ESSUULA 4
Engeri Ekibiina Gye Kitegekeddwamu n’Engeri Gye Kiddukanyizibwamu
MU BBALUWA gye yasooka okuwandiikira Abakkolinso, omutume Pawulo yayogera ekintu ekikulu ennyo ekikwata ku Katonda. Yagamba nti: “Katonda si wa kavuyo, wabula wa mirembe.” Oluvannyuma bwe yali ayogera ku nkuŋŋaana z’ekibiina, yagamba nti: “Ebintu byonna bikolebwe mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.”—1 Kol. 14:33, 40.
2 Ku ntandikwa y’ebbaluwa eyo, omutume Pawulo yanenya ab’oluganda abaali mu kibiina ky’e Kkolinso olw’enjawukana ze baalina. Pawulo yakubiriza ab’oluganda abo ‘okubeeranga obumu mu bye boogera n’okubeeranga obumu mu ndowooza n’ekigendererwa.’ (1 Kol. 1:10, 11) Oluvannyuma yayogera ku bintu ebitali bimu ebyali bireeseewo enjawukana mu kibiina ekyo. Yakozesa omubiri gw’omuntu ng’ekyokulabirako okulaga nti kikulu nnyo okuba obumu n’okukolera awamu. Yakubiriza buli omu mu kibiina okufaayo ku munne n’okumulaga okwagala. (1 Kol. 12:12-26) Ab’oluganda bwe bandibadde obumu era nga buli omu afaayo ku munne, ekyo kyandiraze nti ekibiina kitegekeddwa bulungi.
3 Naye ekibiina Ekikristaayo kyanditegekeddwa kitya? Ani yandikitegese? Kyandibadde kikulemberwa kitya? Baani abandibadde baweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina? Bayibuli esobola okutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.—1 Kol. 4:6.
KITEGEKEDDWA OKUSINZIIRA KU BULAGIRIZI BWA KATONDA
4 Ekibiina Ekikristaayo kyatandikibwawo ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. Biki bye tuyigira ku kibiina eky’omu kyasa ekyasooka? Kyali kitegekeddwa era nga kiddukanyizibwa okusinziira ku bulagirizi bwa Katonda. Ebyaliwo mu Yerusaalemi emyaka nga 2,000 emabega, bitukakasa nti Katonda ye yatandikawo ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (Bik. 2:1-47) Ekibiina ekyo kyali ng’ennyumba Katonda gye yali azimbye, era abaakirimu baali ba mu nju ye. (1 Kol. 3:9; Bef. 2:19) Ekibiina Ekikristaayo ekiriwo leero kitegekeddwa bulungi era kiddukanyizibwa mu ngeri y’emu ng’ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka.
Ekibiina Ekikristaayo ekiriwo leero kitegekeddwa bulungi era kiddukanyizibwa mu ngeri y’emu ng’ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka
5 Ekibiina eky’omu kyasa ekyasooka kyatandika n’abayigirizwa nga 120. Abo be baasooka okufukibwako omwoyo omutukuvu, nga bwe kyali kyalagulwa mu Yoweeri 2:28, 29. (Bik. 2:16-18) Ate era ku lunaku olwo lwennyini, abantu abalala nga 3,000 baabatizibwa ne beegatta ku kibiina ekyo. Bakkiriza ekigambo ekikwata ku Kristo era ‘beeyongera okussaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baayigirizanga.’ Oluvannyuma, “Yakuwa yabongerangako buli lunaku abantu abaalokolebwanga.”—Bik. 2:41, 42, 47.
6 Ekibiina ekyo ekyali mu Yerusaalemi kyakulaakulana nnyo, kabona omukulu ow’Abayudaaya n’atuuka n’okugamba nti abayigirizwa baali bajjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwabwe. Ne bakabona bangi Abayudaaya beegatta ku kibiina Ekikristaayo.—Bik. 5:27, 28; 6:7.
7 Yesu yagamba nti: “Mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8) Bwe wajjawo okuyigganyizibwa okw’amaanyi mu Yerusaalemi oluvannyuma lw’okufa kwa Siteefano, abayigirizwa abaali babeera mu Yerusaalemi baasaasaanira mu bitundu bya Buyudaaya ne Samaliya. Era yonna gye baagenda, beeyongera okulangirira amawulire amalungi n’okufuula abantu abalala abayigirizwa, nga mw’otwalidde n’abamu ku Basamaliya. (Bik. 8:1-13) Oluvannyuma, n’abataali bakomole, kwe kugamba, abataali Bayudaaya, baabuulirwa amawulire amalungi. (Bik. 10:1-48) N’ekyavaamu, abantu bangi baafuulibwa abayigirizwa era ebibiina bingi byatandikibwawo mu bitundu ebirala ebweru wa Yerusaalemi.—Bik. 11:19-21; 14:21-23.
8 Nteekateeka ki ezaakolebwa okukakasa nti buli kibiina ekitandikibwawo kitegekebwa bulungi era ne kiddukanyizibwa okusinziira ku bulagirizi bwa Katonda? Okuyitira mu bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, enteekateeka zaakolebwa okulonda abasumba ab’okulabirira ekisibo. Pawulo ne Balunabba bwe baakyalira ebibiina nga bali ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olwasooka, baalonda abakadde. (Bik. 14:23) Omu ku bawandiisi ba Bayibuli ayitibwa Lukka ayogera ku ebyo ebyaliwo nga Pawulo asisinkanye abakadde b’omu kibiina ky’omu Efeso. Pawulo yabagamba nti: “Mwekuume era mukuume n’ekisibo kyonna, omwoyo omutukuvu mwe gwabalondera okuba abalabirizi, mulabirirenga ekibiina kya Katonda kye yagula n’omusaayi gw’Omwana we.” (Bik. 20:17, 28) Abo abaalondebwa okuba abakadde baali batuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa. (1 Tim. 3:1-7) Tito eyali aweerereza awamu ne Pawulo yaweebwa obuyinza okulonda abakadde mu bibiina by’e Kuleete.—Tit. 1:5.
