“Omwoyo n’Omugole Bigamba Nti: ‘Jjangu!’”
“Omwoyo n’omugole bigamba nti: ‘Jjangu!’ . . . Buli alumwa ennyonta ajje; buli ayagala atwale amazzi ag’obulamu buwa.”—KUB. 22:17.
1, 2. Ebintu ebikwata ku Bwakabaka bisaanidde kuba na kifo ki mu bulamu bwaffe, era lwaki?
EBINTU ebikwata ku Bwakabaka bisaanidde kuba na kifo ki mu bulamu bwaffe? Yesu yakubiriza abagoberezi be ‘okusooka okunoonyanga obwakabaka,’ era yabakakasa nti Katonda yandibawadde bye beetaaga bwe bandikoze bwe batyo. (Mat. 6:25-33) Yageraageranya Obwakabaka bwa Katonda ku luulu ey’omuwendo omungi omusuubuzi gye yazuula, n’agenda “n’atunda ebintu byonna bye yalina n’agigula.” (Mat. 13:45, 46) Naffe omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa tusaanidde okugutwala nga mukulu nnyo.
2 Nga bwe twalaba mu bitundu ebibiri ebyayita, bwe tubuulira n’obuvumu era ne tukozesa bulungi Ekigambo kya Katonda nga tuli mu buweereza kiraga nti tugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda. Omwoyo ogwo gutuyamba okuba abanyiikivu mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira Obwakabaka. Mu ngeri ki?
Buli Omu Ayitibwa!
3. Mazzi ga ngeri ki abantu bonna ge bayitirwa ‘okujja’ okunywa?
3 Okuyitira mu mwoyo omutukuvu, abantu bonna bayitibwa. (Soma Okubikkulirwa 22:17.) Buli omu ayitibwa ‘okujja’ anywe amazzi ag’enjawulo gamumaleko ennyonta. Amazzi gano si ge mazzi aga bulijjo. Wadde ng’amazzi aga bulijjo ga mugaso nnyo mu kubeesaawo obulamu, Yesu si ge yali ayogerako bwe yagamba omukazi Omusamaliya eyali ku luzzi nti: “Buli anywa ku mazzi ge nnaamuwa, taliddamu kulumwa nnyonta, naye gajja kufuuka mu ye ensulo eneevangamu amazzi agawa obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 4:14) Amazzi gano abantu ge bayitirwa okujja okunywa gawa obulamu obutaggwawo.
4. Obwetaavu bw’amazzi agawa obulamu bwajjawo butya, era amazzi ago gakiikirira ki?
4 Obwetaavu obw’amazzi ag’obulamu bwajjawo nga Adamu yeegasse ku mukazi we, Kaawa, mu kujeemera Omutonzi waabwe—Yakuwa Katonda. (Lub. 2:16, 17; 3:1-6) Abantu abo ababiri abaasooka baagobebwa mu lusuku “[Adamu] aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw’obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n’emirembe.” (Lub. 3:22) Olw’okuba ye yavaamu abantu bonna, Adamu ye yaviirako okufa okubuna mu bantu bonna. (Bar. 5:12) Amazzi ag’obulamu gakiikirira ebintu byonna Katonda by’ataddewo okuyamba abantu okuva mu kibi n’okufa era n’okubayamba okufuna obulamu obutaggwawo mu Lusuku lwe ku nsi. Ebintu bino byonna byesigamiziddwa ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo.—Mat. 20:28; Yok. 3:16; 1 Yok. 4:9, 10.
