwo abalala bangi abeesunga okujja kw’olunaku lwa Yakuwa. Lwaki? Kubanga bakimanyi nti kijja kuba kiseera kya kulokola era n’okununula abatuukirivu, era nga mu kiseera ekyo Yakuwa ajja kugulumizibwa nnyo era n’erinnya lye lijja kutukuzibwa. (Yoweeri 3:16, 17; Zeffaniya 3:12-17) Omuntu okwesunga olunaku olwo oba okulutya, kisinziira ku ngeri buli omu gye yeeyisaamu kati. Ggwe ku lulwo, okujja kw’olunaku olwo okutwala otya? Olwetegekedde? Okukimanya nti olunaku lwa Yakuwa luli kumpi, kirina kye kikoze ku ngeri gye weeyisaamu buli lunaku?
“Abasekerezi Balijja n’Okusekerera”
6. Abantu abasinga obungi batwala batya “olunaku lwa Yakuwa,” era lwaki kino Abakristaayo ab’amazima tekibeewuunyisa?
6 Wadde ‘ng’olunaku lwa Yakuwa’ luli kumpi okutuuka, abantu abasinga obungi tebeefiirayo. Basekerera abo ababalabula nti luli kumpi kujja. Kino tekyewuunyisa Bakristaayo ba mazima. Bajjukira okulabula kw’omutume Peetero nti: “Mu nnaku ez’oluvannyuma abasekerezi balijja n’okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo ne boogera nti Okusuubiza kw’okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.”—2 Peetero 3:3, 4.
7. Kiki ekinaatuyamba okukiraga nti tutegeera bulungi obukulu bw’ebiseera bye tulimu?
7 Kiki ekinaatuyamba obutawugulibwa ndowooza nkyamu ng’eyo era ne tukiraga nti tutegeera bulungi obukulu bw’ebiseera bye tulimu? Peetero atugamba nti: “Mbakubiriza amagezi gammwe agataliimu bukuusa nga mbajjukiza; okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n’ekiragiro ky’abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi.” (2 Peetero 3:1, 2) Bwe tussaayo omwoyo ku kulabula kwa bannabbi, kijja kutuyamba ‘okuba n’endowooza entuufu.’ Oboolyawo tujjukiziddwa ekintu kino enfunda n’enfunda, naye kikulu kati n’okusinga bwe kyali kibadde, okussaayo omwoyo ku kulabula kuno—Isaaya 34:1-4; Lukka 21:34-36.
8. Lwaki bangi tebafaayo ku kulabula okuli mu Baibuli?
8 Lwaki abamu tebafaayo ku kulabula kuno? Peetero ayongera n’agamba: “Kubanga beerabira kino nga balaba [“mu bugenderevu,” NW], ng’edda waaliwo eggulu, n’ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, okw’ekigambo kya Katonda, ensi ey’edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n’ezikirira.” (2 Peetero 3:5, 6) Yee, waliwo abantu abatayagala lunaku lwa Yakuwa lujje. Tebaagala kintu kyonna kutaataaganya bulamu bwe balimu kati. Era tebaagala Yakuwa abavunaane olw’engeri gye beeyisaamu. Nga Peetero bw’agamba, bagoberera ‘kwegomba kwabwe bo.’
9. Abantu b’omu biseera bya Nuuwa n’ebya Lutti beeyisa batya?
9 ‘Mu bugenderevu,’ abasekerezi bano bakibuusa amaaso nti Yakuwa alina kye yali akozeewo mu biseera eby’edda. Yesu Kristo n’omutume Peetero banokolayo ebiseera bya mirundi ebiri lwe yakola bw’atyo—mu “nnaku za Nuuwa” ne mu “nnaku za Lutti.” (Lukka 17:26-30; 2 Peetero 2:5-9) Ng’Amataba teganabaawo, abantu tebafaayo ku kulabula Nuuwa kwe yawa. Ate era, nga Sodomu ne Ggomola tebinnazikirizibwa, Lutti bakoddomi be ‘baamutwala ng’asaaga.’—Olubereberye 19:14.
10. Kiki Yakuwa ky’ajja okukola abo abateefiirayo?
10 Ne leero bwe kiri. Kyokka, weetegereze Yakuwa ky’ajja okukola abo abateefiirayo: “Ndibonereza abasajja abatesengezze ebbonda lyabwe, aboogera mu mutima gwabwe nti Mukama talikola bulungi so talikola bubi. N’obugagga bwabwe bulifuuka munyago, n’ennyumba zaabwe matongo; weewaawo, balizimba ennyumba naye tebalizituulamu, era balisimba ensuku ez’emizabbibu naye tebalinywa mwenge gwamu.” (Zeffaniya 1:12, 13) Abantu bajja kweyongera bweyongezi kukola mirimu gyabwe egya “bulijjo,” naye tebajja kufuna miganyulo gya lubeerera. Lwaki? Kubanga olunaku lwa Yakuwa lujja kubagwako bugwi, era eby’obugagga byonna bye balina tebijja kusobola kubalokola.—Zeffaniya 1:18.