9 Abatume n’abakadde mu Yerusaalemi be baali ku kakiiko akafuzi akaali kalabirira ebibiina byonna ebyaliwo mu kyasa ekyasooka.
10 Omutume Pawulo bwe yawandiikira ekibiina ky’omu Efeso, yannyonnyola nti ekibiina Ekikristaayo bwe kyandikoledde ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda era ne kigoberera obulagirizi bw’omukulembeze waakyo Yesu Kristo, kyandisobodde okuba obumu. Yakubiriza Abakristaayo abo okuba abeetoowaze n’okukuuma “obumu obw’omwoyo” nga bakolagana bulungi n’abalala mu kibiina. (Bef. 4:1-6) Oluvannyuma yajuliza Zabbuli 68:18 era n’agikwataganya n’enteekateeka ya Yakuwa ey’okulonda abasajja abakuze mu by’omwoyo okukola ku byetaago by’ekibiina nga baweereza ng’abatume, bannabbi, ababuulizi, abasumba, n’abayigiriza. Abasajja abo birabo Yakuwa bye yawa ekibiina okuyamba abali mu kibiina okukula mu by’omwoyo basobole okusanyusa Katonda.—Bef. 4:7-16.
EBIBIINA LEERO BITEGEKEDDWA MU NGERI Y’EMU NG’EBY’OMU KYASA EKYASOOKA
11 Leero ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa byonna bitegekeddwa mu ngeri y’emu ng’eby’omu kyasa ekyasooka. Ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bikolaganira wamu, era ab’endiga endala bayambako baganda baabwe abaafukibwako amafuta. (Zek. 8:23) Yesu Kristo y’asobozesa kino okubaawo. Nga bwe yasuubiza, abadde ali wamu n’abayigirizwa be abaafukibwako amafuta era wa kubeera nabo “ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” Abantu abeegatta ku kibiina kya Yakuwa bakkiriza amawulire amalungi agakwata ku Katonda, ne beewaayo gy’ali era ne babatizibwa, bwe batyo ne bafuuka abayigirizwa ba Yesu. (Mat. 28:19, 20; Mak. 1:14; Bik. 2:41) Bakkiriza nti Yesu Kristo, ‘omusumba omulungi,’ gwe mutwe gw’ekisibo kyonna ekirimu Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala.’ (Yok. 10:14, 16; Bef. 1:22, 23) Ekisobozesa “ekisibo” kino okuba obumu kwe kuba nti abo abakirimu bakkiriza obukulembeze bwa Kristo era bagondera “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” omukutu Kristo gw’akozesa okuwa ekibiina obulagirizi. Ka tweyongere okwesiga omukutu guno Kristo gw’akozesa leero.—Mat. 24:45.
EBIBIINA EBIWANDIISIDDWA MU MATEEKA BITUYAMBA BITYA?
12 Okusobola okuwa abantu ba Katonda emmere mu kiseera ekituufu n’okubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka ng’enkomerero tennajja, waliwo ebibiina ebiwandiisiddwa mu mateeka ebiteekeddwawo. Ebibiina ebyo bikkirizibwa mu mateeka g’ensi nnyingi era bikolaganira wamu. Bitusobozesa okuba n’ebyo bye twetaaga okusobola okukola obulungi omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna.
OFIISI Z’AMATABI
13 Ofiisi y’ettabi bw’eteekebwawo, abakadde basatu oba n’okusingawo balondebwa okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi. Akakiiko ako kalabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi eziri wansi w’ofiisi y’ettabi eyo. Omu ku b’oluganda ababa ku kakiiko ako aweereza ng’omukwanaganya waako.
14 Ensi ezirabirirwa ofiisi y’ettabi zigabanyizibwamu ebitundu (circuits), era buli kitundu kibaamu ebibiina ebiwerako. Omuwendo gw’ebibiina ebiba mu bitundu bino teguba gwe gumu. Omuwendo gw’ebibiina ebiba mu kitundu gusinziira ku wa ebibiina ebyo we biri, ku lulimi olukozesebwa mu bibiina ebyo, ne ku muwendo gw’ebibiina ebirabirirwa ettabi. Omulabirizi w’ekitundu alondebwa okukyalira ebibiina ebiri mu kitundu ekiba kimuweereddwa. Ofiisi y’ettabi ewa omulabirizi w’ekitundu obulagirizi ku ngeri y’okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwe.
15 Ab’oluganda mu bibiina bagoberera enteekateeka z’ekibiina kya Yakuwa ezassibwawo okubaganyula bonna. Bassa ekitiibwa mu abo abali ku kakiiko k’ettabi, abalabirizi abakyalira ebibiina, n’abakadde abali mu bibiina byabwe. Ate era bakimanyi nti omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’awa ebibiina emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. Omuddu omwesigwa naye assa ekitiibwa mu bukulembeze bwa Kristo, anywerera ku misingi egiri mu Bayibuli, era akolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Bwe tweyongera okukolera awamu ffenna era n’okuba obumu, tufuna emikisa gye gimu ng’egyo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye baafuna. Bayibuli egamba nti: ‘Ebibiina byeyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongeranga buli lunaku.’—Bik. 16:5.