5. Okuyitibwa kw’abantu ‘okutwala amazzi ag’obulamu buwa’ kusibuka eri ani? Nnyonnyola.
5 Okuyitibwa kw’abantu ‘okutwala amazzi ag’obulamu buwa’ kusibuka eri ani? Ng’ebintu byonna ebisobozesa abantu okufuna obulamu okuyitira mu Yesu bifuniddwa mu bujjuvu mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, bijja kuba ‘ng’omugga ogw’amazzi ag’obulamu, agatangaala ng’ejjinja erimasamasa.’ Omugga ogwo gulabibwa nga ‘guva mu ntebe ya Katonda ey’obwakabaka n’ey’Omwana gw’Endiga.’ (Kub. 22:1) N’olwekyo, Yakuwa ye Nsibuko y’amazzi agawa obulamu. (Zab. 36:9) Y’agaba amazzi ago ng’ayitira mu ‘Mwana gw’Endiga,’ Yesu Kristo. (Yok. 1:29) Omugga guno ogw’akabonero y’enteekateeka Yakuwa mw’ayitira okumalawo ebintu byonna ebibi ebyava mu kwonoona kwa Adamu. Yee, Yakuwa Katonda ye Nsibuko y’okuyitibwa okwo.
6. “Omugga ogw’amazzi ag’obulamu” gwatandika ddi okukulukuta?
6 Wadde ‘ng’omugga ogw’amazzi ag’obulamu’ gujja kukulukuta mu bujjuvu mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, gwatandika okukulukuta mu “lunaku lwa Mukama waffe” olwatandika mu 1914 “Omwana gw’Endiga” bwe yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu. (Kub. 1:10) Bwe kityo okuva olwo, ebimu ku ebyo ebinaasobozesa abantu okufuna obulamu byali weebiri. Muno bino mwe muli Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kubanga obubaka obukirimu bwogerwako ‘ng’amazzi.’ (Bef. 5:26) Buli omu asobola ‘okunywa amazzi ag’obulamu’ ng’awulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era ng’agakolerako. Naye ani Yakuwa gw’akozesa okuyita abantu mu lunaku lwa Mukama waffe?
“Omugole” Agamba nti, “Jjangu!”
7. Mu ‘lunaku lwa Mukama waffe’ baani abaasooka okuyita nti ‘jjangu,’ era baani be baayita?
7 Abo abali mu kibiina ky’omugole, kwe kugamba, Abakristaayo abaafukibwako amafuta, be basooka okuyita nti “jjangu.” Baani be bayita? Kya lwatu nti omugole tasobola kuba nga ye yeeyita nti, “Jjangu!” Wabula ayita abo abalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi oluvannyuma ‘lw’olutalo olugenda okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.’—Soma Okubikkulirwa 16:14, 16.
8. Kiki ekiraga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta babadde bayita abantu okunywa amazzi ag’obulamu okuviira ddala mu 1918?
8 Abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta babadde bayita abantu okuviira ddala mu 1918. Mu mwaka ogwo, emboozi ya bonna eyalina omutwe ogugamba nti “Obukadde n’Obukadde bw’Abantu Abaliwo Kati Bayinza Obutafa,” yalaga nti abantu bangi bajja kufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi oluvannyuma lw’olutalo Kalumagedoni. Emboozi eyaweebwa ku lukuŋŋaana olunene olw’Abayizi ba Baibuli olwali e Cedar Point, Ohio, mu Amerika, mu 1922 yakubiriza abaaliwo ‘okulangirira Kabaka n’obwakabaka bwe.’ Ekyo kyayamba ensigalira y’ab’ekibiina ky’omugole okuyita abantu bangi okujja okunywa ku mazzi ag’obulamu. Mu 1929, Watchtower eya Maaki 15 yalimu ekitundu ekyalina omutwe ogugamba nti “Okuyitibwa okw’Ekisa,” ekyali kyesigamiziddwa ku Okubikkulirwa 22:17. Mu kitundu ekyo mwalimu ebigambo bino: “Ensigalira y’abaafukibwako amafuta bakolera wamu [n’Omuyinza w’Ebintu Byonna] mu kuyita abantu nga bagamba nti, ‘Jjangu.’ Abo bonna abaagala obutuukirivu n’amazima balina okuyitibwa, era kino kirina okukolebwa kati.” N’okutuusa leero, ab’ekibiina ky’omugole bakyayita abantu okujja.