‘Lulindirire’
11. Bigambo ki bye tusaanidde okutwala nga bikulu?
11 Obutafaananako nsi mbi etwetoolodde, tuteekwa okufaayo ku bigambo nnabbi Kaabakuuku bye yawandiika: “Okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.” (Kaabakuuku 2:3) Wadde nga mu ndaba yaffe ng’abantu olunaku olwo luyinza okulabika ng’oluluddewo, tulina okukijjukira nti Yakuwa talwawo kutuukiriza by’asuubiza. Olunaku lwe lujja kujja mu kiseera kyennyini, ekiseera abantu kye batasuubira.—Makko 13:33; 2 Peetero 3:9, 10.
12. Kiki Yesu kye yagamba nti kiribaawo, era abagoberezi be abeesigwa beeyisizza batya?
12 Ng’alaga nti kikulu nnyo kukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo, Yesu yalabula nti n’abamu ku bagoberezi be bayinza okuddirira mu nsonga eno. Yaboogerako bw’ati: “Naye omuddu oyo omubi bw’aligamba mu mutima gwe nti Mukama wange aludde; era bw’alisooka okukuba baddu banne, n’okulya n’okunywera awamu n’abatamiivu; mukama w’omuddu oyo alijjira ku lunaku lw’atalindiriramu, ne mu kiseera ky’atamanyi, alimutemamu ebitundu bibiri.” (Matayo 24:48-51) Obutafaanana muddu oyo, kyo ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi kitegeera bulungi nnyo obukulu bw’ebiseera bye tulimu. Ekibiina kino kibadde bulindaala ekiseera kyonna era nga kyetegefu. Yesu yabasigira ‘eby’omu nju ye byonna’ ebiri ku nsi.—Matayo 24:42-47.
Okumanya Obukulu bw’Ebiseera bye Tulimu
13. Yesu yalaga atya nti Abakristaayo balina okusitukiramu ne badduka ekibuga?
13 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali balina okumanya obukulu bw’ebiseera bye baalimu. Baali balina okudduka okuva mu Yerusaalemi amangu ddala nga bamaze okukiraba nti “kyetooloddwa eggye.” (Lukka 21:20, 21) Kino kyaliwo mu 66 C.E. Weetegereze engeri Yesu gye yalaga nti Abakristaayo baalina okuddukirawo: “Ali waggulu ku nju takkanga kuggyamu bintu ebiri mu nju ye: ali mu lusuku taddanga nate kutwala kyambalo kye.” (Matayo 24:17, 18) Lwaki Abakristaayo baalina okukolera ku bigambo bya Yesu mu 66 C.E., ng’ate ebyafaayo biraga nti Yerusaalemi kyazikirizibwa nga wayiseewo emyaka ena?
14, 15. Yerusaalemi bwe kyetooloolwa amagye, lwaki kyali kikulu nnyo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka okukiddukamu mu bwangu?
14 Wadde nga kituufu nti eggye ly’Abaruumi lyazikiriza Yerusaalemi mu 70 C.E., emyaka egyo ena egyayitawo tegyali gya mirembe n’akatono. Gyalimu ebikolwa eby’obukambwe n’okuyiwa omusaayi. Ng’ayogera ku byali mu Yerusaalemi mu kiseera ekyo, munnabyafaayo omu yagamba nti waabalukawo “olutalo olw’omunda olwali olw’entiisa ennyo era omwali ebikolwa eby’obukambwe ennyo.” Okusobola okunyweza eby’okwerinda, abavubuka baayingizibwa mu magye era baatendekebwanga buli lunaku. Abataawagiranga lutalo nga batwalibwa ng’abalidde mu nsi olukwe. Kale nno, singa Abakristaayo tebaava mangu mu kibuga, bandyesanze mu mbeera enzibu ennyo.—Matayo 26:52; Makko 12:17.
15 Yesu yagamba nti “ababanga mu Buyudaaya” so si mu Yerusaalemi mwokka, baali balina okudduka. Kino kyali kikulu nnyo kubanga oluvannyuma lw’emyezi mitono nnyo ng’amagye g’Abaruumi gamaze okugumbulukuka okuva e Yerusaalemi, gaddamu buto okutabaala ebitundu ebyali biriraanyewo. Okusooka, Ggaliraaya kyawambibwa mu 67 C.E., ate Buyudaaya ne kiwambibwa omwaka ogwaddako. Kino kyaleetawo okubonaabona kungi mu bitundu ebyo byonna. Ate era kyeyongerera ddala okuba ekizibu Omuyudaaya yenna okudduka mu Yerusaalemi. Emiryango gy’ekibuga gyali gikuumibwa butiribiri era nga buli agezaako okukiddukamu alowoozebwa nti ayagala kwegatta ku Baruumi.
16. Ndowooza ki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye baalina okuba nayo okusobola okuwonawo?
16 Bw’olowooza ku bino byonna, kyangu okutegeera lwaki Yesu yakiggumiza nti obwangu bwali bwetaagisa. Abakristaayo baalina okubaako bye beerekereza era n’obutakkiriza kuwugulibwa bya bugagga bye baalina. Baalina okuba abeetegefu ‘okufiirwa byonna bye baalina’ okusobola okukolera ku kulabula kwa Yesu. (Lukka 14:33) Abo abaasitukiramu ne baddukira emitala w’omugga Yoludaani baawonawo.
