Yokaana
7 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu yasigala mu Ggaliraaya, kubanga yali tayagala kugenda mu Buyudaaya olw’okuba Abayudaaya baali baagala okumutta.+ 2 Embaga y’Abayudaaya ey’Ensiisira+ yali eneetera okutuuka. 3 Awo baganda be+ ne bamugamba nti: “Va wano ogende mu Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe by’okola. 4 Tewali muntu akola kintu kyonna mu kyama bw’aba ng’ayagala okumanyibwa mu lujjudde. Bw’oba ng’okola ebintu bino, weerage eri ensi.” 5 Baganda be baali tebamukkiririzaamu.+ 6 Yesu n’abagamba nti: “Ekiseera kyange tekinnatuuka,+ naye ekiseera ekyammwe bulijjo weekiri. 7 Ensi terina nsonga egireetera kubakyawa, naye nze enkyawa kubanga njogera nti ebikolwa byayo bibi.+ 8 Mmwe mugende ku mbaga; nze sinnatuusa kugenda kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”+ 9 Bwe yamala okubagamba ebigambo ebyo, n’asigala mu Ggaliraaya.
10 Baganda be bwe baamala okugenda ku mbaga, awo naye n’agenda, wabula mu kyama. 11 Abayudaaya ne batandika okumunoonya ku mbaga nga bagamba nti: “Omusajja ono ali ludda wa?” 12 Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi ku ye mu bantu, ng’abamu bagamba nti: “Musajja mulungi,” ate ng’abalala bagamba nti: “Si mulungi, abuzaabuza abantu.”+ 13 Kyokka tewali n’omu eyali ayinza okumwogerako mu lujjudde olw’okutya Abayudaaya.+
14 Embaga bwe yali etuuse wakati, Yesu n’agenda mu yeekaalu n’atandika okuyigiriza. 15 Abayudaaya ne beewuunya, ne bagamba nti: “Omusajja ono ayinza atya okuba ng’amanyi Ebyawandiikibwa+ bw’ati ng’ate teyasomerako mu masomero ga bya ddiini?”*+ 16 Yesu n’abaddamu nti: “Bye njigiriza si byange, wabula by’oyo eyantuma.+ 17 Oyo yenna ayagala okukola Katonda by’ayagala ajja kumanya obanga bye njigiriza biva eri Katonda,+ oba njogera byange ku bwange. 18 Oyo ayogera ebibye ku bubwe yeenoonyeza kitiibwa; naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyamutuma,+ aba wa mazima, era tabaamu butali butuukirivu. 19 Musa teyabawa Mateeka?+ Naye tewali n’omu ku mmwe agagondera. Lwaki mwagala okunzita?”+ 20 Ekibiina ky’abantu ne kimuddamu nti: “Oliko dayimooni. Ani ayagala okukutta?” 21 Yesu n’abaddamu nti: “Nnakola ekintu kimu mmwenna ne mwewuunya. 22 Musa kyeyava abawa etteeka erikwata ku kukomola+—si lwa kuba nti lyava eri Musa, naye lwa kuba lyava mu bajjajjaffe+—era mukomola abantu ku ssabbiiti. 23 Bwe kiba nti omuntu akomolebwa ku ssabbiiti Etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, lwaki munsunguwalira olw’okuba mponyezza omuntu ku ssabbiiti?+ 24 Mulekere awo okusala omusango nga musinziira ku ndabika ya kungulu, naye musale omusango mu butuukirivu.”+
25 Awo abamu ku bantu b’omu Yerusaalemi ne bagamba nti: “Ono si ye musajja gwe baagala okutta?+ 26 Naye laba! ayogera mu lujjudde, era tewali kye bamugamba. Kyandiba ng’abafuzi bategedde nti ono ye Kristo? 27 Ffe tumanyi omusajja ono gy’ava;+ naye Kristo bw’alijja, tewali n’omu alimanya gy’avudde.” 28 Awo Yesu bwe yali ayigiriza mu yeekaalu n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Mummanyi era mumanyi ne gye nva. Sajja ku bwange,+ naye Oyo eyantuma wa ddala, era temumumanyi.+ 29 Mmumanyi,+ kubanga nnajja okumukiikirira, era Oyo ye yantuma.” 30 Awo ne batandika okunoonya engeri y’okumukwatamu,+ naye tewali n’omu yamukwata kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.+ 31 Wadde kyali kityo, abantu bangi baamukkiririzaamu+ era baali bagamba nti: “Kristo bw’alijja alikola ebyamagero ebisinga ebyo omusajja ono by’akoze?”
32 Abafalisaayo ne bawulira abantu nga bamwogerako ebintu ebyo, era bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abasirikale okugenda okumukwata. 33 Awo Yesu n’agamba nti: “Nja kubeera nammwe akaseera katono nga sinnagenda eri Oyo eyantuma.+ 34 Mujja kunnoonya naye temujja kundaba, era gye nnaabeera temuyinza kujjayo.”+ 35 Awo Abayudaaya ne bagambagana nti: “Omusajja ono ayagala kugenda wa gye tutayinza kumulabira? Ayagala kugenda eri Abayudaaya abaasaasaanira mu Bayonaani era ayigirize n’Abayonaani? 36 Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mujja kunnoonya naye temujja kundaba, era gye nnaabeera temuyinza kujjayo’?”
37 Ku lunaku lw’embaga olusembayo era olusinga obukulu,+ Yesu n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Bwe wabaawo alumwa ennyonta ajje gye ndi anywe.+ 38 Oyo anzikiririzaamu, ng’ekyawandiikibwa bwe kigamba nti: ‘Munda mu ye mulivaamu emigga egy’amazzi amalamu.’”+ 39 Kyokka kino yakyogera ng’ategeeza omwoyo abo abaamukkiririzaamu gwe baali banaatera okufuna; mu kiseera ekyo baali tebannafuna mwoyo+ kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.+ 40 Abamu ku bantu abaawulira ebigambo ebyo ne bagamba nti: “Mazima ddala ono ye Nnabbi.”+ 41 Abalala baali bagamba nti: “Ono ye Kristo.”+ Ate abalala baali bagamba nti: “Kristo wa kuva Ggaliraaya?+ 42 Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo aliva mu zzadde lya Dawudi,+ era nti ajja kuva mu Besirekemu,+ ekibuga Dawudi gye yabeeranga?”+ 43 Awo ekibiina ky’abantu ne kyesalamu. 44 Kyokka abamu ku bo baali baagala okumukwata, naye tewali n’omu yamukwata.
45 Awo abasirikale ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo era bano ne bababuuza nti: “Lwaki temumuleese?” 46 Abasirikale ne baddamu nti: “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.”+ 47 Abafalisaayo ne bagamba nti: “Nammwe ababuzaabuzizza? 48 Waliwo n’omu ku bafuzi oba ku Bafalisaayo amukkiririzzaamu?+ 49 Naye abantu bano abatamanyi Mateeka baakolimirwa.” 50 Nikodemu, eyagenda gy’ali emabegako, era eyali omu ku bo, n’abagamba nti: 51 “Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tebannamuwozesa era nga tebannategeera ky’akoze?”+ 52 Ne bamugamba nti: “Naawe ova Ggaliraaya? Noonyereza ojja kukiraba nti tewali nnabbi wa kuva Ggaliraaya.”*