“Buli Awulira Agambe nti: ‘Jjangu!’”
9, 10. Abo abawulira okuyitibwa nti, “Jjangu!” bakubirizibwa batya nabo okuyita abalala?
9 Ate kiri kitya eri abo abawulira okuyitibwa nti “jjangu”? Nabo basabibwa okugamba abalala nti, “Jjangu!” Ng’ekyokulabirako, Watchtower eya Agusito 1, 1932, ku lupapula 232 yagamba nti: “Abaafukibwako amafuta basaanidde okukubiriza abantu bonna okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka. Abantu bonna tekibeetaagisa kuba nga baafukibwako amafuta okusobola okulangirira obubaka bwa Mukama waffe. Abajulirwa ba Yakuwa bagitwala nga nkizo ya maanyi okutwala amazzi ag’obulamu eri abantu abasobola okuwonyezebwawo ku Kalumagedoni, baweebwa obulamu obutaggwaawo ku nsi.”
10 Ng’eraga obuvunaanyizibwa abo abawulira okuyitibwa bwe balina mu kugamba abalala nti, “Jjangu!” Watchtower eya Agusito 15, 1934, olupapula 249, yagamba nti: “Wadde ng’ab’ekibiina kya Yonadaabu tebaafukibwako mafuta, balina okukolera awamu n’ab’ekibiina kya Yeeku, kwe kugamba, abaafukibwako amafuta, mu kulangirira obubaka bw’obwakabaka.” Mu 1935, “ekibiina ekinene” ekyogerwako mu Okubikkulirwa 7:9-17 kyategeerekeka bulungi. Ekyo kyayongera amaanyi mu mulimu gw’okuyita abantu. Okuva olwo, omuwendo gw’ab’ekibiina ekinene eky’abasinza ab’amazima abaanukudde okuyitibwa okwo gugenze gweyongerayongera, nga kati basukka mu bukadde musanvu. Oluvannyuma lw’okuwulira obubaka obw’Obwakabaka, beewaayo eri Katonda, babatizibwa, era ne beegatta ku b’ekibiina ky’omugole mu kuyita abalala ‘okujja okunywa amazzi ag’obulamu buwa.’
“Omwoyo” Gugamba nti, “Jjangu!”
11. Mu kyasa ekyasooka, omwoyo omutukuvu gwayamba gutya mu mulimu gw’okubuulira?
11 Bwe yali ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Nazaaleesi, Yesu yabikkula omuzingo gwa nnabbi Isaaya n’asoma nti: “Omwoyo gwa Yakuwa guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu amawulire amalungi, yantuma okubuulira abasibe nti bajja kuteebwa n’abazibe b’amaaso nti bajja kulaba, okusumulula abo abanyigirizibwa, n’okubuulira omwaka gwa Yakuwa ogw’okukkiririzibwamu.” Ng’amaze okusoma ebigambo ebyo, Yesu yakiraga nti byali bikwata ku ye, bwe yagamba nti: “Leero ekyawandiikibwa kino kye muwulidde kituukiridde.” (Luk. 4:17-21) Nga tannalinnya mu ggulu, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mulifuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gulibakkako, era muliba bajulirwa bange . . . okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8) Mu kyasa ekyasooka, omwoyo omutukuvu, gwayamba nnyo mu mulimu gw’okubuulira.
