Yeremiya
17 “Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma.
Kyoleddwa ku mutima gwabwe n’ekkalaamu ey’ejjinja ly’alimansi
Era kyoleddwa ne ku mayembe g’ebyoto byabwe,
2 N’abaana baabwe bajjukira ebyoto byabwe n’empagi zaabwe ezisinzibwa*+
Ebyali okumpi n’omuti ogw’ebikoola ebingi, ku busozi obuwanvu,+
3 Ne ku nsozi eziri ku ttale.
Eby’obugagga byo n’ebintu byo byonna eby’omuwendo nja kubiwaayo binyagibwe.+
Ebifo byo ebigulumivu nja kubiwaayo binyagibwe olw’ebibi bye wakola mu bitundu byonna eby’ensi yo.+
4 Eby’obusika bye nnakuwa, ojja kubiwaayo awatali kuwalirizibwa.+
Era nja kukuleetera okuba omuweereza w’abalabe bo mu nsi gy’otomanyi,+
Bujja kubuubuuka emirembe n’emirembe.”
5 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Akolimiddwa omuntu* assa obwesige mu bantu obuntu,+
Eyeesiga amaanyi g’abantu,+
Era ow’omutima oguvudde ku Yakuwa.
6 Ajja kuba ng’omuti oguli gwokka mu ddungu.
Ebirungi bwe birijja talibiraba,
Naye ajja kubeera mu bifo ebikalu mu ddungu,
Mu nsi ey’olunnyo etayinza kubeeramu bantu.
8 Ajja kuba ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’amazzi,
Emirandira gyagwo ne giranda nga gidda awali omugga.
Tajja kutya omusana bwe gunaayaka ennyo,
Naye ebikoola bye bijja kweyongera obungi.+
Ne mu kiseera eky’ekyeya tajja kweraliikirira,
Era tajja kulekera awo kubala bibala.
9 Omutima mukuusa* okusinga ekintu ekirala kyonna era gwa kabi nnyo.*+
Ani ayinza okugumanya?
10 Nze Yakuwa nkebera omutima,+
Nkebera ebirowoozo eby’omunda ennyo,*
Ndyoke nsasule buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,
Ng’ebikolwa bye bwe biri.+
Birimuggwaako oluvannyuma lw’ekiseera,
Era ku nkomerero kiryeyoleka nti musirusiru.”
12 Entebe ey’ekitiibwa, eyagulumizibwa okuva ku lubereberye,
Kye kifo kyaffe ekitukuvu.+
13 Ai Yakuwa, essuubi lya Isirayiri,
Abo bonna abakuvaako bajja kuswala.
Amannya g’abo abakwewaggulako* gajja kuwandiikibwa mu nfuufu,+
Olw’okuba bavudde ku Yakuwa, ensibuko y’amazzi amalamu.+
14 Ai Yakuwa, mponya, nja kuwona.
Ndokola, nja kulokolebwa,+
Kubanga ggwe gwe ntendereza.
15 Laba! Waliwo abaŋŋamba nti:
“Ekigambo kya Yakuwa kiri ludda wa?+
Ka kijje!”
16 Naye nze ng’omusumba saalekayo kukugoberera,
Era seesunga lunaku olw’okulaba ennaku.
Omanyi bulungi emimwa gyange bye gyogera;
Ebigambo byange biri mu maaso go!
17 Tondeetera ntiisa.
Ggwe kiddukiro kyange mu biseera ebizibu.
18 Abanjigganya ka baswale,+
Naye nze tondeka kuswala.
Ka bakubwe entiisa,
Naye nze tondeka kukubwa ntiisa.
19 Bw’ati Yakuwa bwe yaŋŋamba: “Genda oyimirire mu mulyango gw’abaana b’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira era mwe bafulumira, ne mu miryango gyonna egya Yerusaalemi.+ 20 Ojja kubagamba nti, ‘Muwulire ekigambo kya Yakuwa, mmwe bakabaka ba Yuda, n’abantu bonna ab’omu Yuda, n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayingirira mu miryango gino. 21 Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mwekuume, era temusitula mugugu gwonna ku lunaku lwa Ssabbiiti wadde okuguyisa mu miryango gya Yerusaalemi.+ 22 Temufulumyanga mugugu gwonna mu mayumba gammwe ku lunaku lwa Ssabbiiti, era temukolanga mulimu gwonna.+ Olunaku lwa Ssabbiiti mulutwalenga nga lutukuvu, nga bwe nnalagira bajjajjammwe.+ 23 Naye tebaawuliriza wadde okuntegera amatu, era baawaganyala ne bagaana* okuŋŋondera n’okukkiriza okuwabulwa.”’+
24 “‘“Kyokka, bwe munaŋŋondera,” Yakuwa bw’agamba, “ne mutayisa mugugu gwonna mu miryango gy’ekibuga kino ku lunaku lwa Ssabbiiti, era olunaku lwa Ssabbiiti ne mulutwala nga lutukuvu ne mutakolerako mulimu gwonna,+ 25 olwo bakabaka n’abaami abatuula ku ntebe ya Dawudi+ nabo bajja kuyingirira mu miryango gy’ekibuga kino, nga bali mu ggaali ne ku mbalaasi, bakabaka n’abaami baabwe, abantu ba Yuda n’ababeera mu Yerusaalemi;+ era ekibuga kino kijja kubeeramu abantu emirembe n’emirembe. 26 Era abantu bajja kuva mu bibuga bya Yuda, ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu nsi ya Benyamini,+ ne mu lusenyi,+ ne mu kitundu eky’ensozi, ne mu Negebu,* baleete mu nnyumba ya Yakuwa ebiweebwayo ebyokebwa,+ ne ssaddaaka,+ n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,+ n’obubaani obweru, ne ssaddaaka ez’okwebaza.+
27 “‘“Naye bwe mutaŋŋondere, olunaku lwa Ssabbiiti ne mutalutwala nga lutukuvu, era ne musitula emigugu ne mugiyisa mu miryango gya Yerusaalemi ku lunaku lwa Ssabbiiti, nja kukuma omuliro ku miryango gyakyo, era gujja kwokya eminaala gya Yerusaalemi,+ era tegujja kuzikizibwa.”’”+