Yeremiya
18 Bino bye bigambo Yakuwa bye yagamba Yeremiya: 2 “Situka ogende ew’omubumbi;+ nja kwogera naawe ng’oli eyo.”
3 Awo ne ŋŋenda ew’omubumbi, ne mmusanga ng’abumba ekibya. 4 Naye ekibya omubumbi kye yali abumba ne kyonoonekera mu mukono gwe, ebbumba lyakyo n’alibumbamu ekibya ekirala, nga bwe yayagala.*
5 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: 6 “‘Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, siyinza kubakola ekyo omubumbi oyo ky’akoze ebbumba?’ Yakuwa bw’agamba. ‘Laba! Ng’ebbumba bwe liba mu mukono gw’omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange, mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri.+ 7 Buli lwe nnaayogera ku kusimbula, n’okumenyaamenya, n’okuzikiriza eggwanga oba obwakabaka,+ 8 eggwanga eryo ne lireka ebintu ebibi bye libadde likola bye nnavumirira, nange nja kukyusa ekirowoozo* nneme kuleeta kabi ke mbadde ŋŋenda okulituusaako.+ 9 Naye buli lwe nnaayogera ku kuzimba n’okusimba eggwanga oba obwakabaka, 10 eggwanga eryo ne likola ebintu ebibi mu maaso gange era ne litagondera ddoboozi lyange, nja kukyusa ekirowoozo* nneme okukola ebirungi bye mbadde ŋŋenda okulikolera.’
11 “Kale kaakano, abantu b’omu Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Laba nteekateeka okubatuusaako akabi era mbakolera olukwe. Muleke amakubo gammwe amabi, era mulongoose amakubo gammwe n’empisa zammwe.”’”+
12 Naye ne bagamba nti: “Tekigasa!+ Tujja kukola nga bwe tulowooza, era buli omu ku ffe ajja kukola ng’obukakanyavu bw’omutima gwe omubi bwe buli.”+
13 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Mubuuze mu mawanga.
Ani yali awulidde ekintu ekiringa kino?
Omuwala wa Isirayiri embeerera akoze ekintu ekibi ennyo.+
14 Enjazi z’oku buserengeto bw’Olusozi Lebanooni ziggwaako omuzira?
Oba amazzi agannyogoga agakulukuta nga gava wala ganaakalira?
15 Naye abantu bange banneerabidde.+
Bawaayo ssaddaaka* eri ekintu ekitagasa,+
Era baleetera abantu okwesittala mu makubo gaabwe, mu mpenda ez’edda,+
Ne batambulira ku nguudo ez’ebbali ezirimu ebisirikko,*
16 Balyoke bafuule ensi yaabwe ekifo eky’entiisa+
Era ekintu abantu kye banaafuuyira oluwa emirembe gyonna.+
Buli anaayitangawo anaagitunuuliranga n’atya era n’anyeenya omutwe.+
17 Nja kubasaasaanyiza mu maaso g’abalabe baabwe, ng’embuyaga ey’ebuvanjuba bw’esaasaanya ebisusunku.
Ku lunaku olw’okulaba ennaku ndibakuba amabega so siribatunuulira.”+
18 Awo ne bagamba nti: “Mujje tusalire Yeremiya olukwe,+ kubanga amateeka tegaabulenga* awali bakabona baffe, n’amagezi tegaabulenga awali abasajja abagezigezi, n’ekigambo tekiibulenga awali bannabbi. Mujje tumwogereko ebibi* era tuleme kuwuliriza by’agamba.”
19 Wuliriza bye ŋŋamba, Ai Yakuwa,
Era wuliriza abalabe bange bye boogera.
20 Ekirungi kyandisasuddwamu ekibi?
Bansimidde ekinnya.+
Jjukira bwe nnayimiriranga mu maaso go ne mboogerako ebirungi,
Obaggyeko obusungu bwo.
21 Kale abaana baabwe baweeyo eri enjala,
Era baweeyo eri ekitala.+
Bakazi baabwe ka bafiirwe abaana baabwe era bafuuke bannamwandu.+
Abasajja baabwe ka bafe endwadde embi,
Abavubuka baabwe ka battibwe ekitala mu lutalo.+
22 Okukaaba ka kuwulirwe mu mayumba gaabwe,
Bw’onoobaleetako abazigu embagirawo.
Kubanga basimye ekinnya okunkwasa
Era ebigere byange babiteze emitego.+
23 Naye ggwe, Ai Yakuwa,
Omanyi bulungi enkwe zonna ze bankoledde okunzita.+
Tobikka ku nsobi zaabwe,
Era tosangula bibi byabwe mu maaso go.