12. Omwoyo gwa Katonda gutuyamba gutya leero mu mulimu gw’okuyita abalala?
12 Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya leero mu mulimu gwaffe ogw’okuyita abalala? Yakuwa ye Nsibuko y’omwoyo omutukuvu. Agukozesa okuyamba ab’ekibiina ky’omugole okutegeera Ekigambo kye, Baibuli. Omwoyo omutukuvu gubakubiriza okuyita n’okunnyonnyola amazima g’omu Byawandiikibwa eri abo abalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Abo abakkiriza okuyitibwa okwo, ne bafuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo, era nabo ne bayita abalala, nabo bafuna obuyambi bw’omwoyo omutukuvu. Olw’okuba baba babatiziddwa mu ‘linnya ly’omwoyo omutukuvu,’ bakolera ku bulagirizi bw’omwoyo ogwo era ne bagwesiga okubayamba. (Mat. 28:19) Ate lowooza ku bubaka abaafukibwako amafuta n’ab’ekibiina ekinene bwe babuulira. Obubaka obwo buva mu Baibuli—ekitabo ekyawandiikibwa abantu abaaluŋŋamizibwa omwoyo gwa Katonda. Bwe kityo, okuyitira mu mwoyo omutukuvu abantu bayitibwa okujja okunywa amazzi ag’obulamu. N’olwekyo, omwoyo omutukuvu gwe gutuwa obulagirizi nga tukola omulimu gw’okuyita abalala. Kino kyandikutte kitya ku ngeri gye tukolamu omulimu ogwo?
“Tebirekera Awo Kugamba nti: ‘Jjangu!’”
13. Ebigambo “omwoyo n’omugole tebirekera awo kugamba nti: ‘Jjangu!’” birina makulu ki?
13 “Omwoyo n’omugole” tebyogera mulundi gumu gwokka nti, “Jjangu!” Ekigambo ky’Oluyonaani ekyakozesebwa wano kirina amakulu ag’okukola ekintu nga tolekera awo. Olw’ensonga eyo, Baibuli egamba nti: “Omwoyo n’omugole tebirekera awo kugamba nti: ‘Jjangu!’” (Kub. 22:17, NW) Kino kiraga nti omulimu gw’okuyita abantu gulina okukolebwa awatali kuddirira. Ate kiri kitya eri abo abawulira era ne bakkiriza okuyitibwa okwo? Nabo bagamba nti, “Jjangu!” Ab’ekibiina ekinene eky’abasinza ab’amazima boogerwako ‘ng’abaweereza mu yeekaalu ya Yakuwa emisana n’ekiro.’ (Kub. 7:9, 15) Mu ngeri ki gye ‘bamuweereza emisana n’ekiro’? (Soma Lukka 2:36, 37; Ebikolwa 20:31; 2 Abassessaloniika 3:8.) Ekyokulabirako kya Ana n’eky’omutume Pawulo biraga nti ‘okuweereza emisana n’ekiro’ kitegeeza okwenyigira mu buweereza awatali kuddirira.
14, 15. Danyeri yalaga atya nti kikulu nnyo okusinza Katonda obutayosa?
14 Nnabbi Danyeri naye yalaga nti kikulu okusinza Katonda obutayosa. (Soma Danyeri 6:4-10, 16.) Teyakyusa mu nteekateeka ye ey’eby’omwoyo—okusaba Katonda “emirundi esatu buli lunaku, . . . nga bwe yakolanga edda”—wadde okumala omwezi ogumu, ne bwe kyali nti okukola ekyo kyandimuviiriddeko okusuulibwa mu kinnya ky’empologoma. Ng’ekyo kyalaga nti kikulu nnyo okusinza Yakuwa obutayosa!—Mat. 5:16.
15 Oluvannyuma lwa Danyeri okumala ekiro kiramba mu kinnya ky’empologoma, kabaka yagendayo n’amuyita nti: ‘Ggwe Danyeri, omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo gw’oweereza bulijjo ayinzizza okukuwonya eri empologoma?’ Danyeri yaddamu nti: “Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna. Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma, ne zitankola bubi: kubanga mu maaso ge nnalabika nga siriiko kabi: era ne mu maaso go, ai kabaka, sikolanga kabi.” Yakuwa yawa Danyeri omukisa olw’okuba yali amuweereza “bulijjo.”—Dan. 6:19-22.
