ESSOMO 57
Kiki ky’Osaanidde Okukola ng’Okoze Ekibi eky’Amaanyi?
Wadde ng’oyagala nnyo Yakuwa era ng’ofuba okwewala okukola ebintu ebimunyiiza, olumu n’olumu oyinza okukola ebintu ebimunyiiza. Naye ebibi ebimu bya maanyi okusinga ebirala. (1 Abakkolinso 6:9, 10) Singa okola ekibi eky’amaanyi, kijjukire nti Yakuwa aba talekedde awo kukwagala. Mwetegefu okukusonyiwa n’okukuyamba.
1. Kiki kye tulina okukola, Yakuwa okusobola okutusonyiwa?
Abo abaagala Yakuwa bawulira bubi nnyo nga bakoze ekibi eky’amaanyi. Naye ebigambo Yakuwa bye yagamba abantu be ab’edda bibazzaamu amaanyi. Yabagamba nti: “Ebibi byammwe ne bwe binaaba bimyufu ng’omusaayi, bijja kufuulibwa byeru ng’omuzira.” (Isaaya 1:18) Bwe twenenya mu bwesimbu, Yakuwa atusonyiwa. Ekyo tukikola tutya? Tunakuwalira ekyo kye tuba tukoze, twewala okuddamu okukikola, era ne tusaba Yakuwa atusonyiwe. Ate era tufuba nnyo okweggyamu endowooza embi, oba emize emibi egiba gyatuviirako okukola ekintu ekibi era ne tufuba okutambulira ku mitindo gya Yakuwa.—Soma Isaaya 55:6, 7.
2. Yakuwa akozesa atya abakadde okutuyamba nga tukoze ekibi eky’amaanyi?
Yakuwa atugamba nti bwe tukola ekibi eky’amaanyi, tulina ‘okuyita abakadde b’ekibiina.’ (Soma Yakobo 5:14, 15.) Abakadde baagala nnyo Yakuwa n’endiga ze. Basobola okutuyamba okutereeza enkolagana yaffe ne Yakuwa.—Abaggalatiya 6:1.
Abakadde batuyamba batya nga tukoze ekibi eky’amaanyi? Abakadde babiri oba basatu boogerako naffe ne batutereeza nga bakozesa ebyawandiikibwa. Ate era babaako amagezi amalungi ge batuwa okusobola okutuyamba obutaddamu kukola kibi ekyo. Bayinza okusalawo nti waliwo ebintu ebimu mu kibiina bye tutajja kwenyigiramu okumala ekiseera okutuusa nga tutereezezza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okusobola okukuuma ekibiina nga kiyonjo, abakadde bagoba mu kibiina abo ababa bakoze ekibi eky’amaanyi ne bagaana okwenenya.
YIGA EBISINGAWO
Weeyongere okutegeera engeri Yakuwa gy’atuyambamu nga tukoze ekibi eky’amaanyi.
3. Bwe twatula ekibi kye tuba tukoze, kituyamba okuzzaawo enkolagana yaffe ne Yakuwa
Bwe tukola ekibi, tuba tunyiizizza Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki tulina okumwatulira ebibi byaffe. Soma Zabbuli 32:1-5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki kirungi okwatulira Yakuwa ebibi byaffe, mu kifo ky’okugezaako okubikweka?
Nga tumaze okwatulira Yakuwa ekibi kye tuba tukoze, twongera okufuna obuweerero bwe tutegeezaako abakadde ne batuyamba. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Mu vidiyo eyo, abakadde baayamba batya Canon okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa?
Tusaanidde okwogera amazima nga tutegeeza abakadde ekibi kye tuba tukoze; baliwo kutuyamba. Soma Yakobo 5:16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki kiba kyangu eri abakadde okutuyamba bwe tuba nga tetulina kye tubakwese?
4. Emiganyulo egiri mu kugoba mu kibiina oyo aba agaanye okwenenya
Omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi naye n’agaana okwenenya, aba takyasaana kubeera mu kibiina. Omuntu oyo agobebwa mu kibiina, era tetukolagana naye wadde okwogera naye. Soma 1 Abakkolinso 5:6, 11 ne 2 Yokaana 9-11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Ng’ekizimbulukusa bwe kizimbulukusa eŋŋaano gye bakanze, ekibiina kikwatibwako kitya bwe tukolagana n’omuntu agaanye okwenenya?
Bangi ku abo abaali bagobeddwa mu kibiina oluvannyuma baakomawo kubanga okukangavvula okwabaweebwa, wadde nga kwali kwa bulumi, kwabayamba okutereeza enkolagana yaabwe ne Yakuwa. (Zabbuli 141:5) Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
VIDIYO: Nywerera ku Mitindo gya Yakuwa (9:28)
Mu vidiyo eyo, Sonja yaganyulwa atya olw’okugobebwa mu kibiina?
Oyo aba agaanye okwenenya bw’agobebwa mu kibiina . . .
kiweesa kitya erinnya lya Yakuwa ekitiibwa?
kiraga kitya nti Yakuwa si mukakanyavu era nti alina okwagala kungi?
5. Bwe twenenya, Yakuwa atusonyiwa
Yesu yagera olugero olutuyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’awuliramu ng’omuntu yeenenyezza. Soma Lukka 15:1-7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
By’osomye mu nnyiriri ezo bikuyigiriza ki ku Yakuwa?
Soma Ezeekyeri 33:11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Kintu ki ekikulu kye tulina okukola okulaga nti ddala twenenyezza?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Ntya okubuulira abakadde ekibi kye nnakola kubanga nnyinza okugobebwa mu kibiina.”
Kiki ky’oyinza okugamba omuntu alina endowooza ng’eyo?
MU BUFUNZE
Bwe tukola ekibi eky’amaanyi ne twenenya mu bwesimbu era ne tuba bamalirivu obutaddamu kukikola, Yakuwa atusonyiwa.
Okwejjukanya
Lwaki tusaanidde okwatulira Yakuwa ebibi byaffe?
Yakuwa okusobola okutusonyiwa, kiki kye tulina okukola?
Bwe tukola ekibi eky’amaanyi, lwaki tusaanidde okutegeezaako abakadde?
LABA EBISINGAWO
Laba engeri Yakuwa gye yalagamu omusajja omu obusaasizi obwogerwako mu Isaaya 1:18.
Miganyulo ki egiri mu kugoba mu kibiina omwonoonyi aba agaanye okwenenya?
Laba engeri gy’oyinza okunnyonnyolamu omuntu atali muweereza wa Yakuwa, enteekateeka y’okugoba aboonoonyi mu kibiina.
“Abajulirwa ba Yakuwa Bakyawa Abantu Abatakyali mu Ddiini Yaabwe?” (Kiri ku mukutu)
Mu kitundu ekirina omutwe, “Nnali Nneetaaga Okudda eri Yakuwa,” laba engeri omusajja omu eyali avudde mu mazima gye yakiraba nti Yakuwa yamuyamba okudda gy’ali.
“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Omunaala gw’Omukuumi, Apuli 1, 2012)