Danyeri
1 Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu+ kabaka wa Yuda, Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yagenda e Yerusaalemi n’akizingiza.+ 2 Yakuwa n’awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda mu mukono gwe,+ awamu n’ebimu ku bintu by’omu nnyumba* ya Katonda ow’amazima, n’abireeta mu nsi ya Sinaali*+ mu nnyumba* ya katonda we, n’abiteeka mu ggwanika lya katonda we.+
3 Awo kabaka n’alagira Asupenaazi omukulu w’abaami b’omu lubiri okuleeta abamu ku Bayisirayiri,* nga mw’otwalidde n’ab’olulyo olulangira n’abaana b’abakungu.+ 4 Baalina okuba abavubuka* abataliiko kamogo konna, abalabika obulungi, abagezi, abamanyi ebintu ebingi, abategeevu,+ era abasobola okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Yalina okubayigiriza amagezi* g’Abakaludaaya n’olulimi lwabwe. 5 Ate era kabaka yalagira nti buli lunaku baweebwenga emmere n’omwenge okuva ku mmere ya kabaka ne ku mwenge gwe. Baalina okutendekebwa* okumala emyaka esatu, era ku nkomerero y’emyaka egyo baali ba kutandika okuweereza mu lubiri lwa kabaka.
6 Mu bo mwalimu abamu ku b’omu kika kya Yuda bano: Danyeri,*+ Kananiya,* Misayeri,* ne Azaliya.*+ 7 Awo omukulu w’abaami b’omu lubiri n’abawa amannya;* Danyeri n’amutuuma Berutesazza,+ Kananiya n’amutuuma Saddulaaki, Misayeri n’amutuuma Mesaki, ate Azaliya n’amutuuma Abeduneego.+
8 Naye Danyeri yamalirira mu mutima gwe obuteeyonoona na mmere ya kabaka oba n’omwenge gwe yanywanga. Bw’atyo n’asaba omukulu w’abaami b’omu lubiri amukkirize aleme kweyonoona mu ngeri eyo. 9 Katonda ow’amazima n’aleetera omukulu w’abaami b’omu lubiri okulaga Danyeri ekisa n’obusaasizi.+ 10 Omukulu w’abaami b’omu lubiri n’agamba Danyeri nti: “Ntya mukama wange kabaka eyalagira bye mulina okulya ne bye mulina okunywa. Watya singa anaabalaba nga temulabika bulungi ng’abavubuka* abalala ab’emyaka gyammwe? Mujja kundeetera* okubaako omusango mu maaso ga kabaka.” 11 Naye Danyeri n’agamba omusigire, omukulu w’abaami b’omu lubiri gwe yali akwasizza Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri, ne Azaliya nti: 12 “Nkwegayiridde, gezesa abaweereza bo okumala ennaku kkumi, tuweebwenga mmere eva mu birime na mazzi, 13 oluvannyuma ogeraageranye endabika yaffe n’ey’abavubuka* abalya ku mmere ya kabaka, olyoke osalewo eky’okukolera abaweereza bo ng’osinziira ku ekyo ky’onooba olaba.”
14 Awo n’akkiriza kye baasaba, n’abagezesa okumala ennaku kkumi. 15 Ennaku ekkumi we zaggweerako baali balabika bulungi era nga bagevvu okusinga abavubuka* abalala bonna abaali balya ku mmere ya kabaka. 16 Awo omusigire n’abawanga emmere eva mu birime mu kifo ky’emmere ya kabaka n’omwenge gwe. 17 Katonda ow’amazima yasobozesa abavubuka* abo abana okumanya n’okutegeera ebiwandiiko byonna era n’abawa amagezi; era Danyeri yaweebwa n’obusobozi bw’okutegeera okwolesebwa okwa buli ngeri n’ebirooto ebya buli ngeri.+
18 Ekiseera kabaka kye yali alagidde batwalibwe bwe kyatuuka,+ omukulu w’abaami b’omu lubiri n’abatwala mu maaso ga Nebukadduneeza. 19 Kabaka bwe yayogera nabo, tewaali n’omu mu kibinja kyonna eyalinga Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya;+ era beeyongera okuweereza mu maaso ga kabaka. 20 Mu buli nsonga yonna eyali yeetaagisa amagezi n’okutegeera kabaka gye yababuuzanga, yakiraba nti baali basinga emirundi kkumi bakabona bonna abaakolanga eby’obufumu, n’abalaguzi bonna+ abaali mu bwakabaka bwe bwonna. 21 Danyeri yasigala eyo okutuusa mu mwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa Kabaka Kuulo.+