16. Ku bikwata ku buweereza bwaffe, ekyokulabirako kya Danyeri kyandituleetedde kwebuuza bibuuzo ki?
16 Danyeri teyali mwetegefu kuva ku nteekateeka ye ey’okusinza wadde ng’ekyo kyali kiyinza okumuviirako okuttibwa. Ate kiri kitya eri ffe? Bintu ki bye twefiiriza oba bye tuli abeetegefu okwefiiriza okusobola okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda? Mu butuufu, omwezi tegwandiweddeko nga tetubuulidde balala ebikwata ku Yakuwa. Embeera bwe ziba zitusobozesa, tetwandifubye okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro buli wiiki? Ne bwe kiba nti tuli balwadde nnyo naye nga tusobola okubuulira okumala waakiri eddakiika 15 zokka omwezi, tusaanidde okuwaayo alipoota yaffe. Lwaki? Kubanga, ng’omwoyo n’omugole bwe bigamba, naffe twagala bulijjo okugamba nti, “Jjangu!” Yee, twagala okukola kyonna ekisoboka okulaba nti tetwosa kubuulira ku Bwakabaka.
17. Mikisa ki gye tuyinza okukozesa okuyita abalala?
17 Tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira, ne bwe tuba nga tetuli mu buweereza bwa nnimiro. Tufuna akakisa okuyita abo abalumwa ennyonta ‘okujja okunywa amazzi ag’obulamu buwa’ ne mu biseera ebirala gamba nga tugenze okugula ebintu, nga tulina gye tugenda, nga tuli mu luwummula, ku mulimu, oba nga tugenda ku ssomero. Ne bwe kiba nti omulimu gwaffe ogw’okubuulira guwereddwa, tweyongera okubuulira mu ngeri ey’amagezi—oboolyawo ng’amayumba tetugava kumukumu oba nga twongera ku biseera bye tumala nga tubuulira embagirawo.
Weeyongere Okugamba nti, “Jjangu!”
18, 19. Oyinza otya okulaga nti osiima enkizo ey’okukolera awamu ne Katonda?
18 Kati emyaka gisusse mu 90 ng’omwoyo n’omugole bigamba abo abalumwa ennyonta ey’amazzi ag’obulamu nti, “Jjangu!” Owulidde okuyitibwa okwo? Bwe kiba kityo, naawe okubirizibwa okuyita abalala.
19 Tetumanyi kiseera kisigaddeyo ng’omulimu guno ogw’okuyita abantu gukyakolebwa, naye bwe tweyongera okugamba abalala nti, “Jjangu!” tuba tukolera wamu ne Katonda. (1 Kol. 3:6, 9) Ng’eyo nkizo ya maanyi nnyo! Ka tukirage nti tusiima enkizo eyo nga ‘bulijjo tuwaayo eri Katonda ssaddaaka ez’okutendereza,’ nga tubuulira awatali kuddirira. (Beb. 13:15) Nga bakolera wamu n’ab’ekibiina ky’omugole, ka abo bonna abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna beeyongere okugamba nti, “Jjangu!” Era n’abalala bangi ka beeyongere ‘okunywa amazzi ag’obulamu buwa’!
Kiki ky’Oyize?
• Baani abayitibwa nti “jjangu”?
• Lwaki kiyinza okugambibwa nti okuyitibwa ‘okujja’ okunywa amazzi ag’obulamu kusibuka eri Yakuwa?
• Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya mu mulimu gw’okuyita abantu nti “jjangu”?
• Lwaki tusaanidde okufuba okubuulira awatali kuddirira?
[Ekipande/Ebifaananyi ekiri ku lupapula 16]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
Weeyongera Okugamba nti, “Jjangu!”
1914
Ababuulizi 5,100
1918
Bangi bajja kufuna obulamu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi
1922
“Mulangirire, mulangirire, mulangirire, Kabaka n’obwakabaka bwe”
1929
Ab’ensigalira bagamba nti, “Jjangu!”
1932
Abataafukibwako mafuta nabo basabibwa okugamba nti, “Jjangu!”
1934
Ab’ekibiina kya Yonadaabu bakubirizibwa okubuulira
1935
“Ekibiina ekinene” kitegeerekeka
2009
Ababuulizi 7,313,173