Obuteerabira Bukulu bwa Biseera bye Tulimu
17. Lwaki tetusaanidde kwerabira n’akatono obukulu bw’ebiseera bye tulimu?
17 Obunnabbi bwa Baibuli bukiraga bulungi nti tuli wala nnyo mu nnaku ez’oluvannyuma. Tetusaanidde kwerabira n’akatono bukulu bwa biseera bye tulimu. Mu biseera eby’emirembe, omuserikale tabeera ku bunkenke era aba talowooza ku bya lutalo. Kyokka, singa taba bulindaala, n’amala ayitibwa okugenda mu lutalo tasobola kuba mwetegefu, era ebiddirira biyinza obutaba birungi. Bwe kityo bwe kiri ne mu by’omwoyo. Singa twerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu, tuyinza okulemererwa okulwana obulungi mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo era n’olunaku lwa Yakuwa luyinza okutusanga nga tetuli beetegefu. (Lukka 21:36; 1 Abasessaloniika 5:4) Bwe wabaawo ababadde ‘balekedde awo okugoberera Yakuwa,’ kino kye kiseera okuddamu okumunoonya.—Zeffaniya 1:3-6; 2 Abasessaloniika 1:8, 9.
18, 19. Kiki ekinaatuyamba okukuumira mu birowoozo byaffe ‘olunaku lwa Yakuwa’?
18 Tekyewuunyisa nti omutume Peetero atukubiriza okukuumira mu birowoozo ‘olunaku lwa Yakuwa’! Kino tuyinza kukikola tutya? Engeri emu kwe kuba ‘n’empisa entukuvu’ era n’okwenyigira mu ‘bikolwa eby’okutya Katonda.’ (2 Peetero 3:11, 12) Bwe tunyiikirira ebintu ebyo, kijja kutuyamba okwesunga ennyo ‘olunaku lwa Yakuwa.’ Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okukuumira mu birowoozo” bwe kiba kivvuunuddwa butereevu kitegeeza “okwanguyaako.” Kyo kituufu tetusobola kwanguya kiseera kisigaddeyo kutuuka ku lunaku lwa Yakuwa. Kyokka bwe tuba abanyiikivu mu mulimu gwa Katonda ng’eno bwe tulindirira olunaku lwe, ebiseera bijja kulabika nga bidduka mangu nnyo.—1 Abakkolinso 15:58.
19 Okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda nakyo kijja kutuyamba ‘okwegomba ennyo okujja’ kw’olunaku olwo, yee, nga ‘tulwesunga.’ (2 Peetero 3:12) Mu Kigambo kya Katonda mulimu obunnabbi bungi obwogera ku kujja kw’olunaku lwa Yakuwa n’emikisa emingi abo ‘abalulindirira’ gye bajja okufuna.—Zeffaniya 3:8.
20. Bigambo ki ffenna bye tusaanidde okutwala nga kukulu?
20 Kino kye kiseera ffenna okutwala ebigambo bino ebya nnabbi Zeffaniya nga bikulu: “Etteeka nga terinnaba kuzaala, olunaku nga terunnayita ng’ebisusunku, ekiruyi kya Mukama nga tekinnabatuukako, olunaku olw’obusungu bwa Mukama nga terunnabatuukako. Munoonye Mukama, mmwe mmwenna abawombeefu ab’omu nsi, abakola emisango gye; munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu: mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.”—Zeffaniya 2:2, 3.
21. Abantu ba Katonda bamaliridde kukola ki mu mwaka gwa 2007?
21 N’olwekyo, ng’ekyawandiikibwa ky’omwaka ogwa 2007 kituukirawo bulungi nnyo! Kigamba: “Olunaku olukulu olwa Yakuwa luli kumpi.” Abantu ba Katonda bakakafu nti “luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo.” (Zeffaniya 1:14, NW) ‘Terujja kulwa.’ (Kaabakuuku 2:3) Kale nno, nga bwe tululindirira, ka tubeere bulindaala buli kiseera, nga tujjukira nti okutuukirizibwa okusembayo okw’obunnabbi buno kuli kumpi!
Osobola Okuddamu?
• “Olunaku olukulu olwa Yakuwa” lwe luluwa?
• Lwaki bangi babuusa amaaso obukulu bw’ebiseera bye tulimu?
• Lwaki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka kyali kibeetaagisa okusitukiramu?
• Kiki ekinaatuyamba obuteerabira bukulu bwa biseera bye tulimu?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 12]
Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2007 kigamba nti: “Olunaku olukulu olwa Yakuwa luli kumpi.”—Zeffaniya 1:14, NW.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8, 9]
Nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, abasekerezi olunaku lwa Yakuwa lujja kubagwako bugwi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Abakristaayo baalina okusitukiramu bwe baalaba nga Yerusaalemi ‘kyetooloddwa eggye’